Abaweereza ba Katonda Bateekwa Okuba Abayonjo
Essomo 9
Abaweereza ba Katonda Bateekwa Okuba Abayonjo
Lwaki tuteekwa okuba abayonjo mu buli ngeri? (1)
Kitegeeza ki okuba abayonjo mu by’omwoyo? (2)
abayonjo mu mpisa? (3) abayonjo mu birowoozo? (4) abayonjo mu mubiri? (5)
Njogera za ngeri ki ezitali nnyonjo ze tusaanidde okwewala? (6)
1. Yakuwa Katonda muyonjo era mutukuvu. Asuubira abamusinza okusigala nga bayonjo—mu by’omwoyo, mu mpisa, mu birowoozo; ne mu mubiri. (1 Peetero 1:16) Kyetaagisa okufuba okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Katonda. Tuli mu nsi etali nnyonjo. Era tulwanagana n’engeri zaffe ezituleetera okukola ebikyamu. Naye tetuteekwa kulekulira.
2. Obuyonjo mu by’Omwoyo: Bwe tuba twagala okuweereza Yakuwa, tetujja kugugubira ku njigiriza oba empisa yonna ey’eddiini ey’obulimba. Tuteekwa okuva mu ddiini ey’obulimba n’obutagiwagira mu ngeri yonna. (2 Abakkolinso 6:14-18; Okubikkulirwa 18:4) Bwe tumala okuyiga amazima agakwata ku Katonda, tuteekwa okwegendereza obutabuzaabuzibwa bantu abayigiriza eby’obulimba.—2 Yokaana 10, 11.
3. Obuyonjo mu Mpisa: Yakuwa ayagala abasinza be beeyise ng’Abakristaayo ab’amazima ekiseera kyonna. (1 Peetero 2:12) Alaba buli kyonna kye tukola, wadde mu kyama. (Abaebbulaniya 4:13) Tusaanidde okwewala obukaba n’empisa endala zonna ezitasaana ez’ensi eno.—1 Abakkolinso 6:9-11.
4. Obuyonjo mu Birowoozo: Bwe tujjuza ebirowoozo byaffe n’ebintu ebiyonjo, ebirongoofu, n’empisa zaffe zijja kuba nnyonjo. (Abafiripi 4:8) Naye bwe tumalira ebirowoozo byaffe ku bintu ebitali biyonjo, kijja kutuviiramu ebikolwa ebibi. (Matayo 15:18-20) Tusaanidde okwewala engeri ez’okwesanyusa eziyinza okwonoona ebirowoozo byaffe. Tusobola okujjuza ebirowoozo byaffe n’ebintu ebirungi nga tusoma Ekigambo kya Katonda.
5. Obuyonjo obw’Omubiri: Olw’okuba bakiikirira Katonda, Abakristaayo basaanidde okukuuma emibiri gyabwe n’ebyambalo byabwe nga biyonjo. Tusaanidde okunaaba mu ngalo nga tuvudde mu kabuyonjo, era twandizinaabye nga tetunnaba kulya oba kukwata ku mmere. Bw’oba tolina kifo kituufu awafulumirwa, kazambi asaanidde okuziikibwa. (Ekyamateeka 23:12, 13) Okukuuma emibiri gyaffe nga miyonjo kituleetera okuba n’obulamu obulungi. Amaka g’Omukristaayo gasaanidde okuba amayonjo munda n’ebweru. Gasaanidde okuba ekyokulabirako ekirungi mu kitundu.
6. Okwogera Okuyonjo: Abaweereza ba Katonda bateekwa okwogera amazima buli kaseera. Abalimba tebaliyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. (Abaefeso 4:25; Okubikkulirwa 21:8) Abakristaayo tebakozesa lulimi luvundu. Tebawuliriza bitasaana oba okwogera ebitali biyonjo. Olw’enjogera yaabwe ennyonjo baba ba njawulo ku mulimu oba ku ssomero ne ku muliraano.—Abaefeso 4:29, 31; 5:3.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Abaweereza ba Katonda bateekwa okuba abayonjo mu buli ngeri