Okuzuukira kwa Yesu Okutuuka ku Kusibibwa kwa Pawulo mu Kkomera
EKITUNDU 7
Okuzuukira kwa Yesu Okutuuka ku Kusibibwa kwa Pawulo mu Kkomera
Ku lunaku olw’okusatu oluvannyuma lw’okufa kwe, Yesu yazuukizibwa. Ku lunaku olwo yalabikira abagoberezi be emirundi etaano. Yesu yeeyongera okubalabikira okumala ennaku 40. Awo, ng’abamu ku bayigirizwa be balaba, Yesu yalinnya mu ggulu. Oluvannyuma lw’ennaku kkumi Katonda yafuka omwoyo gwe omutukuvu ku bagoberezi ba Yesu abaali balindirira mu Yerusaalemi.
Oluvannyuma, abalabe ba Katonda baaleetera abatume okusuulibwa mu kkomera, naye malayika yabasumulula. Abaziyiza baakuba omuyigirizwa Suteefano amayinja ne bamutta. Naye tuyiga ku ngeri Yesu gye yalonda omu ku baziyiza abo okubeera omuweereza we ow’enjawulo, era yafuuka omutume Pawulo. Awo, emyaka esatu n’ekitundu oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Katonda yatuma omutume Peetero okubuulira Munnaggwanga ayitibwa Koluneeriyo n’ab’omu maka ge.
Oluvannyuma lw’emyaka 13 Pawulo yatandika olugendo lwe olw’okubuulira olwasooka. Ku lugendo lwe olw’okubiri Timoseewo yeegatta ku Pawulo. Tuyiga ku bintu bingi ebyatuuka ku Pawulo ne banne be yatambulanga nabo nga baweereza Katonda. Mu nkomerero, Pawulo yateekebwa mu kkomera mu Rooma. Oluvannyuma lw’emyaka 2 yasumululwa, naye ate yaddamu okusibibwa mu kkomera era n’attibwa. Ebiri mu KITUNDU 7 byaliwo mu kiseera kya myaka nga 32.