Dawudi ne Goliyaasi
OLUGERO 58
Dawudi ne Goliyaasi
ABAFIRISUUTI bajja nate okulwanyisa Isiraeri. Baganda ba Dawudi abakulu basatu kati bali mu ggye lya Sawulo. Bwe kityo, lumu Yese agamba Dawudi: ‘Twalira baganda bo eŋŋaano n’emigaati gino. Era olabe bwe bali.’
Dawudi bw’atuuka mu lusiisira lw’eggye, agenda mu kifo kyennyini awali olutalo okunoonya baganda be. Omufirisuuti omuwagguufu ayitibwa Goliyaasi avaayo okusoomooza Abaisiraeri. Abadde akola bw’atyo buli ku makya n’akawungeezi okumala ennaku 40. Agamba: ‘Mulondeeyo omu ku basajja bammwe annwanyise. Singa ampangula n’anzitta, tujja kufuuka baddu bammwe. Naye bwe nnaamuwangula ne mmutta, mujja kufuuka baddu baffe. Mbasoomooza mulonde omuntu okunnwanyisa.’
Dawudi abuuza abamu ku baserikale: ‘Omusajja anatta Omufirisuuti ono era n’ajja ekivume ku Isiraeri anaafuna ki?’
‘Sawulo ajja kumuwa eby’obugagga bingi,’ omuserikale bw’atyo bw’agamba. ‘Era ajja kumuwa muwala we amuwase.’
Naye Abaisiraeri bonna batya Goliyaasi kubanga munene nnyo. Muwanvu ffuuti 9 n’okusingawo (mita nga 3), era alina omuserikale omulala amusitulira engabo ye.
Abaserikale abamu bagenda ne bagamba Kabaka Sawulo nti Dawudi ayagala okulwanyisa Goliyaasi. Naye Sawulo agamba Dawudi: ‘Toyinza kulwana na Mufirisuuti ono. Oli mulenzi bulenzi, naye ye abadde muserikale obulamu bwe bwonna.’ Dawudi addamu: ‘N’atta eddubu n’empologoma ebyali bitwala endiga za kitange. Era Omufirisuuti ono ajja kufuuka nga byo. Yakuwa ajja kunnyamba.’ Awo Sawulo agamba: ‘Genda, era Yakuwa abeere naawe.’
Dawudi aserengenta ku mugga n’alonda amayinja ataano amaweweevu, n’agasa mu nsawo ye. Awo n’akwata envuumuulo ye n’agenda okusisinkana omusajja oyo omuwagguufu. Goliyaasi bw’amulaba, tayinza kukikkiriza. Alowooza nti kijja kuba kyangu nnyo okutta Dawudi.
‘Jjangu gye ndi,’ bw’atyo Goliyaasi bw’agamba, ‘era omubiri gwo nja kugugabira ennyonyi n’ensolo okulya.’ Naye Dawudi agamba: ‘Ojja gye ndi n’ekitala, n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa. Leero Yakuwa anaakugabula mu mukono gwange era nnaakutta.’
Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi ayolekera Goliyaasi. Aggya ejjinja mu nsawo ye, n’aliteeka mu nvuumuulo ye, n’alikanyuga n’amaanyi ge gonna. Ejjinja ligenda butereevu ne liyingira mu mutwe gwa Goliyaasi, n’agwa n’afa! Abafirisuuti bwe balaba ng’omuzira waabwe afudde, bonna bakyuka ne badduka. Abaisiraeri babawondera ne bawangula olutalo.