Katonda Asuubiza Olusuku Lwe
OLUGERO 71
Katonda Asuubiza Olusuku Lwe
KINO kifaananyi kya lusuku lwa Katonda olufaananako olwo Katonda lwe yalaga nnabbi we Isaaya. Isaaya yaliwo luvannyuma lwa Yona.
Olusuku lwa Katonda lutegeeza “ennimiro” oba “ppaaka.” Lukujjukiza ekintu kye twalabako emabega mu kitabo kino? Lufaananira ddala olusuku olulungi Yakuwa Katonda lwe yakolera Adamu ne Kaawa, si bwe kiri? Naye ekiseera kirituuka ensi yonna n’ebeera olusuku lwa Katonda?
Yakuwa yagamba nnabbi we Isaaya okuwandiika ku lusuku lwa Katonda oluppya olugenda okubeeramu abantu ba Katonda. Yagamba: ‘Emisege n’endiga bijja kubeeranga wamu mu mirembe. Ennyana wamu n’abaana b’empologoma bijja kuliiranga wamu, n’abaana abato bajja kubirabiriranga. N’omwana omuto tajja kutuukibwangako kabi bw’anaazannyiranga okumpi n’omusota ogw’obusagwa.’
‘Kino tekiyinza kubaawo,’ bangi bwe bagamba. ‘Wabaddewo emitawaana mingi ku nsi, era gijja kweyongera okubaawo.’ Naye kirowoozeeko: Maka ga ngeri ki Katonda ge yawa Adamu ne Kaawa?
Katonda yateeka Adamu ne Kaawa mu lusuku lwa Katonda. Olw’okuba baajeemera Katonda baafiirwa amaka gaabwe amalungi, ne bakaddiwa era ne bafa. Katonda asuubiza okuwa abantu abamwagala ebintu ebyo byennyini Adamu ne Kaawa bye baafiirwa.
Mu lusuku lwa Katonda oluppya olujja, tewajja kubaawo kirumya oba kyonoona. Wajja kubaawo emirembe egya nnamaddala. Abantu bonna bajja kuba balamu bulungi era nga basanyufu. Kijja kuba nga Katonda bwe yayagala kibeere mu kusooka. Naye oluvannyuma tujja kuyiga ku ngeri Katonda gy’ajja okukikolamu.
Isaaya 11:6-9; Okubikkulirwa 21:3, 4.