Amataba ag’Amaanyi
OLUGERO 10
Amataba ag’Amaanyi
WABWERU w’eryato, abantu beeyongera kukola nga bwe babadde bakola emabega. Baali tebakikkiriza nti Amataba gandizze. Bateekwa okuba nga beeyongerera ddala okuseka ennyo. Naye, ekiseera tekyayita kiwanvu ne balekera awo okuseka.
Baali bali awo enkuba n’etandika okuyiika. Yafukumuka okuva waggulu nga bw’onooyiwa amazzi okuva mu kalobo. Nuuwa yali mutuufu! Naye, kati kyali tekikyasoboka omuntu yenna okuyingira mu lyato. Yakuwa yali amaze okuggalawo oluggi.
Mangu ddala, ettaka lyonna ne lisaanikirwa amazzi. Amazzi gaafuuka ng’emigga eminene. Gaasuula emiti eminene era ne gakuluggusa agayinja aganene, ne galeetawo okuwuuma okw’amaanyi ennyo. Abantu baatya nnyo. Baalinnya ebifo ebigulumivu. Nga bejjusa nnyo olw’obutawuliriza Nuuwa ne bayingira mu lyato ng’oluggi lukyali luggule! Naye kati kyali tekikyasoboka.
Amazzi geeyongera okutumbiira. Amazzi gaafukumuka okuva waggulu okumala ennaku 40 emisana n’ekiro. Gaabuutikira ensozi, era mu banga ttono n’ensozi ezisingirayo ddala obuwanvu zaabuutikirwa. Bwe kityo, nga Katonda bwe yali agambye, abantu bonna era n’ebisolo ebitaali mu lyato byafa. Naye buli ekyali munda kyawonawo.
Nuuwa n’abaana be baali bazimbye bulungi eryato. Amazzi gaalisitula, ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. Lumu, ng’enkuba erekedde awo okutonnya, omusana gwatandika okwaka. Nga kyali kyewuunyisa okulaba! Wonna wonna waaliwo ennyanja emu yokka ennene. Era ng’ekintu kyokka ekyali kisobola okulabibwa lye lyato eryali liseeyeeya kungulu.
Abantu abawagguufu baali tebakyaliwo. Baali tebakyasobola kuddayo kulumya bantu. Bonna baali bafudde, awamu ne bannyaabwe era n’abantu bonna ababi. Naye kiki ekyatuuka ku bakitaabwe?
Bataata b’abantu abo abawagguufu tebaali bantu nga ffe. Baali bamalayika abaali bazze okubeera ng’abantu ku nsi. Bwe kityo, Amataba bwe gajja, bo tebaafa abantu bwe baafa. Baalekera awo okukozesa emibiri gy’abantu gye baali beeyambazizza, ne baddayo mu ggulu nga bamalayika. Naye baali tebakyakkirizibwa kubeera kitundu kya bamalayika ba Katonda. Bwe kityo, baafuuka bamalayika ba Setaani. Mu Baibuli bayitibwa balubaale.
Katonda yakunsa embuyaga, amazzi g’amataba ne gatandika okukendeera. Nga wayiseewo emyezi etaano eryato lyatuula ku ntikko y’olusozi olumu. Ennaku endala nnyingi zaayitawo, era abaali munda mu lyato baali nga basobola okutunula ebweru ne balaba entikko z’ensozi endala. Amazzi geeyongera okukendeera.
Oluvannyuma Nuuwa yafulumya ekinyonyi ekiddugavu ekiyitibwa nnamuŋŋoona okuva mu lyato. Kyabuukanga okumala ekiseera naye ne kikomawo olw’okuba kyali tekisobola kufuna kifo kirungi we kiyinza kuyimirira. Kyeyongera mu maaso okukola bwe kityo era ng’emirundi gyonna kikomawo, ne kiyimirira ku lyato.
Nuuwa yali ayagala okulaba oba amazzi gaali gakalidde okuva ku nsi, bwe kityo n’asindika ejjiba okuva mu lyato. Naye ejjiba nalyo lyakomawo kubanga teryafuna kifo wa kubeera. Nuuwa n’addamu n’alisindika omulundi ogw’okubiri, ne likomawo n’akakoola k’omuzeyituuni ku kamwa kaalyo. Bwe kityo, Nuuwa n’ategeera nti amazzi gaali gakendedde. Nuuwa n’addamu n’atuma ejjiba omulundi ogw’okusatu, ddaaki ne lizuula ekifo ekikalu aw’okubeera.
Katonda n’ayogera ne Nuuwa. N’amugamba: ‘Fuluma okuva mu lyato. Fuluma n’ab’omu maka go bonna n’ebisolo byonna ebiri naawe.’ Baali bamaze mu lyato ebbanga erisukka mu mwaka ogumu. Kale tuyinza okuteebereza essanyu lye baalina bonna okubeera ebweru nate era nga balamu!
Olubereberye 7:10-24; 8:1-17; 1 Peetero 3:19, 20.