Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eri Abazadde

Eri Abazadde

Kirabo ki ekisingayo obulungi ky’oyinza okuwa abaana bo? Ng’omuzadde, osaanidde okubalaga okwagala, okubawa obukuumi, n’okubawa obulagirizi. Naye ekirabo ekisingayo obulungi ky’oyinza okubawa, kwe kubayigiriza amazima agakwata ku Yakuwa, agali mu Kigambo kye Bayibuli. (Yokaana 17:3) Bw’onookola bw’otyo, abaana bo bajja kwagala Yakuwa era bamuweereze n’omutima gwabwe gwonna okuviira ddala mu buto.​—Matayo 21:16.

Abazadde bangi bakizudde nti abaana abato baganyulwa nnyo bwe bayigirizibwa ebintu ebitonotono. N’olwekyo, tuli basanyufu nnyo okufulumya akatabo kano, Bye Njiga mu Bayibuli. Buli ssomo libayamba okuyigiriza abaana bammwe mu ngeri ennyangu. Kategekeddwa okuyamba abaana ab’emyaka esatu n’okudda wansi. Kalimu ebifaananyi n’ebigambo ebitonotono ebijja okunyumira abato. Akatabo kano si ka kuwa baana kuzannyisa, wabula mulina kukasomera wamu n’abaana bammwe kibasobozese okuba n’empuliziganya ennungi nabo.

Tuli bakakafu nti akatabo kano kajja kubayamba okuyigiriza abaana bammwe amazima agali mu Bayibuli ‘okuviira ddala mu buto’​—2 Timoseewo 3:14, 15.

Ffe baganda bammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa