Yoswa 2:1-24
2 Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma mu kyama abasajja babiri abakessi okuva mu Sitimu,+ n’abagamba nti: “Mugende mwetegereze ensi, n’okusingira ddala Yeriko.” Awo ne bagenda ne bayingira mu nnyumba y’omukazi ayitibwa Lakabu eyali malaaya,+ ne babeera omwo.
2 Kabaka wa Yeriko ne bamugamba nti: “Laba! Waliwo abasajja Abayisirayiri abazze wano ekiro kino okuketta ensi.”
3 Awo kabaka wa Yeriko n’aweereza Lakabu obubaka obugamba nti: “Fulumya abasajja abazze era abali mu nnyumba yo, kubanga bazze okuketta ensi eno yonna.”
4 Kyokka Lakabu n’atwala abasajja bombi n’abakweka. N’alyoka agamba nti: “Kituufu abasajja bazze ewange, naye saategedde gye baavudde.
5 Obudde bwe bwazibye nga banaatera okuggalawo omulyango gw’ekibuga, abasajja ne bafuluma. Simanyi gye baagenze, naye singa mubawondera mangu mujja kubasanga.”
6 (Kyokka yali abalinnyisizza waggulu ku nnyumba ng’ababisseeko ebigoogwa ebyali biteekeddwa waggulu ku nnyumba.)
7 Awo abasajja ba kabaka ne babawondera nga boolekera awasomokerwa+ ku Mugga Yoludaani, era bwe baali baakafuluma, omulyango gw’ekibuga ne guggalwawo.
8 Ng’abakessi tebanneebaka, Lakabu yagenda waggulu ku nnyumba gye baali,
9 n’abagamba nti: “Mmanyi nti Yakuwa agenda kubawa ensi eno,+ era mutuleetedde okutya.+ Abantu bonna ab’omu nsi eno mubaleetedde okuterebuka,+
10 kubanga twawulira Yakuwa bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe bwe mwali muva e Misiri+ era ne kye mwakola bakabaka ababiri Abaamoli, Sikoni+ ne Ogi,+ be mwazikiriza emitala wa Yoludaani.*
11 Ebyo bwe twabiwulira, twatya nnyo,* era muleetedde buli muntu okuggwaamu amaanyi, kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye Katonda waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi.+
12 Kale kaakano mbeegayiridde mundayirire mu linnya lya Yakuwa nti nga bwe mbalaze okwagala okutajjulukuka, nammwe mujja kulaga ab’ennyumba ya kitange okwagala okutajjulukuka; era mulina okumpa akabonero akeesigika.
13 Mutalize kitange ne mmange, ne baganda bange ne bannyinaze n’abantu baabwe bonna, era mutuwonye okufa.”+
14 Awo abasajja ne bamugamba nti: “Tujja kuwaayo obulamu bwaffe ku lw’obulamu bwo. Bw’otoobeeko balala b’obuulira bitukwatako, Yakuwa bw’anaatuwa ensi eno, naffe tujja kukulaga okwagala okutajjulukuka era tujja kuba beesigwa gy’oli.”
15 Oluvannyuma lw’ekyo, yabayisa mu ddirisa n’abasizza ku muguwa, kubanga ennyumba ye yali ku bbugwe w’ekibuga.+
16 N’abagamba nti: “Mugende mu nsozi mwekweke eyo okumala ennaku ssatu, ababawondera baleme okubasanga. Ababawondera bwe banaaba bakomyewo, mujja kuvaayo mugende.”
17 Awo abasajja ne bamugamba nti: “Kijja kuba kitukakatako okutuukiriza ekirayiro kino ky’otulayizza,+
18 singa bwe tunajja mu nsi eno onooba osibye omuguwa guno omumyufu ku ddirisa ly’otuyisizzaamu. Kitaawo ne nnyoko, ne bannyoko, n’abantu bonna ab’ennyumba ya kitaawo ojja kubakuŋŋaanya babeere naawe mu nnyumba.+
19 Era omuntu yenna anaafuluma mu nnyumba yo, omusaayi gwe gujja kuba ku mutwe gwe, era ffe tetujja kubaako musango. Kyokka omuntu yenna anaasigala naawe mu nnyumba bw’anaatuukibwako akabi,* omusaayi gwe gunaatuvunaanibwa.
20 Naye bw’onoobaako gw’obuulira ebitukwatako,+ tetujja kutuukiriza kirayiro kino ky’otulayizza.”
21 N’abaddamu nti: “Ka kibeere nga bwe mugambye.”
Awo Lakabu n’abasiibula ne bagenda, oluvannyuma n’asiba omuguwa omumyufu ku ddirisa.
22 Abakessi ne bagenda mu nsozi ne bamalayo ennaku ssatu, okutuusa abo abaali babawondera lwe baakomawo. Abo abaali babawondera baabanoonya mu makubo gonna, naye tebaabalaba.
23 Awo abakessi ababiri ne bavaayo mu nsozi ne basomoka omugga, ne bagenda eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamubuulira byonna ebyali bibatuuseeko.
24 Ne bagamba Yoswa nti: “Yakuwa atuwadde ensi eyo yonna.+ Mu butuufu, abantu baamu bonna baterebuse ku lwaffe.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebuvanjuba.
^ Obut., “emitima gyaffe gyasaanuuka.”
^ Oba, “bw’anaateekebwako omukono.”