ESSUULA EY’EKKUMI N’EBBIRI
Osobola Okuvvuunuka Ebizibu Ebyonoona Amaka
1. Bizibu ki ebyekusifu ebiri mu maka agamu?
EMMOTOKA enkadde yaakamala okwozebwa n’okuzigulwa. Eri buli agirabako etemagana butemaganyi, era erabika ng’empya. Naye wansi waayo, obutalagge bugenda bugyonoona. Kifaananako n’amaka agamu. Wadde ng’eri abalabi buli kintu kirabika ng’ekiri obulungi, obumwenyumwenyu buba bubisse ku kutya n’obulumi. Ab’ebweru kye batasobola kulaba bye bizibu ebigalimu ebigenda bisaanyawo emirembe gy’amaka ago. Ebizibu ebibiri ebisobola okuleetawo kino gwe muze ogw’okwekamirira omwenge n’obukambwe.
EMITAWAANA EGIVA MU KWEKAMIRIRA OMWENGE
2. (a) Baibuli erina ndowooza ki ku kukozesa ebitamiiza? (b) Okwekamirira omwenge kye ki?
2 Baibuli tevumirira kukozesa bitamiiza mu ngeri ey’ekigero, wabula evumirira butamiivu. (Engero 23:20, 21; 1 Abakkolinso 6:9, 10; 1 Timoseewo 5:23; Tito 2:2, 3) Kyokka, okwekamirira omwenge kisingawo ku kuba omutamiivu; gwe muze ogw’okukozesa ennyo ebitamiiza era n’obutasobola kwefuga ng’obinywa. Abo abeekamirira ennyo omwenge bayinza okuba abantu abakulu. Eky’ennaku, bayinza n’okuba abavubuka.
3, 4. Nnyonnyola omuze ogw’okwekamirira omwenge bwe guyisa munne mu mufumbo n’abaana.
3 Baibuli yakiraga dda nti okukozesa obubi ebitamiiza kuyinza okumalawo emirembe mu maka. (Ekyamateeka 21:18-21) Emitawaana egiva mu kwekamirira omwenge gikosa ab’omu maka bonna. Mukazi we ayinza okunoonyereza engeri ey’okumuziyizaamu okwekamirira omwenge oba ey’okwolekagana n’enneeyisa ye. * Agezaako okukweka omwenge, okuguyiwa, okukweka ensimbi ze, n’okumukubiriza okwagala amaka ge, obulamu bwe, era ne Katonda—naye era oyo eyeekamirira omwenge asigala akyagunywa. Bw’alemererwa enfunda n’enfunda okumuziyiza okunywa, asoberwa era n’aggweeramu ddala amaanyi. Ayinza okuwulira okutya, obusungu, okulumirizibwa mu mutima, obuteekakasa, okweraliikirira, era n’awulira ng’ekitiibwa kimuweddemu.
4 Abaana bakosebwa olw’ebyo omuzadde eyeekamirira omwenge by’aba akola. Abamu bakubibwa. Abalala bakolebwako ebikolobero. Bayinza n’okwevunaana bo bennyini olw’omuze gwa muzadde waabwe eyeekamirira omwenge. Emirundi mingi balekera awo okwesiga abalala olw’empisa z’omuzadde waabwe eyeekamirira omwenge ezikyukakyuka. Olw’okuba kibazibuwalira okunyumya ku biri ewaabwe, abaana bayinza okuyiga obutooleka nneewulira zaabwe, n’ebivaamu bitera okuba eby’akabi. (Engero 17:22) Abaana ng’abo bayinza okukula nga tebeekakasa oba nga beefeebya.
AMAKA GAYINZA KUKOLA KI?
5. Omuze ogw’okwekamirira omwenge guyinza kukolebwako gutya, era lwaki kino kizibu?
5 Wadde ng’abakugu bangi bagamba nti omuze ogw’okwekamirira omwenge teguwonyezeka, abasinga obungi bakkiriza nti okuwonyezebwa okw’ekigero kusoboka omuntu bw’agoberera enteekateeka ey’okugwewalira ddala. (Geraageranya Matayo 5:29.) Kyokka, okukkirizisa omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge nti yeetaaga obuyambi kyangu kya kwogera naye si kyangu kya kukola, okuva lwe batatera kukkiriza nti balina ekizibu. Naye ab’omu maka bwe babaako kye bakolawo, omuntu oyo ayinza okutandika okukitegeera nti alina ekizibu. Omusawo alina obumanyirivu mu kuyamba abo abeekamirira omwenge era n’ab’omu maka gaabwe yagamba: “Nze ndowooza nti ekisinga obukulu be b’omu maka okweyongera okukola emirimu gyabwe egya bulijjo obulungi nga bwe basobola. Eyeekamirira omwenge yeeyongera okulaba enjawulo ey’amaanyi eriwo wakati we n’abalala mu maka.”
6. Nsibuko ki esinga obulungi ey’okubuulirira eri amaka agalimu omuntu eyeekamirira omwenge?
6 Singa mu maka gammwe mulimu omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge, okubuulirira kwa Baibuli okwaluŋŋamizibwa kuyinza okubayamba okweyisa mu ngeri ennungi esoboka. (Isaaya 48:17; 2 Timoseewo 3:16, 17) Lowooza ku gimu ku misingi egiyambye amaka okwaŋŋanga ekizibu ky’omuntu eyeekamirira omwenge.
7. Singa mu maka mulimu eyeekamirira omwenge, ani avunaanyizibwa?
7 Lekera awo okwevunaana omusango. Baibuli egamba nti: “Buli muntu alyetikka omutwalo gwe,” era nti, “buli muntu alivunaanibwa lulwe mu maaso ga Katonda.” (Abaggalatiya 6:5; Abaruumi 14:12, NW) Eyeekamirira omwenge ayinza okugamba nti ab’omu maka ge be bavunaanyizibwa olw’enneeyisa ye. Ng’ekyokulabirako, ayinza okugamba nti: “Singa mwali mumpisa bulungi, nnandibadde sinywa mwenge.” Singa abalala balabika ng’abamusemba, awo baba bamukubiriza kweyongera bweyongezi kunywa. Naye ka kibe nti waliwo embeera oba abantu abatuwaliriza, ffenna ffenna—nga mw’otwalidde n’abo abeekamirira omwenge—tuvunaanyizibwa olw’ebyo bye tukola.—Geraageranya Abafiripi 2:12.
8. Ngeri ki omuntu eyeekamirira omwenge gy’ayinza okuyambibwa okwolekagana n’ebiva mu kizibu kye?
8 Tosaanidde kuwulira nti buli kiseera olina okutaakiriza eyeekamirira omwenge okuva ku ebyo ebiva mu kunywa kwe. Olugero lwa Baibuli olwogera ku muntu ow’obusungu lusobola okukwata ne ku oyo eyeekamirira omwenge: “Kubanga bw’olimuwonya kirigwanira okukola Engero 19:19) Leka omuntu oyo eyeekamirira omwenge ayolekagane n’ebiva mu kunywa kwe. Muleke ye kennyini alongoose w’ayonoonye oba akubire mukama we essimu enkeera ng’ettamiiro limuweddeko.
bw’otyo nate omulundi ogw’okubiri.” (9, 10. Lwaki amaka omuli abeekamirira omwenge gandikkirizza okuyambibwa, era naddala buyambi bw’ani bwe bandinoonyezza?
9 Kkiriza obuyambi okuva eri abalala. Engero 17:17 lugamba: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era [ye] ow’oluganda eyazaalirwa obuyinike.” Mu maka gammwe bwe mubaamu eyeekamirira omwenge, wabaawo obuyinike. Weetaaga obuyambi. Tolonzalonza kwesigama ku ‘ba mukwano’ okufuna obuwagizi. (Engero 18:24) Okwogerako n’abalala abategeera ekizibu ky’olina oba abo aboolekaganye n’embeera ng’eyo kuyinza okukuyamba okumanya ky’osaanidde okukola ne ky’otasaanidde kukola. Naye togwa lubege. Yogera n’abo be weesiga, abo abanaakuuma “ebyama” byo.—Engero 11:13.
10 Yiga okwesiga abakadde Abakristaayo. Abakadde mu kibiina Ekikristaayo bayinza okuba ensibuko y’obuyambi. Abasajja bano abakulu bamanyi bulungi Ekigambo kya Katonda era balina obumanyirivu bungi mu kukozesa emisingi egikirimu. Bayinza okuba “ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Isaaya 32:2) Abakadde Abakristaayo tebakoma ku kukuuma kibiina okuva ku bintu ebisobola okukyonoona naye era babudaabuda, bazzaamu amaanyi, era bafaayo ku buli omu aba n’ekizibu. Weeyambise mu bujjuvu obuyambi bwe bakuwa.
11, 12. Ani awa amaka agalimu abeekamirira omwenge obuyambi obusinga bwonna, era obuwagizi obwo buweebwa butya?
11 N’ekisinga byonna, funa amaanyi okuva eri Yakuwa. Baibuli etukakasa nti: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese, era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Bw’owulira ng’omenyese omutima oba ng’oweddemu amaanyi olw’ekizibu ky’okubeera n’omuntu alina omuze ogw’okwekamirira omwenge mu maka, kimanye nga ‘Yakuwa ali kumpi.’ Ategeera bulungi ekizibu ky’oyolekaganye nakyo mu maka go.—1 Peetero 5:6, 7.
12 Okukkiriza Yakuwa ky’agamba mu Kigambo kye kuyinza okukuyamba okulwanyisa obweraliikirivu. (Zabbuli 130:3, 4; Matayo 6:25-34; 1 Yokaana 3:19, 20) Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okugoberera emisingi egikirimu kukusobozesa okufuna obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ogukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” okusobola okwolekagana n’ebyo ebibaawo buli lunaku.—2 Abakkolinso 4:7, NW. *
13. Kizibu ki eky’okubiri ekyonoonye amaka mangi?
13 Okukozesa obubi ebitamiiza kuyinza okuleetawo ekizibu ekirala ekyonoona amaka—ebikolwa eby’obukambwe mu maka.
EMITAWAANA EGIVA MU BIKOLWA EBY’OBUKAMBWE MU MAKA
14. Ebikolwa eby’obukambwe mu maka byatandika ddi, era embeera eri etya mu biseera bino?
14 Ekikolwa eky’obukambwe ekyasookera ddala mu byafaayo by’omuntu kyali mu maka wakati w’ab’oluganda babiri, Kayini ne Abeeri. (Olubereberye 4:8) Okuva ku olwo, omuntu ayolekaganye n’ebikolwa eby’obukambwe ebya buli ngeri mu maka. Waliwo abaami abakuba bakyala baabwe, abakyala abakola olutalo ku babbaabwe, abazadde abakuba abaana baabwe abato mu ngeri ey’obukambwe, era n’abaana abakulu abayisa obubi bazadde baabwe abakaddiye.
15. Ab’omu maka bayisibwa batya mu nneewulira yaabwe olw’ebikolwa eby’obukambwe mu maka?
15 Akabi akakolebwa ebikolwa eby’obukambwe mu maka tekakoma ku nkovu ku mubiri kyokka. Omukyala omu eyakubibwanga yagamba: “Wabaawo obulumi n’okuswala. Emirundi egisinga ku makya oba toyagala kugolokoka, era oba oyagala waakiri kibe nti waloose buloosi ekirooto ekitiisa.” Abaana abalaba oba abakolebwako ebikolwa eby’obukambwe mu maka nabo bayinza okuba abakambwe mu bukulu nga bafunye amaka agaabwe ku bwabwe.
16, 17. Okutuntuzibwa mu nneewulira ey’omunda kwe kuluwa, era ab’omu maka kubayisa kutya?
16 Obukambwe obw’omu maka tebukoma ku kukuba kyokka. Emirundi mingi buba mu bigambo. Engero 12:18 lugamba: “Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala.” “Okufumita” kuno okw’ebikolwa eby’obukambwe mu maka kutwaliramu okuvuma n’okuleekaana, okunoonyereza ensobi olutatadde, okutyoboola, era n’okutiisatiisa. Ebiwundu ebikolwa eby’obukambwe bye bireeta ku nneewulira ez’omunda tebirabika era tebitera kulabibwa balala.
17 Eky’ennaku ennyo kwe kufufuggaza enneewulira y’omwana ey’omunda—okuvumirira n’okunyooma buli kiseera obusobozi bw’omwana, amagezi ge, oba omugaso gw’alina ng’omuntu. Okuvuma okw’engeri eyo kuyinza okusaanyizaawo ddala okwekakasa kwonna omwana kw’ayinza okuba nakwo. Kituufu nti abaana bonna beetaaga okukangavvulwa. Naye Baibuli eragira abazadde abasajja: “Temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.”—Abakkolosaayi 3:21.
ENGERI EY’OKWEWALAMU EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE MU MAKA
18. Ebikolwa eby’obukambwe mu maka bitandikira wa, era Baibuli eraga kkubo ki ery’okubikomya?
18 Ebikolwa eby’obukambwe mu maka bitandikira mu mutima ne mu birowoozo; engeri gye tweyisaamu etandikira mu birowoozo byaffe. (Yakobo 1:14, 15) Okusobola okukomya ebikolwa eby’obukambwe, oyo abikola kimwetaagisa okukyusa endowooza ye. (Abaruumi 12:2) Ekyo kisoboka? Yee. Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi agasobola okukyusa abantu. Kisobola n’okusiguukulula endowooza embi eziba ‘zisimbye amakanda.’ (2 Abakkolinso 10:4, NW; Abebbulaniya 4:12) Okumanya okutuufu okwa Baibuli kuyinza okuleetawo enkyukakyuka ey’amaanyi ennyo mu bantu ne boogerwako ng’abambadde omuntu omuggya.—Abeefeso 4:22-24; Abakkolosaayi 3:8-10.
19. Omukristaayo yandibadde na ndowooza ki eri munne mu bufumbo era asaanidde kumuyisa atya?
19 Endowooza gy’olina eri munno mu bufumbo. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Abasajja [bagwanidde] okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka.” (Abeefeso 5:28) Era Baibuli egamba nti omwami asaanidde okussa mu mukazi we ekitiibwa “ng’ekibya ekisinga obunafu.” (1 Peetero 3:7) Abakyala bakubirizibwa “okwagalanga babbaabwe” era ne ‘okubassaamu ekitiibwa.’ (Tito 2:4; Abeefeso 5:33, NW) Mazima ddala tewali mwami atya Katonda asobola kugamba mu bwesimbu nti assaamu mukyala we ekitiibwa bw’aba amukuba oba amuvuma. Era tewali mukyala aboggolera mwami we, amukiina, oba amuvuma olutatadde ayinza okugamba nti amwagalira ddala era amussaamu ekitiibwa.
20. Abazadde bavunaanyizibwa eri ani ku by’okulabirira abaana baabwe, era lwaki abazadde tebandisuubirizza baana baabwe bye batasobola?
20 Endowooza entuufu ku baana. Abaana bagwanidde era beetaagira ddala okwagalibwa n’okufiibwako bazadde baabwe. Ekigambo kya Katonda abaana kibayita “busika okuva eri Yakuwa” era “mpeera.” (Zabbuli 127:3, NW) Abazadde bavunaanyizibwa eri Yakuwa okulabirira obusika obwo. Baibuli eyogera ku ‘ngeri ez’obuto’ ne ku ‘busirusiru’ obw’omu buvubuka. (1 Abakkolinso 13:11, NW; Engero 22:15) Abazadde tebandikyewuunyizza okusanga obusirusiru mu baana baabwe. Abaana si bantu bakulu. Abazadde tebasaanidde kusuubira kinene ekitatuukana na myaka gya mwana, embeera z’akuliziddwamu, n’obusobozi bwe.—Laba Olubereberye 33:12-14.
21. Endowooza esiimibwa Katonda ku bikwata ku bazadde abakaddiye n’enkolagana nabo y’eruwa?
21 Endowooza gy’olina eri abazadde abakaddiye. Eby’Abaleevi 19:32 lugamba: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.” Mu ngeri eyo, Amateeka ga Katonda gaakubiriza okussa ekitiibwa n’okufaayo ennyo ku bakaddiye. Kino kiyinza okuba ekizibu singa omuzadde akaddiye aba yeerondalonda nnyo, mulwadde oba mpozzi nga takyasobola kutambula oba kulowooza mangu. Wadde kiri bwe kityo, abaana bajjukizibwa “okusasula bakadde baabwe.” (1 Timoseewo 5:4) Kino kitegeeza okubayisa obulungi n’okubawa ekitiibwa, mpozzi n’okubalabirira mu by’ensimbi. Okuyisa obubi abazadde abakaddiye mu by’omubiri oba mu ngeri endala kiba kikontanira ddala n’engeri Baibuli gy’etulagira okweyisaamu.
22. Ngeri ki enkulu eyeetaagibwa mu kuvvuunuka ebikolwa eby’obukambwe mu maka, era eyinza kukozesebwa etya?
Engero 29:11 lugamba: “Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.” Oyinza otya okufuga obusungu bwo? Mu kifo ky’okuleka obusungu okukula, kolerawo mangu okutereeza ebizibu ebiba bizzeewo. (Abeefeso 4:26, 27) Vaawo singa owulira nga toyinza kwefuga. Saba omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukusobozese okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23) Okutambulatambulako oba okukola ekintu eky’amaanyi kiyinza okukuyamba okufuga enneewulira zo. (Engero 17:14, 27) Fuba okuba omuntu “alwawo okusunguwala.”—Engero 14:29.
22 Kulaakulanya okwefuga.KWAWUKANA OBA KUSIGALA WAMU?
23. Kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu mu kibiina Ekikristaayo yenyigira mu bikolwa eby’obusungu obubi emirundi n’emirundi awatali kwenenya, oboolyawo nga mw’otwalidde n’okukuba ab’omu maka ge?
23 Baibuli eraga nti mu bikolwa Katonda by’avumirira muzingiramu “obulabe, okuyomba . . . obusungu” era n’egamba nti “buli akola ebiri ng’ebyo talisikira bwakabaka bwa Katonda.” (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo, omuntu yenna eyeegamba okuba Omukristaayo eyenyigira mu bikolwa eby’obusungu obubi emirundi n’emirundi awatali kwenenya, mpozzi nga mw’otwalidde n’okukuba munne mu bufumbo oba abaana, ayinza okugobwa mu kibiina Ekikristaayo. (Geraageranya 2 Yokaana 9, 10.) Mu ngeri eno ekibiina kiggibwamu abantu ab’agayisa agabi ne kikuumibwa nga kiyonjo.—1 Abakkolinso 5:6, 7; Abaggalatiya 5:9.
24. (a) Abafumbo abayisibwa obubi bayinza kusalawo kukola ki? (b) Ab’emikwano n’abakadde abamulumirirwa bayinza kuwagira batya omufumbo ayisibwa obubi, naye kiki kye batasaanidde kukola?
24 Kati olwo Abakristaayo mu kiseera kino abakubibwa munnaabwe mu bufumbo nga talagawo kabonero konna ka kukyusaamu? Abamu basazeewo okusigala 1 Abakkolinso 7:10, 11) Ab’emikwano, ab’eŋŋanda ze, oba abakadde Abakristaayo abamulumirirwa bayinza okwagala okumuyamba n’okumuwa amagezi, naye tebasaanidde kumukaka kukola kintu kyonna. Ye y’alina okwesalirawo eky’okukola.—Abaruumi 14:4; Abaggalatiya 6:5.
ne munnaabwe oyo abayisa obubi olw’ensonga ezitali zimu. Abalala basazeewo okugenda, nga bawulira nti embeera yaabwe ey’omubiri, ey’ebirowoozo, n’ey’eby’omwoyo—oboolyawo n’obulamu bwabwe bwennyini—biri mu kabi. Oyo ayolekaganye n’ebikolwa eby’obukambwe mu maka ye yeesalirawo ku lulwe mu maaso ga Yakuwa ky’ayagala okukola. (ENKOMERERO Y’EBIZIBU EBYONOONA
25. Ekigendererwa kya Yakuwa eri amaka kye kiruwa?
25 Yakuwa bwe yagatta Adamu ne Kaawa mu bufumbo, tekyali kigendererwa kye obufumbo okwonoonebwa ebizibu ng’omuze ogw’okwekamirira omwenge oba ebikolwa eby’obukambwe. (Abeefeso 3:14, 15) Amaka gaali ga kuba kifo ekijjudde okwagala n’emirembe era nga ebyetaago bya buli omu mu maka eby’ebirowoozo, enneewulira ez’omunda, n’eby’omwoyo bikolebwako. Kyokka, olw’ekibi, obulamu bw’amaka bwagenda buddirira.—Geraageranya Omubuulizi 8:9.
26. Abo abagezaako okutuukanya obulamu bwabwe ne Yakuwa by’ayagala basuubira ki mu biseera eby’omu maaso?
26 Eky’essanyu, Yakuwa tavanga ku kigendererwa kye eri amaka. Asuubiza okuleetawo ensi empya ey’emirembe abantu mwe “balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.” (Ezeekyeri 34:28) Mu biseera ebyo, omuze ogw’okwekamirira omwenge, ebikolwa eby’obukambwe mu maka, n’ebizibu ebirala byonna ebyonoonye amaka ennaku zino biriba tebikyaliwo. Abantu balibangako akamwenyumwenyu, si lwa kubikka ku kutya na bulumi, naye olw’okuba balibanga ‘basanyukira mu mirembe emingi.’—Zabbuli 37:11.
^ lup. 3 Wadde twogera ku yeekamirira omwenge okuba omusajja, emisingi egyogeddwako gikwata bulungi ku mukazi bw’aba nga y’alina omuze ogw’okwekamirira omwenge.
^ lup. 12 Mu nsi ezimu, mulimu ebifo awajjanjabirwa, amalwaliro n’enteekateeka ez’okuyamba abo abalina omuze ogw’okwekamirira omwenge era n’ab’omu maka gaabwe. Omuntu ye kennyini y’alina okwesalirawo oba ng’anneeyambisa obuyambi obwo oba nedda. Watch Tower Society terina nzijanjaba gy’etongoza. Kyokka, omuntu alina okwegendereza ng’anoonya obuyambi aleme kwenyigira mu bikolwa ebimenya emisingi gy’omu Byawandiikibwa.