Amagombe (Sheol ne Hades) Kye Ki?
Amagombe (Sheol ne Hades) Kye Ki?
MU NNIMI mwe yasooka okuwandiikibwa, Baibuli ekozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya sheʼohlʹ n’eky’Oluyonaani haiʹdes emirundi egisukka mu 70. Ebigambo ebyo byombi bikwataganyizibwa n’okufa. Enkyusa za Baibuli ezimu zivvuunula ebigambo ebyo nga “entaana,” “hell,” oba “ekinnya.” Naye, ennimi ezisinga obungi tezirina bigambo bituufu bisobola kuggirayo ddala makulu gennyini ag’ebigambo ebyo eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani. Kati olwo amagombe kitegeeza ki? Ka twekenneenye engeri gye kikozesebwamu mu Baibuli.
Omubuulizi 9:10 lugamba: “Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” Kino kiba kitegeeza nti amagombe ye ntaana omwagalwa gy’aba aziikiddwamu? Nedda. Baibuli bw’eba eyogera ku kifo omuntu w’aba aziikiddwa, ekozesa ebigambo ebirala eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani so si amagombe (sheʼohlʹ ne haiʹdes). (Olubereberye 23:7-9; Matayo 28:1) Ate era, Baibuli tekozesa kigambo “magombe” okutegeeza entaana emu omuziikiddwa abantu abawerako, gamba nga ab’omu maka oba omuziikiddwa abantu abangi ennyo.—Olubereberye 49:30, 31.
Kati olwo “amagombe” kitegeeza ki? Ekigambo kya Katonda kiraga nti “amagombe” kitegeeza ekintu ekisingawo ku ntaana, k’ebe eyo omuziikibwa abantu abangi. Ng’ekyokulabirako, Isaaya 5:14 wagamba nti amagombe ‘magazi, era gaasamizza akamwa kaago ekitayasamizika.’ Wadde ng’amagombe gamize abafu abatabalika, tegakkuta. (Engero 30:15, 16) Okwawukana ku ntaana omuyinza okuziikibwa abantu ab’ekigero, ‘amagombe tegakkuta.’ (Engero 27:20) Amagombe tegasobola kujjula. Tegaliiko kkomo. N’olwekyo, amagombe si kifo ekirina we kiri. Wabula, kye kifo eky’akabonero abafu gye bali.
Baibuli ky’eyogera ku kuzuukira kituyamba okwongera okutegeera amakulu g’ekigambo “amagombe.” Ekigambo * (Yobu 14:13; Ebikolwa 2:31; Okubikkulirwa 20:13) Era Ekigambo kya Katonda kiraga nti emagombe eriyo abaaweereza Yakuwa era n’abo abataamuweereza. (Olubereberye 37:35; Zabbuli 55:15, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Baibuli ky’eva eyigiriza nti walibaawo “okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
kya Katonda kiraga nti abagenda emagombe bajja kuzuukira.[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 4 Kyokka ate, abafu abatajja kuzuukizibwa teboogerwako ng’abali emagombe, naye boogerwako ng’abali “mu Ggeyeena.” (Matayo 5:30; 10:28; 23:33) Okufaananako amagombe, Ggeyeena si kifo ekirina we kiri.