Isiraeri n’Ebifo eby’Omuliraano
Isiraeri n’Ebifo eby’Omuliraano
YAKUWA yagamba Ibulayimu: ‘Va mu Uli eky’omu Mesopotamiya ogende mu nsi gye ndikulaga.’ Ensi eyo yalimu abantu era nga yeetooloddwa amawanga amalala.—Lub 12:1-3; 15:17-21.
Abantu ba Katonda bwe baali bava mu Misiri, baali bamanyi nti bayinza okuziyizibwa abalabe, gamba nga, ‘Abamowaabu ab’amaanyi.’ (Kuv 15:14, 15) Abamaleki, Abamowaabu, Abaamoni, n’Abaamoli baali babeera mu kitundu Abaisiraeri mwe bandiyise nga bagenda mu Nsi Ensuubize. (Kubal 21:11-13; Ma 2:17-33; 23:3, 4) Ate era, Abaisiraeri bandisanze amawanga amalala ag’obulabe mu nsi Katonda gye yali abasuubizza.
Katonda yagamba nti Isiraeri ‘yandizikirizza amawanga’ musanvu ‘agaalimu abantu bangi,’ kwe kugamba, Abakiiti, Abagirugaasi, Abaamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi—agaali gagwanira okuzikirizibwa. Empisa zaabwe zaali mbi nnyo ate nga n’amadiini gaabwe ga bulimba. Mu bakatonda be baasinzanga mwe mwali Baali (eyakiikirirwanga empagi ez’amayinja ag’omuwendo), Moleki (gwe baawanga abaana nga ssaddaaka), ne katonda ayaza ebintu, Asutaloosi.—Ma 7:1-4; 12:31; Kuv 23:23; Leev 18:21-25; 20:2-5; Balam 2:11-14; Zab. 106:37, 38.
Emirundi egimu, ensi Katonda gye yasuubiza okuwa Abaisiraeri, yayitibwanga “Kanani,” ng’eva e Sidoni okutuuka ku “Kiwonvu eky’e Misiri.” (Kubal 13:2, 21; 34:2-12; Lub 10:19) Emirundi emirala Baibuli emenya amawanga ag’enjawulo, ebibuga, oba abantu abaali mu nsi eyo. Amawanga agamu gaali gabeera mu bifo eby’enkalakkalira, gamba ng’Abafirisuuti abaabeeranga ku lubalama lw’Ennyanja Meditereniyani n’Abayebusi mu nsozi ezaali ziriraanye Yerusaalemi. (Kubal 13:29; Yos 13:3) Amalala gaakyusanga ebifo buli luvannyuma lw’akaseera.—Lub 34:1, 2; 49:30; Yos 1:4; 11:3; Balam 1:16, 23-26.
Ekiseera Abaisiraeri we baaviira e Misiri, kirabika Abaamoli lye ggwanga eryali lisinga amaanyi mu Kanani. * (Ma 1:19-21; Yos 24:15) Baali bamaze okuwamba ensi ey’Abamowaabu okutuukira ddala ku kiwonvu kya Alunoni mu bukiika ddyo, wadde ng’ekifo ekyali emitala w’Omugga Yoludaani okuva e Yeriko kyali kikyayitibwa “ensenyi za Mowaabu.” Ate era bakabaka b’Abaamoli be baali bafuga Basani ne Gireyaadi.—Kubal 21:21-23, 33-35; 22:1; 33:46-51.
Wadde nga baalina obuwagizi bwa Katonda, Abaisiraeri tebaamalirawo ddala mawanga ago gonna agaali gagwanidde okuzikirizibwa, era oluvannyuma gaabasendasenda okukola ebikyamu. (Kubal 33:55; Yos 23:13; Balam 2:3; 3:5, 6; 2Bassek 21:11) Yee, Abaisiraeri baawaba wadde nga baali balabuddwa nti: “Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab’amawanga agabeetoolodde.”—Ma 6:14; 13:7.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 6 Okufaananako ‘Abakanani,’ ekigambo “Omwamoli” kyali kiyinza okutegeeza abantu b’omu nsi eyo oba eggwanga eryetongodde.—Lub 15:16; 48:22.
[Mmaapu eri ku lupapula 11]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Amawanga Agaalina Okuggibwawo Mu Nsi Ensuubize
ABAPERIZI (D8)
C8 Asekuloni
C9 Gaza
D8 Asudodi
C9 Gaasi
D8 Gerali
KANANI (D8)
B10 ABAMALEKI
C12 Kazaladali (Adaali?)
C12 Kadesi (Kadesubanea)
D8 Lakisi
D9 Beeruseba
D10 ABAAMOLI
D11 NEGEBU
E4 Doli
E5 Megiddo
E5 Taanaki
E6 Afeki
E6 ABAKIIVI
E7 ABAYEBUSI
E8 Besusemesi
E8 Kebbulooni (Kiriasualaba)
E9 ABAKIITI
E9 Debiri
E10 Yaladi (Omukanani)
E10 ABAKEENI
E11 Akulabbimu
F4 ABAGIRUGAASI
F6 Sekemu
F7 ABAPERIZI
F7 Girugaali
F7 Yeriko
F8 Yerusaalemi
G2 ABAKIIVI
G2 Ddaani (Lesemu)
G3 Kazoli
BUFOYINIIKI (F2)
E2 Ttuulo
F1 Sidoni
EDOMU (F12)
F11 SEYIRI
G11 Bozula
AMONI (SIKONI) (G8)
G6 GIREYAADI
G7 Sittimu
G7 Kesuboni
G9 Aloweri
BUSUULI (H1)
G1 Baalugadi
G2 Abakiivi
I1 Ddamasiko
MOWAABU (H10)
ABAAMOLI (OG) (I5)
G6 GIREYAADI
H3 BESUSEANI
H4 Asutaloosi
H4 Ederei
AMOLI (I7)
H7 Labba
[Amalungu]
H12 EDDUNGU LYA BUWALABU
[Ensozi]
E4 Olusozi Kalumeeri
E11 Olusozi Koola
G1 Olusozi Kerumooni
G8 Olusozi Nebo
[Ennyanja]
C6 Ennyanja Meditereniyani (Ennyanja Ennene)
F9 Ennyanja ey’Omunnyo
G4 Ennyanja ey’e Ggaliraaya
[Emigga]
B11 Ekiwonvu kya Misiri
F6 Omugga Yoludaani
G6 Ekiwonvu Yaboki
G9 Ekiwonvu Alunoni
G11 Ekiwonvu Zeredi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Ku Ddyo: Kabaka Ogi Omwamoli yafuga Basani ekifo ekyali kimanyiddwa ennyo olw’ente n’endiga
Wansi: Mowaabu, ng’otunuulira emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo okutuuka ku ddungu lya Yuda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Yakuwa yalagira Abaisiraeri okusiguukulula amawanga agaali gasinza bakatonda ab’obulimba nga Baali, Moleki, ne katonda omukazi ayaza ebintu, Asutaloosi (alagiddwa)