Zabbuli 78:1-72
Masukiri.* Zabbuli ya Asafu.+
78 Abantu bange muwulirize amateeka gange;*Mutege amatu muwulire ebigambo ebiva mu kamwa kange.
2 Nja kwogera mu ngero.
Nja kwogera ebintu ebikusike eby’edda.+
3 Ebintu bye twawulira era bye tumanyi,Bakitaffe bye baatubuulira,+
4 Tetujja kubikweka bazzukulu baabwe;Tujja kubuulira omulembe ogunaddawo+Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo n’amaanyi ge,+Ebintu eby’ekitalo by’akoze.+
5 Yassaawo eky’okujjukiza mu Yakobo,Era yassaawo etteeka mu Isirayiri;Yalagira bajjajjaffeOkutegeeza abaana baabwe ebintu bino,+
6 Omulembe ogwandizzeewo,Abaana abandizaaliddwa, babimanye.+
Nabo babibuulire abaana baabwe.+
7 Olwo abo bandyesize Katonda.
Tebandyerabidde ebyo Katonda bye yakola,+Wabula bandikutte ebiragiro bye.+
8 Bwe batyo tebandibadde nga bajjajjaabwe,Omulembe ogw’emputtu era omujeemu,+Omulembe ogwalina omutima ogutateredde,*+Era omulembe ogutaali mwesigwa eri Katonda.
9 Abeefulayimu baalina emitego egy’obusaale,Naye baakyuka ne badduka ku lunaku olw’olutalo.
10 Baamenya endagaano ya Katonda,+Era baagaana okutambulira mu mateeka ge.+
11 Beerabira bye yakola,+Ebikolwa bye eby’ekitalo bye yabalaga.+
12 Yakola ebyewuunyisa nga bajjajjaabwe balaba,+Mu nsi ya Misiri, mu kitundu ky’e Zowani.+
13 Yayawulamu ennyanja basobole okuyitamu,Era yayimiriza amazzi ne gaba ng’ekisenge.+
14 Emisana yabakulembera ng’akozesa ekireAte ekiro kyonna ng’akozesa ekitangaala eky’omuliro.+
15 Yayasaamu enjazi mu ddungu,Yabanywesa amazzi mangi ng’agava mu buziba.+
16 Yakulukusa amazzi okuva mu lwaziEra yaleetera amazzi okukulukuta ng’emigga.+
17 Naye ne beeyongera okwonoonaBwe baajeemera oyo Asingayo Okuba Waggulu nga bali mu ddungu;+
18 Baagezesa Katonda mu mitima gyabwe+Nga basaba eby’okulya bye baali baagala.
19 Baayogera bubi ku Katonda,Nga bagamba nti: “Katonda asobola okutufunira emmere mu ddungu?”+
20 Laba! Yakuba ku lwaziAmazzi ne gafukumuka ne ganjaala.+
“Asobola n’okutuwa emmere,Era asobola okuwa abantu be ennyama?”+
21 Yakuwa bwe yabawulira n’asunguwala;+Omuliro+ ne gubuubuukira Yakobo,Era obusungu bwe ne bubuubuukira Isirayiri+
22 Olw’okuba tebaalina kukkiriza;+Tebeesiga Katonda nti yali asobola okubalokola.
23 Kyeyava alagira ebire waggulu,N’aggulawo emiryango gy’eggulu.
24 Yabatonnyesezanga emmaanu balye,Yabawa emmere ey’omu ggulu.+
25 Abantu baalya emmere ey’ab’amaanyi;*+Yabawa emmere ebamala.+
26 Yafuukuula mu bbanga empewo ey’ebuvanjubaEra n’akunsa empewo ey’ebukiikaddyo ng’akozesa amaanyi ge.+
27 Yabatonnyeseza ennyama, nga nnyingi ng’enfuufu,Ebinyonyi bingi ng’omusenyu gw’ennyanja.
28 Yabireetera okugwa wakati mu lusiisira lwe,Okwetooloola weema ze.
29 Baalya era baavaabira;Yabawa kye baali baagala.+
30 Naye bwe baali tebannaggwa maddu,Ng’emmere ekyabali mu kamwa,
31 Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukira.+
N’atta abasajja baabwe ab’amaanyi ennyo;+N’azikiriza abavubuka ba Isirayiri.
32 Wadde kyali bwe kityo, beeyongera okwonoona+Era tebakkiririza mu bikolwa bye eby’ekitalo.+
33 Ennaku zaabwe kyeyava azikomya ne ziba ng’omukka obukka,+Era n’emyaka gyabwe n’agikomya ng’akozesa ebintu eby’entiisa.
34 Naye buli lwe yabattanga, nga baddamu okumunoonya;+Baakomangawo ne banoonya Katonda,
35 Nga bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe,+Era nti Katonda Asingayo Okuba Waggulu ye Mununuzi waabwe.*+
36 Baagezaako okumubuzaabuza nga bakozesa akamwa kaabweN’okumulimbalimba nga bakozesa olulimi lwabwe.
37 Omutima gwabwe tegwamunywererako;+Era tebaakuuma ndagaano ye.+
38 Naye yabasaasira;+Yabasonyiwanga ensobi* zaabwe n’atabazikiriza.+
Yafuganga obusungu bwe+N’atabamalirako kiruyi kye kyonna.
39 Yajjukiranga nti baali bantu buntu,+Embuyaga ekunta n’etadda.*
40 Nga baamujeemera emirundi mingi mu lukoola,+Ne bamunakuwaza mu ddungu!+
41 Baagezesa Katonda enfunda n’enfunda,+Era baanakuwaza* Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Beerabira amaanyi ge;*Beerabira olunaku lwe yabanunula mu mukono gw’omulabe,+
43 Bwe yakola obubonero bwe mu Misiri,+N’ebyamagero bye mu Zowani,
44 Ne bwe yafuula obugga obuva ku Kiyira omusaayi,+Ne baba nga tebasobola kunywa mu bugga bwabwe.
45 Yasindika ebibinja bya kawawa abalume,+N’ebikere byonoone ensi yaabwe.+
46 Ebirime byabwe yabiwaayo eri enzige ezirya ennyo,Ebibala by’okutegana kwabwe yabiwaayo eri enzige ennyingi ennyo.+
47 Yasaanyaawo emizabbibu gyabweN’emisukamooli gyabwe ng’akozesa omuzira.+
48 Ebisolo byabwe yabikubisa omuzira,+Era ensolo zaabwe yazikubisa laddu.
49 Yaboolekeza obusungu bwe obungi,Ekiruyi, obukambwe, n’obuyinike;Ebibinja bya bamalayika byaleeta obutyabaga.
50 Obusungu bwe yabukubira ekkubo.
Yabawaayo eri okufa;Yabawaayo* eri endwadde.
51 Ku nkomerero yatta abaana ababereberye bonna ab’e Misiri,+Abaggulanda abaazaalibwa mu weema za Kaamu.
52 Awo n’aggyayo abantu be ng’ekisibo,+N’abakulembera ng’ekisibo n’abayisa mu ddungu.
53 Baalina obukuumi ng’abakulembera,Era tebaalina kye batya;+Ennyanja yabuutikira abalabe baabwe.+
54 Yabatuusa mu nsi ye entukuvu,+Mu kitundu kino eky’ensozi omukono gwe ogwa ddyo kye gwafuna.+
55 Yagoba amawanga mu maaso gaabwe,+Ensi yagipima n’omuguwa n’agigabanyaamu n’agibawa ng’obusika;+Ebika bya Isirayiri yabiteeka mu maka gaabyo.+
56 Naye beeyongera okugezesa Katonda Asingayo Okuba Waggulu era ne bamujeemera;+Tebassaayo mwoyo ku bye yabajjukizanga.+
57 Baamuvaako era baali bakuusa nga bajjajjaabwe.+
Baali tebeesigika nga balinga omutego gw’obusaale ogutali munywevu.+
58 Olw’ebifo byabwe ebigulumivu+ beeyongera okumunyiiza,Era baamusunguwazanga* olw’ebifaananyi byabwe ebyole.+
59 Ekyo Katonda yakiraba n’asunguwala nnyo,+Kyeyava yeesambira ddala Isirayiri.
60 Ku nkomerero yeesamba weema ey’e Siiro,+Weema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu.+
61 Akabonero akalaga amaanyi ge yakaleka ne katwalibwa mu buwambe;Ekitiibwa kye yakireka ne kigenda mu mikono gy’abalabe.+
62 Yawaayo abantu be ne battibwa n’ekitala,+Era yasunguwalira obusika bwe.
63 Omuliro gwayokya abavubuka be,Era bawala be tebaabayimbira nnyimba za mbaga.*
64 Bakabona be battibwa n’ekitala,+Era bannamwandu baabwe tebaakaaba.+
65 Awo Yakuwa n’azuukuka ng’alinga ava mu tulo,+Ng’omusajja ow’amaanyi+ bw’azuukuka ng’omwenge gumuweddeko.
66 N’azzaayo abalabe be ennyuma,+N’abaleetako obuswavu obw’olubeerera.
67 Yeesamba weema ya Yusufu;Teyalonda kika kya Efulayimu.
68 Naye yalonda ekika kya Yuda,+Olusozi Sayuuni lw’ayagala.+
69 Ekifo kye ekitukuvu yakikola nga kya lubeerera ng’eggulu,+Ng’ensi gye yanyweza okubaawo emirembe gyonna.+
70 Yalonda Dawudi+ omuweereza weN’amuggya mu bisibo by’endiga.+
71 Yamuggya ku kulabirira endiga eziyonsa,N’amufuula omusumba wa Yakobo, abantu be,+Omusumba wa Isirayiri, obusika bwe.+
72 Yabaluŋŋamya n’omutima omugolokofu,+N’abakulembera n’amagezi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “obulagirizi bwange.”
^ Obut., “oguteeteeseteese.”
^ Oba, “eya bamalayika.”
^ Oba, “y’abawoolerera eggwanga.”
^ Obut., “Yabikkanga ku nsobi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Omwoyo gugenda ne gutadda.”
^ Oba, “Era baalumya.”
^ Obut., “omukono gwe.”
^ Obut., “Yawaayo obulamu bwabwe.”
^ Oba, “baamukwasanga obuggya.”
^ Obut., “Era bawala be tebaabatendereza.”