Ensonga Katonda Kyavudde Akkiriza Okubonaabona
Ekitundu 6
Ensonga Katonda Kyavudde Akkiriza Okubonaabona
1, 2. Bazadde baffe abaasooka baayonoona batya entandikwa ennungi Katonda gye yabawa?
KIKI ekyasoba? Kiki ekyaliwo ekyayonoona entandikwa ennungi Katonda gye yawa bazadde baffe abaasooka mu Lusuku lwa Katonda olw’e Adeni? Mu kifo ky’emirembe n’okutabagana ebyaliwo mu Lusuku lwa Katonda, lwaki wabaddewo bubi na kubonaabona okumala enkumi z’emyaka?
2 Ensonga eri nti Adamu ne Kaawa baakozesa bubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Baasuula muguluka amazima nti baali tebatondeddwa kubeerawo awatali Katonda n’amateeka ge. Baasalawo okwewaggula ku Katonda n’amateeka ge, nga balowooza nti kino kyandyongedde okufuula obulamu bwabwe obulungi ekisingawo. Baasukka ensalo Katonda ze yali ataddewo ku ddembe lyabwe ery’okwesalirawo.—Olubereberye, essuula 3.
Ensonga Enkulu ey’Obufuzi obw’Obutonde Bwonna
3-5. Lwaki Katonda teyazikiriza Adamu ne Kaawa n’atandika buggya?
3 Lwaki Katonda teyazikiriza buzikiriza Adamu ne Kaawa n’atandika buggya n’abantu abalala babiri? Kubanga obufuzi bwe obw’obutonde bwonna, kwe kugamba, obwanannyini obw’okufuga obutayinza kujjululwa bwali busoomoozeddwa.
4 Ekibuuzo ne kiba: Ani alina obwannanyini okufuga, era bufuzi bw’ani obutuufu? Okubeera nti ye muyinza w’ebintu byonna era nga ye Mutonzi w’ebitonde byonna kiwa Katonda obwannanyini okubifuga. Okuva bw’ali nti y’amanyi byonna, obufuzi bwe bwe busingira ddala obulungi eri ebitonde bye byonna. Naye obufuzi bwa Katonda kati bwali busoomoozeddwa. Ate, waaliwo ekikyamu kyonna ku kitonde kye—omuntu? Tujja kwekenneenya oluvannyuma engeri obugolokofu bw’abantu gye bukwatibwako.
5 Olw’omuntu okwewaggula okuva ku Katonda, ekibuuzo ekirala kyali kireeteddwawo: Abantu bandisobodde okubeera obulungi nga tebafugibwa Katonda? Awatali kubuusabuusa Omutonzi yali amanyi eky’okuddamu, naye engeri enkakafu abantu gye bandisobodde okukizuulamu kwali kubakkiriza okubeera n’eddembe erijjuvu lye baali baagala. Baalondawo ekkubo eryo nga beesaliddewo bokka, bwe kityo Katonda yakikkiriza.
6, 7. Lwaki Katonda akkirizza abantu okubeera mu ddembe erijjuvu okumala ebbanga eryo lyonna?
6 Olw’okukkiriza abantu ekiseera ekimala okwegezaamu n’eddembe erijjuvu, Katonda yandisobodde okuba ng’akiraga lwatu emirembe
gyonna obanga abantu baba bulungi okusinga nga bali wansi w’obufuzi bwa Katonda oba obwabwe ku bwabwe. Era ekiseera ekyalekebwawo kyali kya kuba kiwanvu ekimala okusobozesa abantu okutuuka ku ekyo kye balowooza okuba entikko y’ebyo bye batuuseeko mu by’obufuzi, eby’amakolero, ebya sayansi, n’eby’ekisawo.7 N’olwekyo, Katonda alekedde omuntu ebbanga okutuusiza ddala mu kiseera kyaffe okulaga awatali kubuusabuusa kwonna obanga obufuzi bw’omuntu obumusudde omuguluka busobola okutuuka ku buwanguzi. Bwe kityo omuntu asobodde okulondawo wakati w’ekisa n’obukambwe, wakati w’okwagala n’obukyayi, wakati w’obutuukirivu n’obutali butuukirivu. Naye era ayolekanye n’ebivudde mu ekyo ky’alonzeewo: obulungi n’emirembe oba obubi n’okubonaabona.
Okwewaggula kw’Ebitonde eby’Omwoyo
8, 9. (a) Obujeemu bwabalukawo butya mu ttwale ery’emyoyo? (b) Ng’oggyeeko Adamu ne Kaawa, baani abalala Setaani be yakubiriza okujeema?
8 Waliwo ensonga endala ey’okulowoozaako. Bazadde baffe abaasooka si be bokka abaajeemera obufuzi bwa Katonda. Naye baani abalala abaaliwo mu kiseera ekyo? Ebitonde eby’omwoyo. Nga Katonda tannatonda bantu, yatonda obulamu obw’ekika ekya waggulu, bamalayika bangi nnyo ddala, okubeera mu ttwale ery’omu ggulu. Nabo baatondebwa nga balina eddembe ery’okwesalirawo era nga balina obwetaavu obw’okugondera obufuzi bwa Katonda.—Yobu 38:7; Zabbuli 104:4; Okubikkulirwa 5:11.
9 Baibuli eraga nti obujeemu obwo bwasooka kubalukawo mu ttwale ery’emyoyo. Ekitonde eky’omwoyo kyayagala okubeera n’eddembe erijjuvu. Yayagala n’okwagala abantu babe nga bamusinza. (Matayo 4:8, 9) Kyewaggula ono ow’omwoyo ye yakubiriza Adamu ne Kaawa okujeema, ng’abagamba obulimba nti Katonda yalina ekirungi kye yali abakugira okuba nakyo. (Olubereberye 3:1-5) Kyava ayitibwa Omulyolyomi (Omuwaayiriza) era Setaani (Omuwakanya). Oluvannyuma, yasendasenda ebitonde ebirala eby’omwoyo okujeema. Bano be baafuuka balubaale.—Ekyamateeka 32:17; Okubikkulirwa 12:9; 16:14.
10. Kiki ekyava mu kujeema kw’abantu n’ebitonde eby’omwoyo?
10 Olw’okujeemera Katonda, abantu beewaayo okubeera wansi wa Setaani ne balubaale be. Baibuli kyeva eyita Setaani “katonda ow’emirembe gino,” oyo ‘eyaziba amaaso g’amagezi gaabwe abatakkiriza.’ N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kigamba nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” Yesu kennyini yayita Setaani “omufuzi w’ensi eno.”—2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19, NW; Yokaana 12:31, NW.
Ensonga Enkulu Bbiri
11. Ku nsonga ki endala Setaani we yasoomooza Katonda?
11 Setaani yaleetawo ensonga endala bwe yasoomooza Katonda. Mu mazima, yalumiriza nti Katonda yali musobya mu ngeri gye yakolamu abantu era nga tewali muntu n’omu yandyagadde kukola kituufu ng’annyigiriziddwa. Mu butuufu, yagamba nti wansi w’okugezesebwa bandikolimidde ne Katonda. (Yobu 2:1-5) Mu ngeri eno Setaani yaleetaawo okubuusabuusa ku bugolokofu bw’omuntu.
12-14. Ekiseera kyandyolese kitya amazima agakwata ku nsonga ebbiri Setaani ze yaleetawo?
12 N’olwekyo, Katonda akkirizza ekiseera ekimala ebitonde bye byonna eby’amagezi birabe engeri ensonga eno enkulu awamu n’eyo ey’obufuzi bwa Katonda gye zijja okusonjolwamu. (Geraageranya Okuva 9:16.) Ebyo ebyandibaddewo mu byafaayo by’omuntu byandyolese amazima ku nsonga zino ebbiri enkulu.
13 Okusookera ddala, ekiseera kyandyolese ki ku bikwata ku nsonga y’obufuzi obw’obutonde bwonna, obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda? Abantu bandisobodde okwefuga obulungi bokka okusinga Katonda? Enkola yonna ey’obufuzi bw’omuntu obusudde Katonda omuguluka yandireesewo ensi ey’essanyu omutali ntalo, bumenyi bwa mateeka, n’obutali bwenkanya? Waliwo obwandisobodde okumalawo obwavu n’okuwa bonna obugagga? Waliwo obwandimazeewo okulwala, obukadde, n’okufa? Obufuzi bwa Katonda bwakolebwa nga busobola okukola ebyo byonna.—Olubereberye 1:26-31.
14 Ku bikwata ku nsonga enkulu ey’okubiri, ekiseera kyandiraze ki ku bikwata ku kitonde ky’omuntu bwe kiri? Yali nsobi Katonda okutonda abantu mu ngeri gye yabatondamu? Waliwo ku bo abandikoze ekituufu wansi w’okugezesebwa? Waliwo abantu abandiraze nga baagala obufuzi bwa Katonda mu kifo ky’obufuzi obwa kyetwala obw’abantu?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Katonda akkirizza ekiseera abantu ne batuuka ku ntikko y’ebyo bye batuuseeko
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Ekizungirizi: Kyesigamiziddwa ku kifaananyi kya NASA