Zabbuli 73:1-28
Zabbuli ya Asafu.+
73 Mazima ddala Katonda mulungi eri Isirayiri, mulungi eri abo abalina emitima emirongoofu.+
2 Naye nze ebigere byange byabulako katono okuwaba;Ebigere byange byali binaatera okuseerera.+
3 Kubanga ab’amalala* bankwasa obuggya,Bwe nnalaba ng’ababi balina emirembe.+
4 Tebaba na bulumi mu kufa kwabwe;Emibiri gyabwe miramu bulungi.*+
5 Tebalina bizibu ng’abantu abalala,+Era tebabonaabona ng’abantu abalala.+
6 Amalala kyegava gaba ng’omukuufu gwabwe;+Ebikolwa eby’obukambwe ne biba ng’ekyambalo kyabwe.
7 Obugagga bwabwe* bubaleetera okukanuka amaaso;Bafunye bingi okusinga ebyo omutima gwabwe bye gwali gulowooza.
8 Baduula era ne boogera ebintu ebibi.+
Boogeza malala nga batiisatiisa okunyigiriza abalala.+
9 Boogera nga gy’obeera bagulumidde ng’eggulu,Batambulatambula mu nsi ng’olulimi lwabwe lwogera kyonna kye baagala.
10 Abantu be kyebava badda gye bali,Era banywa ku mazzi gaabwe amangi.
11 Bagamba nti: “Katonda amanya atya?+
Ddala Oyo Asingayo Okuba Waggulu bino abimanyi?”
12 Abo be babi abatafuna kizibu kyonna.+
Bongera kutuuma bugagga.+
13 Mazima nteganidde bwereere okukuuma omutima gwange nga mulongoofu,Era ne nnaaba engalo zange okulaga nti siriiko musango.+
14 Nnabanga mweraliikirivu okuzibya obudde;+Buli ku makya nnakangavvulwanga.+
15 Naye singa nnayogera ebintu bino,Nnandibadde ndiddemu abantu bo* olukwe.
16 Bwe nnagezaako okukitegeera,Kyannakuwaza,
17 Okutuusa lwe nnayingira mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa,Ne ntegeera ebiseera byabwe eby’omu maaso bwe biriba.
18 Mazima ddala, obateeka awali obuseerezi.+
Obasuula ne bazikirira.+
19 Nga basaanawo mu bwangu!+
Nga baggwaawo mu bwangu, mu ngeri ey’entiisa!
20 Ai Yakuwa, bw’oligolokoka, olibeerabira*Okufaananako ekirooto omuntu kye yeerabira ng’azuukuse.
21 Naye omutima gwange tegwali musanyufu,+Muli munda* nnali mpulira obulumi obw’amaanyi.
22 Nnali musirusiru era nga sitegeera;Mu maaso go nnali ng’ensolo etalina magezi.
23 Naye kaakano ndi naawe buli kiseera;Onkutte ku mukono ogwa ddyo.+
24 Ompa amagezi n’onnuŋŋamya,+Era oluvannyuma ojja kuntuusa mu kitiibwa.+
25 Ani gwe nnina mu ggulu?
Tewali kirala kyonna kye njagala ku nsi okuggyako ggwe.+
26 Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okunafuwa,Naye Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange era ye gwe mugabo gwange emirembe n’emirembe.+
27 Abo abakwewala balizikirira.
Olizikiriza* abo bonna abataba beesigwa ne bakuleka.*+
28 Naye nze, okusemberera Katonda kirungi gye ndi.+
Yakuwa Mukama Afuga Byonna mmufudde kiddukiro kyange,Nsobole okulangirira ebikolwa bye byonna.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abeewaana.”
^ Oba, “Balina embuto nnene.”
^ Obut., “Amasavu gaabwe.”
^ Obut., “omulembe gw’abaana bo.”
^ Obut., “olibanyooma.”
^ Obut., “Mu nsigo zange.”
^ Obut., “Olisirisa.”
^ Obut., “abo abenda ne bakuleka.”