Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Peetero Akyalira Koluneeriyo

Peetero Akyalira Koluneeriyo

OLUGERO 109

Peetero Akyalira Koluneeriyo

OYO ayimiridde awo ye mutume Peetero, era abo abayimiridde emabega we mikwano gye. Naye lwaki omusajja avuunamira Peetero? Asaanidde okukola ekyo? Omumanyi?

Omusajja oyo ye Koluneeriyo. Mukungu mu ggye ly’Abaruumi. Koluneeriyo tamanyi Peetero, naye yagambibwa okumukyaza mu nnyumba ye. Ka tulabe ekyo bwe kyajjawo.

Abagoberezi ba Yesu abaasooka baali Bayudaaya, naye Koluneeriyo si Muyudaaya. Kyokka ayagala Katonda, amusaba, era akolera abantu ebikolwa ebirungi bingi. Lumu olweggulo malayika amulabikira n’amugamba: ‘Katonda akusanyukidde, era agenda kuddamu okusaba kwo. Tuma abasajja bayite omusajja ayitibwa Peetero. Abeera Yopa mu nnyumba ya Simooni, abeera okumpi n’ennyanja.’

Amangu ago, Koluneeriyo atuma abasajja okuyita Peetero. Olunaku oluddako, ng’abasajja banaatera okutuuka e Yopa, Peetero ali waggulu ku nnyumba ya Simooni. Ng’ali eyo Katonda aleetera Peetero okulowooza nti alaba olugoye olunene olukka okuva mu ggulu. Mu lugoye mulimu ebisolo ebya buli kika. Okusinziira ku mateeka ga Katonda, ebisolo bino tebyali birongoofu okulya, naye eddoboozi ligamba: ‘Yimuka, Peetero. Tta era olye.’

‘Nedda!’ bw’atyo Peetero bw’addamu. ‘Siryangako kitali kirongoofu.’ Naye eddoboozi ligamba Peetero: ‘Lekera awo okuyita ekitali kirongoofu Katonda ky’agamba nti kirongoofu.’ Kino kibaawo emirundi esatu. Nga Peetero akyebuuza bino byonna kye bitegeeza, abasajja abaatumibwa Koluneeriyo batuuka mu nnyumba ne babuuza Peetero.

Peetero akka wansi n’agamba: ‘Nze musajja gwe munoonya. Kiki ekibaleese?’ Abasajja bwe bamunnyonnyola nti malayika yagambye Koluneeriyo okuyita Peetero mu nnyumba ye, Peetero akkiriza okugenda nabo. Olunaku oluddako Peetero ne mikwano gye bagenda okukyalira Koluneeriyo e Kayisaliya.

Koluneeriyo akuŋŋaanyizza ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye egy’oku lusegere. Peetero bw’ayingira, Koluneeriyo amusisinkana. Agwa wansi n’avuunama ku bigere bya Peetero, nga bw’olaba awo. Naye Peetero amugamba: ‘Yimuka; nange ndi muntu.’ Yee, Baibuli eraga nti si kituufu okuvuunamira n’okusinza omuntu. Tusaanidde okusinza Yakuwa yekka.

Kati Peetero abuulira abakuŋŋaanye. ‘Ndaba nti Katonda akkiriza abantu bonna abaagala okumuweereza,’ bw’atyo Peetero bw’agamba. Era ng’akyayogera, Katonda asindika omwoyo gwe omutukuvu, era abantu ne batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo. Kino kyewuunyisa abayigirizwa Abayudaaya abazze ne Peetero, kubanga baali balowooza nti Katonda asiima Bayudaaya bokka. N’olwekyo, kino kibayigiriza nti Katonda tatwala bantu ab’ekika ekimu okubeera abakulu okusinga abantu ab’ekika ekirala. Ekyo si kintu kirungi ffenna okujjukira?

Ebikolwa 10:1-48; 11:1-18; Okubikkulirwa 19:10.

Ebibuuzo