Zabbuli 65:1-13
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba.
65 Ai Katonda, ettendo likulindiridde mu Sayuuni;+Tujja kutuukiriza ebyo bye tweyama gy’oli.+
2 Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.+
3 Ensobi zange zimpitiriddeko,+Naye ggwe obikka ku kwonoona kwaffe.+
4 Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembezaOkubeera mu mpya zo.+
Tujja kuba bamativu n’ebirungi eby’omu nnyumba yo,+Yeekaalu yo entukuvu.*+
5 Ojja kutwanukula ng’okola ebintu ebiwuniikiriza+ eby’obutuukirivu,Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe;Ggwe Bwesige bw’abantu mu nsi yonna,+N’abo abali ewala emitala w’ennyanja.
6 Wanyweza* ensozi n’amaanyi go;Oyambadde* amaanyi.+
7 Okkakkanya* ennyanja ezeefuukuula,+Okkakkanya* okuyira kw’amayengo gaazo n’oluyoogaano lw’amawanga.+
8 Ababeera mu bitundu eby’ewala bajja kuwuniikirira olw’obubonero bwo;+Ojja kuleetera abantu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba okwogerera waggulu n’essanyu.
9 Olabirira ensi,Ogisobozesa okubala ennyo era n’okubaamu eby’obugagga bingi nnyo.+
Omugga oguva eri Katonda gujjudde amazzi;Owa abantu emmere,+Bw’otyo bwe wateekateeka ensi.
10 Onnyikiza embibiro zaayo era otereeza ettaka lyayo erikabaddwa;Otonnyesa enkuba n’oligonza; owa ebimera byayo omukisa.+
11 Omwaka ogujjuza ebirungi, n’oba ng’agutikkidde engule;Amakubo go gajjudde ne gabooga.*+
12 Amalundiro ag’oku ttale gajjudde omuddo ogutonnyolokoka amazzi,+N’obusozi bwambadde essanyu.+
13 Amalundiro gajjudde ebisibo,Ebiwonvu bijjudde emmere ey’empeke.+
Bijaguza era biyimba.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Ekifo kyo ekitukuvu.”
^ Obut., “Ayambadde.”
^ Obut., “Yanyweza.”
^ Obut., “Akkakkanya.”
^ Obut., “Akkakkanya.”
^ Obut., “gatonnya amasavu.”