Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Oyinza Okuzuulamu Katonda ky’Akwetaagisa

Engeri gy’Oyinza Okuzuulamu Katonda ky’Akwetaagisa

Essomo 1

Engeri gy’Oyinza Okuzuulamu Katonda ky’Akwetaagisa

Bikulu ki ebitutegeezebwa mu Baibuli? (1)

Ani yawandiika Baibuli? (2)

Lwaki wandiyize Baibuli? (3)

1. Baibuli kirabo kya muwendo ekiva ewa Katonda. Eringa ebbaluwa taata gy’awandiikidde abaana b’ayagala. Etutegeeza amazima agakwata ku Katonda​—⁠ky’ali era ne by’ayagala. Ennyonnyola engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu n’okuzuula essanyu erya nnamaddala. Baibuli ye yokka etubuulira kye tuteekwa okukola okusobola okusanyusa Katonda.​—⁠Zabbuli 1:​1-3; Isaaya 48:​17, 18.

2. Baibuli yawandiikibwa abasajja 40 ab’enjawulo mu bbanga lya myaka 1,600, okutandikira mu 1513  B.C.E. Erimu ebitabo 66. Abo abaawandiika Baibuli baaluŋŋamizibwa Katonda. Baawandiika birowoozo bye, so si byabwe. N’olwekyo Katonda ali mu ggulu, so si muntu yenna ku nsi, ye Nnanyini kuwandiika Baibuli.​—⁠2 Timoseewo 3:​16, 17; 2 Peetero 1:​20, 21.

3. Katonda yakakasa nti Baibuli ekoppololwa mu ngeri entuufu ddala era n’ekuumibwa. Baibuli zikubiddwa mu kyapa okusinga ekitabo ekirala kyonna. Bonna tebajja kusanyuka kukulaba ng’oyiga Baibuli, naye ekyo tokiganya kukulemesa. Ebiseera byo eby’omu maaso eby’emirembe n’emirembe byesigamye ku kumanya Katonda n’okukola by’ayagala wadde ng’oziyizibwa.​—⁠Matayo 5:​10-12; Yokaana 17:⁠3.