Engeri Abajulirwa ba Yakuwa Gye Bategekeddwamu
Essomo 14
Engeri Abajulirwa ba Yakuwa Gye Bategekeddwamu
Abajulirwa ba Yakuwa ab’ebiseera bino baatandika ddi? (1)
Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa zikubirizibwa zitya? (2)
Ssente ezisaasaanyizibwa ziva wa? (3)
Ani atwala obukulembeze mu buli kibiina? (4)
Nkuŋŋaana ki ennene ezibaawo buli mwaka? (5)
Mirimu ki egikolebwa ku kitebe kyabwe ekikulu era ne mu ofiisi z’amatabi? (6)
1. Abajulirwa ba Yakuwa ab’ebiseera bino baatandika mu myaka gya 1870. Okusooka, baayitibwanga Bayizi ba Baibuli. Naye mu 1931 baafuna erinnya Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu Byawandiikibwa. (Isaaya 43:10) Okuva ku ntandikwa entono entegeka ekuze era kati erimu obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa, ababuulira mu nsi ezisukka 230.
2. Ebibiina ebisinga obungi eby’Abajulirwa ba Yakuwa bikuŋŋaana emirundi esatu buli wiiki. Oyanirizibwa okubaawo mu nkuŋŋaana ezo. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ebiyigirizibwa byesigamye ku Baibuli. Enkuŋŋaana ziggulibwawo era ne zifundikirwa n’okusaba. ‘Ennyimba ez’eby’omwoyo’ eziviira ddala mu mutima ziyimbibwa mu nkuŋŋaana ezisinga obungi. (Abaefeso 5:18, 19) Okuyingira kwa bwereere, era tewali kusolooza nsimbi.—Matayo 10:8.
3. Ebibiina ebisinga obungi bikuŋŋaanira mu Kingdom Hall. Bino bitera kuba bizimbe bya bulijjo ebizimbibwa Abajulirwa bannakyewa. Tojja kulaba bifaananyi bisinzibwa, misalabba, oba ebifaanana ng’ebyo mu Kingdom Hall. Ssente ezisaasaanyizibwa ziva mu kuwaayo 2 Abakkolinso 9:7.
okwa kyeyagalire. Eri abo abaagala okubaako kye bawaayo, waliwo akasanduuko akasonderwamu.—4. Mu buli kibiina, mulimu abakadde, oba abalabirizi. Be batwala obukulembeze mu kuyigiriza mu kibiina. (1 Timoseewo 3:1-7; 5:17) Bayambibwako abaweereza. (1 Timoseewo 3:8-10, 12, 13) Abasajja bano tebagulumizibwa kusinga balala mu kibiina. (2 Abakkolinso 1:24) Tebaweebwa bitiibwa bya njawulo. (Matayo 23:8-10) Ennyambala yaabwe si ya njawulo ku y’abalala. Era tebasasulwa olw’omulimu gwe bakola. Abakadde bafaayo ku byetaago by’ekibiina eby’omwoyo awatali kuwalirizibwa kwonna. Babudaabuda era ne bawa obulagirizi mu biseera ebizibu.—Yakobo 5:14-16; 1 Peetero 5:2, 3.
5. Abajulirwa ba Yakuwa era baba n’enkuŋŋaana ennene buli mwaka. Mu biseera ebyo ebibiina bingi bikuŋŋaana wamu biganyulwe mu programu ey’enjawulo ey’okuyigirizibwa Baibuli. Okubatizibwa kw’abayigirizwa abappya kubeerawo mu buli lukuŋŋaana olunene.—Matayo 3:13-17; 28:19, 20.
6. Ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna kiri mu New York. Eyo y’ebeera Akakiiko Akafuzi, ekibiina ekikulu eky’abakadde abalina obumanyirivu abalabirira ekibiina mu nsi yonna. Era waliwo ofiisi z’amatabi ezisukka mu 100 okwetooloola ensi yonna. Mu bifo bino, bannakyewa bayamba okukuba n’okuweereza ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Obulagirizi obukwata ku kutegeka omulimu gw’okubuulira nabwo buweebwa. Lwaki totegeka kukyalira ofiisi y’ettabi ekuli okumpi?