Yoswa 8:1-35
8 Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Totya era totekemuka.+ Twala abasajja abalwanyi bonna mwambuke mulumbe Ayi. Laba, mpaddeyo mu mukono gwo kabaka wa Ayi, abantu be, ekibuga kye, n’ensi ye.+
2 Ojja kukola Ayi ne kabaka waakyo nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waakyo.+ Naye ebintu bye munaanyaga n’ensolo muyinza okubyetwalira. Muteegere emabega w’ekibuga.”
3 Awo Yoswa n’abasajja abalwanyi bonna ne bagenda ne balumba Ayi. Yoswa yalonda abalwanyi abazira 30,000 n’abasindika ekiro.
4 Yabalagira nti: “Muteegere emabega w’ekibuga. Temugenda wala okuva ku kibuga, era mmwenna mweteeketeeke.
5 Nze n’abantu bonna abali nange, tujja kusemberera ekibuga, era bwe banajja okutulwanyisa nga bwe baakola mu kusooka,+ tujja kubadduka.
6 Bwe banaatuwondera tujja kudduka tubaleetere okwesuula ekibuga, kubanga bajja kugamba nti, ‘Batudduse nga bwe baatudduka mu kusooka.’+ Era tujja kubadduka.
7 Awo mujja kuvaayo gye muteegedde, muwambe ekibuga; Yakuwa Katonda wammwe ajja kukibawa.
8 Era amangu ddala nga mumaze okuwamba ekibuga, mukyokye omuliro.+ Mukole nga Yakuwa bw’agambye. Ekyo kye mbalagidde.”
9 Awo Yoswa n’abasindika ne bagenda we baali ab’okuteegera; baateegera wakati wa Beseri ne Ayi, ebugwanjuba wa Ayi, naye ekiro ekyo ye Yoswa yasula awaali abalwanyi abalala.
10 Yoswa bwe yagolokoka ku makya ennyo n’akuŋŋaanya abalwanyi, ye n’abakadde ba Isirayiri ne babakulemberamu ne bagenda e Ayi.
11 Abalwanyi bonna+ abaali naye baayambuka ne batuuka mu maaso g’ekibuga. Baasiisira ebukiikakkono wa Ayi, era waaliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
12 Ate era yali atutte abasajja nga 5,000 okuteegera+ wakati wa Beseri+ ne Ayi, ebugwanjuba w’ekibuga.
13 Abalwanyi abasinga obungi baasiisira ebukiikakkono w’ekibuga,+ abalwanyi abalala ne basiisira ebugwanjuba waakyo,+ era ekiro ekyo Yoswa yagenda wakati mu kiwonvu.
14 Kabaka wa Ayi olwabalaba, ye n’abasajja b’omu kibuga ne banguwa mangu ku makya ennyo ne bagenda okulwana n’Abayisirayiri mu maaso g’eddungu. Naye teyamanya nti waaliwo abaali bamuteegedde emabega w’ekibuga.
15 Abasajja b’omu Ayi bwe baabalumba, Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne baddukira mu kkubo nga boolekera eddungu.+
16 Abantu bonna abaali mu kibuga ne bayitibwa okubawondera; era gye baakoma okuwondera Yoswa gye baakoma n’okwesuula ekibuga.
17 Tewali musajja n’omu eyasigala mu Ayi ne mu Beseri; bonna baawondera Abayisirayiri. Ekibuga baakireka nga kiggule ne bawondera Abayisirayiri.
18 Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Galulira Ayi+ effumu eriri mu mukono gwo, kubanga nja kukiwaayo mu mukono gwo.”+ Awo Yoswa n’agalulira ekibuga effumu eryali mu mukono gwe.
19 Yoswa olwagolola omukono gwe, abaali bateeze ne bayimuka mangu we baali bateegedde ne badduka ne bayingira ekibuga ne bakiwamba, era amangu ago ne bakikumako omuliro.+
20 Abasajja b’e Ayi bwe baatunula emabega ne balaba ng’omukka gunyooka okuva mu kibuga, amaanyi ne gabaggwaamu ne baba nga tebakyasobola kuddukira eno oba eri. Awo abantu abaali badduka okwolekera eddungu ne bakyuka okulwanyisa abaali babawondera.
21 Yoswa n’Abayisirayiri bonna bwe baalaba ng’abaali bateeze bawambye ekibuga, era nga n’ekibuga kinyooka omukka, ne bakyuka ne batandika okulwanyisa abasajja b’e Ayi.
22 N’abo abaawamba ekibuga ne bafuluma okulwanyisa abasajja b’e Ayi, abasajja b’e Ayi ne baba nga bali wakati w’Abayisirayiri, ng’Abayisirayiri abamu bali ku luuyi luno ate ng’abalala bali ku luuyi luli, ne babatta bonna ne watabaawo n’omu awonawo oba adduka.+
23 Naye baakwata kabaka wa Ayi+ nga mulamu ne bamuleeta eri Yoswa.
24 Abayisirayiri bwe baamala okuttira abantu b’e Ayi bonna mu ddungu gye baali babawonderedde, era nga bonna battiddwa n’ekitala baweddewo, Abayisirayiri bonna ne balyoka bakomawo mu Ayi ne batta n’ekitala abaali basigaddemu.
25 Abantu bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n’abakazi, baali 12,000, nga be bantu bonna ab’omu Ayi.
26 Yoswa teyassa mukono gwe gwe yagaluza effumu,+ okutuusa lwe yamala okuzikiriza abantu bonna ab’omu Ayi.+
27 Era Abayisirayiri baatwala ensolo n’ebintu bye baanyaga mu kibuga, nga Yakuwa bwe yali alagidde Yoswa.+
28 Yoswa yayokya Ayi n’akireka matongo,+ era kikyali bwe kityo n’okutuusa leero.
29 Yawanika kabaka w’e Ayi ku muti okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali enaatera okugwa, Yoswa yalagira ne baggya omulambo gwe ku muti+ ne baguteeka ku mulyango gw’ekibuga ne bagutuumako entuumu ennene ey’amayinja ekyaliwo n’okutuusa leero.
30 Awo Yoswa n’azimbira Yakuwa Katonda wa Isirayiri ekyoto ku Lusozi Ebali,+
31 nga Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yalagira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’Amateeka+ ga Musa nti: “Ekyoto eky’amayinja amalamba agatali mateme n’ekyuma.”+ Ne baweerayo ku kyo eri Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe.+
32 Awo n’akoppolola ku mayinja Amateeka+ Musa ge yawandiikira mu maaso g’Abayisirayiri.+
33 Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe, abaami, n’abalamuzi baabwe, baali bayimiridde eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi abaali basitudde essanduuko y’endagaano ya Yakuwa. Abagwira baaliwo, era n’Abayisirayiri baaliwo.+ Kimu kya kubiri ku bo kyali mu maaso g’Olusozi Gerizimu ate ekitundu ekirala kyali mu maaso g’Olusozi Ebali,+ (nga Musa omuweereza wa Yakuwa bwe yalagira),+ okuwa Abayisirayiri omukisa.
34 Oluvannyuma lw’ekyo, yasoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo byonna eby’Amateeka,+ emikisa+ n’ebikolimo,+ nga byonna bwe biri ebyali biwandiikiddwa mu kitabo ky’Amateeka.
35 Tewali kigambo kyonna mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky’ataasoma mu ddoboozi ery’omwanguka mu maaso g’ekibiina kya Isirayiri kyonna,+ omwali abakazi, abaana abato, n’abagwira+ abaali babeera* mu bo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “batambulira.”