Zabbuli 49:1-20
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+
49 Muwulire kino mmwe amawanga gonna.
Musseeyo omwoyo mmwe mmwenna abali mu nsi,*
2 Ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,*Abagagga n’abaavu.
3 Akamwa kange kajja kwogera eby’amagezi,N’okufumiitiriza kw’omutima gwange+ kujja kwoleka okutegeera.
4 Nja kwekkaanya olugero;Nja kunnyonnyola ekikokyo kyange nga bwe nsuna entongooli.
5 Lwaki nnanditidde mu biseera ebizibu,+Nga nneetooloddwa ensobi z’abo abagezaako okunsuula?
6 Abo abeesiga obugagga bwabwe,+Era abeewaana olw’eby’obugagga byabwe ebingi,+
7 Tewali n’omu ku bo ayinza kununula muganda we
Wadde okumuweerayo eri Katonda ekinunulo,+
8 (Omuwendo ogusobola okununula obulamu bwabwe munene nnyoNe kiba nti tebasobola kugwesasulira);
9 Asobole okubeerawo emirembe gyonna aleme kulaba kinnya.*+
10 Buli omu akiraba nti n’ab’amagezi bafa;Abasirusiru n’abatalina magezi bazikiririra wamu,+Obugagga bwabwe ne babulekera abalala.+
11 Emitima gyabwe gyagala ennyumba zaabwe zibeerewo emirembe n’emirembe,Weema zaabwe zibeerewo emirembe gyonna.
Amataka gaabwe bagatuumye amannya gaabwe.
12 Omuntu ne bw’aba wa kitiibwa, tasigalawo;+Tasinga nsolo ezisaanawo.+
13 Eryo lye kkubo ly’abasirusiru,+N’abo ababagoberera, abasanyukira ebigambo byabwe ebitaliimu. (Seera)
14 Basindikiddwa emagombe* ng’endiga ezigenda okuttibwa.
Okufa kwe kunaabeeranga omusumba waabwe;Abagolokofu be bajja okubafuga+ ku makya.
Bajja kuggwerawo ddala;+Amagombe*+ ge gajja okuba amaka gaabwe so si lubiri.+
15 Naye Katonda ajja kunnunula okuva mu maanyi* g’amagombe,*+Ajja kunzigyayo. (Seera)
16 Totya omuntu bw’agaggawala,Oba ekitiibwa ky’ennyumba ye bwe kyeyongera.
17 Kubanga bw’afa talina na kimu ky’ayinza kutwala;+Ekitiibwa kye takka nakyo.+
18 Ng’akyali mulamu yeewaana.+
(Abantu bakutendereza bw’ogaggawala.)+
19 Naye alwaddaaki ne yeegatta ku mulembe gwa bajjajjaabe.
Tebaliddamu kulaba kitangaala.
20 Omuntu atategeera kino, ne bw’aba wa kitiibwa,+Tasinga nsolo ezisaanawo.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu nteekateeka y’ebintu eno.”
^ Obut., “abaana b’abantu n’abaana b’omuntu.”
^ Oba, “ntaana.”
^ Obut., “mu mukono.”