Ebibuuzo eby’Okukozesa mu Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Ebibuuzo eby’Okukozesa mu Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Katonda Atandika Okutonda Ebintu
1. Ebintu ebirungi byonna byava wa, era waayo ekyokulabirako?
2. Kintu ki Katonda kye yasooka okutonda?
3. Lwaki malayika eyasooka yali wa njawulo?
4. Nnyonnyola engeri ensi gye yali efaananamu ku lubereberye. (Laba ekifaananyi.)
5. Katonda yateekateeka atya ensi esobole okubeerako ebisolo n’abantu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yeremiya 10:12.
Ngeri ki eza Katonda ezeeyolekera mu bitonde bye? (Is. 40:26; Bar. 11:33)
2. Soma Abakkolosaayi 1:15-17.
Yesu yalina kifo ki mu kutonda, era kino kyandituleetedde kumutunuulira tutya? (Bak. 1:15-17)
3. Soma Olubereberye 1:1-10.
(a) Ensi yava wa? (Lub. 1:1)
(b) Kiki ekyabaawo ku lunaku lw’okutonda olwasooka? (Lub. 1:3-5)
(c) Nnyonnyola ekyabaawo ku lunaku olw’okubiri olw’okutonda. (Lub. 1:7, 8)
Olusuku Olulabika Obulungi
1. Katonda yateekateeka atya ensi okuba amaka gaffe?
2. Bisolo ki eby’enjawulo Katonda bye yatonda? (Laba ekifaananyi.)
3. Lwaki olusuku Adeni lwali lwa njawulo?
4. Katonda yali ayagala ensi yonna efuuke ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 1:11-25.
(a) Katonda yatonda ki ku lunaku olw’okusatu olw’okutonda? (Lub. 1:12)
(b) Kiki ekyabaawo ku lunaku olw’okuna olw’okutonda? (Lub. 1:16)
(c) Bika ki eby’ensolo Katonda bye yatonda ku lunaku olw’okutaano n’olwomukaaga? (Lub. 1:20, 21, 25)
2. Soma Olubereberye 2:8, 9.
Miti ki ebiri egy’enjawulo Katonda gye yateeka mu lusuku, era gyali gikiikirira ki?
Omusajja n’Omukazi Abaasooka
1. Ekifaananyi ekiri mu Lugero 3 kyawukana kitya n’ekyo ekiri mu Lugero 2?
2. Ani yatonda omusajja eyasooka, era erinnya ly’omusajja oyo y’ani?
3. Mulimu ki Katonda gwe yawa Adamu okukola?
4. Lwaki Katonda yeebasa Adamu otulo otungi?
5. Adamu ne Kaawa bandibadde balamu kumala bbanga ki, era mulimu ki Yakuwa gwe yali ayagala bakole?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Zabbuli 83:18.
Erinnya lya Katonda y’ani, era alina kifo ki eky’enjawulo ku nsi? (Yer. 16:21; Dan. 4:17)
2. Soma Olubereberye 1:26-31.
(a) Kiki Katonda kye yasembayo okutonda ku lunaku olw’omukaaga, era kyawukana kitya ku bisolo? (Lub. 1:26)
(b) Kiki Yakuwa kye yawa abantu n’ebisolo? (Lub. 1:30)
3. Soma Olubereberye 2:7-25.
(a) Omulimu gwa Adamu ogw’okutuuma ebisolo amannya gwali guzingiramu ki? (Lub. 2:19)
(b) Olubereberye 2:24 lutuyamba lutya okuteegera endowooza ya Yakuwa ku bufumbo, okwawukana, era n’okugattululwa? (Mat. 19:4-6, 9)
Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe
1. Mu kifaananyi, kiki ekituuse ku Adamu ne Kaawa?
2. Lwaki Yakuwa yababonereza?
3. Kiki omusota kye gwagamba Kaawa?
4. Ani yakozesa omusota okwogera ne Kaawa?
5. Lwaki Adamu ne Kaawa baafiirwa amaka gaabwe agaali gafaanana obulungi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 2:16, 17 ne 3:1-13, 24.
(a) Ekibuuzo omusota gwe kyabuuza Kaawa kyawa kitya ekifaananyi ekikyamu ku Yakuwa? (Lub. 3:1-5; 1 Yok. 5:3)
(b) Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Kaawa? (Baf. 4:8; Yak. 1:14, 15; 1 Yok. 2:16)
(c) Mu ngeri ki Adamu ne Kaawa gye batakkiriza nsobi zaabwe? (Lub. 3:12, 13)
(d) Bakerubi be baateeka ebuvanjuba w’olusuku Adeni baalaga batya nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa? (Lub. 3:24)
2. Soma Okubikkulirwa 12:9.
Setaani atuuse wa mu kukyusa abantu okubajja ku bufuzi bwa Katonda? (1 Yok. 5:19)
Obulamu Obuzibu Butandika
1. Adamu ne Kaawa baali mu bulamu bwa ngeri ki nga bali ebweru w’olusuku Adeni?
2. Kiki ekyatandika okutuuka ku Adamu ne Kaawa, era lwaki?
3. Lwaki abaana ba Adamu ne Kaawa baali ba kukaddiwa ate era bafe?
4. Singa Adamu ne Kaawa baali bagondedde Yakuwa, bo n’abaana baabwe bandibadde mu bulamu ki?
5. Obujeemu bwa Kaawa bwamuleetera butya obulumi?
6. Abaana ba Adamu ne Kaawa abasooka be baani?
7. Baana ki abalala abali mu kifaananyi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 3:16-23 ne 4:1, 2.
(a) Okukolimira ensi kwakwata kutya ku bulamu bwa Adamu? (Lub. 3:17-19; Bar. 8:20, 22)
(b) Lwaki erinnya Kaawa, eritegeeza “Omulamu,” lyali lisaanira? (Lub. 3:20)
(c) Yakuwa yafaayo atya ku Adamu ne Kaawa wadde nga bamaze okwonoona? (Lub. 3:7, 21)
2. Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.
Bintu ki ‘eby’olubereberye’ bye weesunga okulaba nga bimalibwaawo?
Omwana Omulungi, n’Omwana Omubi
1. Mirimu ki Kayini ne Abeeri gye baali bakola?
2. Birabo ki Kayini ne Abeeri bye bawa Yakuwa?
3. Lwaki Yakuwa asanyukira ekirabo kya Abeeri, ate n’atasanyukira kya Kayini?
4. Kayini muntu wa ngeri ki, era Yakuwa agezaako atya okumuwabula?
5. Kiki Kayini ky’akola ng’ali ne muganda we mu nnimiro?
6. Nnyonnyola ekyatuuka ku Kayini ng’amaze okutta muganda we.
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 4:2-26.
(a) Yakuwa yayogera atya ku ndowooza enkyamu Kayini gye yalina? (Lub. 4:7)
(b) Kayini yalaga atya ekiri mu mutima gwe? (Lub. 4:9)
(c) Yakuwa atunuulira atya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango? (Lub. 4:10; Is. 26:21)
2. Soma 1 Yokaana 3:11, 12.
(a) Lwaki Kayini yasunguwala, era kino tukiyigirako ki leero? (Lub. 4:4, 5; Nge. 14:30; 28:22)
(b) Baibuli eraga etya nti wadde ng’ab’omu maka gaffe bayinza okukyawa Yakuwa, tusobola okusigala nga tuli beesigwa? (Zab. 27:10; Mat. 10:21, 22)
3. Soma Yokaana 11:25.
Bukakafu ki Yakuwa bwawa abo bonna abafa olw’obutuukirivu? (Yok. 5:24)
Omusajja Omuzira
1. Mu ngeri ki Enoka gye yali ow’enjawulo?
2. Lwaki abantu baakola ebintu ebibi bingi mu nnaku za Enoka?
3. Bintu ki ebibi abantu bye baali bakola? (Laba ekifaananyi.)
4. Lwaki Enoka kyali kimwetaagisa okuba omuzira?
5. Abantu baawangaalanga bbanga ki mu biseera ebyo, naye Enoka yawangaala bbanga ki?
6. Kiki ekyabaawo nga Enoka amaze okufa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 5:21-24, 27.
(a) Enoka yalina nkolagana ki ne Yakuwa? (Lub. 5:24)
(b) Okusinziira ku Baibuli, muntu ki eyali abaddewo eyasinga okuwangaala, era yalina emyaka emeka we yafiira? (Lub. 5:27)
2. Soma Olubereberye 6:5.
Embeera yayonooneka etya ku nsi oluvannyuma lw’okufa kwa Enoka, era tugigeraageranya tutya n’ekiseera kyaffe? (2 Tim. 3:13)
3. Soma Abebbulaniya 11:5.
Kiki Enoka kye yakola ‘ekyasanyusa Katonda,’ era kiki ekyavaamu? (Lub. 5:22)
4. Soma Yuda 14, 15.
Leero Abakristaayo bayinza batya okukoppa obuvumu bwa Enoka nga balabula abantu ku lutalo Kalumagedoni olugenda okujja? (2 Tim. 4:2; Beb. 13:6)
Abantu Abawagguufu mu Nsi
1. Kiki ekyabaawo abamu ku bamalayika ba Katonda bwe baawuliriza Setaani?
2. Lwaki bamalayika abamu baaleka emirimu gyabwe mu ggulu ne bajja ku nsi?
3. Lwaki kyali kikyamu bamalayika okujja ku nsi era n’okweyambaza emibiri gy’abantu?
4. Abaana ba bamalayika baali ba njawulo mu ngeri ki?
5. Nga bw’oyinza okulaba mu kifaananyi, abaana ba bamalayika baakola ki bwe baawagguuka?
6. Oluvannyuma lwa Enoka, musajja ki omulungi eyaliwo ku nsi, era lwaki Katonda yamwagala?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 6:1-8.
Olubereberye 6:6 lulaga lutya engeri enneeyisa yaffe gy’eyinza okukwata ku nneewulira ya Yakuwa? (Zab. 78:40, 41; Nge. 27:11)
2. Soma Yuda 6.
Bamalayika ‘abataakuuma bifo byabwe’ mu kiseera kya Nuuwa tubayigirako ki? (1 Kol. 3:5-9; 2 Peet. 2:4, 9, 10)
Nuuwa Azimba Eryato
1. Bameka abaali mu maka ga Nuuwa, era batabani be abasatu be baani?
2. Kintu ki ekitaali kya bulijjo Katonda kye yagamba Nuuwa okukola, era lwaki?
3. Baliraanwa ba Nuuwa baakola ki bwe yabategeeza ebikwata ku lyato?
4. Kiki Katonda kye yagamba Nuuwa okukola ku bikwata ku bisolo?
5. Oluvannyuma lwa Katonda okuggalawo oluggi lw’eryato, Nuuwa n’ab’omu maka ge baalina kukola ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 6:9-22.
(a) Kiki ekyafuula Nuuwa okuba omusinza wa Katonda ow’enjawulo? (Lub. 6:9, 22)
(b) Yakuwa atunuuliira atya ettemu, era kino kyanditukutteko kitya nga tulondawo eby’okwesanyusaamu? (Lub. 6:11, 12; Zab. 11:5)
(c) Tuyinza tutya okukoppa Nuuwa bwe tufuna obulagirizi okuyitira mu ntegeka ya Yakuwa? (Lub. 6:22; 1 Yok. 5:3)
2. Soma Olubereberye 7:1-9.
Eky’okuba nti Yakuwa yatunuulira Nuuwa ng’omuntu omutukirivu wadde nga yali tatuukiridde, kituzaamu kitya amaanyi? (Lub. 7:1; Nge. 10:16; Is. 26:7)
Amataba ag’Amaanyi
1. Lwaki tewali n’omu yali ayinza kuyingira mu lyato ng’enkuba etandise okutonnya?
2. Yakuwa yatonnyessa enkuba kumala bbanga ki, era amazzi gaatuuka wa?
3. Kiki ekyatuuka ku lyato ng’amazzi gagenda geeyongera ku nsi?
4. Abantu abawagguufu baawonawo ku Mataba, era kiki ekyatuuka ku bataata baabwe?
5. Kiki ekyatuuka ku lyato nga wayiseewo emyezi etaano?
6. Lwaki Nuuwa yafulumya nnamuŋŋoona wabweru w’eryato?
7. Nuuwa yamanya atya nti amazzi gaali gakendedde ku nsi?
8. Kiki Katonda kye yagamba Nuuwa n’ab’omu maka ge oluvannyuma lw’okubeera mu lyato ebbanga erisukka mu mwaka gumu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 7:10-24.
(a) Okuzikirizibwa kw’ebiramu ku nsi kwatuuka wa? (Lub. 7:23)
(b) Kyatwala bbanga ki amazzi g’Amataba okukendeera? (Lub. 7:24)
2. Soma Olubereberye 8:1-17.
Olubereberye 8:17 lulaga lutya nti ekigendererwa Yakuwa kye yalina eri ensi ku lubereberye tekyakyuka? (Lub. 1:22)
3. Soma 1 Peetero 3:19, 20.
(a) Bamalayika abajeemu bwe baddayo mu ggulu, musango ki ogw’abasalirwa? (Yuda 6)
(b) Ebyogerwa ku Nuuwa n’ab’omu maka ge bitukakasa bitya nti Yakuwa asobola okuwonya abantu be? (2 Peet. 2:9)
Musoke Eyasooka
1. Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, kiki Nuuwa kye yakola nga yakava mu lyato?
2. Kiragiro ki Katonda kye yawa Nuuwa n’ab’omu maka ge oluvannyuma lw’Amataba?
3. Kiki Katonda kye yasuubiza?
4. Bwe tulaba musoke, kiki kye yanditujjukizza?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 8:18-22.
(a) Leero tuyinza tutya okuwa Yakuwa “evvumbe eddungi”? (Lub. 8:21; Beb. 13:15, 16)
(b) Kiki Yakuwa kye yalaba ku mbeera y’omutima gw’omuntu, n’olwekyo twandyegendereza ki? (Lub. 8:21; Mat. 15:18, 19)
2. Soma Olubereberye 9:9-17.
(a) Ndagaano ki Yakuwa gye yakola n’ebitonde byonna eby’oku nsi? (Lub. 9:10, 11)
(b) Endagaano ya musoke erimala bbanga ki? (Lub. 9:16)
Abantu Bazimba Omunaala Omuwanvu
1. Nimuloodi ye yali ani, era Katonda yamutwala atya?
2. Mu kifaananyi ekyo, lwaki abantu baali bakola amatofaali?
3. Lwaki Yakuwa teyasanyukira mulimu ogwo ogw’okuzimba?
4. Katonda yayimiriza atya omulimu gw’okuzimba omunaala?
5. Ekibuga kyali kiyitibwa kitya, era erinnya eryo lyali litegeeza ki?
6. Kiki ekyatuuka ku bantu nga Katonda atabuddetabudde ennimi zaabwe?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 10:1, 8-10.
Nimuloodi yeeyisa atya, era tukiyigirako ki? (Nge. 3:31)
2. Soma Olubereberye 11:1-9.
Abantu baalina kiruubirirwa ki okuzimba omunaala, era lwaki omulimu ogwo gwandigudde butaka? (Lub. 11:4; Nge. 16:18; Yok. 5:44)
Ibulayimu—Mukwano gwa Katonda
1. Bantu ba ngeri ki abaali babeera mu kibuga Uli?
2. Omusajja ali mu kifaananyi y’ani, yazaalibwa ddi, era yali abeera wa?
3. Kiki Katonda kye yagamba Ibulayimu okukola?
4. Lwaki Ibulayimu yayitibwa mukwano gwa Katonda?
5. Ibulayimu yagenda n’ani ng’avudde mu Uli?
6. Ibulayimu bwe yatuuka mu nsi ye Kanani Katonda yamugamba ki?
7. Kiki Katonda kye yasuubiza Ibulayimu ng’awezezza emyaka 99?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 11:27-32.
(a) Ibulayimu ne Lutti baalina luganda lwa ngeri ki? (Lub. 11:27)
(b) Wadde kigambibwa nti Teera ye yatwala amaka ge e Kanani, tumanya tutya nti ddala Ibulayimu ye yawoma omutwe mu lugendo luno, era lwaki yakikola? (Lub. 11:31; Bik. 7:2-4)
2. Soma Olubereberye 12:1-7.
Yakuwa yagaziya atya endagaano gye yakola ne Ibulayimu ng’amaze okutuuka mu nsi ye Kanani? (Lub. 12:7)
3. Soma Olubereberye 17:1-8, 15-17.
(a) Ibulaamu yafuna linnya ki eddala ng’awezezza emyaka 99, era lwaki? (Lub. 17:5)
(b) Mikisa ki Yakuwa gye yasuubiza Saala mu biseera eby’omu maaso? (Lub. 17:15, 16)
4. Soma Olubereberye 18:9-19.
(a) Mu Olubereberye 18:19, buvunaanyizibwa ki bataata bwe balina? (Ma. 6:6, 7; Bef. 6:4)
(b) Kiki Saala kye yakola ekiraga nti tetulina kye tuyinza kukweka Yakuwa? (Lub. 18:12, 15; Zab. 44:21)
Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
1. Kiki Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, era yakituukiriza atya?
2. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, Katonda yagezesa atya okukkiriza kwa Ibulayimu?
3. Ibulayimu yakola ki, wadde yali tamanyi nsonga lwaki Katonda yamuwa ekiragiro ekyo?
4. Kiki ekyabaawo nga Ibulayimu asowoddeyo ekiso okutta omwana we?
5. Okukkiriza Ibulayimu kwe yalina mu Katonda kwali kunywevu kwenkana wa?
6. Kiki Katonda kye yawa Ibulayimu okuwaayo nga ssaddaaka, era yakimuwa atya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 21:1-7.
Lwaki Ibulayimu yakomola mutabani we ku lunaku olw’omunaana? (Lub. 17:10-12; 21:4)
2. Soma Olubereberye 22:1-18.
Isaaka yalaga atya obuwulize eri kitaawe, Ibulayimu, era kino kyasonga kitya ku kintu ekisingawo obukulu mu biseera eby’omu maaso? (Lub. 22:7-9; 1 Kol. 5:7; Baf. 2:8, 9)
Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega
1. Lwaki Ibulayimu ne Lutti baayawukana?
2. Lwaki Lutti yalondawo okubeera mu Sodomu?
3. Abantu b’omu Sodomu baali beeyisa batya?
4. Kulabula ki bamalayika ababiri kwe baawa Lutti?
5. Lwaki mukyala wa Lutti yafuuka empagi y’omunnyo?
6. Kiki kye tuyigira ku mukyala wa Lutti?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 13:5-13.
Ku bikwata ku kugonjoola ebizibu, kiki kye tuyigira ku Ibulayimu? (Lub. 13:8, 9; Bar. 12:10; Baf. 2:3, 4)
2. Soma Olubereberye 18:20-33.
Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Ibulayimu etukakasa etya nti Yakuwa ne Yesu bajja kusala emisango mu butuukirivu? (Lub. 18:25, 26; Mat. 25:31-33)
3. Soma Olubereberye 19:1-29.
(a) Ennyiriri zino ziraga zitya engeri Yakuwa gy’atunuuliramu okulya ebisiyaga? (Lub. 19:5, 13; Leev. 20:13)
(b) Engeri Lutti ne Ibulayimu gye beeyisaamu nga Yakuwa abawadde obulagirizi eyawukana etya, era kino kituyigiriza ki? (Lub. 19:15, 16, 19, 20; 22:3)
4. Soma Lukka 17:28-32.
Mukyala wa Lutti yalina ndowooza ki ku by’obugagga, era kino tukiyigirako ki? (Luk. 12:15; 17:31, 32; Mat. 6:19-21, 25)
5. Soma 2 Peetero 2:6-8.
Okufaananako Lutti, twandibadde na ndowooza ki eri ensi etwetoolodde etetya Katonda? (Ez. 9:4; 1 Yok. 2:15-17)
Isaaka Afuna Omukyala Omulungi
1. Omusajja n’omukazi abali mu kifaananyi be baani?
2. Ibulayimu yakola ki okusobola okufunira mutabani we omukyala, era lwaki?
3. Essaala y’omuweereza wa Ibulayimu yaddibwamu etya?
4. Lebbeeka bwe baamubuuza oba ng’ayagala okufumbirwa Isaaka, yaddamu atya?
5. Kiki ekyasanyusa Isaaka nate?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 24:1-67.
(a) Ngeri ki ennungi Lebbeeka ze yayoleka ng’asisinkanye omuweereza wa Ibulayimu ku luzzi? (Lub. 24:17-20; Nge. 31:17, 31)
(b) Kiki Abakristaayo leero kye bayigira ku ekyo Ibulayimu kye yakolera Isaaka? (Lub. 24:37, 38; 1 Kol. 7:39; 2 Kol. 6:14)
(c) Lwaki twandifunye ekiseera eky’okufumiitiriza nga Isaaka bwe yakola? (Lub. 24:63; Zab. 77:12; Baf. 4:8)
Abalongo Abaali ab’Enjawulo
1. Esawu ne Yakobo be baali baani, era baali ba njawulo batya?
2. Esawu ne Yakobo baalina emyaka emeka jjajjaabwe Ibulayimu we yafiira?
3. Kiki Esawu kye yakola ekyanakuwaza ennyo nnyina ne kitaawe?
4. Lwaki Esawu yasunguwalira nnyo muganda we, Yakobo?
5. Kiragiro ki Isaaka kye yawa mutabani we Yakobo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 25:5-11, 20-34.
(a) Kiki Yakuwa kye yalagula ku bikwata ku batabani ba Lebbeeka ababiri? (Lub. 25:23)
(b) Engeri Yakobo ne Esawu gye baatunuuliramu eby’obusika eyawukana etya?
2. Soma Olubereberye 26:34, 35; 27:1-46; ne 28:1-5.
(a) Esawu yakyoleka atya nti yali tasiima bintu eby’eby’omwoyo?
(b) Isaaka yagamba Yakobo kukola ki okusobola okufuna emikisa gya Katonda? (Lub. 28:1-4)
3. Soma Abaebbulaniya 12:16, 17.
Eky’okulabirako kya Esawu kiraga kitya ebituuka ku abo abannyooma ebintu ebitukuvu?
Yakobo Agenda e Kalani
1. Omuwala omuto mu kifaananyi y’ani, era Yakobo yamukolera kiki?
2. Yakobo yali mwetegefu kukola ki okusobola okuwasa Laakeeri?
3. Kiki Labbaani kye yakola ng’ekiseera kituuse Yakobo okuwasa Laakeeri?
4. Kiki Yakobo kye yakkiriza okukola okusobola okufuna Laakeeri nga mukyala we?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 29:1-30.
(a) Wadde nga Labbaani teyatuukiriza kye yamusuubiza mu kusooka, Yakobo yeewa atya ekitiibwa, era kino tukiyigirako ki? (Lub. 25:27; 29:26-28; Mat. 5:37)
(b) Ekyokulabirako kya Yakobo kiraga kitya enjawulo wakati w’okwagala okwa nnamaddala n’okwakatinko? (Lub. 29:18, 20, 30; Luk. 8:6)
(c) Bakyala ki abana abaafuuka ab’omu maka ga Yakobo era oluvannyuma ne bamuzaalira n’abaana ab’obulenzi? (Lub. 29:23, 24, 28, 29)
Yakobo Afuna Amaka Amanene
1. Batabani ba Yakobo omukaaga be yazaala mu mukazi we eyasooka Leeya, be baani?
2. Baana ki ababiri ab’obulenzi omuzaana wa Leeya Zirupa be yazaalira Yakobo?
3. Abaana ab’obulenzi ababiri omuzaana wa Laakeeri Biira be yazaalira Yakobo be baani?
4. Baana ki ababiri ab’obulenzi Laakeeri be yazaala, naye kiki ekyabaawo ng’omwana ow’okubiri azaaliddwa?
5. Okusinzira ku kifaananyi, Yakobo yalina abalenzi bameka, era baavaamu ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 29:32-35; 30:1-26; ne Olubereberye 35:16-19.
Nga bwe kyali eri batabani ba Yakobo 12, abaana ab’obulenzi Abaebbulaniya baatuumibwanga batya amannya mu biseera eby’edda?
2. Soma Olubereberye 37:35.
Wadde nga Dina yekka yayogerwako mu Baibuli, tumanya tutya nti Yakobo yalina abawala abasukka mu omu? (Lub. 37:34, 35)
Dina Agwa mu Mitawaana
1. Lwaki Ibulayimu ne Isaaka baali tebaagala baana baabwe kuwasa mu bantu b’e Kanani?
2. Yakobo yasemba muwala we okukola emikwano n’abawala ab’omu Kanani?
3. Omusajja atunuulidde Dina mu kifaananyi y’ani, era kintu ki ekibi kye yakola?
4. Bannyina ba Dina, Simyoni ne Leevi baakola ki nga bawulidde ekyali kibaddewo?
5. Yakobo yakkiriziganya n’ekyo Simyoni ne Leevi kye baali bakoze?
6. Omutawaana ogwo gwajjawo gutya mu maka?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 34:1-31.
(a) Dina yakolagana n’abawala b’omu Kanani omulundi gumu gwokka? Nnyonnyola. (Lub. 34:1)
(b) Lwaki Dina naye yali avunaanyizibwa olw’ekyo ekyamutuukako? (Bag. 6:7)
(c) Abato leero bayinza kukiraga batya nti balina kye bayigidde ku ekyo ekyatuuka ku Dina? (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33; 1 Yok. 5:19)
Baganda ba Yusufu Bamukyawa
1. Lwaki baganda ba Yusufu baamukwatirwa obugya, era baakola ki?
2. Baganda ba Yusufu baagala kumukola ki, naye Lewubeeni abagamba ki?
3. Kiki ekibaawo ng’abasajja Abaisimaeri bayitawo?
4. Baganda ba Yusufu baakola ki okusobola okuloowozesa kitaabwe nti Yusufu afudde?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 37:1-35.
(a) Abakristaayo bayinza batya okukoppa Yusufu ku bikwata ku kuloopa ebibi ebikolebwa mu kibiina? (Lub. 37:2; Leev. 5:1; 1 Kol. 1:11)
(b) Kiki ekyaleetera baganda ba Yusufu okumuyisa obubi? (Lub. 37:11, 18; Nge. 27:4; Yak. 3:14-16)
(c) Kiki Yakobo kye yakola ekitera okubaawo ng’omuntu afudde? (Lub. 37:35)
Yusufu Ateekebwa mu Kkomera
1. Yusufu alina emyaka emeka we bamutwalira e Misiri, era kiki ekibaawo ng’atuuseeyo?
2. Kiki ekireetera Yusufu okuteekebwa mu kkomera?
3. Buvunaanyizibwa ki obuweebwa Yusufu mu kkomera?
4. Ng’ali mu kkomera, kiki Yusufu kyakolera omusenero n’omufumbiro wa Falaawo?
5. Kiki ekibaawo ng’omusenero asumuluddwa okuva mu kkomera?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 39:1-23.
Okuva bwe kiri nti tewaaliwo tteeka lya Katonda mu buwandiike erivumirira obwenzi mu biseera bya Yusufu, kiki ekyamuwaliriza okudduka ku mukyala wa Potifali? (Lub. 2:24; 20:3; 39:9)
2. Soma Olubereberye 40:1-23.
(a) Mu bufunze, nnyonnyola ekirooto ky’omusenero n’amakulu gaakyo Yakuwa ge yawa Yusufu. (Lub. 40:9-13)
(b) Kirooto ki omufumbiro kye yalina, era kyali kitegeeza ki? (Lub. 40:16-19)
(c) Mu ngeri ki omuddu omwesigwa era ow’amagezi gy’ayoleseemu endowooza ya Yusufu leero? (Lub. 40:8; Zab. 36:9; Yok. 17:17; Bik. 17:2, 3)
(d) Olubereberye 40:20 lututangaaza lutya ku ngeri Abakristaayo gye banditunuuliddemu amazaalibwa leero? (Mub. 7:1; Mak. 6:21-28)
Ebirooto bya Falaawo
1. Kiki ekituuka ku Falaawo ekiro kimu?
2. Lwaki omusenero ajjukira Yusufu oluvannyuma?
3. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, birooto ki ebibiri Falaawo by’afuna?
4. Yusufu agamba nti ebirooto bitegeeza ki?
5. Yusufu afuuka atya omusajja omukulu addirira Falaawo mu Misiri?
6. Lwaki baganda ba Yusufu bajja e Misiri, era lwaki tebamutegeera?
7. Kirooto ki Yusufu ky’ajjukira, era kimuyamba kutegeera ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 41:1-57.
(a) Yusufu yagulumiza atya Yakuwa, era Abakristaayo leero bayinza kukoppa batya eky’okulabirako kye? (Lub. 41:16, 25, 28; Mat. 5:16; 1 Peet. 2:12)
(b) Mu ngeri ki emyaka egy’ekyengera n’emyaka egy’enjala mu Misiri gye giraga enjawulo eriwo wakati w’embeera ey’eby’omwoyo abantu ba Yakuwa gye balina leero n’eyo eya Kristendomu? (Lub. 41:29, 30; Am. 8:11, 12)
2. Soma Olubereberye 42:1-8 ne 50:20.
Kikyamu abasinza ba Yakuwa okuvvunamira omuntu olw’ekifo eky’ekitiibwa ky’alina singa empisa bw’etyo bw’eba mu nsi? (Lub. 42:6)
Yusufu Agezesa Baganda Be
1. Lwaki Yusufu agamba baganda be nti bakessi?
2. Lwaki Yakobo akkiriza Benyamini mutabani we asembayo obuto, okugenda e Misiri?
3. Ekikopo kya Yusufu ekya ffeeza kyajja kitya okubeera mu nsawo ya Benyamini?
4. Yuda yasaba kumukola ki mu kifo kya Benyamini okusigala mu Misiri?
5. Baganda ba Yusufu bakyuse batya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 42:9-38.
Yusufu bye yayogera mu Olubereberye 42:18 bijjukiza ki abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Yakuwa leero? (Nek. 5:15; 2 Kol. 7:1, 2)
2. Soma Olubereberye 43:1-34.
(a) Wadde nga Lewubeeni ye yali omwana omubereberye, kyeyoleka kitya nti Yuda ye yali omwogezi wa baganda be? (Lub. 43:3, 8, 9; 44:14, 18; 1 Byom. 5:2)
(b) Yusufu yagezesa atya baganda be, era lwaki? (Lub. 43:33, 34)
3. Soma Olubereberye 44:1-34.
(a) Nga agezaako okulemesa baganda be okumutegeera, Yusufu yeefuula kuba ani? (Lub. 44:5, 15; Leev. 19:26)
(b) Baganda ba Yusufu baakyoleka batya nti obuggya bwe baalina okusooka eri muganda waabwe baali tebakyabulina? (Lub. 44:13, 33, 34)
Amaka Gagenda e Misiri
1. Kiki ekibaawo nga Yusufu yeemanyisizza eri baganda be?
2. Kiki Yusufu kyannyonnyola baganda be mu ngeri ey’ekisa?
3. Falaawo agamba ki bw’awulira nti baganda ba Yusufu bazze?
4. Amaka ga Yakobo gaali gafuuse manene kwenkana wa bwe gaasengukira e Misiri?
5. Ab’omu maka ga Yakobo baatandika kuyitibwa batya, era lwaki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Olubereberye 45:1-28.
Ebikwata ku Yusufu ebiri mu Baibuli biraga bitya nti ekyo ekyandiviiriddeko abaweereza be akabi Yakuwa asobola okukikyusa ne kivaamu ebirungi? (Lub. 45:5-8; Is. 8:10; Baf. 1:12-14)
2. Soma Olubereberye 46:1-27.
Yakuwa yagumya atya Yakobo ng’agenda e Misiri? (Lub. 46:1-4)
Yobu Mwesigwa eri Katonda
1. Yobu ye yali ani?
2. Kiki setaani kye yagezaako okukola, naye yasobola okukikola?
3. Yakuwa yakkiriza Setaani kukola ki, era lwaki?
4. Lwaki mukyala wa Yobu yamugamba ‘okukolimira Katonda afe’? (Laba ekifaananyi.)
5. Nga bw’olaba mu kifaananyi eky’okubiri, Yakuwa yawa atya Yobu emikisa, era lwaki?
6. Singa naffe, okufaananako Yobu, tubeera beesigwa eri Yakuwa, mikisa ki gye tujja okufuna?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yobu 1:1-22.
Abakristaayo bayinza batya okukoppa Yobu leero? (Yobu 1:1; Baf. 2:15; 2 Peet. 3:14)
2. Soma Yobu 2:1-13.
Engeri Yobu ne mukyala we gye beeyisaamu nga setaani abayigganya eyawukana etya? (Yobu 2:9, 10; Nge. 19:3; Mi. 7:7; Mal. 3:14)
3. Soma Yobu 42:10-17.
(a) Kufaanagana ki okuliwo wakati w’emikisa Yobu gye yafuna n’egyo Yesu gye yafuna olw’okubeera omwesigwa? (Yobu 42:12; Baf. 2:9-11)
(b) Yobu okuba nti yafuna emikisa olw’okubeera omwesigwa eri Katonda kituzzaamu kitya amaanyi? (Yobu 42:10, 12; Beb. 6:10; Yak. 1:2-4, 12; 5:11)
Kabaka Omubi Afuga Misiri
1. Mu kifaananyi, musajja ki oyo akutte omuggo, era akuba ani?
2. Oluvannyuma lwa Yusufu okufa, kiki ekyatuuka ku Baisiraeri?
3. Lwaki Abamisiri baatya Abaisiraeri?
4. Kiragiro ki Falaawo kye yawa abakazi abaali bayamba abakazi Abaisiraeri okuzaala?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 1:6-22.
(a) Mu ngeri ki Yakuwa gye yatandika okutuukiriza ebisuubizo bye eri Ibulayimu? (Kuv. 1:7; Lub. 12:2; Bik. 7:17)
(b) Abakyala abazaalisa Abaebbulaniya baalaga batya nti bassa ekitiibwa mu bulamu? (Kuv. 1:17; Lub. 9:6)
(c) Yakuwa yasasula ki abakyala abazaalisa olw’obwesigwa bwabwe? (Kuv. 1:20, 21; Nge. 19:17)
(d) Mu ngeri ki Setaani gye yagezaako okuziyiza ekigendererwa kya Katonda ku bikwata ku zzadde essuubize erya Ibulayimu? (Kuv. 1:22; Mat. 2:16)
Engeri Musa Omuto Gye Yawonyezebwamu
1. Omwana omuto mu kifaananyi y’ani, era lugalo lwani lw’akutte?
2. Kiki maama wa Musa kye yakola okusobola okuwonya omwana we baleme kumutta?
3. Omuwala omuto mu kifaananyi y’ani, era kiki kye yakola?
4. Muwala wa Falaawo bwe yalaba omwana, Miryamu yamugamba ki?
5. Kiki omumbejja kye yagamba maama wa Musa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 2:1-10.
Maama wa Musa yafuna mukisa ki okutendeka n’okuyigiriza Musa okuva mu buwere, era kino kiteerawo abazadde kyakulabirako ki leero? (Kuv. 2:9, 10; Ma. 6:6-9; Nge. 22:6; Bef. 6:4; 2 Tim. 3:15)
Ensonga Lwaki Musa Yadduka
1. Musa yakulira wa, naye kiki kye yali amannyi ku bazadde be?
2. Kiki Musa kye yakola ng’awezezza emyaka 40?
3. Kiki Musa kye yagamba omusajja Omuisiraeri eyali alwana, naye omusajja yamuddamu atya?
4. Lwaki Musa yadduka okuva e Misiri?
5. Musa yaddukira wa, era ani gwe yasisinkana?
6. Kiki Musa kye yakola mu myaka 40 oluvannyuma lw’okudduka e Misiri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 2:11-25.
Wadde nga Musa yali amaze emyaka ng’atendekebwa mu magezi g’Abamisiri, yalaga atya nti mwesigwa eri Yakuwa n’abantu be? (Kuv. 2:11, 12; Beb. 11:24)
2. Soma Ebikolwa 7:22-29.
Musa okugezaako okununula Abaisiraeri okuva e Misiri ku lulwe tukiyigirako ki? (Bik. 7:23-25; 1 Peet. 5:6, 10)
Ekisaka Ekyaka
1. Olusozi oluli mu kifaananyi luyitibwa lutya?
2. Nnyonnyola ekintu ekitali kya bulijjo Musa kye yalaba ng’agenze ku lusozi n’endiga ze.
3. Eddoboozi eryava mu kisaka lyagamba litya, era lyali ddoboozi ly’ani?
4. Musa yaddamu atya Katonda bwe yamugamba nti agenda kumutuma akulembere abantu be okuva mu Misiri?
5. Kiki Katonda kye yagamba Musa okwogera singa abantu bamubuuza ani amutumye?
6. Musa yandisobodde atya okukakasa abantu nti Katonda ye yali amutumye?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 3:1-22.
Ekyokulabirako kya Musa kitukakasa kitya nti wadde nga tuwulira ng’abatalina bisaanyizo okutuukiriza omulimu Katonda gw’aba atukwasizza, Yakuwa ajja kutuyamba? (Kuv. 3:11, 13; 2 Kol. 3:5, 6)
2. Soma Okuva 4:1-20.
(a) Endowooza ya Musa yakyuka etya mu myaka 40 gye yamala e Midiyani, era abo abaagala okufuna enkizo mu kibiina bayinza kukiyigirako ki? (Kuv. 2:11, 12; 4:10, 13; Mi. 6:8; 1 Tim. 3:1, 6, 10)
(b) Bwe tuba tukangavuddwa Yakuwa okuyitira mu kibiina, eky’okulabirako kya Musa kituzzaamu kitya amaanyi? (Kuv. 4:12-14; Zab. 103:14; Beb. 12:4-11)
Musa ne Alooni Balaba Falaawo
1. Eby’amagero Musa ne Alooni bye baakola byakwata bitya ku Baisiraeri?
2. Kiki Musa ne Alooni kye baagamba Falaawo, era Falaawo yaddamu ki?
3. Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, kiki ekyabaawo Alooni bwe yasuula omuggo wansi?
4. Yakuwa yayigiriza atya Falaawo essomo, era Falaawo yakolawo ki?
5. Kiki ekyabaawo oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’ekkumi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 4:27-31 ne 5:1-23.
Kiki Falaawo kye yali ategeeza bwe yagamba nti, ‘Yakuwa y’ani’? (Kuv. 5:2; 1 Sam. 2:12; Bar. 1:21)
2. Soma Okuva 6:1-13, 26-30.
(a) Mu ngeri ki gye kiri nti Yakuwa teyeemanyisa eri Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo? (Kuv. 3:13, 14; 6:3; Lub. 12:8)
(b) Tuwulira tutya bwe tumanya nti Yakuwa yeeyongera okukozesa Musa wadde nga Musa yali awulira nti tasobola kukola mulimu ogwali gumuweereddwa? (Kuv. 6:12, 30; Luk. 21: 3-15)
3. Soma Okuva 7:1-13.
(a) Kyakulabirako ki Musa ne Alooni kye baateerawo abaweereza ba Katonda leero bwe bategeeza Falawo mu ngeri ey’obuvumu omusango Yakuwa gwe yali amusalidde? (Kuv. 7:2, 3, 6; Bik. 4:29-31)
(b) Yakuwa yalaga atya bwali ow’amaanyi ennyo okusinga bakatonda b’e Misiri? (Kuv. 7:12; 1 Byom. 29:12)
Ebibonyoobonyo 10
1. Ng’okozesa ebifaananyi ebiragiddwa wano, nnyonnyola ebibonyoobonyo ebisatu Yakuwa bye yasooka okuleeta ku Misiri?
2. Njawulo ki eriwo wakati w’ebibonyoobonyo ebisatu ebyasooka n’ebirala byonna ebyaddirira?
3. Ekibonyoobonyo eky’okuna, eky’okutaano, n’eky’omukaaga bye biruwa?
4. Nnyonnyola ekibonyoobonyo eky’omusanvu, eky’omunaana, n’eky’omwenda.
5. Kiki Yakuwa kye yagamba Abaisiraeri okukola ng’ekibonyoobonyo eky’ekkumi tekinnabaawo?
6. Ekibonyoobonyo eky’ekkumi kye kiruwa, era kiki ekyabaawo oluvannyuma lwakyo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 7:19-8:23.
(a) Wadde ng’abasajja abagezigezi ab’e Misiri baasobola okukola eby’amagero ebifaanaganira ddala n’ebibonyoobonyo ebibiri ebyasooka, kiki kye baawalirizibwa okutegeera oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’okusatu? (Kuv. 8:18, 19; Mat. 12:24-28)
(b) Ekibonyoobonyo eky’okuna kyalaga kitya nti Yakuwa alina obusobozi obw’okukuuma abantu be, era okumanya kino kireetera abantu ba Katonda kuwulira batya nga boolekera “ekibonyoobonyo ekinene”?
2. Soma Okuva 8:24; 9:3, 6, 10, 11, 14, 16, 23-25 ne Okuva 10:13-15, 21-23.
(a) Bibinja ki ebibiri eby’abantu ebyafeebezebwa ebibonyoobonyo ekkumi, era ekyo kikwata kitya ku ngeri gye tutunuuliramu ebibinja ebyo? (Kuv. 8:10, 18, 19; 9:14)
(b) Okuva 9:16 lutuyamba lutya okutegeera ensonga lwaki Yakuwa aleseewo Setaani okutuusa leero? (Bar. 9:21, 22)
3. Soma Okuva 12:21-32.
Okuyitako kwasobozesa kutya bangi okufuna obulokozi, era kwali kusonga ku ki? (Kuv. 12:21-23; Yok. 1:29; Bar. 5:18, 19, 21; 1 Kol. 5:7)
Okusomoka Ennyanja Emmyufu
1. Abasajja abaisiraeli, abakazi awamu n’abaana abaava e Misiri baali bameka, era baani abaavaayo n’abo?
2. Falaawo yawulira atya oluvannyuma lw’okuleka Abaisiraeri okugenda, era yakola ki?
3. Kiki Yakuwa kye yakola okuziyiza Abamisiri okulumba abantu be?
4. Kiki ekyabaawo Musa bwe yagolola omugo gwe ku Nnyanja Emmyufu, era Abaisiraeri baakola ki?
5. Kiki ekyabaawo Abamisiri bwe baayingira mu nnyanja nga bawondera Abaisiraeri?
6. Abaisiraeri baalaga batya nti basanyufu era nti basiima Yakuwa olw’okubanunula?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 12:33-36.
Yakuwa yakakasa atya nti abantu be basasulwa olw’emyaka gye baamala nga bakola ng’abaddu e Misiri? (Kuv. 3:21, 22; 12:35, 36)
2. Soma Okuva 14:1-31.
Ebigambo bya Musa ebiri mu Okuva 14:13, 14 bigumya bitya abaweereza ba Yakuwa leero nga basemberera Kalumagedoni? (2 Byom. 20:17; Zab. 91:8)
3. Soma Okuva 15:1-8, 20, 21.
(a) Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okuyimba ennyimba ezimutendereza? (Kuv. 15:1, 2; Zab. 105:2, 3; Kub. 15:3, 4)
(b) Bwe baali ku Nnyanja Emmyufu, kyakulabirako ki eky’okutendereza Yakuwa Miryamu n’abakazi abalala kye baateerawo abakazi Abakristaayo leero? (Kuv. 15:20, 21; Zab. 68:11)
Ekika ky’Emmere Ekippya
1. Nga bwe kirabika mu kifaananyi, kiki abantu kye balonda, era kiyitibwa kitya?
2. Tteeka ki Musa ly’awa abantu ku bikwata ku kulonda mmaanu?
3. Kiki Yakuwa ky’agamba abantu okukola ku lunaku olw’omukaaga, era lwaki?
4. Kyamagero ki Yakuwa ky’akola mmaanu bw’eterekebwa okutuuka ku lunaku olw’omusanvu?
5. Bbanga ki Yakuwa lyamala ng’aliisa abantu emmaanu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 16:1-36 ne Okubala 11:7-9.
(a) Okuva 16:8 lutulaga lutya nti tulina okussa ekitiibwa mu abo abalondeddwa okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo? (Beb. 13:17)
(b)Nga bali mu ddungu, Abaisiraeri, bajjukizibwanga batya buli lunaku nti obulamu bwabwe bwali bwesigamye ku Yakuwa? (Kuv. 16:14-16, 35; Ma. 8:2, 3)
(c) Makulu ki ag’akabonero agakwata ku mmaanu Yesu ge yawa, era tuganyulwa tutya mu ‘mmere eno eyava mu ggulu’? (Yok. 6:31-35, 40)
2. Soma Yoswa 5:10-12.
Abaisiraeri mmaanu baagiriira myaka emeka, era kino kyabagezesa kitya, ffe kino tukiyigirako ki? (Kuv. 16:35; Kubal. 11:4-6; 1 Kol. 10:10, 11)
Yakuwa Awa Amateeka Ge
1. Nga waakayitawo emyezi ng’ebiri bukya bava e Misiri, Abaisiraeri basiisira ludda wa?
2. Kiki Yakuwa ky’agamba abantu okukola, era baddamu ki?
3. Lwaki Yakuwa awa Musa ebipande by’amayinja bibiri?
4. Ng’oggyeko Amateeka Ekkumi, mateeka ki amalala Yakuwa g’awa Abaisiraeri?
5. Mateeka ki abiri Yesu Kristo ge yagamba nti ge gasinga obukulu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 19:1-25; 20:1-21; 24:12-18; ne 31:18.
Ebigambo ebiri mu Okuva 19:8 bituyamba bitya okutegeera ekyo ekizingirwa mu kwewaayo okw’Ekikristaayo? (Mat. 16:24; 1 Peet. 4:1-3)
2. Soma Ekyamateeka 6:4-6; Eby’Abaleevi 19:18; ne Matayo 22:36-40.
Abakristaayo booleka batya nti baagala Katonda ne muliraanwa waabwe? (Mak. 6:34; Bik. 4:20; Bar. 15:2)
Akayana Aka Zaabu
1. Mu kifaananyi, abantu bakola ki, era lwaki?
2. Lwaki Yakuwa anyiize, era kiki Musa ky’akola bwalaba ekyo abantu kye bakola?
3. Kiki Musa ky’agamba abasajja abamu okukola?
4. Olugero luno lutuyigiriza ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 32:1-35.
(a) Kino ekyabaawo kiraga kitya endowooza Yakuwa gy’alina ku kugattika eddiini ez’obulimba n’okusinza okw’amazima? (Kuv. 32:4-6, 10; 1 Kol. 10:7, 11)
(b) Kiki Abakristaayo kye balina okwegendereza nga balonda eby’okwesanyusaamu, gamba ng’ennyimba n’amazina? (Kuv. 32:18, 19; Bef. 5:15, 16; 1 Yok. 2:15-17)
(c) Ab’ekika kya Leevi bassaawo kyakulabirako ki ekikwata ku kunywerera ku butuukirivu? (Kuv. 32:25-28; Zab. 18:25)
Weema ey’Okusinzizaamu
1. Ekizimbe ekiri mu kifaananyi kiyitibwa kitya, era kiki ekikolebwamu?
2. Lwaki Yakuwa yagamba Musa okukola weema enyangu okupangululwa?
3. Bokisi eri mu kasenge akatono akali munda mu weema eyitibwa etya, era erimu ki?
4. Yakuwa alonze ani okuba kabona omukulu, era omulimu gwa kabona omukulu gwe guluwa?
5. Menya ebintu bisatu ebiri mu kisenge kya weema ekinene.
6. Bintu ki ebibiri ebiri mu lugya lwa weema, era bya ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okuva 25:8-40; 26:1-37; 27:1-8; ne Okuva 28:1.
(b) Bakerubi abaali ku “ssanduuko y’endagaano” baali bakiikirira ki? (Kuv. 25:20, 22; Kubal. 7:89; 2 Bassek. 19:15)
2. Soma Okuva 30:1-10, 17-21; 34:1, 2; ne Abebbulaniya 9:1-5.
(a) Yakuwa yaggumiza atya eri bakabona abaaweerezanga mu weema obukulu obw’okukuuma obuyonjo, era ekyo kyanditukutteko kitya leero? (Kuv. 30:18-21; 40:30, 31; Beb. 10:22)
(b) Pawulo alaga atya nti weema awamu n’Endagaano y’amateeka byali tebikyetaagisa mu kiseera we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abakristaayo Abaebbulaniya? (Beb. 9:1, 9; 10:1)
Abakessi 12
1. Mu kifaananyi, kiki kye weetegerezza ku kirimba ky’ezabbibu, era bakiggye wa?
2. Lwaki Musa atuma abakessi 12 okuketta Kanani?
3. Kiki abakessi ekkumi kye bagamba Musa?
4. Abakessi ababiri balaga batya nti beesiga Yakuwa, era be baani?
5. Kiki ekinyiizizza Yakuwa, era kiki ky’agamba Musa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 13:1-33.
(a) Baani abaalondebwa okuketta ensi, era nkizo ki ey’amaanyi gye baafuna? (Kubal. 13:2, 3, 18-20)
(b) Lwaki endowooza ya Yoswa ne Kalebu yayawukana ku y’abakessi abalala, era kino kituyigiriza ki? (Kubal. 13:28-30; Mat. 17:20; 2 Kol. 5:7)
2. Soma Okubala 14:1-38.
(a) Kulabula ki kwe tulina okugoberera okukwata ku kwemulugunyiza abo Yakuwa b’awadde okutwala obukulembeze wano ku nsi? (Kubal. 14:2, 3, 27; Mat. 25:40, 45; 1 Kol. 10:10)
(b) Okubala 14:24 walaga watya nti Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu? (1 Bassek. 19:18; Nge. 15:3)
Omuggo gwa Alooni Gumerako Ebimuli
1. Baani abajeemera Musa ne Alooni, era kiki kye bagamba Musa?
2. Kiki Musa ky’agamba Koola n’abagoberezi be 250 okukola?
3. Kiki Musa ky’agamba abantu, era kiki ekibaawo nga yaakamala okwogera?
4. Kiki ekituuka ku Koola n’abagoberezi be 250?
5. Mutabani wa Alooni Eriyazaali, akola atya ebyoterezo by’abasajja abafudde, era lwaki?
6. Lwaki omuggo gwa Alooni Yakuwa agumezaako ebimuli? (Laba ekifaananyi.)
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 16:1-49.
(a) Kiki Koola n’abagoberezi be kye baakola, era lwaki kyali kyoleka obujeemu eri Yakuwa? (Kubal. 16:9, 10, 18; Leev. 10:1, 2; Nge. 11:2)
(b) Ndowooza ki enkyamu Koola ‘n’Abalangira’ 250 gye baakulaakulanya? (Kubal. 16:1-3; Nge. 15:33; Is. 49:7)
2. Soma Okubala 17:1-11 ne 26:10.
(a) Eky’omuggo gwa Alooni okumerako ebimuli kyali kyoleka ki, era lwaki Yakuwa yabalagira okuguteeka mu ssanduuko y’endagaano? (Kubal. 17:5, 8, 10)
(b) Kya kuyiga ki ekikulu kye tufuna ku kabonero ak’omuggo gwa Alooni? (Kubal. 7:10; Bik. 20:28; Baf. 2:14; Beb. 13:17)
Musa Akuba ku Lwazi
1. Yakuwa alabirira atya Abaisiraeri nga bali mu ddungu?
2. Abaisiraeri beemulugunyiza ki bwe basiisira e Kadesi?
3. Yakuwa afunira atya abantu n’ensolo zaabwe amazzi?
4. Mu kifaananyi, omusajja eyeesonzeemu olunwe y’ani, era lwaki akola bw’atyo?
5. Lwaki Yakuwa anyiigira Musa ne Alooni, era ababonereza atya?
6. Kiki ekibaawo ku Lusozi Koola, era ani afuuka kabona omukulu owa Isiraeri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 20:1-13, 22-29 ne Ekyamateeka 29:5.
(a) Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yalabiriramu Abaisiraeri nga bali mu ddungu? (Ma. 29:5; Mat. 6:31; Beb. 13:5; Yak. 1:17)
(b) Yakuwa yakitwala atya Musa ne Alooni bwe bataamuwa kitiibwa? (Kubal. 20:12; 1 Kol. 10:12; Kub. 4:11)
(c) Kiki kye tuyigira ku ngeri Musa gye yatwalamu okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa? (Kubal. 12:3; 20:12, 27, 28; Ma. 32:4; Beb. 12:7-11)
Omusota ogw’Ekikomo
1. Mu kifaananyi, kiki ekizingiriddwa ku mpagi, era lwaki Yakuwa agamba Musa okukissaawo?
2. Abantu balaga batya nti tebasiimye ebyo byonna Yakuwa by’abakoledde?
3. Kiki abantu kye basaba Musa okukola oluvannyuma lwa Yakuwa okubabonereza ng’abasindikira emisota?
4. Lwaki Yakuwa agamba Musa okukola omusota ogw’ekikomo?
5. Kya kuyiga ki kye tufuna mu lugero luno?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 21:4-9.
(a) Kulabula ki kwe tufuna bwe tumanya nti Abaisiraeri beemulugunyiza enteekateeka za Yakuwa? (Kubal. 21:5, 6; Bar. 2:4)
(b) Mu byasa ebyaddirira, Abaisiraeri baakozesa batya omusota ogw’ekikomo, era kiki Kabaka Keezeekiya kye yakolawo? (Kubal. 21:9; 2 Bassek. 18:1-4)
2. Soma Yokaana 3:14, 15.
Okussa omusota ogw’ekikomo ku mpagi, kyali kisonga kitya ku kuwanikibwa kwa Yesu Kristo? (Bag. 3:13; 1 Peet. 2:24)
Endogoyi Eyogera
1. Balaki y’ani, era lwaki atumya Balamu?
2. Lwaki endogoyi ya Balamu etuula wansi?
3. Kiki endogoyi ky’egamba Balamu?
4. Kiki malayika ky’agamba Balamu?
5. Kiki ekibaawo Balamu bw’agezaako okukolimira Isiraeri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 21:21-35.
Lwaki Isiraeri yawangula Kabaka Sikoni ow’Abamaleki era ne Kabaka Ogi ow’e Basani? (Kubal. 21:21, 23, 33, 34)
2. Soma Okubala 22:1-40.
Balamu yalina kigendererwa ki mu kugezaako okukolimira Isiraeri, era kiki kye tuyigira ku ekyo? (Kubal. 22:16, 17; Nge. 6:16, 18; 2 Peet. 2:15; Yuda 11)
3. Soma Okubala 23:1-30.
Wadde nga Balamu yali ayogera ng’omuntu asinza Yakuwa, ebikolwa bye byalaga bitya nti ekyo si kye yali? (Kubal. 23:3, 11-14; 1 Sam. 15:22)
4. Soma Okubala 24:1-25.
Olugero luno lunyweza lutya okukkiriza kwaffe mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa? (Kubal. 24:10; Is. 54:17)
Yoswa Afuuka Omukulembeze
1. Mu kifaananyi, abasajja abo abayimiridde ne Musa be baani?
2. Kiki Yakuwa ky’agamba Yoswa?
3. Lwaki Musa alinnya ku Lusozi Nebo, era kiki Yakuwa ky’amugamba?
4. Musa afa ng’alina emyaka emeka?
5. Lwaki abantu banakuwavu, naye kiki ekibaleetera okusanyuka?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubala 27:12-23.
Buvunaanyizibwa ki obw’amaanyi Yoswa bwe yafuna okuva eri Yakuwa, era Yakuwa alaga atya nti alabirira abantu be leero? (Kubal. 27:15-19; Bik. 20:28; Beb. 13:7)
2. Soma Ekyamateeka 3:23-29.
Lwaki Yakuwa teyakkiriza Musa ne Alooni kuyingira mu nsi nsuubize, era ekyo kituyigiriza ki? (Ma. 3:25-27; Kubal. 20:12, 13)
3. Soma Ekyamateeka 31:1-8, 14-23.
Ebigambo bya Musa ebyasembayo eri Isiraeri byalaga bitya nti yakkiriza okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa? (Ma. 31:6-8, 23)
4. Soma Ekyamateeka 32:45-52.
Ekigambo kya Katonda kyandikutte kitya ku bulamu bwaffe? (Ma. 32:47; Leev. 18:5; Beb. 4:12)
5. Soma Ekyamateeka 34:1-12.
Wadde nga Musa teyalabira ddala Yakuwa n’amaaso ge, Ekyamateeka 34:10 lulaga ki ku nkolagana ye ne Yakuwa? (Kuv. 33:11, 20; Kubal. 12:8)
Lakabu Akweka Abakessi
1. Lakabu abeera wa?
2. Abasajja abo abali mu kifaananyi be baani, era bakola ki mu Yeriko?
3. Kiki kabaka wa Yeriko ky’alagira Lakabu okukola, era Lakabu amuddamu atya?
4. Lakabu ayamba atya abasajja abo ababiri, era naye abasaba kumukolera ki?
5. Kiki abakessi kye basuubiza okukolera Lakabu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 2:1-24.
Ekisuubizo kya Yakuwa ekiri mu Okuva 23:28 kyatuukirizibwa kitya Abaisiraeri bwe baalumba Yeriko? (Yos. 2:9-11)
2. Soma Abaebbulaniya 11:31.
Ekyokulabirako kya Lakabu kiraga kitya obukulu bw’okubeera n’okukkiriza? (Bar. 1:17; Beb. 10:39; Yak. 2:25)
Okusomoka Omugga Yoludaani
1. Kyamagero ki Yakuwa ky’akola okusobozesa Abaisiraeri okusomoka Omugga Yoludaani?
2. Kukkiriza kwa ngeri ki Abaisiraeri kwe balina okuba nakwo okusobola okusomoka Omugga Yoludaani?
3. Lwaki Yakuwa agamba Yoswa okukuŋŋaanya amayinja amanene 12 okuva mu mugga?
4. Kiki ekibaawo bakabona bwe bava mu Yoludaani?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 3:1-17.
(a) Nga bwe kiragiddwa mu Byawandiikibwa bino, kiki kye twetaaga okukola okusobola okufuna obuyambi n’emikisa gya Yakuwa? (Yos. 3:13, 15; Nge. 3:5; Yak. 2:22, 26)
(b) Omugga Yoludaani gwali mu mbeera ki mu kiseera Abaisiraeri we baagusomokera, era kino kyaleetera kitya erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa? (Yos. 3:15; 4:18; Zab. 66:5-7)
2. Soma Yoswa 4:1-18.
Amayinja 12 agaggyibwa mu Yoludaani ne gateekebwa e Girugaali gaalina kigendererwa ki? (Yos. 4:4-7)
Bbugwe wa Yeriko
1. Kiki Yakuwa ky’agamba abasajja abalwanyi ne bakabona okukola okumala ennaku omukaaga?
2. Abasajja balina kukola ki ku lunaku olw’omusanvu?
3. Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki ekituuse ku bisenge bya Yeriko?
4. Lwaki omuguwa omumyufu guleebeetera ku ddirisa?
5. Kiki Yoswa ky’agamba abasajja abalwanyi okukola abantu n’ekibuga, naye ate effeeza, zaabu, ebintu eby’ekikomo n’ekyuma alagira bikolebwe bitya?
6. Abakessi ababiri bagambibwa kukola ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 6:1-25.
(a) Mu ngeri ki Abaisiraeri okwetooloola ekibuga kya Yeriko ku lunaku olw’omusanvu gye kifanagana n’omulimu Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nnaku zino ez’oluvannyuma? (Yos. 6:15, 16; Is. 60:22; Mat. 24:14; 1 Kol. 9:16)
(b) Obunnabbi obuli mu Yoswa 6:26 bwatuukirizibwa butya oluvannyuma lw’emyaka nga 500, era ekyo kituyigiriza ki ku Kigambo kya Yakuwa? (1 Bassek. 16:34; Is. 55:11)
Omubbi mu Isiraeri
1. Mu kifaananyi, ani oyo aziika eby’obugagga ebiggiddwa mu Yeriko, era baani abamuyambako?
2. Lwaki ekikolwa kya Akani n’ab’omu maka ge kibi nnyo?
3. Yoswa bw’abuuza Yakuwa ekiviiriddeko Ayi okuwangula Isiraeri, kiki Yakuwa ky’amuddamu?
4. Kiki ekituuka ku Akani n’ab’omu maka ge bwe baleetebwa eri Yoswa?
5. Kiki ekikulu kye tuyigira ku musango ogwasalirwa Akani?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 7:1-26.
(a) Essaala za Yoswa zaayoleka ki ku nkolagana ye n’Omutonzi we? (Yos. 7:7-9; Zab. 119:145; 1 Yok. 5:14)
(b) Ekyatuuka ku Akani kiraga ki, era lwaki kuno kulabula gye tuli? (Yos. 7:11, 14, 15; Nge. 15:3; 1 Tim. 5:24; Beb. 4:13)
2. Soma Yoswa 8:1-29.
Buvunaanyizibwa ki bwe tulina kinnoomu eri ekibiina Ekikristaayo? (Yos. 7:13; Leev. 5:1; Nge. 28:13)
Abagibyoni ab’Amagezi
1. Mu ngeri ki Abagibyoni gye bali ab’enjawulo ku Bakanani abali mu bibuga eby’okumuliraano?
2. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki Abagibyoni kye bakola, era lwaki?
3. Kiki Yoswa n’abakulembeze ba Isiraeri kye basuubiza Abagibyoni, naye kiki kye bazuula oluvannyuma lw’ennaku ssatu?
4. Bakabaka ab’ebibuga ebirala bakola ki bwe bawulira nti Abagibyoni bakoze endagaano ey’emirembe ne Isiraeri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 9:1-27.
(a) Okuva Yakuwa bwe yali alagidde eggwanga lya Isiraeri ‘okuzikiriza bonna abali mu nsi,’ ngeri ki ze yayoleka bwe yawonyawo Abagibyoni? (Yos. 9:22, 24; Mat. 9:13; Bik. 10:34, 35; 2 Peet. 3:9)
(b) Kyakulabirako ki Yoswa kye yateerawo Abakristaayo leero bwe yanywerera ku ndagaano gye yakola n’Abagibyoni? (Yos. 9:18, 19; Mat. 5:37; Bef. 4:25)
2. Soma Yoswa 10:1-5.
Ngeri ki ab’ekibiina ekinene gye bakoppamu Abagibyoni leero, era kino kibateeka mu kabi ki? (Yos. 10:4; Zek. 8:23; Mat. 25:35-40; Kub. 12:17)
Enjuba Esigala mu Kifo
1. Mu kifaananyi, Yoswa agamba ki, era lwaki?
2. Yakuwa ayamba atya Yoswa n’abasajja be abalwanyi?
3. Yoswa awangula bakabaka bameka, era kimutwalira banga ki?
4. Lwaki Yoswa agabanyamu ensi ya Kanani?
5. Yoswa afiira ku myaka emeka, era kiki ekituuka ku bantu oluvannyuma?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yoswa 10:6-15.
Bwe tumanya nti Yakuwa yayimiriza enjuba n’omwezi mu kifo kimu ku lwa Isiraeri, tufuna bugumu ki leero? (Yos. 10:8, 10, 12, 13; Zab. 18:3; Nge. 18:10)
2. Soma Yoswa 12:7-24.
Ani ddala eyawangula bakabaka ba Kanani 31, era lwaki kino kikulu nnyo gye tuli leero? (Yos. 12:7; 24:11-13; Ma. 31:8; Luk. 21:9, 25-28)
3. Soma Yoswa 14:1-5.
Ensi yagabanyizibwamu etya eri ebika bya Isiraeri, era kino kiraga ki ku ngeri Olusuku lwa Katonda gye lunaatuulibwamu? (Yos. 14:2; Is. 65:21; Ezk. 47:21-23; 1 Kol. 14:33)
4. Soma Ekyabalamuzi 2:8-13.
Okufaananako Yoswa, baani leero abakugira obwewagguzi? (Balam. 2:8, 10, 11; Mat. 24:45-47; 2 Bas. 2:3-6; Tit. 1:7-9; Kub. 1:1; 2:1, 2)
Abakazi Babiri Abazira
1. Abalamuzi be baani, era amannya g’abamu ku bo ge galuwa?
2. Nkizo ki ey’enjawulo Debola gy’alina, era ezingiramu ki?
3. Abaisiraeri bwe baatiisibwatiisibwa Kabaka ayitibwa Yabini n’omukulu w’eggye lye, Sisera, bubaka ki obuva eri Yakuwa Debola bw’awa Omulamuzi Balaki, era amugamba nti obuwanguzi bunaayitira mu ani?
4. Yayeeri alaga atya nti mukazi muvumu?
5. Kiki ekibaawo oluvannyuma lwa Kabaka ayitibwa Yabini okufa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ekyabalamuzi 2:14-22.
Mu ngeri ki Abaisiraeri gye beereetako obusungu bwa Yakuwa, era kiki kye tuyigira mu kino? (Balam. 2:20; Nge. 3:1, 2; Ezk. 18:21-23)
2. Soma Ekyabalamuzi 4:1-24.
Kiki ekikwata ku buvumu n’okukkiriza, abakazi Abakristaayo leero kye basobola okuyigira ku kyokulabirako kya Debola ne Yayeeri? (Balam. 4:4, 8, 9, 14, 21, 22; Nge. 31:30; 1 Kol. 16:13)
3. Soma Ekyabalamuzi 5:1-31.
Oluyimba lwa Balaki ne Debola olw’obuwanguzi luyinza kukozesebwa lutya ng’essaala ku lutalo lwa Kalumagedoni olugenda okujja? (Balam. 5:3, 31; 1 Byom. 16:8-10; Kub. 7:9, 10; 16:16; 19:19-21)
Luusi ne Nawomi
1. Nawomi atuuka atya okubeera mu nsi ya Mowaabu?
2. Luusi ne Olupa be baani?
3. Nawomi bw’agamba Luusi ne Olupa okuddayo eri abantu baabwe, buli omu atwala atya ekirowoozo ekyo?
4. Bowaazi y’ani, era ayamba atya Luusi ne Nawomi?
5. Omwana Luusi ne Bowaazi gwe bazadde y’ani, era lwaki tusaanidde okumujjukira?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Luusi 1:1-17.
(a) Bigambo ki Luusi by’ayogera ebiraga okwagala okwa nnamaddala? (Luus. 1:16, 17)
(b) Endowooza ya Luusi efaanana etya n’eyo “[ab]’endiga endala” gye balina ku baafukibwako amafuta abakyali ku nsi leero? (Yok. 10:16; Zek. 8:23)
2. Soma Luusi 2:1-23.
Kyakulabirako ki ekirungi Luusi kye yateerawo abakazi abato leero? (Luus. 2:17, 18; Nge. 23:22; 31:15)
3. Soma Luusi 3:5-13.
(a) Bowaazi yakitwala atya Luusi bwe yali omwetegefu okumufumbirwa mu kifo ky’okufumbirwa omusajja omuto?
(b) Endowooza ya Luusi etuyigiriza ki ku kwagala okwa nnamaddala? (Luus. 3:10; 1 Kol. 13:4, 5)
4. Soma Luusi 4:7-17.
Abasajja Abakristaayo leero bayinza batya okukoppa Bowaazi? (Luus. 4:9, 10; 1 Tim. 3:1, 12, 13; 5:8)
Gidyoni n’Abasajja Be 300
1. Abaisiraeri bagwa batya mu mitawaana emingi era lwaki?
2. Lwaki Yakuwa agamba Gidyoni nti alina abasajja bangi nnyo mu gye lye?
3. Gidyoni bw’amala okugamba abasajja abati okuddayo eka, basajja bameka abasigala naye?
4. Nga bw’olaba mu kifaananyi, nnyonnyola engeri Yakuwa gy’akendezaamu omuwendo gw’eggye lya Gidyoni okutuuka ku basajja 300.
5. Gidyoni ategeka atya abasajja be 300, era Isiraeri ewangula etya olutalo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ekyabalamuzi 6:36-40.
(a) Gidyoni yakakasa atya nti Yakuwa awagira kye yali agenda okukola?
(b) Tumanya tutya Yakuwa ky’ayagala leero? (Nge. 2:3-6; Mat. 7:7-11; 2 Tim. 3:16, 17)
2. Soma Ekyabalamuzi 7:1-25.
(a) Kiki kye tuyigira ku basajja 300 abaasigala obulindaala? (Balam. 7:3, 6; Bar. 13:11, 12; Bef. 5:15-17)
(b) Okufaananako abasajja 300 abaayigira ku Gidyoni, tuyinza tutya okuyigira ku Gidyoni asingako, Yesu Kristo? (Balam. 7:17; Mat. 11:29, 30; 28:19, 20; 1 Peet. 2:21)
(c) Ekyabalamuzi 7:21 lutuyamba lutya okukkiriza okuweereza wonna we baba batutadde mu ntegeka ya Yakuwa? (1 Kol. 4:2; 12:14-18; Yak. 4:10)
3. Soma Ekyabalamuzi 8:1-3.
Bwe kituuka ku kugonjoola obutakkaanya obubaawo wakati w’ab’oluganda, tuyigira ki ku ngeri Gidyoni gye yagonjoolamu obutakkaanya bwe yalina n’abasajja ba Efulayimu? (Nge. 15:1; Mat. 5:23, 24; Luk. 9:48)
Obweyamo bwa Yefusa
1. Yefusa y’ani, era yaliwo mu biseera ki?
2. Kiki Yefusa kye yeeyama eri Yakuwa?
3. Lwaki Yefusa anakuwula oluvanyuma lw’okukomawo eka ng’amaze okuwangula Abamooni?
4. Muwala wa Yefusa ayogera ki bwategeera obweyamo bwa kitaawe?
5. Lwaki abantu baagala nnyo muwala wa Yefusa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ekyabalamuzi 10:6-18.
Kulabula ki kwe tufuna bwe tusoma ku butali bwesigwa bw’Abaisiraeri eri Yakuwa? (Balam. 10:6, 15, 16; Bar. 15:4; Kub. 2:10)
2. Soma Ekyabalamuzi 11:1-11, 29-40.
(a) Tumanya tutya nti Yefusa okuwaayo muwala we nga “ekiweebwayo ekyokebwa,” kyali tekitegeeza kumuwaayo nga ssaddaaka ku kyoto? (Balam. 11:31; Leev. 16:24; Ma. 18:10, 12)
(b) Mu ngeri ki Yefusa gye yawaayo muwala we ng’ekiweebwayo?
(c) Kiki kye tuyigira ku ndowooza Yefusa gye yalina ku bweyamo bwe eri Yakuwa? (Balam. 11:35, 39; Mub. 5:4, 5; Mat. 16:24)
(d) Mu ngeri ki muwala wa Yefusa gy’ali ekyokulabirako ekirungi eri abavubuka Abakristaayo ku bikwata ku kuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna? (Balam. 11:36; Mat. 6:33; Baf. 3:8)
Omusajja Asingayo Okuba ow’Amaanyi
1. Omusajja aky’asinze okuba ow’amaanyi y’ani, era ani yamuwa amaanyi ago?
2. Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki Samusooni kyakola empologoma ennene?
3. Kyama ki Samusooni ky’abuulira Derira nga bw’olaba mu kifaananyi, era kino kimuviiramu kitya okukwatibwa Abafirisuuti?
4. Samusooni atta atya Abafirisuuti 3,000 ku lunaku lwe yafiirako?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ekyabalamuzi 13:1-14.
Manowa ne mukazi we bateerawo batya abazadde ekyokulabirako ekirungi eky’okukuza abaana? (Balam. 13:8; Zab. 127:3; Bef. 6:4)
2. Soma Ekyabalamuzi 14:5-9 ne 15:9-16.
(a) Bye tusoma ku Samusooni nti yatta empologoma, n’akutula emigwa egyali gimusibye, era n’akozesa oluba lw’endogoyi okutta abasajja 1,000, byoleka ki ku ngeri omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gye gukolamu?
(b) Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya leero? (Balam. 14:6; 15:14; Zek. 4:6; Bik. 4:31)
3. Soma Ekyabalamuzi 16:18-31.
Emikwano emibi Samusooni gy’amutuusa ku ki, era ffe kino tukiyigirako ki? (Balam. 16:18, 19; 1 Kol. 15:33)
Omulenzi Omuto Aweereza Katonda
1. Omulenzi ali mu kifaananyi y’ani, era abalala baali nabo be baani?
2. Lumu Kaana bw’agenda mu weema ya Yakuwa asaba ki era Yakuwa amuddamu atya?
3. Samwiri atwalibwa okuweereza mu weema ya Yakuwa ng’alina emyaka emeka, era maama we amukolera ki buli mwaka?
4. Batabani ba Eri be baani, era bantu ba ngeri ki?
5. Yakuwa ayita Samwiri emirundi emeka, era bubaka ki bw’amuwa?
6. Samwiri bw’akula afuuka ki, era kiki ekibaawo ng’akaddiye?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 1:1-28.
(a) Kyakulabirako ki ekirungi Erukaana kye yateerawo emitwe gy’amaka ku ngeri y’okutwalamu obukulembeze mu kusinza okw’amazima? (1 Sam. 1:3, 21; Mat. 6:33; Baf. 1:10)
(b) Ekyokulabirako kya Kaana kituyigiriza ki ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu eby’amaanyi? (1 Sam. 1:10, 11; Zab. 55:22; Bar. 12:12)
2. Soma 1 Samwiri 2:11-36.
Eri yawa atya batabani be ekitiibwa okusinga Yakuwa, era kino kituwa kulabula ki? (1 Sam. 2:22-24, 27, 29; Ma. 21:18-21; Mat. 10:36, 37)
3. Soma 1 Samwiri 4:16-18.
Bubaka ki obwalimu ebintu bina eby’entiisa okuva mu ddwaniro, era Eri akwatibwako atya ng’abuwulidde?
4. Soma 1 Samwiri 8:4-9.
Abaisiraeri banyiiza batya Yakuwa, era tuyinza tutya okuwagira Obwakabaka bwa Yakuwa leero? (1 Sam. 8:5, 7; Yok. 17:16; Yak. 4:4)
Sawulo—Kabaka wa Isiraeri Eyasooka
1. Nga bw’olaba mu kifaananyi kiki Samwiri ky’akola era lwaki?
2. Lwaki Yakuwa ayagala Sawulo, era Sawulo muntu wa ngeri ki?
3. Mutabani wa Sawulo y’ani, era yakola ki?
4. Lwaki Sawulo awaayo ekiweebwayo ku kyoto mu kifo ky’okulinda Samwiri akiweeyo?
5. Biki bye tuyigira ku ebyo ebikwata ku Sawulo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 9:15-21 ne 10:17-27.
Obukkakkamu bwa Sawulo bwamuyamba butya obutayanguyiriza kubaako kyakolawo abasajja abamu bwe baamunyooma? (1 Sam. 9:21; 10:21, 22, 27; Nge. 17:27)
2. Soma 1 Samwiri 13:5-14.
Kibi ki Sawulo kye yakola ng’ali e Girugaali? (1 Sam. 10:8; 13:8, 9, 13)
3. Soma 1 Samwiri 15:1-35.
(a) Kibi ki eky’amaanyi Sawulo kye yakola ekikwata ku ngeri gye yayisaamu Agagi, kabaka wa Amaleki? (1 Sam. 15:2, 3, 8, 9, 22)
(b) Sawulo yagezaako atya okwegyako omusango n’okulaga nti ensobi teyali y’amaanyi? (1 Sam. 15:24)
(c) Kulabula ki kwe tulina okugoberera leero bwe tuba tubuuliriddwa? (1 Sam. 15:19-21; Zab. 141:5; Nge. 9:8, 9; 11:2)
Katonda Alonda Dawudi
1. Omulenzi oyo ali mu kifaananyi y’ani, era tumanya tutya nti muzira?
2. Dawudi abeera wa, era taata we ne jjajjaawe be baani?
3. Lwaki Yakuwa agamba Samwiri okugenda mu nnyumba ya Yese e Besirekemu?
4. Kiki ekibaawo Yese bwaleeta batabani be omusanvu eri Samwiri?
5. Dawudi bw’aleetebwa, Yakuwa agamba ki Samwiri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 17:34, 35.
Ebyaliwo bino biraga bitya obuvumu bwa Dawudi n’obwesige bwe yalina mu Yakuwa? (1 Sam. 17:37)
2. Soma 1 Samwiri 16:1-14.
(a) Ebigambo bya Yakuwa ebiri mu 1 Samwiri 16:7 bituyamba bitya obutasosola n’okwewala okutwalirizibwa endabika ey’okungulu? (Bik. 10:34, 35; 1 Tim. 2:4)
(b) Ekyokulabirako kya Sawulo kiraga kitya nti Yakuwa bw’ajja omwoyo gwe omutukuvu ku muntu, mu kifo kyagwo waddawo omwoyo omubi, oba okwegomba okukola ekibi? (1 Sam. 16:14; Mat. 12:43-45; Bag. 5:16)
Dawudi ne Goliyaasi
1. Goliyaasi asoomooza atya eggye lya Isiraeri?
2. Goliyaasi munene kwenkana wa, era kirabo ki Kabaka Sawulo ky’asuubiza okuwa omusajja anatta Goliyaasi?
3. Dawudi addamu atya Sawulo bw’amugamba nti tasobola kulwana na Goliyaasi kubanga ye mulenzi bulenzi?
4. Engeri Dawudi gy’addamu Goliyaasi, eraga etya nti yeesiga Yakuwa?
5. Mu kifaananyi, kiki Dawudi ky’akozesa okutta Goliyaasi era oluvannyuma kiki ekituuka ku Bafirisuuti?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 17:1-54.
(a) Kiki ekyayamba Dawudi obutatya, era tuyinza tutya okukoppa obuvumu bwe yalina? (1 Sam. 17:37, 45; Bef. 6:10, 11)
(b) Lwaki Abakristaayo balina okwewala omwoyo ng’ogwa Goliyaasi gw’okuvuganya bwe baba nga bali mu mizannyo oba nga beesanyusaamu? (1 Sam. 17:8; Bag. 5:26; 1 Tim. 4:8)
(c) Ebigambo bya Dawudi biraga bitya nti yali akkiririza mu buyambi bwa Yakuwa? (1 Sam. 17:45-47; 2 Byom. 20:15)
(d) Mu kifo ky’okutwala olutalo luno ng’olwaliwo wakati w’amagye abiri, ebyawandiikibwa biraga bitya nti olutalo lwali wakati wa bakatonda ab’obulimba ne Katonda ow’amazima, Yakuwa? (1 Sam. 17:43, 46, 47)
(e) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta bakoppa batya ekyokulabirako kya Dawudi eky’okussa obwesige mu Yakuwa? (1 Sam. 17:37; Yer. 1:17-19; Kub. 12:17)
Lwaki Dawudi Alina Okudduka
1. Lwaki Sawulo akwatirwa Dawudi obugya, naye mutabani we Yonasaani wa njawulo mu ngeri ki?
2. Lumu kiki ekibaawo nga Dawudi akubira Sawulo ennanga?
3. Kiki Sawulo ky’agamba Dawudi okukola okusobola okuwasa muwala we Mikali, era lwaki Sawulo amugamba bwatyo?
4. Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki ekibaawo omulundi ogw’okusatu nga Dawudi akubira Sawulo ennanga?
5. Mikali awonya atya obulamu bwa Dawudi, era Dawudi alina kukola ki okumala emyaka musanvu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 18:1-30.
(a) Okwagala okutajjulukuka okwaliwo wakati wa Yonasaani ne Dawudi kulaga kutya okwagala okuliwo wakati we “endiga endala” ne “ekisibo ekitono”? (1 Sam. 18:1; Yok. 10:16; Luk. 12:32; Zek. 8:23)
(b) Okuva bwe kiri nti Yonasaani ye yandibadde omusika wa Sawulo, 1 Samwiri 18:4 walaga watya obuwulize bwa Yonasaani eri oyo alondeddwa okuba kabaka?
(c) Ekyokulabirako kya Sawulo kiraga kitya nti obuggya busobola okutuusa omuntu ku kukola ekibi eky’amaanyi, era kino kituwa kulabula ki? (1 Sam. 18:7-9, 25; Yak. 3:14-16)
2. Soma 1 Samwiri 19:1-17.
Yonasaani yateeka atya obulamu bwe mu kabi bwe yali ng’ayogera ne Sawulo? (1 Sam. 19:1, 4-6; Nge. 16:14)
Abbigayiri ne Dawudi
1. Omukazi oyo mu kifaananyi ajja okusisinkana Dawudi y’ani, era muntu wa ngeri ki?
2. Nabali y’ani?
3. Lwaki Dawudi atuma abamu ku basajja be okusaba Nabali obuyambi?
4. Nabali agamba ki abasajja ba Dawudi era Dawudi akola ki?
5. Abbigayiri akiraga atya nti mukazi mugezi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 22:1-4.
Ab’eŋŋanda za Dawudi baateekawo batya ekyokulabirako ekirungi ekikwata ku ngeri gye tulina okuyambaganamu ffekka na ffekka mu luganda olw’Ekikristaayo? (Nge. 17:17; 1 Bas. 5:14)
2. Soma 1 Samwiri 25:1-43.
(a) Lwaki Nabali ayogerwako ng’omuntu anyomoola abalala? (1 Sam. 25:2-5, 10, 14, 21, 25)
(b) Abakazi Abakristaayo bayinza kuyigira ki ku kyokulabirako kya Abbigayiri? (1 Sam. 25:32, 33; Nge. 31:26; Bef. 5:24)
(c) Bintu ki ebibiri ebibi Abbigayiri bye yaziyiza Dawudi okukola? (1 Sam. 25:31, 33; Bar. 12:19; Bef. 4:26)
(d) Engeri Dawudi gye yeeyisaamu oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo bya Abbigayiri eyamba etya abasajja leero okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bakazi? (Bik. 21:8, 9; Bar. 2:11; 1 Peet. 3:7)
Dawudi Afuulibwa Kabaka
1. Dawudi ne Abisaayi bakola ki bwe basanga Sawulo nga yeebase mu lusiisira lwe?
2. Bibuuzo ki Dawudi by’abuuza Sawulo?
3. Oluvannyuma lw’okwogera ne Sawulo, Dawudi alaga wa?
4. Kiki ekinakuwaza ennyo Dawudi n’atuuka n’okuwandiika oluyimba olulungi ennyo?
5. Dawudi yali aweza emyaka emeka we yafuulibwa kabaka mu Kebbulooni, era amannya g’abamu ku batabani be ge galiwa?
6. Oluvannyuma Dawudi afugira wa nga kabaka?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Samwiri 26:1-25.
(a) Ebigambo bya Dawudi ebiri mu 1 Samwiri 26:11 biraga bitya endowooza gye yalina ku ntegeka ya teyokulase? (Zab. 37:7; Bar. 13:2)
(b) Bwe tufuba okulaga omuntu ekisa naye n’atasiima, ebigambo bya Dawudi ebiri mu 1 Samwiri 26:23 biyinza bitya okutuyamba okuba abakkakamu? (1 Bassek. 8:32; Zab. 18:20)
2. Soma 2 Samwiri 1:26.
Abakristaayo leero bayinza batya okukulaakulanya ‘okwagala okungi ennyo’ nga Dawudi ne Yonasaani kwe baalina? (1 Peet. 4:8; Bak. 3:14; 1 Yok. 4:12)
3. Soma 2 Samwiri 5:1-10.
(a) Dawudi yafuga nga kabaka okumala emyaka emeka, era emyaka gino gyagabanyizibwamu gitya? (2 Sam. 5:4, 5)
(b) Kiki ekyaviirako Dawudi okutuuka ku buwanguzi, era kino kitujjukiza ki leero? (2 Sam. 5:10; 1 Sam. 16:13; 1 Kol. 1:31; Baf. 4:13)
Emitawaana mu Nnyumba ya Dawudi
1. Awamu n’obuyambi bwa Yakuwa kiki ekituuka ku nsi ya Kanani?
2. Kiki ekibaawo akawungeezi kamu nga Dawudi ali waggulu ku nnyumba mu lubiri lwe?
3. Lwaki Yakuwa asunguwalira nnyo Dawudi?
4. Bw’otunuulira ekifaananyi, ani Yakuwa gw’asindika ategeeze Dawudi ebibi bye, era omusajja oyo ayogera ki ekinaatuuka ku Dawudi?
5. Dawudi afuna mitawaana ki?
6. Oluvannyuma lwa Dawudi, ani afuuka kabaka wa Isiraeri?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Samwiri 11:1-27.
(a) Mu ngeri ki okwemalira ku buweereza bwa Yakuwa gye kituwamu obukuumi?
(b) Dawudi yatuuka atya okugwa mu kibi, era kino kiwa kulabula ki abaweereza ba Yakuwa leero? (2 Sam. 11:2; Mat. 5:27-29; 1 Kol. 10:12; Yak. 1:14, 15)
2. Soma 2 Samwiri 12:1-18.
(a) Kiki abakadde n’abazadde kye bayigira ku ngeri Nasani gye yatuukiriramu Dawudi okumuwa okulabula? (2 Sam. 12:1-4; Nge. 12:18; Mat. 13:34)
(b) Lwaki Yakuwa yasaasira Dawudi? (2 Sam. 12:13; Zab. 32:5; 2 Kol. 7:9, 10)
Kabaka Sulemaani ow’Amagezi
1. Kiki Yakuwa ky’abuuza Sulemaani, era Sulemaani addamu atya?
2. Olw’okuba Yakuwa asiimye okusaba kwa Sulemaani, kiki ky’asuubiza okumuwa?
3. Kizibu ki eky’amaanyi ekyetaaga okugonjoolebwa abakazi ababiri kye baleeta ewa Sulemaani?
4. Nga bw’olaba mu kifaananyi, Sulemaani agonjoola atya ekizibu kino?
5. Obufuzi bwa Sulemaani bwa ngeri ki, era lwaki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Bassekabaka 3:3-28.
(a) Abasajja abaweereddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina leero bayinza okuyigira ki ku bigambo bya Sulemaani ebyamuviira ddala ku mutima ebiri mu 1 Bassekabaka 3:7? (Zab. 119:105; Nge. 3:5, 6)
(b) Sulemaani yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi ku ebyo bye tulina okusaba? (1 Bassek. 3:9, 11; Nge. 30:8, 9; 1 Yok. 5:14)
(c) Engeri Sulemaani gye yagonjoolamu enkaayana ezaaliwo wakati w’abakazi ababiri etuwa bukakafu ki ku bufuzi obujja obwa Sulemaani asingako, Yesu Kristo? (1 Bassek. 3:28; Is. 9:6, 7; 11:2-4)
2. Soma 1 Bassekabaka 4:29-34.
(a) Yakuwa yayanukula atya Sulemaani bwe yamusaba amuwe omutima omuwulize? (1 Bassek. 4:29)
(b) Bwe tulowooza ku ngeri abantu gye baafuba okugenda okuwulira amagezi ga Sulemaani, twandibadde na ndowooza ki ku kusoma Ekigambo kya Katonda? (1 Bassek. 4:29, 34; Yok. 17:3; 2 Tim. 3:16)
Sulemaani Azimba Yeekaalu
1. Sulemaani kimutwalira banga ki okumaliriza okuzimba yeekaalu ya Yakuwa, era lwaki okuzimba okwo kumalawo ssente nnyingi nnyo?
2. Ebisenge ebikulu biri bimeka mu yeekaalu, era kiki ekiteekebwa mu kisenge eky’omunda?
3. Biki Sulemaani by’asaba nga Yeekaalu ewedde?
4. Yakuwa alaga atya nti asanyukidde okusaba kwa Sulemaani?
5. Bakazi ba Sulemaani bamuleetera kukola ki, era kiki ekimutuukako?
6. Lwaki Yakuwa asunguwalira Sulemaani, era kiki ky’amugamba?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Ebyomumirembe 28:9, 10.
Okusinziira ku bigambo bya Dawudi ebiri mu 1 Ebyomumirembe 28:9, 10, kiki kye tulina okufuba okukola mu bulamu bwaffe obwa bulijjo? (Zab. 19:14; Baf. 4:8, 9)
2. Soma 2 Ebyomumirembe 6:12-21, 32-42.
(a) Sulemaani yakiraga atya nti tewali nnyumba ezimbiddwa bantu Katonda ali Waggulu Ennyo mw’ayinza okugya? (2 Byom. 6:18; Bik. 17:24, 25)
(b) Ebigambo bya Sulemaani ebiri mu 2 Ebyomumirembe 6:32, 33 biraga ki ku Yakuwa? (Bik. 10:34, 35; Bag. 2:6)
3. Soma 2 Ebyomumirembe 7:1-5.
Engeri abaana ba Isiraeri gye batenderezaamu Yakuwa nga balabye ekitiibwa kye etukwatako etya bwe tufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’awadde abantu be? (2 Byom. 7:3; Zab. 22:22; 34:1; 96:2)
4. Soma 1 Bassekabaka 11:9-13.
Obulamu bwa Sulemaani bulaga butya obukulu bw’okusigala ng’oli mwesigwa okutuuka ku nkomerero? (1 Bassek. 11:4, 9; Mat. 10:22; Kub. 2:10)
Obwakabaka Bwawuddwamu
1. Abasajja abo ababiri abali mu kifaananyi be baani, era bantu ba ngeri ki?
2. Kiki Akiya kyakola ekyambalo ky’ayambadde, era ekikolwa ekyo kitegeeza ki?
3. Kiki Sulemaani ky’agezaako okukola Yerobowaamu?
4. Lwaki abantu bafuula Yerobowaamu kabaka w’ebika 10?
5. Lwaki Yerobowaamu akola ennyana bbiri eza zaabu, era mangu ddala kiki ekibaawo mu nsi?
6. Kiki ekituuka ku bwakabaka obw’ebika ebibiri ne yeekaalu ya Yakuwa eri mu Yerusaalemi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Bassekabaka 11:26-43.
Yerobowaamu yali muntu wa ngeri ki, era Yakuwa yasuubiza kumuwa ki singa yakuuma amateeka ge? (1 Bassek. 11:28, 38)
2. Soma 1 Bassekabaka 12:1-33.
(a) Kiki abazadde n’abakadde kye bayinza kuyigira ku kyokulabirako kya Lekobowaamu ekibi ekikwata ku kukozesa obubi obuyinza?(1 Bassek. 12:13; Mub. 7:7; 1 Peet. 5:2, 3)
(b) Abavubuka basaanidde kwebuuza ku ani nga bakola okusalawo okw’amaanyi mu bulamu? (1 Bassek. 12:6, 7; Nge. 1:8, 9; 2 Tim. 3:16, 17; Beb. 13:7)
(c) Kiki ekyaleetera Yerobowaamu okussaawo ebifo bibiri eby’okusinzizaamu ennyana, era kino kyalaga kitya obutaba na kukkiriza mu Yakuwa? (1 Bassek. 11:37; 12:26-28)
(d) Ani yaleetera abantu ab’omu bwakabaka obw’ebika 10 okuva ku kusinza okw’amazima? (1 Bassek. 12:32, 33)
Yezeberi—Kkwini Omubi
1. Yezeberi y’ani?
2. Lumu, lwaki kabaka Akabu anakuwala?
3. Kiki Yezeberi kyakola okusobola okufunira bbaawe Akabu olusuku lwa Nabosi olw’emizabbibu?
4. Yakuwa atuma ani okubonereza Yezeberi?
5. Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki ekibaawo Yeeku bwatuuka mu lubiri lwa Yezeberi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Bassekabaka 16:29-33 ne 18:3, 4.
Empisa mu Isiraeri zaali mbi kwenkana wa mu bufuzi bwa Kabaka Akabu? (1 Bassek. 14:9)
2. Soma 1 Bassekabaka 21:1-16.
(a) Nabosi yalaga atya obuvumu n’obwesige mu Yakuwa? (1 Bassek. 21:1-3; Leev. 25:23-28)
(b) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Akabu singa ebintu tebiba nga bwe tubadde tubisuubira? (1 Bassek. 21:4; Bar. 5:3-5)
3. Soma 2 Bassekabaka 9:30-37.
Kiki kye tuyigira ku bunyiikivu bwa Yeeku okukola Yakuwa kyayagala? (2 Bassek. 9:4-10; 2 Kol. 9:1, 2; 2 Tim. 4:2)
Yekosofaati Yeesiga Yakuwa
1. Yekosofaati y’ani, era abeerawo mu kiseera ki?
2. Lwaki Abaisiraeri batidde, era bangi ku bo bakola ki?
3. Yakuwa ayanukula atya essaala ya Yekosofaati?
4. Kiki Yakuwa ky’akola ng’olutalo terunnabaawo?
5. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Yekosofaati?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Ebyomumirembe 20:1-30.
(a) Yekosofaati yalaga atya ekyo abaweereza ba Katonda abeesigwa kye bandikoze nga boolekaganye n’embeera ezigezesa? (2 Byom. 20:12; Zab. 25:15; 62:1)
(b) Okuva bwe kiri nti Yakuwa bulijjo abadde alina omukutu mw’ayitira okuwuliziganya n’abantu be, mukutu ki gw’akozesa leero? (2 Byom. 20:14, 15; Mat. 24:45-47; Yok. 15:15)
(c) “Olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna” bwe lunaaba lutandise, embeera yaffe eneefaanagana etya n’eya Yekosofaati? (2 Byom. 20:15, 17; 32:8; Kub. 16:14, 16)
(d) Nga bakoppa Abaleevi, kiki bapayoniya n’abaminsani kye bakoze okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna leero? (2 Byom. 20:19, 21; Bar. 10:13-15; 2 Tim. 4:2)
Abalenzi Babiri Abalamuka Nate
1. Abantu abasatu abali mu kifaananyi be baani, era kiki ekituuka ku mulenzi oyo omuto?
2. Eriya asaba ki ku bikwata ku mwana oyo, era kiki ekiddirira?
3. Oyo ayamba ku Eriya y’ani?
4. Lwaki Erisa ayitibwa okugenda mu nnyumba y’omukazi mu Sunemu?
5. Erisa akola ki, era kiki ekituuka ku mwana afudde?
6. Ng’ayitira mu Eriya ne Erisa, Yakuwa alaga ng’alina busobozi bwa kukola ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Bassekabaka 17:8-24.
(a) Obuwulize n’okukkiriza kwa Eriya byagezesebwa bitya? (1 Bassek. 17:9; 19:1-4, 10)
(b) Lwaki okukkiriza kw’omukazi ow’e Zalefaazi kwali kwa nkukunala? (1 Bassek. 17:12-16; Luk. 4:25, 26)
(c) Ekyo ekyatuuka ku mukazi ow’e Zalefaazi kyayoleka kitya obutuufu bw’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:41, 42? (1 Bassek. 17:10-12, 17, 23, 24)
2. Soma 2 Bassekabaka 4:8-37.
(a) Kiki kye tuyigira ku mukazi ow’e Sunemu ku nsonga ey’okusembeza abagenyi? (2 Bassek. 4:8; Luk. 6:38; Bar. 12:13; 1 Yok. 3:17)
(b) Tuyinza tutya okulaga abaweereza ba Katonda ekisa leero? (Bik. 20:35; 28:1, 2; Bag. 6:9, 10; Beb. 6:10)
Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi
1. Mu kifaananyi, kiki omuwala omuto ky’abuulira omukyala?
2. Omukyala ono ali mu kifaananyi y’ani, era omuwala akola ki mu maka g’omukyala ono?
3. Kiki Erisa ky’alagira omuddu we okugamba Naamani, era lwaki kino kinyiiza nnyo Naamani?
4. Kiki ekibaawo Naamani bw’awuliriza abaddu be kye bamugamba?
5. Lwaki Erisa agaana ekirabo kya Naamani, naye ate ye Gekazi ki ky’akola?
6. Kiki ekituuka ku Gekazi, era kino tukiyigirako ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Bassekabaka 5:1-27.
(a) Eky’okulabirako ky’omuwala omuto Omuisiraeri kiyinza kitya okuzzaamu abato amaanyi leero? (2 Bassek. 5:3; Zab. 8:2; 148:12, 13)
(b) Lwaki kirungi okujjukira eky’okulabirako kya Naamani bwe tufuna okukangavvulwa okuva mu Byawandiikibwa? (2 Bassek. 5:15; Beb. 12:5, 6; Yak. 4:6)
(c) Biki bye tusobola okuyigira ku njawulo eriwo wakati wa Erisa ne Gekazi? (2 Bassek. 5:9, 10, 14-16, 20; Mat. 10:8; Bik. 5:1-5; 2 Kol. 2:17)
Yona n’Ekyennyanja Ekinene
1. Yona y’ani, era kiki Yakuwa ky’amugamba okukola?
2. Olw’okuba Yona tayagala kugenda Yakuwa gy’amutuma, kiki ky’akola?
3. Kiki Yona ky’agamba abalunnyanja okukola omuyaga okusobola okulekera awo okukunta?
4. Nga bw’olaba mu kifaananyi, kiki ekituuka ku Yona bw’amala okukka wansi mu mazzi?
5. Yona amala kiseera kyenkana wa mu lubuto lw’ekyennyanja, era kiki ky’akola nga ali omwo?
6. Yona agenda wa bw’amala okuva mu kyennyanja, era kino kituyigiriza ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yona 1:1-17.
Kirabika Yona yawulira atya bwe yatumibwa okugenda okubuulira Abanineeve? (Yona 1:2, 3; Nge. 3:7; Mub. 8:12)
2. Soma Yona 2:1, 2, 10.
Yona bye yayitamu bituyamba bitya okuba n’obukakafu nti Yakuwa ajja kuddamu essaala zaffe? (Zab. 22:24; 34:6; 1 Yok. 5:14)
3. Soma Yona 3:1-10.
(a) Tuzzibwamu tutya amaanyi bwe tumanya nti Yakuwa yeeyongera okukozesa Yona wadde ng’okusooka yali alemereddwa okutuukiriza omulimu ogwali gumuweereddwa? (Zab. 103:14; 1 Peet. 5:10)
(b) Ebyo ebyavaamu nga Yona abuulidde Abanineeve biraga bitya nti si kituufu kulowooza nti abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu tebajja kuwuliriza? (Yona 3:6-9; Mub. 11:6; Bik. 13:48)
Katonda Asuubiza Olusuku Lwe
1. Isaaya yali ani, yabeerawo ddi, era kiki Yakuwa kye yamulaga?
2. Ebigambo “olusuku lwa Katonda” bitegeeza ki, era bikujjukiza ki?
3. Kiki Yakuwa kye yagamba Isaaya okuwandiika ku Lusuku lwa Katonda oluppya?
4. Lwaki Adamu ne Kaawa baafiirwa amaka gaabwe amalungi?
5. Kiki Yakuwa ky’asuubiza abo abamwagala?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Isaaya 11:6-9.
(a) Ekigambo kya Katonda kiraga kitya emirembe eginaabangawo wakati w’ebisolo n’abantu mu nsi empya? (Zab. 148:10, 13; Is. 65:25; Ezk. 34:25)
(b) Ebigambo bya Isaaya bituukirizibwa bitya mu ngeri ey’eby’omwoyo eri abantu ba Yakuwa leero? (Bar. 12:2; Bef. 4:23, 24)
(c) Ani agwanidde okwebazibwa olw’enkyukakyuka abantu ze bakola mu kiseera kino, era ne ze banaakola mu nsi empya? (Is. 48:17, 18; Bag. 5:22, 23; Baf. 4:7)
2. Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.
(a) Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Katonda okubeera awamu n’abantu kiri mu ngeri ya kabonero? (Leev. 26:11, 12; 2 Byom. 6:18; Is. 66:1; Kub. 21:2, 3, 22-24)
(b) Maziga na bulumi bwa ngeri ki ebijja okuggibwawo? (Luk. 8:49-52; Bar. 8:21, 22; Kub. 21:4)
Katonda Ayamba Kabaka Keezeekiya
1. Omusajja oyo ali mu kifaananyi y’ani, era lwaki mweraliikirivu?
2. Mabaluwa ki Keezeekiya g’atadde mu maaso ga Katonda, era kiki Keezeekiya ky’asaba?
3. Keezeekiya kabaka wa ngeri ki, era bubaka ki Yakuwa bw’amuwa okuyitira mu nnabbi Isaaya?
4. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki malayika wa Yakuwa ky’akoze Abasuuli?
5. Wadde nga kati obwakabaka obw’ebika ebibiri bufunye emirembe okumala akaseera, kiki ekibaawo oluvannyuma lw’okufa kwa kabaka Keezeekiya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Bassekabaka 18:1-36.
(a) Omwogezi wa Bwasuli ayitibwa Labusake agezaako atya okunafuya okukkiriza kw’Abaisiraeri? (2 Bassek. 18:19, 21; Kuv. 5:2; Zab. 64:3)
(b) Bwe boolekagana n’ababaziyiza, Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera batya ekyokulabirako kya Keezeekiya? (2 Bassek. 18:36; Zab. 39:1; Nge. 26:4; 2 Tim. 2:24)
2. Soma 2 Bassekabaka 19:1-37.
(a) Abantu ba Yakuwa leero bakoppa batya ekyokulabirako kya Keezeekiya nga bali mu biseera ebizibu? (2 Bassek. 19:1, 2; Nge. 3:5, 6; Beb. 10:24, 25; Yak. 5:14, 15)
(b) Mirundi ki esatu Kabaka Sennakeribu gye yawangulibwa, era ani gw’akiikirira mu ngeri ey’obunnabbi? (2 Bassek. 19:32, 35, 37; Kub. 20:2, 3)
3. Soma 2 Bassekabaka 21:1-6, 16.
Lwaki kiyinza okugambibwa nti Manase y’omu ku bakabaka abaasingayo okuba ababi abaafuga Yerusaalemi? (2 Byom. 33:4-6, 9)
Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo
1. Yosiya afuuka kabaka nga wa myaka emeka, era kiki kyatandika okukola nga yaakafugira emyaka musanvu?
2. Mu kifaananyi ekisooka, Yosiya omulaba akola ki?
3. Kiki kabona omukulu ky’azuula abasajja bwe baba baddaabiriza yeekaalu?
4. Lwaki Yosiya ayuzaamu engoye ze?
5. Bubaka ki obuva eri Yakuwa nnabbi omukazi Kuluda bw’awa Yosiya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Ebyomumirembe 34:1-28.
(a) Kyakulabirako ki Yosiya ky’ateerawo abo abayinza okuba nga baakulira mu mbeera enzibu? (2 Byom. 33:21-25; 34:1, 2; Zab. 27:10)
(b) Biki ebikulu Yosiya bye yakola okusobola okuzzaawo okusinza okw’amazima mu mwaka ogw’omunaana, ogwa 12 ne ogwa 18 egy’obufuzi bwe? (2 Byom. 34:3, 8)
(c) Kiki kye tusobola okuyigira ku kyokulabirako kya Kabaka Yosiya ne Kabona Omukulu Kirukiya ku ngeri y’okukuumamu ebifo byaffe eby’okusinzizaamu nga biri mu mbeera nnungi? (2 Byom. 34:9-13; Nge. 11:14; 1 Kol. 10:31)
Omusajja Atatya
1. Omusajja ono ali mu kifaananyi y’ani?
2. Yeremiya awulira atya bw’agambibwa okufuuka nnabbi, naye ate Yakuwa amugamba atya?
3. Bubaka ki Yeremiya bw’anyiikira okugamba abantu?
4. Bakabona bagezaako batya okuziyiza Yeremiya okubuulira, naye alaga atya nti muvumu?
5. Kiki ekibaawo Abaisiraeri bwe balemererwa okukyusa empisa zaabwe embi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yeremiya 1:1-8.
(a) Nga bwe kirabikira mu kyokulabirako kya Yeremiya, omuntu afuna atya ebisaanyizo eby’okuweereza Yakuwa? (2 Kol. 3:5, 6)
(b) Ekyokulabirako kya Yeremiya kisobola kitya okuzzaamu abavubuka Abakristaayo amaanyi leero? (Mub. 12:1; 1 Tim. 4:12)
2. Soma Yeremiya 10:1-5.
Kyakulabirako ki ekituukirawo Yeremiya ky’akozesa okulaga obutaliimu obuli mu kwesiga ebifaananyi? (Yer. 10:5; Is. 46:7; Kaab. 2:19)
3. Soma Yeremiya 26:1-16.
(a) Nga balangirira obubaka obw’okulabula leero, ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta bagoberera batya ekyo Yakuwa kye yagamba Yeremiya ‘obutalekaayo kigambo na kimu’? (Yer. 26:2; Ma. 4:2; Bik. 20:27)
(b) Kyakulabirako ki ekirungi Yeremiya kye yateerawo Abajulirwa ba Yakuwa leero ekikwata ku kulangirira obubaka bwa Yakuwa obw’okulabula amawanga? (Yer. 26:8, 12, 14, 15; 2 Tim. 4:1-5)
4. Soma 2 Bassekabaka 24:1-17.
Bintu ki ebibi ebyava mu butali bwesigwa bwa Yuda eri Yakuwa? (2 Bassek. 24:2-4, 14)
Abalenzi Bana mu Babulooni
1. Abalenzi abana abali mu kifaananyi be baani, era lwaki bali e Babulooni?
2. Nebukadduneeza ateekateeka kukolera ki abavubuka abo abana, era kiki ky’alagira abaddu be okukola?
3. Ku bikwata ku mmere n’eby’okunywa, kiki Danyeri ky’asaba ku lulwe ne ku lwa banne abasatu?
4. Oluvannyuma lw’okulya enva endiirwa okumala ennaku kkumi, Danyeri ne banne abasatu baawukana batya ku bavubuka abalala?
5. Danyeri ne banne abasatu bajja batya okubeera mu lubiri lwa kabaka, era mu ngeri ki gye basinga bakabona n’abasajja abagezigezi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Danyeri 1:1-21.
(a) Twetaaga kufuba mu ngeri ki okusobola okuziyiza ebikemo n’okuvvuunuka obunafu? (Dan. 1:8; Lub. 39:7, 10; Bag. 6:9)
(b) Mu ngeri ki leero abavubuka gye bayinza okukemebwa oba okupikirizibwa okwenyigira mu bintu ebimu abamu bye batwala okuba ‘ebirungi’? (Dan. 1:8; Nge. 20:1; 2 Kol. 6:17–7:1)
(c) Bye tusoma mu Baibuli ku bavubuka Abaebbulaniya abana bituyamba kutegeera ki ekikwata ku kufuna obuyigirize obw’ensi? (Dan. 1:20; Is. 54:13; 1 Kol. 3:18-20)
Yerusaalemi Kizikiriziddwa
1. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki ekituuse ku Yerusaalemi ne ku Baisiraeri?
2. Ezeekyeri y’ani, era bintu ki ebibi Yakuwa by’amulaga?
3. Olw’okuba Abaisiraeri tebawa Yakuwa kitiibwa, kiki ky’asuubiza okubakola?
4. Kiki Kabaka Nebukadduneeza kyakola ng’Abaisiraeri bamujeemedde?
5. Lwaki Yakuwa akkiriza okuzikirizibwa okw’amaanyi bwe kuti okutuuka ku Baisiraeri?
6. Ensi ya Isiraeri erekebwa etya nga temuli bantu, era kumala banga ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 2 Bassekabaka 25:1-26.
(a) Zeddekiya yali ani era kiki ekyamutuukako, era kino kyatuukiriza kitya obunnabbi bwa Baibuli? (2 Bassek. 25:5-7; Ezk. 12:13-15)
(b) Baani Yakuwa be yavunaana olw’obutali bwesigwa bw’Abaisiraeri? (2 Bassek. 25:9, 11, 12, 18, 19; 2 Byom. 36:14, 17)
2. Soma Ezeekyeri 8:1-18.
Kristendomu akoppye atya Abaisiraeri abeewagguzi abaasinzanga enjuba? (Ezk. 8:16; Is. 5:20, 21; Yok. 3:19-21; 2 Tim. 4:3)
Baagaana Okuvuunama
1. Tteeka ki Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni ly’awadde abantu?
2. Lwaki mikwano gya Danyeri abasatu bagaanye okuvuunamira ekifaananyi kya zaabu?
3. Nebukadduneeza bw’awa Abaebbulaniya abasatu omukisa omulala okuvuunama, balaga batya nti beesiga Yakuwa?
4. Kiki Nebukadduneeza ky’alagira abasajja be okukola Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego?
5. Kiki Nebukadduneeza ky’alaba bw’atunula mu kikoomi ky’omuliro?
6. Lwaki kabaka atendereza Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, era kyakulabirako ki kye baatuteerawo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Danyeri 3:1-30.
(a) Ndowooza ki abavubuka abasatu Abaebbulaniya gye baayoleka era abaweereza ba Katonda bonna gye bagwanidde okukoppa nga bagezeseddwa? (Dan. 3:17, 18; Mat. 10:28; Bar. 14:7, 8)
(b) Ssomo ki ery’amaanyi Yakuwa Katonda ly’awa Nebukadduneeza? (Dan. 3:28, 29; 4:34, 35)
Omukono Guwandiika ku Kisenge
1. Kiki ekibaawo kabaka wa Babulooni bw’akola embaga ennene era n’akozesa ebikopo n’ebibya ebyaggibwa mu yeekaalu ya Yakuwa e Yerusaalemi?
2. Kiki Berusazza ky’agamba abasajja be abagezigezi, naye kiki kye batasobola kukola?
3. Kiki maama wa kabaka ky’amugamba okukola?
4. Okusinziira ku ebyo Danyeri by’agamba kabaka, lwaki Katonda asindise omukono okuwandiika ku kisenge?
5. Danyeri annyonnyola atya amakulu g’ebigambo ebiri ku kisenge?
6. Kiki ekibaawo nga Danyeri akyayogera?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Danyeri 5:1-31.
(a) Laga enjawulo eriwo wakati w’okutya Katonda n’okutya Berusazza kwe yafuna nga alabye ebiwandiiko ku kisenge? (Dan. 5:6, 7; Zab. 19:9; Bar. 8:35-39)
(b) Danyeri yayoleka atya obuvumu bwe yali nga ayogera eri Berusazza n’abagenyi be? (Dan. 5:17, 18, 22, 26-28; Bik. 4:29)
(c) Danyeri essuula 5 eggumiza etya nti Yakuwa ye mufuzi w’obutonde bwonna? (Dan. 4:17, 25; 5:21)
Danyeri mu Kinnya ky’Empologoma
1. Daliyo y’ani, era ayisa Danyeri mu ngeri ki?
2. Kiki abasajja abamu ab’obuggya kye baleetera Daliyo okukola?
3. Kiki Danyeri ky’akola bw’ategeera nti wassiddwawo etteeka eriggya?
4. Kiki ekinakuwaza Daliyo n’atuuka n’okulemererwa okwebaka, era kiki ky’akola enkeera?
5. Danyeri ayanukula atya Daliyo?
6. Kiki ekituuka ku basajja ababi abaagezaako okutta Danyeri, era kiki Daliyo ky’awandiikira abantu bonna ab’omu bwakabaka bwe?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Danyeri 6:1-28.
(a) Mu ngeri ki olukwe abalabe ba Danyeri lwe baamukolera gye lutujjukiza ekyo abaziyiza kye bagezezzaako okukola okulemesa omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu biseera bino? (Dan. 6:7; Zab. 94:20; Is. 10:1; Bar. 8:31)
(b) Abaweereza ba Katonda leero basobola batya okukoppa ekyokulabirako kya Danyeri eky’okugondera “abakulu abafuga”? (Dan. 6:5, 10; Bar. 13:1; Bik. 5:29)
(c) Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Danyeri eky’okuweereza Yakuwa ‘n’obunyiikivu’? (Dan. 6:16, 20; Baf. 3:16; Kub. 7:15)
Abantu ba Katonda Bava e Babulooni
1. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki Abaisiraeri kye bakola?
2. Mu ngeri ki Kuulo gye yatuukirizaamu obunnabbi Yakuwa bwe yawa okuyitira mu Isaaya?
3. Kiki Kuulo ky’agamba Abaisiraeri abataddayo Yerusaalemi?
4. Kiki Kuulo ky’awa Abaisiraeri okuzzaayo e Yerusaalemi?
5. Abaisiraeri kibatwalira bbanga ki okutuuka e Yerusaalemi?
6. Ekibuga kimaze banga ki nga tekiriimu muntu yenna?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Isaaya 44:28 ne 45:1-4.
(a) Yakuwa yaggumiza atya okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwe yawa obukwata ku Kuulo? (Is. 55:10, 11; Bar. 4:17)
(b) Obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Kuulo bulaga butya nti Katonda asobola okulagula eby’omu maaso? (Is. 42:9; 45:21; 46:10, 11; 2 Peet. 1:20)
2. Soma Ezera 1:1-11.
Nga tugoberera ekyokulabirako ky’abo abataasobola kuddayo Yerusaalemi, tuyinza tutya leero ‘okunyweza emikono’ gy’abo abasobola okuyingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna? (Ezer. 1:4, 6; Bar. 12:13; Bak. 4:12)
Okwesiga Obuyambi bwa Katonda
1. Bantu bameka abatindigga olugendo okuva e Babulooni okugenda e Yerusaalemi, naye mbeera ki gye basangayo?
2. Kiki Abaisiraeri kye batandika okuzimba nga batuuse, naye kiki abalabe baabwe kye bakola?
3. Kaggayi ne Zekkaliya be baani, era kiki kye bagamba abantu?
4. Lwaki Tattenayi aweereza ebbaluwa e Babulooni, era addibwamu atya?
5. Kiki Ezera ky’akola bw’akimanya nti yeekaalu ya Katonda yeetaaga okuddaabirizibwa?
6. Nga bwe kirabikira mu kifaananyi, Ezera asaba ki, essaala ye eddibwamu etya, era ffe kino kituyigiriza ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ezera 3:1-13.
Singa lumu twesanga mu kitundu ekitaliimu kibiina ky’abantu ba Katonda, twandyeyongedde kukola ki? (Ezer. 3:3, 6; Bik. 17:16, 17; Beb. 13:15)
2. Soma Ezera 4:1-7.
(b) Kyakulabirako ki Zerubabeeri ky’ateerawo abantu ba Katonda ku butagattika nzikiriza? (Kuv. 34:12; 1 Kol. 15:33; 2 Kol. 6:14-17)
3. Soma Ezera 5:1-5, 17 ne 6:1-22.
(a) Lwaki abaziyiza tebaasobola kuyimiriza mulimu gwa kuzimba yeekaalu? (Ezer. 5:5; Is. 54:17)
(b) Abasajja Abayudaaya abakulu kye baakola kikubiriza kitya abakadde Abakristaayo okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga boolekaganye n’okuziyizibwa? (Ezer. 6:14; Zab. 32:8; Bar. 8:31; Yak. 1:5)
4. Soma Ezera 8:21-23, 28-36.
Nga tetunnabaako kintu kyonna kye tukola, kyakulabirako ki ekya Ezera ekyandibadde ekirungi okugoberera? (Ezer. 8:23; Zab. 127:1; Nge. 10:22; Yak. 4:13-15)
Moluddekaayi ne Eseza
1. Moluddekaayi ne Eseza be baani?
2. Lwaki Kabaka Akaswero yeetaaga omukazi omulala, era alonda ani?
3. Kamani y’ani, era lwaki anyiize?
4. Tteeka ki eriyisibwa, era kiki Eseza ky’akola oluvannyuma lw’okufuna obubaka okuva eri Moluddekaayi?
5. Kiki ekituuka ku Kamani, era kiki ekituuka ku Moluddekaayi?
6. Abaisiraeri balokolebwa batya okuva ku balabe baabwe?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Eseza 2:12-18.
Eseza yalaga atya obukulu bw’okubeera ‘n‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu’? (Es. 2:15; 1 Peet. 3:1-5)
2. Soma Eseza 4:1-17.
Okufaananako Eseza eyaweebwa enkizo ey’okubaako ky’akolawo ku lw’okusinza okw’amazima, nkizo ki naffe leero gye tuweereddwa okusobola okulaga nti twesigira ddala Yakuwa? (Es. 4:13, 14; Mat. 5:14-16; 24:14)
3. Soma Eseza 7:1-6.
Mu ngeri ki abantu ba Katonda leero gye batadde obulamu bwabwe mu kabi nga Eseza bwe yakola? (Es. 7:4; Mat. 10:16-22; 1 Peet. 2:12)
Bbugwe wa Yerusaalemi
1. Abaisiraeri baawulira batya nga tebalina bbugwe yeetolodde kibuga kyabwe?
2. Nekkemiya y’ani?
3. Nekkemiya akola mulimu ki, era lwaki omulimu ogwo mukulu?
4. Mawulire ki aganakuwaza Nekkemiya, era akola ki?
5. Kabaka Alutagizerugizi alaga atya Nekkemiya ekisa?
6. Nekkemiya ateekateeka atya omulimu ogw’okuzimba ne kiba nti abalabe b’Abaisiraeri tebasobola kuguyimiriza?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Nekkemiya 1:4-6 ne 2:1-20.
Nekkemiya yakola ki okusobola okufuna obulagirizi bwa Yakuwa? (Nek. 2:4, 5; Bar. 12:12; 1 Peet. 4:7)
2. Soma Nekkemiya 3:3-5.
Kiki abakadde n’abaweereza mu kibiina kye bayinza okuyigira ku njawulo eyaliwo wakati wa Abatekowa ‘n’abakungu baabwe’? (Nek. 3:5, 27; 2 Bas. 3:7-10; 1 Peet. 5:5)
3. Soma Nekkemiya 4:1-23.
(a) Kiki ekyakubiriza Abaisiraeri okweyongera okuzimba wadde nga baali boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi? (Nek. 4:6, 8, 9; Zab. 50:15; Is. 65:13, 14)
(b) Mu ngeri ki ekyokulabirako ky’Abaisiraeri gye kituzzaamu amaanyi leero?
4. Soma Nekkemiya 6:15.
Ebisenge bya Yerusaalemi okuba nga byaggwa okuzimbibwa mu myezi ebiri gyokka kiraga kitya nti okukkiriza kwa maanyi? (Zab. 56:3, 4; Mat. 17:20; 19:26)
Malayika Akyalira Malyamu
1. Omukazi oyo ali mu kifaananyi y’ani?
2. Kiki Gabulyeri ky’agamba Malyamu?
3. Gabulyeri annyonnyola atya Malyamu nti agenda kuzaala omwana wadde nga teyeetabangako na musajja?
4. Kiki ekibaawo Malyamu bw’akyalira Erisabesi?
5. Kiki Yusufu ky’alowooza bw’akitegeera nti Malyamu agenda kuzaala omwana, naye ate lwaki akyusa ebirowoozo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Lukka 1:26-56.
(a) Lukka 1:35 walaga ki ekikwata ku butali butuukirivu Malyamu bwe yasikira okuva ku Adamu, obulamu bw’omwana wa Katonda bwe bwakyusibwa okuva mu ttwale ery’emyoyo? (Kag. 2:11-13; Yok. 6:69; Beb. 7:26; 10:5)
(b) Ne bwe yali nga tannazaalibwa, kitiibwa ki Yesu kye yafuna? (Luk. 1:41-43)
(c) Kyakulabirako ki Malyamu kyateerawo Abakristaayo abafuna enkizo ez’enjawulo mu buweereza leero? (Luk. 1:38, 46-49; 17:10; Nge. 11:2)
2. Soma Matayo 1:18-25.
Wadde nga Yesu teyatuumibwa linnya Emmanweri, ebyo bye yakola ng’akyali muntu byatuukiriza bitya amakulu gaalyo? (Mat. 1:22, 23; Yok. 14:8-10; Beb. 1:1-3)
Yesu Azaalibwa mu Kisibo
1. Omwana ono omuwere ali mu kifaananyi y’ani, era Malyamu amuzazise wa?
2. Lwaki Yesu yazaalibwa mu kisibo ky’ensolo?
3. Mu kifaananyi, abasajja abayingira mu kisibo be baani, era kiki malayika ky’abagambye?
4. Lwaki Yesu wa njawulo?
5. Lwaki Yesu ayinza okuyitibwa omwana wa Katonda?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Lukka 2:1-20.
(a) Kiki Kayisaali Agusito kye yakola mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku kuzaalibwa kwa Yesu? (Luk. 2:1-4; Mi. 5:2)
(b) Omuntu ayinza atya okuba omu ku abo aboogerwako nga ‘abantu abasiimibwa’? (Luk. 2:14; Mat. 16:24; Yok. 17:3; Bik. 3:19; Beb. 11:6)
(c) Bwe kiba nti abasumba Abayudaaya abawombeefu baajaguliza okuzaalibwa kw’Omulokozi, nsonga ki enkulu ereetera abaweereza ba Katonda leero okusanyuka? (Luk. 2:10, 11; Bef. 3:8, 9; Kub. 11:15; 14:6)
Abasajja Bakulemberwa Emmunyeenye
1. Abasajja abo abali mu kifaananyi be baani, era lwaki omu ku bo asonga ku mmunyeenye ennene?
2. Lwaki Kabaka Kerode anyiiga, era kiki ky’akola?
3. Emmunyeenye eyaka ennyo ebakulembera kubatwala wa, naye lwaki bwe baba baddayo mu nsi yaabwe bayita mu kkubo ddala?
4. Kiragiro ki Kerode ky’awa, era lwaki?
5. Kiki Yakuwa ky’agamba Yusufu okukola?
6. Kiki ekyaleetera emmunyeenye eno empya okwaka, era lwaki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 2:1-23.
Yesu yalina emyaka emeka abalaguza emmunyeenye we bajjira okumulaba, era yali abeera wa? (Mat. 2:1, 11, 16)
Yesu Omuto mu Yeekaalu
1. Mu kifaananyi kino Yesu aweza emyaka emeka, era ali ludda wa?
2. Yusufu n’ab’omu maka ge baakolanga ki buli mwaka?
3. Oluvannyuma lw’okutambulira olunaku lumu nga baddayo eka, lwaki ate Yusufu ne Malyamu bakomawo e Yerusaalemi?
4. Yusufu ne Malyamu basanga wa Yesu, era lwaki abantu beewuunya?
5. Yesu addamu atya nnyina, Malyamu?
6. Tuyinza tutya okubeera nga Yesu mu kuyiga ebikwata ku Katonda?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Lukka 2:41-52.
(a) Wadde ng’Amateeka gaali geetaagisa basajja bokka okugenda ku mbaga ezaabangawo buli mwaka, kyakulabirako ki ekirungi Yusufu ne Malyamu kye baateerawo abazadde leero? (Luk. 2:41; Ma. 16:16; 31:12; Nge. 22:6)
(b) Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateerawo abato leero ku kugondera bazadde baabwe? (Luk. 2:51; Ma. 5:16; Nge. 23:22; Bak. 3:20)
2. Soma Matayo 13:53-56.
Baganda ba Yesu abana aboogerebwako mu Baibuli be baani, era oluvannyuma babiri ku bo bakozesebwa batya mu kibiina Ekikristaayo? (Mat. 13:55; Bik. 12:17; 15:6, 13; 21:18; Bag. 1:19; Yak. 1:1; Yuda 1)
Yokaana Abatiza Yesu
1. Abasajja ababiri mu kifaananyi be baani?
2. Omuntu abatizibwa atya?
3. Baani bulijjo Yokaana baabatiza?
4. Yesu asaba Yokaana okumubatiza lwa nsonga ki ey’enjawulo?
5. Katonda akiraga atya nti asanyukidde okubatizibwa kwa Yesu?
6. Kiki ekibaawo nga Yesu agenze okubeera yekka okumala ennaku 40?
7. Abamu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka be baani, era kyamagero ki kye yasooka okukola?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 3:13-17.
Kyakulabirako ki ekikwata ku kubatiza Yesu kye yateerawo abayigirizwa be? (Zab. 40:7, 8; Mat. 28:19, 20; Luk 3:21, 22)
2. Soma Matayo 4:1-11.
Engeri Yesu gye yakozesaamu Ebyawandiikibwa etukubiriza etya okwesomesa Baibuli obutayosa? (Mat. 4:5-7; 2 Peet. 3:17, 18; 1 Yok. 4:1)
3. Soma Yokaana 1:29-51.
Yokaana omubatiza yagamba abayigirizwa be kutunuulira ani, era tuyinza tutya okumukoppa leero? (Yok. 1:29, 35, 36; 3:30; Mat. 23:10)
4. Soma Yokaana 2:1-12.
Ekyamagero Yesu kye yasooka okukola kyalaga kitya nti Yakuwa tamma baweereza be kintu kirungi? (Yok. 2:9, 10; Zab. 84:11; Yok. 1:17)
Yesu Alongoosa Yeekaalu
1. Lwaki ebisolo babitundira mu yeekaalu?
2. Kiki ekinyiiza Yesu?
3. Nga bw’olaba mu kifaananyi, Yesu akola ki, era kiki kyalagira abasajja abatunda amayiba?
4. Abagoberezi ba Yesu bwe balaba ky’akola, kiki kye bajjukira?
5. Yesu ayita mu ssaza ki ng’addayo e Ggaliraaya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yokaana 2:13-25.
Bwe tulowooza ku ngeri Yesu gye yasunguwaliramu abaali bawaanyisa effeeza mu yeekaalu, twanditutte tutya okukolera bizineesi mu Kizimbe eky’Obwakabaka? (Yok. 2:15, 16; 1 Kol. 10:24, 31-33)
N’Omukazi ku Luzzi
1. Lwaki Yesu awummuddemu ku luzzi mu Samaliya, era kiki ky’agamba omukazi?
2. Lwaki omukazi yeewuunya, Yesu amugamba ki, era lwaki?
3. Omukazi alowooza nti Yesu ayogera ku mazzi ki, naye Yesu ategeeza mazzi ki?
4. Lwaki omukazi yeewuunya ebyo Yesu byamumanyiiko, era bino Yesu yabimanya atya?
5. Ebyo ebyaliwo ebikwata ku mukazi eyali ku luzzi bituyigiriza ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yokaana 4:5-43.
(a) Okusinziira ku kyokulabirako kya Yesu, twanditutte tutya abantu ab’eggwanga eddala oba langi? (Yok. 4:9; 1 Kol. 9:22; 1 Tim. 2:3, 4; Tito 2:11)
(b) Miganyulo ki egy’eby’omwoyo omuntu afuuse omugoberezi wa Yesu gy’afuna? (Yok. 4:14; Is. 58:11; 2 Kol. 4:16)
(c) Tuyinza tutya okulaga okusiima ng’okw’omukazi Omusamaliya, eyali ayagala okutegeezaako abalala by’ayize? (Yok. 4:7, 28; Mat. 6:33; Luk. 10:40-42)
Yesu Ayigiriza ku Lusozi
1. Mu kifaananyi Yesu ayigiririza wa, era baani abo abamutudde ku lusegere?
2. Amannya g’abatume 12 be baani?
3. Bwakabaka ki Yesu bw’abuulira?
4. Kiki Yesu ky’ayigiriza abantu okusaba?
5. Yesu ayigiriza ki ku ngeri abantu gye bandiyisizzaamu bantu bannaabwe?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 5:1-12.
Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo? (Mat. 5:3; Bar. 10:13-15; 1 Tim. 4:13, 15, 16)
2. Soma Matayo 5:21-26.
Matayo 5:23, 24 ziraga zitya nti enkolagana yaffe ne baganda baffe erina akakwate n’enkolagana yaffe ne Yakuwa? (Mat. 6:14, 15; Zab. 133:1; Bak. 3:13; 1 Yok. 4:20)
3. Soma Matayo 6:1-8.
Ngeri ki ezimu ez’okwegulumiza Abakristaayo ze basaanidde okwewala? (Luk. 18:11, 12; 1 Kol. 4:6, 7; 2 Kol. 9:7)
4. Soma Matayo 6:25-34.
Yesu yayigiriza ki ku kwesiga Yakuwa okutuwa bye twetaaga? (Nge. 16:4; Zab. 37:25; Baf. 4:6)
5. Soma Matayo 7:1-11.
Ekyokulabirako ekyogerwako mu Matayo 7:5 kituyigiriza ki? (Nge. 26:12; Bar. 2:1; 14:10; Yak. 4:11, 12)
Yesu Azuukiza Abafu
1. Taata w’omuwala ali mu kifaananyi y’ani, era lwaki ye ne mukyala we beeraliikirivu nnyo?
2. Yayiro akola ki ng’azudde Yesu?
3. Kiki ekibaawo nga Yesu agenda ewa Yayiro, era bubaka ki Yayiro bw’afuna ng’ali mu kkubo?
4. Lwaki abantu abali mu nnyumba ya Yayiro basekerera Yesu?
5. Ng’amaze okutwala abatume basatu, taata w’omuwala ne maama we mu kisenge omuwala gyali, Yesu akola ki?
6. Baani abalala Yesu baazuukiza okuva mu bafu, era kino kiraga ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Lukka 8:40-56.
Yesu yasaasira atya era yategeera atya obuzibu omukazi eyalina ekikulukuto ky’omusaayi bwe yalina, era abakadde Abakristaayo kino bakiyigirako ki? (Luk. 8:43, 44, 47, 48; Leev. 15:25-27; Mat. 9:12, 13; Bak. 3:12-14)
2. Soma Lukka 7:11-17.
Lwaki abo abafiiriddwa abaagalwa baabwe babudaabudibwa bwe bamanya ekyo Yesu kye yakolera nnamwandu ow’e Nayini? (Luk. 7:13; 2 Kol. 1:3, 4; Beb. 4:15)
3. Soma Yokaana 11:17-44.
Yesu yakiraga atya nti kya mu butonde okukungubaga omwagalwa ng’afudde? (Yok. 11:33-36, 38; 2 Sam. 18:33; 19:1-4)
Yesu Aliisa Abantu Bangi
1. Kintu ki ekibi ekituuse ku Yokaana Omubatiza, era kino Yesu kimuyisa kitya?
2. Yesu aliisa atya ekibiina ky’abantu ekimugoberedde, era emmere efisseewo yenkana wa?
3. Lwaki abayigirizwa batidde nnyo mu kiro, era kiki ekituuka ku Peetero?
4. Yesu aliisa atya enkumi n’enkumi z’abantu omulundi ogw’okubiri?
5. Lwaki kijja kuba kirungi nnyo Yesu bw’alifuga ku nsi nga Kabaka Katonda gw’alonze?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 14:1-32.
(a) Ebiri mu Matayo 14:23-32 bitutegeeza ki ku ngeri za Peetero?
(b) Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Peetero yalongoosaamu n’alekayo okupapa? (Mat. 14:27-30; Yok. 18:10; 21:7; Bik. 2:14, 37-40; 1 Peet. 5:6, 10)
2. Soma Matayo 15:29-38.
Yesu yasiima atya engeri Kitaawe gye yali amulabiriramu? (Mat. 15:37; Yok. 6:12; Bak. 3:15)
3. Soma Yokaana 6:1-21.
Leero Abakristaayo bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ku bikwata ku gavumenti? (Yok. 6:15; Mat. 22:21; Bar. 12:2; 13:1-4)
Ayagala Abaana Abato
1. Kiki abatume kye bawakanako nga bava ku lugendo oluwanvu?
2. Lwaki Yesu ayita omwana n’amuyimiriza mu maaso g’abatume?
3. Abatume basaanidde okuyiga okubeera ng’abaana abato mu ngeri ki?
4. Nga wayiseewo emyezi mitono, Yesu alaga atya nti ayagala abaana abato?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo18:1-4.
Lwaki Yesu yakozesa ebyokulabirako ng’ayigiriza? (Mat. 13:34, 36; Mak. 4:33, 34)
2. Soma Matayo 19:13-15.
Ngeri ki ez’abaana abato ze twandikoppye bwe tuba twagala okufuna emikisa gy’Obwakabaka? (Zab. 25:9; 138:6; 1 Kol. 14:20)
3. Soma Makko 9:33-37.
Kiki Yesu kye yayigiriza abagoberezi be ku bikwata ku bukulu? (Mak. 9:35; Mat. 20:25, 26; Bag. 6:3; Baf. 2:5-8)
4. Soma Makko 10:13-16.
Mu ngeri ki Yesu gye yali atuukirikika, era abakadde Abakristaayo bayinza batya okumukoppa?
Engeri Yesu Gy’Ayigirizaamu
1. Kibuuzo ki omusajja kyabuuza Yesu, era lwaki?
2. Emirundi egimu Yesu ayigiriza ng’akozesa ki, era kiki kye tumaze okuyiga ku Bayudaaya n’Abasamaliya?
3. Mu lugero lwa Yesu, kiki ekituuka ku Muyudaaya akkirira mu luguudo olugenda e Yeriko?
4. Kabona Omuyudaaya n’Omuleevi bakola ki bwe balaba Omuyudaaya gwe bakubye?
5. Mu kifaananyi, ani oyo ayamba Omuyudaaya gwe bakubye?
6. Oluvannyuma lw’okugera olugero, kibuuzo ki Yesu ky’abuuza, era omusajja addamu atya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Lukka 10:25-37.
(a) Mu kifo ky’okumuddamu butereevu, Yesu yayamba atya omusajja eyali amanyi Amateeka okufumiitiriza ku nsonga ye kennyini? (Luk. 10:26; Mat. 16:13-16)
(b) Yesu yakozesa atya ebyokulabirako okuyamba abamuwuliriza obutasosola balala? (Luk. 10:36, 37; 18:9-14; Tito 1:9)
Yesu Awonya Abalwadde
1. Kiki Yesu ky’akola ng’atambula mu ggwanga lyonna?
2. Nga waakayitawo emyaka esatu bukya Yesu abatizibwa, kiki ky’abuulira abatume be?
3. Baani abo abali mu kifaananyi, era kiki Yesu ky’akolera omukazi?
4. Lwaki Yesu by’addamu abakulembeze b’eddiini bibaswaza?
5. Nga Yesu n’abatume be banaatera okuyingira e Yeriko, kiki kyakolera abazibe b’amaaso ababiri abaali basabiriza?
6. Lwaki Yesu akola eby’amagero?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 15:30, 31.
Amaanyi ga Yakuwa geeyolekera gatya mu ebyo Yesu bye yakola, era kino kyoleka ki ku ekyo Yakuwa ky’asuubizza okutukolera mu nsi empya? (Zab. 37:29; Is. 33:24)
2. Soma Lukka 13:10-17.
Okuba nti Yesu yakola ebyamagero eby’amaanyi ku ssabbiiti kiraga kitya obuweerero bw’alireetera olulyo lw’omuntu mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi? (Luk. 13:10-13; Zab. 46:9; Mat. 12:8; Bak. 2:16, 17; Kub. 21:1-4)
3. Soma Matayo 20:29-34.
Ekyawandiikibwa ekyo kiraga kitya nti Yesu teyabulwa biseera kuyamba bantu, era kino kituyigiriza ki? (Ma. 15:7; Yak. 2:15, 16; 1 Yok. 3:17)
Yesu Ajja nga Kabaka
1. Yesu bwatuuka ku kaalo akatono akali okumpi ne Yerusaalemi, kiki ky’agamba abayigirizwa be okukola?
2. Mu kifaananyi, kiki ekibaawo nga Yesu atuuse okumpi n’ekibuga Yerusaalemi?
3. Abaana abato bakola ki bwe balaba Yesu ng’awonya bamuzibe n’abalema?
4. Kiki Yesu ky’addamu bakabona abanyiivu?
5. Tuyinza tutya okubeera ng’abaana abaatendereza Yesu?
6. Kiki abayigirizwa kye baagala okumanya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 21:1-17.
(a) Engeri Yesu gye yayingiramu Yerusaalemi nga Kabaka eyawukana etya ku y’abagabe abaawangulanga mu biseera by’Abaruumi? (Mat. 21:4, 5; Zek. 9:9; Baf. 2:5-8; Bak. 2:15)
(b) Kiki abaana abato kye bayinza okuyigira ku balenzi Abaisiraeri abaayogera ebigambo ebiri mu Zabbuli 118 nga Yesu ayingira mu yeekaalu? (Mat. 21:9, 15; Zab. 118:25, 26; 2 Tim. 3:15; 2 Peet. 3:18)
2. Soma Yokaana 12:12-16.
Amatabi g’enkindu abantu ge baakozesa okutendereza Yesu gakiikirira ki? (Yok. 12:13; Baf. 2:10; Kub. 7:9, 10)
Ku Lusozi Olwa Zeyituuni
1. Mu kifaananyi, Yesu y’aluwa, era ali ne baani?
2. Kiki bakabona kye bagezaako okukola Yesu mu yeekaalu, era Yesu abayita atya?
3. Kiki abatume kye babuuza Yesu?
4. Lwaki Yesu abuulira abatume be ebimu ku bintu ebyandibaddewo ku nsi ng’afuga nga Kabaka mu ggulu?
5. Yesu agamba nti kiki ekinaabaawo nga tannaba kukomya bubi bwonna ku nsi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 23:1-39.
(a) Wadde Ebyawandiikibwa biraga nti tuyinza okukozesa ebitiibwa eby’omu nsi, ebigambo Yesu bye yayogera ebiri mu Matayo 23:8-11 byogera ki ku kukozesa ebitiibwa ebigulumiza omuntu mu kibiina Ekikristaayo? (Bik. 26:25; Bar. 13:7; 1 Peet. 2:13, 14)
(b) Abafalisaayo baakola ki okuziyiza abantu okufuuka Abakristaayo, era abakulembeze b’amadiini bakoze batya ekintu kye kimu mu kiseera kyaffe? (Mat. 23:13; Luk. 11:52; Yok. 9:22; 12:42; 1 Bas. 2:16)
2. Soma Matayo 24:1-14.
(a) Obukulu bw’okugumiikiriza bulagibwa butya mu Matayo 24:13?
(b) Ekigambo “nkomerero” mu Matayo 24:13 kitegeeza ki? (Mat. 16:27; Bar. 14:10-12; 2 Kol. 5:10)
3. Soma Makko 13:3-10.
Bigambo ki mu Makko 13:10 ebiraga obwetaavu bw’okubuulira mu bwangu amawulire amalungi, era ebigambo ebyo byanditukutteko bitya? (Bar. 13:11, 12; 1 Kol. 7:29-31; 2 Tim. 4:2)
Mu Kisenge Ekya Waggulu
1. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, lwaki Yesu n’abatume be 12 bali waggulu mu kisenge ekinene?
2. Omusajja afuluma y’ani, era kiki ky’agenda okukola?
3. Kijjulo ki eky’enjawulo Yesu ky’atandikawo nga bamaze okulya ekijjulo ky’Okuyitako?
4. Okuyitako kwajjukizanga Abaisiraeri mukolo ki, era ekijjulo kino eky’enjawulo kijjukiza ki abagoberezi ba Yesu?
5. Oluvannyuma lw’okulya Eky’Ekiro kya Mukama waffe, kiki Yesu kyategeeza abagoberezi be, era bakola ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 26:14-30.
(a) Matayo 26:15 walaga watya nti Yuda yakigenderera okulya mu Yesu olukwe?
(b) Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gulina bigendererwa ki ebibiri? (Mat. 26:27, 28; Yer. 31:31-33; Bef. 1:7; Beb. 9:19, 20)
2. Soma Lukka 22:1-39.
Mu ngeri ki Setaani gye yayingira mu Yuda? (Luk. 22:3; Yok. 13:2; Bik. 1:24, 25)
3. Soma Yokaana 13:1-20.
(a) Okusinziira ku Yokaana 13:2, Yuda avunaanibwa olw’ekyo kye yakola, era abaweereza ba Katonda kino bakiyigirako ki? (Lub. 4:7; 2 Kol. 2:11; Bag. 6:1; Yak. 1:13, 14)
(b) Kyakulabirako ki Yesu kye yatuteekerawo? (Yok. 13:15; Mat. 23:11; 1 Peet. 2:21)
4. Soma Yokaana 17:1-26.
Yesu yasabira abagoberezi be babeere “bumu” mu ngeri ki? (Yok. 17:11, 21-23; Bar. 13:8; 14:19; Bak. 3:14)
Yesu mu Lusuku
1. Oluvannyuma lw’okuva mu kisenge ekya waggulu Yesu n’abatume be bagenda wa, era kiki ky’abagamba okukola?
2. Yesu bwakomawo awali abatume asanga bakola ki, era kino kibaawo emirundi emeka?
3. Baani abayingira mu lusuku, era kiki Yuda Isukalyoti ky’akola, ng’ekifaananyi bwe kiraga?
4. Lwaki Yuda anywegera Yesu, era kiki Peetero ky’akola?
5. Kiki Yesu ky’agamba Peetero, naye lwaki Yesu tasaba Katonda kumuweereza bamalayika?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 26:36-56.
(a) Kyakulabirako ki Yesu kye yateekerawo abakadde leero mu ngeri gye yabuuliriramu abagoberezi be? (Mat. 20:25-28; 26:40, 41; Bag. 5:17; Bef. 4:29, 31, 32)
(b) Yesu yatunuulira atya okukozesa ebyokulwanyisa? (Mat. 26:52; Luk. 6:27, 28; Yok. 18:36)
2. Soma Lukka 22:39-53.
Malayika bwe yajja okuzzaamu Yesu amaanyi mu lusuku Gesusemane, kino kyategeeza nti okukkiriza kwe kwali kuddiridde? Nnyonnyola. (Luk. 22:41-43; Is. 49:8; Mat. 4:10, 11; Beb. 5:7)
3. Soma Yokaana 18:1-12.
Yesu yakuuma atya abagoberezi be okuva ku balabe be, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kino? (Yok. 10:11, 12; 18:1, 6-9; Beb. 13:6; Yak. 2:25)
Yesu Attibwa
1. Okusingira ddala ani avunaanyizibwa olw’okufa kwa Yesu?
2. Kiki abatume kye bakola ng’abakulembeze b’amadiini batutte Yesu?
3. Kiki ekibaawo mu nnyumba ya Kayaafa, kabona omukulu?
4. Lwaki Peetero avaawo n’akaaba?
5. Nga bamaze okuzzaayo Yesu ewa Piraato, bakabona abakulu bawoggana batya?
6. Kiki ekituuka ku Yesu ku Lwokutaano mu ttuntu, era kisuubizo ki ky’awa omukozi w’ebibi eyali awanikiddwa okumpi naye?
7. Olusuku lwa Katonda Yesu lwe yayogerako lunaabeera wa?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 26:57-75.
Ab’oku lukiiko olukulu olw’Abayudaaya baayoleka batya obubi obuli mu mitima gyabwe? (Mat. 26:59, 67, 68)
2. Soma Matayo 27:1-50.
Lwaki tuyinza okugamba nti okunakuwala kwa Yuda tekwali kwa bwesimbu? (Mat. 27:3, 4; Mak. 3:29; 14:21; 2 Kol. 7:10, 11)
3. Soma Lukka 22:54-71.
Okuba nti Peetero yeegaana Yesu ku lunaku lwe yaliibwamu olukwe era n’akwatibwa, tukiyigirako ki? (Luk. 22:60-62; Mat. 26:31-35; 1 Kol. 10:12)
4. Soma Lukka 23:1-49.
Yesu yakola ki nga bamuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya, era kino tukiyigirako ki? (Luk. 23:33, 34; Bar. 12:17-19; 1 Peet. 2:23)
5. Soma Yokaana 18:12-40.
Okuba nti olumu Peetero yatya abantu kyokka oluvannyuma n’avvuunuka obunafu obwo n’afuuka omutume omuvumu kiraga ki? (Yok. 18:25-27; 1 Kol. 4:2; 1 Peet. 3:14, 15; 5:8, 9)
6. Soma Yokaana 19:1-30.
(a) Ndowooza ki etagudde lubege Yesu gye yalina ku bintu? (Yok. 2:1, 2, 9, 10; 19:23, 24; Mat. 6:31, 32; 8:20)
(b) Ebigambo Yesu bye yayogera ng’afa byayoleka bitya nti yanywerera ku bufuzi bwa Yakuwa? (Yok. 16:33; 19:30; 2 Peet. 3:14; 1 Yok. 5:4)
Yesu Mulamu
1. Omukazi mu kifaananyi y’ani, ate abasajja ababiri be baani, era bali ludda wa?
2. Lwaki Piraato agamba bakabona okusindika abaserikale bakuume entaana ya Yesu?
3. Kiki malayika kyakola ku makya ennyo nga Yesu yaakamala ennaku ssatu nga mufu, naye bakabona bakola ki?
4. Lwaki abakazi abamu beewuunya nga bazze okulaba entaana ya Yesu?
5. Lwaki Peetero ne Yokaana badduka okugenda ku ntaana ya Yesu, era kiki kye basanga?
6. Kiki ekyatuuka ku mulambo gwa Yesu, naye kiki kyakola okulaga abayigirizwa be nti mulamu?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Matayo 27:62-66 ne 28:1-15.
Yesu bwe yazuukira, bakabona abakulu, Abafalisaayo n’abakadde bavvoola batya omwoyo omutukuvu? (Mat. 12:24, 31, 32; 28:11-15)
2. Soma Lukka 24:1-12.
Ebikwata ku kuzuukira kwa Yesu biraga bitya nti Yakuwa akkiriza obujulirwa abakyala bwe bawa? (Luk. 24:4, 9, 10; Mat. 28:1-7)
3. Soma Yokaana 20:1-12.
Yokaana 20:8, 9 zituyamba zitya okulaba obwetaavu bw’okuba abagumiikiriza bwe tuba tetutegeera bulungi kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli? (Nge. 4:18; Mat. 17:22, 23; Luk. 24:5-8; Yok. 16:12)
Mu Kisenge Ekisibe
1. Kiki Malyamu ky’addamu omusajja gw’alowooza nti ye mukuumi w’olusuku, naye kiki ekimulaga nti ono ddala ye Yesu?
2. Kiki ekibaawo ng’abayigirizwa babiri bagenda mu kyalo ky’e Emawo?
3. Kintu ki ekyewuunyisa ekibaawo ng’abayigirizwa ababiri bategeeza abatume nti balabye Yesu?
4. Mirundi emeka Yesu gye yaakalabikira abagoberezi be?
5. Kiki Tomasi ky’ayogera bw’awulira ng’abayigirizwa bagamba nti balabye Yesu, naye kiki ekibaawo nga wayiseewo ennaku munaana?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yokaana 20:11-29.
Mu Yokaana 20:23 Yesu yali ategeeza nti abantu baweereddwa obuyinza okusonyiwa ebibi? Nnyonnyola. (Zab. 49:2, 7; Is. 55:7; 1 Tim. 2:5, 6; 1 Yok. 2:1, 2)
2. Soma Lukka 24:13-43.
Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe okusobola okutegeera Baibuli? (Luk. 24:32, 33; Ezer. 7:10; Mat. 5:3; Bik. 16:14; Beb. 5:11-14)
Yesu Addayo mu Ggulu
1. Lumu abayigirizwa nga bameka abalaba Yesu, era kiki ky’ababuulira?
2. Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era embeera enaabeera etya ku nsi nga Yesu afuga nga Kabaka okumala emyaka lukumi?
3. Yesu alabikidde abayigirizwa be okumala ennaku mmeka, naye kati ekiseera kituuse akole ki?
4. Nga tannaleka bayigirizwa be, kiki Yesu ky’abagamba okukola?
5. Kiki kye mulaba mu kifaananyi, era lwaki abatume baba tebakyasobola kumulaba?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma 1 Abakkolinso 15:3-8.
Lwaki omutume Pawulo yali ayogera n’obukakafu ku bikwata ku kuzuukira kwa Yesu, era bintu ki Abakristaayo bye bayinza okwogerako n’obukakafu leero? (1 Kol. 15:4, 7, 8; Is. 2:2, 3; Mat. 24:14; 2 Tim. 3:1-5)
2. Soma Ebikolwa 1:1-11.
Omulimu gw’okubuulira gwabuna kutuuka wa, nga bwe kyalagulwa mu Ebikolwa 1:8? (Bik. 6:7; 9:31; 11:19-21; Bak. 1:23)
Okulindirira mu Yerusaalemi
1. Ng’ekifaananyi bwe kiraga, kiki ekituuka ku bagoberezi ba Yesu ababadde balindirira mu Yerusaalemi?
2. Abagenyi abazze mu Yerusaalemi beewuunya ki?
3. Kiki Peetero kyannyonnyola abantu?
4. Abantu bwe bamala okuwuliriza Peetero bawulira batya, era abagamba kukola ki?
5. Bantu bameka ababatizibwa ku lunaku olwo olwa Pentekoote, 33 C.E.?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 2:1-47.
(a) Ebigambo bya Peetero ebiri mu Ebikolwa 2:23, 36 biraga bitya nti eggwanga lyonna ery’Abayudaaya lyali livunaanyizibwa olw’okufa kwa Yesu? (1 Bas. 2:14, 15)
(b) Peetero yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kunnyonnyola Ebyawandiikibwa? (Bik. 2:16, 17, 29, 31, 36, 39; Bak. 4:6)
(c) Peetero yakozesa atya ‘ekisumuluzo ekisooka eky’obwakabaka obw’omu ggulu,’ ku ebyo Yesu bye yasuubiza okumuwa? (Bik. 2:14, 22-24, 37, 38; Mat. 16:19)
Basumululwa mu Kkomera
1. Lumu olweggulo nga Peetero ne Yokaana bagenda mu yeekaalu kiki ekibaawo?
2. Kiki Peetero ky’agamba omusajja omulema, era amuwa kya muwendo ki ekisinga ne ssente?
3. Lwaki abakulembeze b’eddiini banyiivu, era kiki kye bakola Peetero ne Yokaana?
4. Kiki Peetero ky’agamba abakulembeze b’eddiini, era abatume balabulwa batya?
5. Lwaki abakulembeze b’eddiini bakwatibwa obuggya, naye kiki ekibaawo ng’abatume basibiddwa mu kkomera omulundi ogw’okubiri?
6. Abatume baddamu batya nga baleeteddwa mu kisenge ky’Olukiiko?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 3:1-10.
Wadde nga leero tetulina maanyi ga kukola byamagero, ebigambo bya Peetero ebiri mu Ebikolwa 3:6 bituyamba bitya okusiima amawulire ag’Obwakabaka? (Yok. 17:3; 2 Kol. 5:18-20; Baf. 3:8)
2. Soma Ebikolwa 4:1-31.
Singa tuziyizibwa mu buweereza, tuyinza tutya okukoppa baganda baffe Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka? (Bik. 4:29, 31; Bef. 6:18-20; 1 Bas. 2:2)
3. Soma Ebikolwa 5:17-42.
Abantu abamu abataali Bajulirwa mu kiseera eky’edda n’ekya kaakano batutte batya omulimu gw’okubuulira? (Bik. 5:34-39)
Suteefano Akubibwa Amayinja
1. Suteefano y’ani, era Katonda abadde amuyamba kukola ki?
2. Kiki Suteefano ky’ayogera ekinyiiza ennyo abakulembeze b’eddiini?
3. Abasajja bwe bafulumya Suteefano ebweru w’ekibuga, kiki kye bamukola?
4. Mu kifaananyi, musajja ki oyo ayimiridde okumpi n’amakooti?
5. Nga tannaba kufa, kiki Suteefano ky’asaba Yakuwa?
6. Okufaananako Suteefano, twandikoze ki singa omuntu atukola ekintu ekibi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 6:8-15.
Ngeri ki abakulembeze b’eddiini ze bakozesezza okugezaako okulemesa omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira? (Bik. 6:9, 11, 13)
2. Soma Ebikolwa 7:1-60.
(a) Kiki ekyayamba Suteefano okulwanirira amawulire amalungi mu maaso g’Olukiiko, era kiki kye tumuyigirako? (Bik. 7:51-53; Bar. 15:4; 2 Tim. 3:14-17; 1 Peet. 3:15)
(b) Twanditutte tutya abo abaziyiza omulimu gwaffe? (Bik. 7:58-60; Mat. 5:44; Luk. 23:33, 34)
Mu Kkubo Erigenda e Ddamasiko
1. Oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Suteefano Sawulo akola ki?
2. Sawulo bw’aba ali mu kkubo eridda e Ddamasiko, kintu ki ekyewuunyisa ekibaawo?
3. Kiki Yesu ky’agamba Sawulo okukola?
4. Biragiro ki Yesu by’awa Ananiya, era Sawulo addamu atya okulaba?
5. Sawulo afuna linnya ki, era akozesebwa mu ngeri ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 8:1-4.
Okuyigganyizibwa okwabalukawo eri ekibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikawo kwasobozesa kutya Obukristaayo okusaasaana, era mbeera ki efaananako eyo eriwo leero? (Bik. 8:4; Is. 54:17)
2. Soma Ebikolwa 9:1-20.
Mulimu ki ogwali guzingiramu ebintu bisatu Yesu gwe yali ategese okuwa Sawulo? (Bik. 9:15; 13:5; 26:1; 27:24; Bar. 11:13)
3. Soma Ebikolwa 22:6-16.
Tuyinza tutya okubeera nga Ananiya, era lwaki ekyo kikulu? (Bik. 22:12; 1 Tim. 3:7; 1 Peet. 1:14-16; 2:12)
4. Soma Ebikolwa 26:8-20.
Sawulo okukyuka n’afuuka Omukristaayo kizzaamu kitya amaanyi abo abalina munnaabwe mu bufumbo atali mukkiriza? (Bik. 26:11; 1 Tim. 1:14-16; 2 Tim. 4:2; 1 Peet. 3:1-3)
Peetero Akyalira Koluneeriyo
1. Musajja ki oyo avuunamye mu kifaananyi?
2. Kiki malayika ky’agamba Koluneeriyo?
3. Kiki Katonda ky’aleetera Peetero okulaba ng’ali ku nnyumba ya Simooni waggulu e Yopa?
4. Lwaki Peetero agamba Koluneeriyo nti tasaanidde kumuvuunamira na kumusinza?
5. Lwaki abayigirizwa Abayudaaya abali ne Peetero beewuunya?
6. Kintu ki ekikulu kye tuyiga ku kukyala kwa Peetero ewa Koluneeriyo?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 10:1-48.
Ebigambo bya Peetero ebisangibwa mu Ebikolwa 10:42 biraga ki ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? (Mat. 28:19; Mak. 13:10; Bik. 1:8)
2. Soma Ebikolwa 11:1-18.
Peetero yayoleka ndowooza ki bwe yamanya ekigendererwa kya Yakuwa eri Ab’amawanga, era tuyinza tutya okumukoppa?
Timoseewo—Omuyambi wa Pawulo Omuppya
1. Omuvubuka gw’olaba mu kifaananyi y’ani, era amannya ga maama we ne jjajja we ge galuwa?
2. Timoseewo akola ki Pawulo bw’amusaba okumwegattako ne Siira okubuulira mu bifo ebyesudde?
3. Wa abagoberezi ba Yesu we baasooka okuyitibwa Abakristaayo?
4. Ebimu ku bibuga Pawulo, Siira ne Timoseewo bye bakyalira oluvannyuma lw’okuva e Lusitula bye biruwa?
5. Timoseewo ayamba atya Pawulo, era bibuuzo ki abato bye bandyebuuzizza leero?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 9:19-30.
Omutume Pawulo yayoleka atya amagezi bwe yaziyizibwa ng’abuulira amawulire amalungi? (Bik. 9:22-25, 29, 30; Mat. 10:16)
2. Soma Ebikolwa 11:19-26.
Ebiri mu Ebikolwa 11:19-21, 26 biraga bitya nti omwoyo gwa Yakuwa guwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira?
3. Soma Ebikolwa 13:13-16, 42-52.
Ebikolwa 13:51, 52 ziraga zitya nti abatume tebaggwaamu maanyi bwe baaziyizibwa? (Mat. 10:14; Bik. 18:6; 1 Peet. 4:14)
4. Soma Ebikolwa 14:1-6, 19-28.
Ebigambo, ne ‘babasigira Yakuwa’ bituyamba bitya obuteeraliikirira nga tuyamba abappya? (Bik. 14:21-23; 20:32; Yok. 6:44)
5. Soma Ebikolwa 16:1-5.
Okuba nti Timoseewo yakkiriza okukomolebwa kiggumiza kitya obukulu ‘bw’okukola byonna olw’enjiri’? (Bik. 16:3; 1 Kol. 9:23; 1 Bas. 2:8)
6. Soma Ebikolwa 18:1-11, 18-22.
Ebikolwa 18:9, 10 ziraga zitya nti Yesu kennyini yeenyigira mu kuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira, era ekyo kituwa bukakafu ki leero? (Mat. 28:20)
Omulenzi Eyakwatibwa Otulo
1. Mu kifaananyi, mulenzi ki agalamidde, era kiki ekyamutuuseeko?
2. Pawulo akola ki bw’alaba nti omulenzi afudde?
3. Pawulo, Timoseewo n’abo be batambula nabo balaga wa, era kiki ekibaawo nga bayimiriddeko e Mireeto.
4. Agabo alabula atya Pawulo, era by’amulabudde bituukirira bitya?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 20:7-38.
(a) Okusinziira ku bigambo bya Pawulo ebiri mu Ebikolwa 20:26, tuyinza tutya okusigala nga ‘tetuvunaanibwa musaayi gwa muntu yenna’? (Ez. 33:8; Bik. 18:6, 7)
(b) Lwaki abakadde mu kibiina ‘bandinyweredde ku kigambo’ nga bayigiriza? (Bik. 20:17, 29, 30; Tito 1:7-9; 2 Tim. 1:13)
2. Soma Ebikolwa 26:24-32.
Pawulo yakozesa atya obutuuze bwe mu Rooma okutuukiriza omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yali amukwasizza? (Bik. 9:15; 16:37, 38; 25:11, 12; 26:32; Luk. 21:12, 13)
Eryato Limenyekera ku Kizinga
1. Kiki ekituuka ku lyato Pawulo lyaliko nga liyita okumpi n’ekizinga kuleete?
2. Kiki Pawulo ky’agamba abo abali ku lyato?
3. Eryato limenyekamenyekamu litya?
4. Kiragiro ki omukungu ow’amagye ky’awa, era abantu bameka abatuuka obulungi ku lukalu?
5. Ekizinga kye baagoberako bakiyita batya, era kiki kye bakolera Pawulo ng’obudde bumaze okulongooka?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 27:1-44.
Obwesige bwe tulina mu Baibuli bunywezebwa butya bwe tusoma ku lugendo lwa Pawulo olw’e Rooma? (Bik. 27:16-19, 27-32; Luk. 1:3; 2 Tim. 3:16, 17)
2. Soma Ebikolwa 28:1-14.
Bwe kiba nti abantu b’omu Merita abaali tebamanyi Katonda baayisa omutume Pawulo ne banne be yali nabo ku lyato eryamenyeka mu ‘ngeri ennungi ennyo,’ Abakristaayo bandikubiriziddwa kukola ki era naddala mu ngeri ki? (Bik. 28:1, 2; Beb. 13:1, 2; 1 Peet. 4:9)
Pawulo mu Rooma
1. Pawulo abuulira ani ng’ali mu kkomera e Rooma?
2. Mu kifaananyi, mugenyi ki oyo ali ku mmeeza, era akola ki?
3. Epafuloddito y’ani, era atwala ki ng’addayo e Firipi?
4. Lwaki Pawulo awandiika ebbaluwa eri mukwano gwe ow’oku lusegere Firemooni?
5. Pawulo akola ki ng’asumuluddwa, naye kiki ekibaawo oluvannyuma?
6. Yakuwa akozesa ani okuwandiika ebitabo ebisembayo mu Baibuli, era ekitabo ky’Okubikkulirwa kitutegeeza ki?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Ebikolwa 28:16-31 ne Abafiripi 1:13.
Pawulo yakozesa atya ebiseera bye nga bamusibye mu kkomera e Rooma, era okukkiriza kwe okw’amaanyi kwakwata kutya ku kibiina Ekikristaayo? (Bik. 28:23, 30; Baf. 1:14)
2. Soma Abafiripi 2:19-30.
Pawulo yasiima atya Timoseewo ne Epafuloddito, era tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye? (Baf. 2:20, 22, 25, 29, 30; 1 Kol. 16:18; 1 Bas. 5:12, 13)
3. Soma Firemooni 1-25.
(a) Pawulo yasinziira ku ki okukubiriza Firemooni okukola ekituufu, era kino abakadde bayinza kukiyigirako ki? (Fir. 9; 2 Kol. 8:8; Bag. 5:13)
(b) Ebigambo Pawulo bye yayogera mu Firemooni 13, 14 biraga bitya nti yali assa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala mu kibiina? (1 Kol. 8:7, 13; 10:31-33)
4. Soma 2 Timoseewo 4:7-9.
Okufaananako omutume Pawulo, tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa empeera singa tusigala nga tuli beesigwa okutuuka ku nkomerero? (Mat. 24:13; Beb. 6:10)
Enkomerero y’Obubi Bwonna
1. Lwaki Baibuli eyogera ku mbalaasi ez’omu ggulu?
2. Olutalo oluli wakati wa Katonda n’abantu ababi ku nsi luyitibwa lutya, era ekigendererwa kyalwo kye kiruwa?
3. Ng’ekifaananyi bwe kiraga, ani anaakulembera eggye ly’abalwanyi, lwaki ayambala engule, era ekitala ekyo kitegeeza ki?
4. Singa tuddamu okutunuulira Olugero 10 ne 15, lwaki tekyanditwewuunyisizza nti Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi?
5. Engero 33, 36, ne 76 zitulaga zitya nti Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi wadde nga beegamba nti bamusinza?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubikkulirwa 19:11-16.
(a) Ebyawandiikibwa bikyoleka bitya obulungi nti Yesu Kristo ye yeebagadde embalaasi enjeru? (Kub. 1:5; 3:14; 19:11; Is. 11:4)
(b) Omusaayi ogumansiddwa ku kyambalo kya Yesu gulaga gutya nti ajja kutuuka ku buwanguzi? (Kub. 14:18-20; 19:13)
(c) Kirabika baani abali mu ggye erigoberera Yesu ku mbalaasi ye enjeru? (Kub. 12:7; 19:14; Mat. 25:31, 32)
Olusuku lwa Katonda Oluppya ku Nsi
1. Mbeera ki Baibuli gy’eraga gye tunaanyumirwa mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?
2. Baibuli esuubiza ki abo abanaabeera mu Lusuku lwa Katonda?
3. Ddi Yesu lw’anaaleetawo enkyukakyuka eno ey’ekitalo?
4. Yesu bwe yali ku nsi, biki bye yakola okulaga by’alikola ng’afuuse Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda?
5. Yesu n’abo abanaafuga naye mu ggulu banaakolera ki abantu nga bafuga ku nsi?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Okubikkulirwa 5:9, 10.
Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti abo abanaafuga ku nsi mu Myaka Olukumi bajja kuba bakabaka era bakabona abalumirirwa abalala era ab’ekisa? (Bef. 4:20-24; 1 Peet. 1:7; 3:8; 5:6-10)
2. Soma Okubikkulirwa 14:1-3.
Erinnya lya Katonda n’erinnya ly’Omwana gw’Endiga okuba nti gawandiikiddwa ku byenyi bya 144,000 kitegeeza ki? (1 Kol. 3:23; 2 Tim. 2:19; Kub. 3:12)
Engeri Gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna
1. Kiki kye tusaanidde okumanya bwe tuba ab’okubeera abalamu emirembe gyonna?
2. Tusobola tutya okumanya ebikwata ku Katonda ne Yesu, nga bwe tulaba akawala akato ne mikwano gyako mu kifaananyi?
3. Kitabo ki ekirala ky’olaba mu kifaananyi, era lwaki twandikisomye enfunda n’enfunda?
4. Ng’oggyeko okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne Yesu, kiki ekirala ekyetaagisa okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo?
5. Ssomo ki lye tuyiga okuva ku Lugero 69?
6. Ekyokulabirako ekirungi ekya Samwiri omuto mu Lugero 55 kitulaga ki?
7. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu Kristo, era bwe tukikoppa, tunaasobola kukola ki mu biseera eby’omu maaso?
Ebibuuzo ebirala:
1. Soma Yokaana 17:3.
Ebyawandiikibwa biraga bitya nti okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa ne Yesu Kristo kisingawo ku kukwata obukwasi ebintu obukusu? (Mat. 7:21; Yak. 2:18-20; 1 Yok. 2:17)
2. Soma Zabbuli 145:1-21.
(a) Ezimu ku nsonga ezituleetera okutendereza Yakuwa ze ziruwa? (Zab. 145:8-11; Kub. 4:11)
(b) Mu ngeri ki Yakuwa gyali ‘omulungi eri bonna,’ era kino kituyamba kitya okumusemberera? (Zab. 145:9; Mat. 5:43-45)
(c) Okwagala Yakuwa kwandituleetedde kukola ki? (Zab. 119:171, 172, 175; 145:11, 12, 21)