Ensi y’Abasajja ab’Edda Abaali Batya Katonda
Ensi y’Abasajja ab’Edda Abaali Batya Katonda
SUTEEFANO yatandika okwogera kwe okumanyiddwa obulungi ng’amenya ebitundu ebimu eby’ensi: “[Yakuwa] yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, n’amugamba nti [Genda] mu nsi gye ndikulaga.” (Bik 7:1-4) Ekiragiro ekyo kyaviirako ebintu ebikulu ebyaliwo mu Nsi Ensuubize ebikwata ku Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, era ebikwataganyizibwa n’ekigendererwa kya Katonda eky’okuwa abantu omukisa.—Lub 12:1-3; Yos 24:3.
Katonda yagamba Ibulayimu (oba, Ibulaamu) okuva mu Uli eky’Abakaludaaya, ekibuga ekyalimu eby’obugagga ekisangibwa ebuvanjuba w’Omugga Fulaati. Ibulayimu yandikutte kkubo ki? Okuva mu nsi y’Abakaludaaya, era eyali eyitibwa Suma oba Sinali, kyandirabise nga kyangu nnyo okwolekera ebugwanjuba. Kati olwo lwaki yeekooloobya n’agenda e Kalani ekyali ebukiika kkono?
Uli kyali kisangibwa okumpi n’ebuvanjuba bw’Ekitundu Ekigimu, ekyali kiva e Palesitayini okutuukira ddala ku Migga Tiguli ne Fulaati. Kirabika edda ekitundu kino kyalina embeera y’obudde ennungi. Ku luuyi olw’ebukiika ddyo obw’ekitundu kino waaliyo Eddungu lya Bwasuli ne Buwalabu nga lirimu n’ensozi n’ebifo eby’omuseetwe eby’omusenyu. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti ekitundu ekyo eky’eddungu “kyazibuwaliza nnyo” omuntu okuva ku Mwalo gwa Meditereniyani okutuuka e Mesopotamiya. Abasuubuzi abamu n’abatambuze bayinza okuba baasomoka Omugga Fulaati ne badda e Tadumoli ne Ddamasiko, naye Ibulayimu teyayisa ba mu maka ge n’ebisibo mu ddungu eryo.
Wabula, Ibulayimu yayita mu kiwonvu ky’Omugga Fulaati n’atuuka e Kalani. Okuva awo yagoberera ekkubo abasuubuzi lye baayitangamu n’asomokera awali amazzi amampi e Kalukemisi, ate awo n’ayolekera ebukiika ddyo ng’ayita e Ddamasiko n’atuuka ku Nnyanja Ggaliraaya. Via Maris, oba “Ekkubo Eririnaanye Ennyanja,” lyayita e Megiddo ne lituuka mu Misiri. Kyokka, Ibulayimu yayita mu nsozi z’e Samaliya, mu nkomerero n’asiisira e Sekemu. Oluvannyuma lw’ekiseera, yeeyongerayo ebukiika ddyo ng’ayita mu nsozi. Oyinza okulaba we yayita ku mmaapu ng’osoma Olubereberye 12:8–13:4. Weetegereze ebifo ebirala bye yayitamu: Ddaani, Ddamasiko, Kkoba, Mamule, Sodomu, Gerali, Beeruseba, ne Moliya (Yerusaalemi).—Lub 14:14-16; 18:1-16; 20:1-18; 21:25-34; 22:1-19.
Bwe tutegeera ebimu ku bitundu ebyogerwako mu Baibuli kitusobozesa okweyongera okutegeera obulungi ebintu ebyaliwo mu bulamu bwa Isaaka ne Yakobo. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yali e Beeruseba, wa gye yatuma omuddu we okufunira Isaaka omukazi? Yamusindika Mesopotamiya (ekitegeeza, “Ensi eri Lub 24:10, 62-64.
mu Makkati ng’Emigga”) e Padanalaamu. Ate lowooza ku lugendo lwa Lebbeeka olukooya nga yeebagadde eŋŋamira okutuuka e Negebu, oboolyawo okumpi ne Kadesi, okusobola okusisinkana Isaaka.—Oluvannyuma lw’ekiseera, mutabani waabwe Yakobo (Isiraeri) naye yatindigga olugendo lwe lumu okusobola okuwasa omusinza wa Yakuwa. Yakobo yayita mu kkubo ddala okuddayo mu nsi ye. Oluvannyuma lw’okusomokera e Yaboki okumpi n’e Penueri, Yakobo yameggana ne malayika. (Lub 31:21-25; 32:2, 22-30) Esawu yamusisinkanira mu kitundu ekyo, era oluvannyuma buli omu yagenda n’abeera mu kitundu ekirala.—Lub 33:1, 15-20.
Oluvannyuma lwa Dina, muwala wa Yakobo, omusajja okumukwatira e Sekemu, Yakobo yasenguka n’adda e Beseri. Osobola okukuba ekifaananyi ekifo batabani ba Yakobo gye baalundiranga ebisolo bya kitaabwe, era n’ekifo Yusufu gye yabasanga oluvannyuma? Mmaapu eno (era n’eyo eri ku lupapula 18-19) esobola okukuyamba okulaba ebbanga eryaliwo okuva e Beseri okutuuka e Dosani. (Lub 35:1-8; 37:12-17) Baganda ba Yusufu baamutunda eri abasuubuzi abaali bagenda e Misiri. Olowooza abasuubuzi abo baakwata kkubo ki nga bamutwala era oluvannyuma ekyaviirako Abaisiraeri okugenda e Misiri era n’okuvaayo kwabwe?—Lub 37:25-28.
[Mmaapu eri ku lupapula 7]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Eŋŋendo za Ibulayimu (laba katabo)
Eŋŋendo za Isaaka (laba katabo)
Eŋŋendo za Yakobo (laba katabo)
Enguudo Enkulu (laba katabo)
Abasajja Abesigwa ab’Edda (overview)
A4 GOSENI
A5 MISIRI
B4 SSUULI
B5 PALANI
C3 Ddamasiko
C3 Ddaani (Layisi)
C4 Sekemu
C4 Beseri
C4 Kebbulooni (Kariasualaba)
C4 Gerali
C4 Beeruseba
C4 SEYIRI
C4 Kadesi
C5 EDOMU
D1 Kalukemisi
D2 Tamali
D3 Kkoba
E1 PADANALAAMU
E1 Kalani
F2 MESOPOTAMIYA
G1 Nineeve
G2 EKITUNDU EKIGIMU
G3 Babulooni
H4 BUKALUDAAYA
H4 Uli
[Ensozi]
C4 Moliya
[Ennyanja]
B3 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
[Emigga]
E2 Fulaati
G2 Tiguli
Abasajja Abesigwa ab’Edda (mu Ensi Ensuubize)
KANANI
Megiddo
GIREYAADI
Dosani
Sekemu
Sukkosi
Makanayimu
Penueri
Beseri
Ayi
Yerusaalemi (Ssaalemi)
Besirekemu Efulasa)
Mamule
Kebbulooni (Makupeera)
Gerali
Beeruseba
Sodomu?
NEGEBU
Lekobosi?
Beerirakairo
Kadesi
Enguudo Enkulu
Via Maris
Oluguudo lwa Kabaka
[Ensozi]
Moliya
[Ennyanja]
Ennyanja ey’Omunnyo
[Emigga]
Yaboki
Yoludaani
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Omugga Fulaati okumpi ne Babulooni
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ibulayimu yabeera mu Basuseba era n’alundira ebisibo okumpi awo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ekiwonvu ky’omugga Yaboki