Ebifo Ebyogerwako mu Baibuli
Ebifo Ebyogerwako mu Baibuli
NGA Isiraeri yeeteekateeka okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa yategeeza Katonda ekyamuli ku mutima: “[Nkusaba] nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.”—Ma 3:25.
Musa teyakkirizibwa, naye yalinnya olusozi olutunudde mu Yeriko n’alaba ensi, kwe kugamba, ‘Gireyaadi okutuukira ddala ku Daani, n’ensi ya Yuda okutuukira ddala ku nnyanja eri ebugwanjuba ne Negebu n’olusenyi lwa Yoludaani.’ (Ma 3:27; 34:1-4) Ebifo ebyo wali obiwuliddeko? Omanyi we bisangibwa?
Leero, batono nnyo ku bantu ba Yakuwa abasobola okutuuka mu bifo bye basomako mu Baibuli. Tebasobola kukola Katonda kye yagamba Ibulayimu, okutalaaga wonna mu Nsi Ensuubize. (Lub 13:14-17) Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima baagala nnyo okumanya ebifo ebyogerwako mu Baibuli era n’okutegeera engeri gye bikwataganamu.
Akatabo ‘Laba Ensi Ennungi,’ oyinza okukakozesa okweyongera okutegeera Ebyawandiikibwa. Kalimu ebifaananyi ebiragira ddala ebifo nga bwe biri kati, gamba nga Gireyaadi engimu eragibwa ku ddiba lyako. N’ekisingawo, kalimu mmaapu ezisobola okukuyamba okweyongera okutegeerera ddala ebikwata ku bifo ebyogerwako mu Baibuli.
Mmaapu eri ku lupapula 2 ne 3 eraga ebifo n’ebitundu ebikulu. Ng’ekyokulabirako, bw’ogeraageranya Bwasuli ne Misiri gye zaali okuva ku Nsi Ensuubize, osobola okutegeera obulungi obunnabbi obukwata ku bifo ebyo. (Is 7:18; 27:13; Kos 11:11; Mi 7:12) Ekifo ekyayitibwa Ensi Ensuubize kyali kisangibwa mu kitundu enguudo abasuubuzi ze baakozesanga we zaasisinkaniranga, era amawanga amalala gaagezaako okweddiza ennimiro zaamu ez’eŋŋaano engimu, ensuku ez’emizabbibu n’ez’emizayituuni.—Ma 8:8; Balam 15:5.
Emirundi egimu ojja kugeraageranya mmaapu. Ng’ekyokulabirako, Yona yalagirwa okugenda mu kibuga ekikulu ekya Bwasuli, naye ye n’alinnya eryato n’ayolekera Talusiisi. (Yona 1:1-3) Ebifo ebyo obiraba ku mmaapu esooka? Tetulina kutabula Talusiisi ne Taluso, ekifo omutume Pawulo gye yazaalibwa. Taluso n’ebifo ebirala ebikulu kwe biri ku mmaapu eno.
Ng’otunuulira Uli, Kalani ne Yerusaalemi, lowooza ku lugendo lwa Ibulayimu. Oluvannyuma lwa Yakuwa okumuyita okuva mu Uli, yatuula mu Kalani, ate oluvannyuma n’agenda mu Nsi Ensuubize. (Lub 11:28–12:1; Bik 7:2-5) Ojja kusobola okukuba ekifaananyi eky’olugendo lwa Ibulayimu ng’osoma ekitundu “Ensi y’Abasajja ab’Edda Abaali Batya Katonda” ku mpapula 6-7.
Mmaapu esooka n’eyo eri waggulu tezirina kiseera kikakafu kye zisongako. Ng’oggyeko zino ebbiri, okutwalira awamu mmaapu eziddirira ziraga ebintu nga bwe byagenda nga biddiriŋŋana. Ebibuga oba ebirala ebiri ku mmaapu bikwata ku bintu ebyaliwo mu kiseera ekimu. Wadde nga Olukalala lw’Ebirimu (oluli ku mpapula 34-5) terwogera ku buli kifo ekiri ku mmaapu, luyinza okukuyamba okuzuula mmaapu ekwata ku nsonga gy’oba onoonyerezaako.
Mmaapu eri mu makkati (empapula 18-19) y’esinga okulaga obubuga n’ebibuga ebyali mu Nsi Ensuubize. Olukalala olunnyonnyola obubonero obuli ku mmaapu lujja kukuyamba okuzuula ebibuga by’Abaleevi awamu n’ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu. Era lujja kukuyamba okutegeera obanga ekifo kyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, eby’Oluyonaani, oba byombiriri.
Ebifo ebimu ebyogerwako mu Baibuli tebimanyiddwa wa gye biri leero. N’olwekyo, amannya mangi ag’ebifo ebyo tegali ku mmaapu eyo eri mu makkati. Ekirala, tekyasoboka kulaga buli kibuga n’obubuga ku mmaapu eyo, gamba ng’ebyo ebiri mu nkalala eziraga ensalo z’ebika. (Lub 11:28–12:1; Bik 7:2-5) Kyokka, mmaapu eyo eriko ebibuga ebiriraanyewo, n’oba ng’osobola okuteebereza ebibuga ebitali ku mmaapu we byali. Ensozi, emigga, n’ebiwonvu biragibwa, era obugulumivu n’ebikko by’ensi bitegeerwa okusinziira ku langi. Ebintu ng’ebyo bijja kukusobozesa okukuba ekifaananyi ku bintu ebyogerwako mu Baibuli.
Ebirala ebisingawo ku bifo ebyogerwako mu Baibuli bisangibwa mu kitabo Insight on the Scriptures, ekiri mu nnimi eziwerako. * Ng’okozesa ekitabo ekyo era n’ebirala ebyeyambisibwa mu kuyiga Baibuli, beera n’akatabo ‘Laba Ensi Ennungi.’ Kajulize ng’osoma Ebyawandiikibwa, ebijja okukuganyula ennyo mu bulamu bwo.—2 Tim 3:16, 17.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 12 Kikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
EBITABO BYA BAIBULI BYAWANDIIKIRWA MU
Babulooni
Kayisaliya
Kkolinso
Misiri
Efeso
Yerusaalemi
Makedoni
Mowaabu
Patumo
Ensi Ensuubize
Rooma
Susani
[Mmaapu eri ku lupapula 4, 5]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Ebifo n’Ebibuga Ebyogerwako mu Baibuli
A1 ITALIYA
A2 ROOMA
A3 SISIRI
A3 MERITA
C2 MAKEDONI
C2 Firipi
C2 BUYONAANI
C3 ASENE
C3 Kkolinso
C3 KULEETE
C4 LIBIYA
D3 Antiyokiya (eky’e Pisidiya)
D3 Efeso
D3 PATUMO
D3 RODO
D4 MENFISI
D5 MISIRI
E2 ASIYA OMUTONO
E3 Taluso
E3 Antiyokiya (eky’e Bwasuli)
E3 KUPULO
E4 Sidoni
E4 Ddamasiko
E4 Ttuulo
E4 Kayisaliya
E4 ENSI ENSUUBIZE
E4 YERUSAALEMI
E4 MOWAABU
E4 Kadesi
E4 EDOMU
Olusuku Adeni?
F3 BWASULI
F3 Kalani
F3 BUSUULI
F5 BUWALABU
G3 NINEEVE
G4 BABULOONI
G4 BUKALUDAAYA
G4 Susani
G4 Uli
H3 BUMEEDI
[Ensozi]
E5 Olusozi Sinaayi
G2 ENSOZI ALALATI
[Ennyanja]
C3 Ennyanja Meditereniyani
E1 Ennyanja Enzirugavu
E5 Ennyanja Emmyufu
H2 Ennyanja Kasipiyani
H5 Ekyondo kya Buperusi
[Emigga]
D5 Omugga Nile
F3 Omugga Fulaati
G3 Omugga Tiguli