Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakobo Agenda e Kalani

Yakobo Agenda e Kalani

OLUGERO 18

Yakobo Agenda e Kalani

ABASAJJA bano Yakobo b’ayogera nabo obamanyi? Oluvannyuma lw’okutambula ennaku nnyingi, Yakobo yabasisinkana ku luzzi. Baali balabirira ndiga zaabwe. Yakobo n’ababuuza: ‘Muva wa?’

Ne bamugamba nti ‘Kalani.’

Yakobo n’ababuuza nti ‘Mumanyi Labbaani?’

‘Yee,’ bwe batyo bwe baddamu. ‘Laba, muwala we Laakeeri wuuyo ajja n’endiga ze.’ Osobola okulaba Laakeeri ng’ajja?

Yakobo bwe yalaba Laakeeri ng’ajja n’endiga za kojja we Labbaani, y’agenda n’aseetulawo ejjinja ku luzzi endiga zisobole okunywa. Awo Yakobo n’anywegera Laakeeri era n’abuulira Laakeeri kyali. Laakeeri yasanyuka nnyo, era n’agenda eka n’abuulira taata we Labbaani.

Labbaani yasanyuka nnyo okusembeza Yakobo mu maka gaabwe. Era, Yakobo bwe yasaba awase Laakeeri, Labbaani yakikkiriza. Kyokka, yagamba Yakobo amukolere okumala emyaka musanvu okusobola okuweebwa Laakeeri. Olw’okuba Yakobo yali ayagala nnyo Laakeeri yamukolera. Naye ekiseera bwe kyatuuka eky’okufumbiriganwa, omanyi ekyabaawo?

Labbaani yawa Yakobo muwala we omukulu, Leeya, mu kifo kya Laakeeri. Yakobo bwe yakkiriza okukolera Labbaani emyaka emirala musanvu, Labbaani yamuwa ne Laakeeri okuba mukyala we. Mu biseera ebyo, Katonda yakkiriza abasajja okuba n’omukyala asukka mu omu. Naye kati, nga Baibuli bw’eraga, omusajja alina kuba na mukyala omu yekka.

Olubereberye 29:1-30.

Ebibuuzo