Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Suteefano Akubibwa Amayinja

Suteefano Akubibwa Amayinja

OLUGERO 107

Suteefano Akubibwa Amayinja

OMUSAJJA afukamidde awo ye Suteefano. Muyigirizwa wa Yesu omwesigwa. Naye laba ekimutuukako kati! Abasajja bano bamukuba amayinja amanene. Lwaki bakyaye Suteefano ne batuuka okumukola ekintu kino ekibi? Ka tulabe.

Katonda abadde ayamba Suteefano okukola ebyamagero. Abasajja bano kino tebakyagala, n’olwekyo bawakana naye ku ky’okuyigiriza abantu amazima. Naye Katonda awa Suteefano amagezi mangi, era Suteefano alaga nti abasajja bano babadde bayigiriza eby’obulimba. Kino kyongera okubanyiiza. N’olwekyo bamukwata, ne bayita abantu okumwogerako eby’obulimba.

Kabona omukulu abuuza Suteefano: ‘Ebintu bino bituufu?’ Suteefano addamu ng’awa emboozi ennungi okuva mu Baibuli. Ku nkomerero yaayo, ayogera ku ngeri abantu ababi gye baakyawamu bannabbi ba Yakuwa ab’edda. Awo n’agamba: ‘Mulinga abasajja abo. Mwatta omuweereza wa Katonda, Yesu, era temugondedde mateeka ga Katonda.’

Kino kinyiiza nnyo abakulembeze b’eddiini bano! Baluma obugigi olw’obusungu. Naye Suteefano ayimusa omutwe gwe, n’agamba: ‘Laba! Ndaba Yesu ng’ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu ggulu.’ Awo, abasajja ne bateeka engalo zaabwe ku matu gaabwe ne boolekera Suteefano. Bamukwata ne bamufulumya ebweru w’ekibuga.

Eyo baggyamu amakooti gaabwe ne bagawa omuvubuka ayitibwa Sawulo okugakuuma. Sawulo omulaba? Awo abamu ku basajja abo batandika okukuba Suteefano amayinja. Suteefano afukamira, nga bw’oyinza okulaba awo, era n’asaba Katonda: ‘Yakuwa, tobabonereza olw’ekikolwa kino ekibi.’ Akimanyi nti abamu babuzaabuziddwa abakulembeze b’edddiini. Oluvannyuma lw’ekyo Suteefano afa.

Omuntu bw’akukola ekintu ekibi, naawe ogezaako okumukola ekibi, oba osaba Katonda amukole ekibi? Suteefano ne Yesu tebaakola bwe batyo. Baalaga ekisa eri n’abo abaabayisa obubi. Ka tugezeeko okukoppa ekyokulabirako kyabwe.

Ebikolwa 6:8-15; 7:1-60.

Ebibuuzo