1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa Baibuli
1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa Baibuli
NG’EKYABULAYO emyaka nga 40, abayizi ba Baibuli baalangirira nti wandibaddewo ebintu ebikulu mu mwaka 1914. Bintu ki ebyo, era bukakafu ki obulaga nti 1914 mwaka gwa njawulo?
Nga bwe kiragibwa mu Lukka 21:24, Yesu yagamba: “Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab’amawanga okutuusa ebiro by’ab’amawanga lwe birituukirira.” Yerusaalemi kye kyali ekibuga ekikulu eky’eggwanga ly’Abayudaaya—ekitebe ky’obufuzi bwa bakabaka abaali bava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. (Zabbuli 48:1, 2) Kyokka, bakabaka bano baali ba njawulo ku bakabaka b’amawanga amalala. Baatulanga ku ‘ntebe ya Yakuwa,’ nga bakiikirira Katonda kennyini. (1 Ebyomumirembe 29:23) N’olwekyo, Yerusaalemi kyali kifo ekikiikirira obufuzi bwa Yakuwa.
Mu ngeri ki, era ddi obufuzi bwa Katonda lwe bwatandika ‘okulinnyirirwa ab’amawanga’? Kino kyaliwo mu 607 B.C.E., Yerusaalemi bwe kyawangulwa Abababulooni. ‘Entebe ya Yakuwa’ yasigala njereere, era waali tewakyaliwo bakabaka kuva mu lunyiriri lwa Dawudi abaali bamukiikirira. (2 Bassekabaka 25:1-26) ‘Okulinnyirirwa’ kuno kwali kwa kubaawo emirembe gyonna? Nedda, kubanga obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku Zeddekiya kabaka w’omu Yerusaalemi eyasembayo bwagamba bwe buti: “Ggyawo enkufiira otikkule engule. . . . [Tekiriddawo] okutuusa nnyini kyo lw’alijja, era ndikimuwa.” (Ezeekyeri 21:26, 27) Oyo ayogerwako nga “nnyini kyo” ow’omu lunyiriri lwa Dawudi ye Yesu Kristo.” (Lukka 1:32, 33) N’olwekyo, ‘okulinnyirirwa’ kwandikomye Yesu bwe yandizze nga Kabaka.
Ekintu ekyo ekikulu kyandibaddewo ddi? Yesu yagamba nti ab’Amawanga bandifuze okumala ekiseera ekigereke. Danyeri essuula 4 etuyamba okutegeera obuwanvu bw’ekiseera ekyo. Essuula eyo eyogera ku kirooto eky’obunnabbi Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni kye yaloota. Yalaba omuti omunene ennyo ogwatemebwa ne gugwa wansi. Ekikonge kyagwo kyali tekisobola kuloka olw’okuba kyali kisibiddwa ekyuma n’ekikomo. Malayika yagamba: ‘Ebiseera musanvu ka bikiyiteko.’—Danyeri 4:10-16.
Mu Baibuli, oluusi emiti gikiikirira obufuzi. Ezeekyeri 17:22-24; 31:2-5) N’olwekyo, okutema omuti ogw’akabonero, kiraga engeri obufuzi bwa Katonda obwali bukiikirirwa bakabaka abaali bafugira mu Yerusaalemi, gye bwandibadde buggibwawo. Kyokka, ekirooto kyalaga nti ‘okulinnyirirwa kwa Yerusaalemi’ kwandibaddewo okumala ekiseera ekigereke, kwe kugamba, kwandimaze ‘ebiseera musanvu.’ Ekiseera ekyo kyenkana wa obuwanvu?
Okubikkulirwa 12:6, 14 walaga nti ebiseera bisatu n’ekitundu byenkanankana “ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.” N’olwekyo, “ebiseera omusavu” byandibadde bikubisaamu ebyo emirundi ebiri oba byandibadde ennakku 2,520. Naye, ab’Amawanga tebaalekera awo ‘kulinnyirira’ bufuzi bwa Katonda, oluvannyuma lw’ennaku 2,520 nga Yerusaalemi kimaze okugwa. N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti obunnabbi buno bwali bukwata ku kiseera ekiwanvuko. Okusinziira ku Okubala 14:34 ne Ezeekyeri 4:6, awoogera ku ‘lunaku okuba omwaka,’ “ebiseera omusanvu” biba byenkana emyaka 2,520.
Emyaka 2,520 gyatandika mu Okitobba 607 B.C.E., Yerusaalemi bwe kyawambibwa Abababulooni, era bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Dawudi bwe baggyibwa ku nnamulondo. Emyaka egyo gyakoma mu Okitobba 1914. Mu mwaka ogwo, ‘ebiseera by’ab’Amawanga’ byakoma, era Yesu Kristo yafuulibwa Kabaka mu ggulu. *—Zabbuli 2:1-6; Danyeri 7:13, 14.
Matayo 24:3-8; Lukka 21:11) Ebintu ng’ebyo biwa obujulizi obw’amaanyi obulaga nti 1914 gwe mwaka Obwakabaka bwa Katonda lwe bwateekebwawo mu ggulu era nti gwe gwali entandikwa ‘y’ennaku ez’oluvannyuma’ ez’embeera z’ebintu zino embi.—2 Timoseewo 3:1-5.
Nga Yesu bwe yalagula, ‘okubeerawo’ kwe nga Kabaka mu ggulu kulabikira ku bintu ebiriwo mu nsi, gamba ng’entalo, enjala, musisi, ne kawumpuli. ([Obugambo obuli wansi]
^ lup. 4 Okuva mu Okitobba 607 B.C.E. okutuuka mu Okitobba 1 B.C.E. giri emyaka 606. Okuva bwe wataliiwo mwaka gwa zeero, okuva mu Okitobba 1 B.C.E. okutuuka mu Okitobba 1914 C.E. giri emyaka 1,914. Bwe tugatta emyaka 606 ku myaka 1,914, tufuna emyaka 2,520. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ebikwata ku kugwa kwa Yerusaalemi mu 607 B.C.E., laba ekitundu ekirina omutwe Chronology (Embalirira y’Ebiseera) mu kitabo Insight on the Scriptures ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku empapula 216]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
‘EBISEERA OMUSANVU’
Emyaka 2,520
Emyaka 606 1/4 Emyaka 1,913 3/4
Okitobba 607 B.C.E. okutuuka Jjanwali 1, 1 C.E.
Ddesemba 31, 1 B.C.E. Okitobba 1914
607 ← B.C.E C.E. → 1914
“Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab’amawanga” “Okutuusa nnyini kyo lw’alijja”