Omwana Omulungi, n’Omwana Omubi
OLUGERO 6
Omwana Omulungi, n’Omwana Omubi
LABA Kayini ne Abeeri kati. Bombi bakuze. Kayini mulimi. Alima emmere ey’ensigo, ebibala era n’enva.
Abeeri mulunzi wa ndiga. Ayagala nnyo okulabirira obuliga obuto. Bukula ne bufuuka endiga ennene, era mu bbanga ttono Abeeri aba alina ekisibo kiramba eky’endiga ky’alabirira.
Lumu Kayini ne Abeeri baleetera Katonda ebirabo. Kayini aleeta ku mmere gye yalima. Ate ye Abeeri aleeta endiga esingirayo ddala obulungi ku z’alina. Yakuwa asiima Abeeri n’ekirabo kye. Naye tasiima Kayini n’ekirabo kye. Omanyi lwaki?
Si lwa kuba nti ekirabo kya Abeeri kyali kisinga ekya Kayini. Lwa kuba Abeeri musajja mulungi. Ayagala Yakuwa ne muganda we. Naye Kayini mubi; tayagala muganda we.
N’olwekyo Katonda agamba Kayini okukyusa amakubo ge. Naye Kayini tawuliriza. Asunguwala nnyo kubanga Katonda ayagala Abeeri okusinga ye. N’olwekyo Kayini agamba Abeeri, ‘Tugendeko mu nnimiro.’ Nga bali eyo bokka, Kayini akuba muganda we Abeeri. Amukuba nnyo era n’amutta. Ekyo Kayini kye yakola tekyali kibi nnyo?
Wadde Abeeri yafa, Katonda akyamujjukira. Abeeri yali mulungi, era Yakuwa teyeerabira muntu ng’oyo. N’olwekyo Yakuwa Katonda ajja kukomyawo Abeeri mu bulamu. Mu kiseera ekyo Abeeri tagenda kuddamu kufa. Ajja kusobola okubeerawo ku nsi emirembe gyonna. Tekiriba kirungi nnyo okumanya abantu nga Abeeri?
Naye Katonda tasanyukira bantu abafaanana nga Kayini. Bwe kityo, oluvannyuma lwa Kayini okutta muganda we, Katonda yamubonereza ng’amusindika mu kifo ekyesudde okuva ku b’omu maka ge. Kayini bwe yagenda okubeera mu kitundu ekirala eky’ensi, yagenda n’omu ku bannyina, era yafuuka mukyala we.
Ekiseera bwe kyayitawo, Kayini ne mukyala we baazaala abaana. Abaana ba Adamu ne Kaawa abalala nabo baafumbiriganwa, era ne baazaala abaana. Mu bbanga ttono, ku nsi kwaliko abantu bangi. Ka tuyige ku bamu ku bo.
Olubereberye 4:2-26; 1 Yokaana 3:11, 12; Yokaana 11:25.