Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
KIKI ekyaleetera omusajja eyalina abakazi abangi era eyali tayagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa, okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa? Kiki ekyaleetera paasita okukyusa ebyo bye yali akkiririzaamu? Kiki ekyaleetera omukyala eyafuna ebizibu ebingi ng’akyali muto era eyali yeenyooma, okulekera awo okwenyooma era n’okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? Kiki ekyaleetera omusajja eyali ayagala ennyo ennyimba ezirimu ebidongo ebiggunda okufuuka omuweereza wa Katonda? Soma olabe abantu abo bye bagamba.
“Nnafuuka omwami omulungi.”—RIGOBERT HOUETO
NNAZAALIBWA: 1941
ENSI: BENIN
EBYAFAAYO: NNALINA ABAKAZI BANGI ERA NGA SAAGALIRA DDALA BAJULIRWA BA YAKUWA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu Cotonou, ekibuga ekisinga obunene mu Benin. Bazadde bange Bakatuliki, naye saateranga kugenda kusaba. Abakatuliki bangi mu kitundu gye nnali mbeera baalina abakazi bangi, kubanga okuwasa abakazi abangi kyali kikkirizibwa mu mateeka mu kiseera ekyo. Nnalina abakazi bana.
Obwegugungo bw’eby’obufuzi bwe bwatandikawo mu myaka gya 1970, nnalowooza nti waaliwo kye nnali nsobola okukolawo okuyamba ensi yange. Bwe kityo nnayingira eby’obufuzi era ne nneenyigira mu bwegugungo obwo. Abaali mu bwegugungo obwo baali tebaagala Bajulirwa ba Yakuwa, kubanga Abajulirwa ba Yakuwa baali tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Nnali omu ku abo abaayigganya Abajulirwa ba Yakuwa. Abaminsani Abajulirwa ba Yakuwa bwe baagobebwa mu Benin mu 1976, nnali mukakafu nti tebandikomyewo.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Obwegugungo bwakoma mu 1990. Ekyanneewuunyisa, tewaayitawo kiseera kiwanvu ne nziramu okulaba Abajulirwa ba Yakuwa abaminsani. Mu kiseera ekyo, nnafuna omulimu mu kifo ekirala. Omu ku bakozi bannange yali Mujulirwa wa Yakuwa, era amangu ddala yambuulira ku ebyo bye yali akkiririzaamu. Yandaga ebyawandiikibwa mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa Katonda wa kwagala era mwenkanya. (Ekyamateeka 32:4; 1 Yokaana 4:8) Engeri ezo zankwatako nnyo, era ne njagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa. Bwe ntyo ne nzikiriza okuyiga Bayibuli.
Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala okwa nnamaddala kwe baali balaga. Tewaaliwo busosoze mu mawanga, era tewali n’omu eyali yeetwala nti wa waggulu ku balala. Gye nnakoma okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, gye nnakoma okukakasa nti be bagoberezi ba Yesu ab’amazima.—Yokaana 13:35.
Nnakiraba nti okusobola okuweereza Yakuwa nnalina okuva mu ddiini y’Abakatuliki. Kyokka ekyo tekyambeerera kyangu, kubanga nnali nneeraliikirira engeri abalala gye bandikituttemu. Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yampa obuvumu ne nsobola okuva mu ddiini eyo.
Waliwo enkyukakyuka endala ey’amaanyi gye nnalina okukola. Nnali njize mu Bayibuli nti Katonda tayagala musajja kuwasa bakazi abasukka mu omu. (Olubereberye 2:18-24; Matayo 19:4-6) Obufumbo bwange obwasooka bwe bwokka obwali bukkirizibwa mu maaso ge. Bwe ntyo nnawandiisa obufumbo byange n’omukazi gwe nnasooka okuwasa, era abakazi abalala be nnalina ne mbaleka. Naye nnasigala mbawa obuyambi. Oluvannyuma lw’ekiseera, babiri ku bakazi be nnaleka, nabo baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Wadde nga mukyala wange akyali Mukatuliki, assa ekitiibwa mu ekyo kye nnasalawo eky’okuweereza Yakuwa. Era naye akiraba nti nnafuuka omwami omulungi.
Mu kusooka nnali ndowooza nti bwe nnandyenyigidde mu by’obufuzi, nnandisobodde okuyamba abantu b’omu kitundu kyange. Naye si bwe kyali. Kati nkiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okumalawo ebizibu by’abantu. (Matayo 6:9, 10) Nsiima nnyo Yakuwa olw’okunnyamba okuba n’obulamu obw’amakulu.
“Tekyannyanguyira kukola nkyukakyuka.”—ALEX LEMOS SILVA
NNAZAALIBWA: 1977
ENSI: BRAZIL
EBYAFAAYO: NNALI PAASITA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnakulira mu kibuga Itu, ekiri mu ssaza lya São Paulo, mu Brazil. Ekitundu kye nnakuliramu kyalimu obumenyi bw’amateeka bungi.
Nnali mukambwe nnyo, era nneenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ate era nnakukusanga ebiragalalagala. Naye oluvannyuma nnakiraba nti ebyo bye nnali nkola byandinviiriddeko okusibibwa mu kkomera oba okufa. Bwe kityo nnabireka. Oluvannyuma nneegatta ku ddiini y’Abalokole era ne nfuuka paasita.
Nnalowooza nti nnandisobodde okuyamba abantu okuyitira mu kubuulira enjiri. Nnalina ne programu gye nnali mpeerereza ku leediyo y’omu kitundu kye nnalimu, era ekyo kyanviirako okumanyibwa ennyo abantu b’omu kitundu ekyo. Naye oluvannyuma nnakiraba nti ekkanisa yali tefaayo nnyo ku kuyamba bagoberezi baayo. Mu butuufu, yali tefaayo na ku kusanyusa Katonda. Nnakiraba nti ekigendererwa ky’ekkanisa ekikulu kwe kusolooza ssente mu bantu. Bwe ntyo nnasalawo okulekulira ne nva mu kkanisa eyo.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakirabirawo nti ba njawulo ku madiini amalala. Waliwo ebintu bibiri ebyasinga okunkwatako. Ekisooka, Abajulirwa ba Yakuwa tebakoma ku kwogera bwogezi ku kwagala Katonda ne muliraanwa, naye bakyoleka mu bikolwa. Eky’okubiri, tebeenyigira mu bya bufuzi ne mu ntalo. (Isaaya 2:4) Ebintu ebyo ebibiri byandeetera okukikakasa nti nnali nzudde eddiini ey’amazima, oba ekkubo ery’akanyigo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.—Matayo 7:13, 14.
Nnakiraba nti okusobola okusanyusa Katonda, nnalina enkyukakyuka ez’amaanyi ze nnalina okukola. Nnalina okweyongera okufaayo ku b’omu maka gange. Ate era nnalina okuyiga okuba omwetoowaze. Tekyambeerera kyangu kukola nkyukakyuka ezo, naye Yakuwa yannyamba ne nzikola. Mukyala wange yakwatibwako nnyo olw’enkyukakyuka ze nnali nkoze. Ye yali yansooka okutandika okuyiga Bayibuli, naye bwe yalaba nga nkoze enkyukakyuka, yayongeramu amaanyi mu kukolera ku ebyo bye yali ayiga. Oluvannyuma ffembi twakiraba nti twagala okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa, era twabatizibwa ku lunaku lwe lumu.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Nze ne mukyala wange tusobodde okuyamba abaana baffe abasatu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, era ekyo kituleetera essanyu lingi. Ffenna ng’amaka tuli basanyufu. Nneebaza Yakuwa olw’okunnyamba okumanya amazima agali mu Kigambo kye Bayibuli. Mazima ddala nkikakasizza nti Bayibuli ekyusa obulamu bw’abantu!
“Omutima tegukyannumiriza olw’ebibi bye nnakola, era nnyumirwa obulamu.”—VICTORIA TONG
NNAZAALIBWA: 1957
ENSI: AUSTRALIA
EBYAFAAYO: NNABONAABONA NNYO MU BUTO
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnakulira mu Newcastle, ekiri mu ssaza lya New South Wales, mu Australia. Twazaalibwa abaana musanvu, era nze mukulu. Taata wange yali mukambwe nnyo era ng’anywa nnyo omwenge, era ne maama yali mukambwe nnyo. Maama wange yanvumanga era yankubanga. Emirundi mingi yaŋŋamba nti ndi mwana mubi nnyo, era nti nja kwokebwa mu muliro ogutazikira. Ebigambo ebyo byantiisanga nnyo.
Emirundi egimu maama yankubanga nnyo ne mba nga sisobola na kugenda ku ssomero. Bwe nnali wa myaka 11, ab’obuyinza banzigya ku bazadde bange oluvannyuma ne bantwala mu kigo ky’ababiikira. Bwe nnali wa myaka 14, nnatoloka mu kigo. Olw’okuba nnali saagala kuddayo waka, nnasalawo okubeeranga ku nguudo z’omu Kings Cross, ekiri mu kibuga Sydney.
Nnatandika okukozesa ebiragalalagala, okunywa omwenge, okulaba eby’obuseegu, era n’okukola obwamalaaya. Lumu waaliwo ekyaliwo ekyantiisa ennyo. Nnali mbeera mu kizimbe kya nnannyini bbaala omu. Lumu akawungeezi, waliwo abasajja babiri abajja okumulaba. Yaŋŋamba ŋŋende mu kisenge, naye nnali mpulira bye baali boogera. Nnannyini bbaala yali agenda kunguza abasajja abo. Baali bagenda kunkukusiza mu mmeeri enneetissi y’emigugu bantwale e Japan nkole mu bbaala. Nnatya nnyo era ne nziruka ne nva mu nnyumba eyo.
Nnasisinkana omusajja eyali akyadde mu Sydney, ne mmunnyonnyola ebizibu byange nga nsuubira nti ajja kumpaayo ku ssente. Mu kifo ky’ekyo, yaŋŋamba tugende we yali abeera nnaabeko era mbeeko kye ndya. N’ekyavaamu, nnatandika okubeera n’omusajja oyo, era oluvannyuma lw’omwaka gumu, twafumbiriganwa.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnawulira obusungu kyokka mu kiseera kye kimu ne nfuna obuweerero. Mu kusooka nnawulira obusungu bwe nnakimanya nti Sitaani y’aviirako abantu okubonaabona. Nnali nnayigirizibwa nti Katonda y’ayagala tuboneebone. Nnawulira obuweerero obw’amaanyi bwe nnamanya nti Katonda tabonyaabonya bantu mu muliro ogutazikira, kubanga enjigiriza eyo yantiisanga nnyo.
Nnakwatibwako nnyo olw’engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakozesaamu Bayibuli nga baliko bye basalawo. Bakolera ku ebyo bye bayiga mu Bayibuli mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Saali muntu mwangu wa kukolagana naye. Naye ka kibe ki kye nnakolanga oba kye nnayogeranga, Abajulirwa ba Yakuwa bandaganga okwagala era banzisangamu ekitiibwa.
Endowooza eyasinga okumbeerera enzibu okweggyamu ye y’okuwulira nti sirina mugaso, era endowooza eyo nneeyongera okuba nayo n’oluvannyuma lw’emyaka mingi nga mmaze okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Nnali nkimanyi nti njagala nnyo Yakuwa, naye nga ndowooza nti ye tasobola kwagala muntu nga nze.
Nga wayiseewo emyaka 15 oluvannyuma lw’okubatizibwa, waliwo ekyaliwo ekyannyamba okukyusa endowooza yange. Bwe nnali mu lukuŋŋaana olumu mu Kizimbe ky’Obwakabaka, omwogezi yasoma Yakobo 1:23, 24. Ennyiriri ezo zigeraageranya Ekigambo kya Katonda ku ndabirwamu gye tusobola okukozesa okwetunuulira nga Yakuwa bw’atutunuulira. Nnatandika okwebuuza obanga ddala nnali nneetunuulira nga Yakuwa bw’antunuulira. Mu kusooka kyanzibuwalira okukkiriza nti Yakuwa asobola okunjagala.
Oluvannyuma lw’ennaku ntono, nnasoma ekyawandiikibwa ekyakyusa obulamu bwange. Ekyawandiikibwa ekyo kiri mu Isaaya 1:18, Yakuwa w’agambira nti: “Kaakano mujje tutereeze ensonga. . . . Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira.” Nnawulira nga Yakuwa aŋŋamba nti: “Vicky, jjangu tutereeze ensonga wakati waffe. Nkumanyi bulungi, mmanyi ebibi byo, mmanyi ekiri mu mutima gwo, era nkwagala nnyo.”
Ekiro ekyo seebaka. Nnali nkyabuusabuusa obanga ddala Yakuwa asobola okunjagala. Naye nnatandika okufumiitiriza ku kinunulo kya Yesu. Oluvannyuma nnakijjukira nti Yakuwa abadde mugumiikiriza nnyo gye ndi era andaze okwagala mu ngeri nnyingi. Naye nnali ng’agamba nti okwagala Yakuwa kw’andaga tekumala, era nti ne ssaddaaka y’Omwana we tesobola kubikka ku bibi byange. Nnali ng’eyali alaga nti sikkiririza mu kinunulo. Naye oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku kirabo ky’ekinunulo, nnatandika okuwulira nti Yakuwa anjagala.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Omutima gwange tegukyannumiriza olw’ebibi bye nnakola, era kati nnyumirwa obulamu. Obufumbo bwange bweyongedde okulongooka, era ndi musanyufu nti nsobola okukozesa ebyo bye nnayitamu okuyamba abalala. Ate era mpulira nti nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
“Essaala yange yaddibwamu.”—SERGEY BOTANKIN
NNAZAALIBWA: 1974
ENSI: RUSSIA
EBYAFAAYO: NNALI NJAGALA NNYO ENNYIMBA EZIRIMU EBIDONGO EBIGGUNDA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu Votkinsk, ekitundu omuyimbi ow’erinnya eyali ayitibwa Pyotr Ilich Tchaikovsky naye gye yazaalibwa. Nnakulira mu maka maavu. Taata wange teyali muntu mubi, naye yali anywa nnyo omwenge era awaka tewaabangawo mirembe.
Saakolanga bulungi ku ssomero, era emyaka bwe gyagenda giyitawo, nnatandika okwenyooma. Nnayagalanga nnyo okubeera nzekka, seesiganga balala, era saayagalanga kugenda ku ssomero. Bwe nnabanga nnina okubaako bye nnyinyonnyola abalala mu kibiina, nnatyanga nnyo ne nnemererwa okunnyonnyola n’ebintu ebyangu ennyo. Bwe nnali mu siniya, lumu baawandiika ku lipoota yange nti: “Amanyi ebigambo bitono, era tasobola kunnyonnyola by’alowooza.” Ebigambo ebyo byampisa bubi nnyo, era byandeetera okwongera okuwulira nti sirina mugaso. Nnatandika okwebuuza obanga ddala obulamu bulina ekigendererwa.
Bwe nnali nkyali mu myaka egy’obutiini, nnatandika okunywa omwenge. Mu kusooka bwe nnanywanga, nnawuliranga bulungi. Naye bwe nnanywanga omwenge omungi, omutima gwannumirizanga. Nnawulira ng’obulamu bwange tebulina makulu. Nnatandika okwennyamira, era oluusi saavanga waka okumala ennaku eziwera. Era nnatandika okulowooza ne ku ky’okwetta.
Bwe nnali wa myaka 20, nnatandika okuwuliriza ennyimba ezirimu ebidongo ebiggunda, era ekyo kyandeeteranga okuwuliramu obuweerero. Nnawuliranga bulungi bwe nnawulirizanga ennyimba ezo, era ne ntandika okubeeranga n’abo abaaziwulirizanga. Nnakuza enviiri, nnawummula amatu, era ne ntandika okwambala ng’abayimbi be nneegombanga. Oluvannyuma lw’ekiseera nnatandika obutafaayo ku balala, era nnayombanga n’ab’awaka.
Mu kusooka nnalowooza nti okuwuliriza ennyimba eziggunda kyandinnyambye okuba omusanyufu, naye bwe kityo si bwe kyali. Nnali nneeyongera bweyongezi kwonooneka. Era bwe nnamanya ebimu ku bintu ebibi abayimbi be nnali nneegomba bye baakolanga, nnawulira nga mpeddemu amaanyi.
Nnaddamu okulowooza ku ky’okwetta. Ku luno ekintu kyokka ekyannemesa okwetta, kwe kulowooza ku ngeri maama wange gye yandiyisiddwamu. Yali anjagala nnyo, era yali ankoledde ebirungi bingi. Embeera gye nnalimu yali nzibu nnyo. Nnali nkooye obulamu naye nga saagala kwetta.
Okusobola okufuna obuweerero, nnatandika okusoma ebitabo eby’Olulasa ebyalimu engero. Ekitabo ekimu kyalimu olugero lw’omusajja eyaweereza mu kkanisa. Bwe nnasoma ekitabo ekyo, nnatandika okuwulira nga njagala okuweereza Katonda n’okuyamba abantu. Nnasaba Katonda, ekintu kye nnali sikolangako. Nnamusaba annyambe okumanya engeri gye nnali nnyinza okukozesa obulungi obulamu bwange. Bwe nnamala okusaba essaala eyo, nnawulira nga nfunye obuweerero obw’amaanyi. Ekyasinga okunneewuunyisa, ky’ekyo ekyaliwo oluvannyuma. Oluvannyuma lw’essaawa bbiri, waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyajja ewange n’ansaba okuyiga naye Bayibuli. Nnakiraba nti Katonda yali azzeemu okusaba kwange. Eyo ye yali entandikwa y’obulamu obupya.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Nneggyako ennyimba zonna eziggunda ze nnali mpuliriza, wadde ng’ekyo tekyali kyangu. Naye ennyimba ezo zaasigala mu birowoozo byange okumala ekiseera kiwanvu. Buli lwe nnabanga ntambula ne mpita mu kifo we baakubiranga ennyimba ezo, nnajukiranga obulamu bwange obw’emabega. Naye olw’okuba nnali njiga ebintu ebirungi, nnali saagala kuddamu kwonoona birowoozo byange. N’olwekyo, nnafubanga okwewala okuyita mu bifo ng’ebyo. Era bwe nnatandikanga okulowooza ku bulamu bwange obw’emabega, nnasabanga nnyo Katonda. Ekyo kyannyamba okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.”—Abafiripi 4:7.
Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakimanya nti Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa obw’okubuulirako abalala ebyo bye bayiga mu Bayibuli. (Matayo 28:19, 20) Naye ekyo nnali sikkiriza nti nsobola okukikola. Kyokka ebintu bye nnali njiga byali bindeetera essanyu lingi n’emirembe mu mutima. Nnali nkiraba nti n’abalala beetaaga okuyiga amazima ge nnali njiga. Wadde nga nnalimu okutya, nnatandika okubuulirako abalala ebyo bye nnali njiga. Kyokka okubuulirako abalala ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli kyannyamba okwongera okwekkiririzaamu. Ate era kyannyamba okwongera okukkiririza mu ebyo bye nnali njiga.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Kati ndi mufumbo, era nfunye essanyu lingi mu kuyamba abalala okuyiga Bayibuli, nga mw’otwalidde mwannyinaze ne maama wange. Okuweereza Katonda n’okuyamba abalala okuyiga ebimukwatako, kifudde obulamu bwange okuba obw’amakulu.