Lowoozanga ku Lunaku lwa Yakuwa
Essuula Ey’amakumi Abiri
Lowoozanga ku Lunaku lwa Yakuwa
1. Wawulira otya bwe wasooka okuyiga nti onootera okununulwa okuva mu mbeera zino embi?
EKIMU ku bintu bye wasooka okuyiga okuva mu Baibuli kyali nti Yakuwa alina ekigendererwa eky’okufuula ensi yonna olusuku lwe. Mu nsi eyo empya, entalo, obumenyi bw’amateeka, obwavu, obulwadde, okubonaabona, n’okufa tebijja kubaawo. N’abafu bajja kuzuukizibwa. Ng’ebintu ebyo ebisuubirwa birungi nnyo! Ekiraga nti ebyo byonna binaatera okutuukirizibwa kwe kuba nti Kristo yatandika okufuga nga Kabaka mu 1914 era nti okuva olwo, tubadde mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi eno embi. Ku nkomerero y’ennaku ezo, Yakuwa ajja kuggyawo embeera z’ebintu ebiriwo alyoke aleete ensi empya eyasuubizibwa!
2. ‘Olunaku lwa Yakuwa’ lwe luluwa?
2 Ekiseera ekyo ekijja eky’okuzikirizibwa, Baibuli ekiyita ‘olunaku lwa Yakuwa.’ (2 Peetero 3:10) Lwe ‘lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa’ eri ensi ya Setaani yonna. (Zeffaniya 2:3) Lujja kutuuka ku ntikko yaalwo ku “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna . . . , [oluyitibwa] mu Lwebbulaniya Kalumagedoni.” Mu kiseera ekyo “bakabaka b’ensi zonna” lwe balizikirizibwa. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Engeri gye weeyisaamu eraga nga okikkiriza nti ‘olunaku lwa Yakuwa’ luli kumpi?—Zeffaniya 1:14-18; Yeremiya 25:33.
3. (a) Olunaku lwa Yakuwa lulijja ddi? (b) Mu ngeri ki gye kibadde eky’omuganyulo Yakuwa obutatutegeeza ‘lunaku n’ekiseera’?
Makko 13:32) Abantu bwe baba nga ddala tebaagala Yakuwa, mu birowoozo byabwe olunaku lwe bajja kulwongezaayo mu maaso basobole okwemalira ku bintu by’omu nsi. Naye abo abaagalira ddala Yakuwa bajja kumuweereza n’omutima gwonna, ka lube ddi enkomerero y’embeera zino lw’erijja.—Zabbuli 37:4; 1 Yokaana 5:3.
3 Baibuli tetutegeeza lunaku lwennyini Yesu Kristo lw’alijja ng’Omumbowa wa Yakuwa okuzikiriza ensi ya Setaani. Yesu yagamba: “Eby’olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.” (4. Yesu yalabula ku ki?
4 Yesu yalabula abaagala Yakuwa, ng’agamba: “Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.” (Makko 13:33-37) Atukubiriza obutaleka kulya n’okunywa oba ‘ebyeraliikiriza mu bulamu’ okutwala ebirowoozo byaffe byonna ne twerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu.—Lukka 21:34-36; Matayo 24:37-42.
5. Nga Peetero bwe yannyonnyola, olunaku lwa Yakuwa lunaaleeta ki?
5 Mu ngeri y’emu Peetero naye atukubiriza okulowoozanga ku ‘lunaku lwa Katonda olulisaanuusa eggulu n’ebintu ebirimu olw’ebbugumu eringi.’ Gavumenti zonna, ezikiikirirwa “eggulu”—zijja kuzikirizibwa, awamu n’abantu ababi, abakiikirirwa ‘ensi’—era ‘n’ebintu ebirimu,’ nga z’endowooza n’ebikolwa by’ensi eno embi, gamba ng’omwoyo gw’okwewaggula ku Katonda n’obulamu bwayo obw’obugwenyufu era n’okuluubirira eby’obugagga. Mu kifo ky’ebyo wajja kuddawo “eggulu 2 Peetero 3:10-13) Ebintu bino ebikulu ennyo bijja kujja mbagirawo ku lunaku n’essaawa ebitasuubirwa.—Matayo 24:44.
eriggya [obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu] n’ensi empya [enteekateeka empya ey’abantu], obutuukirivu mwe bu[li]tuula.” (Beera Bulindaala ku Bikwata ku Kabonero
6. (a) Yesu bye yaddamu mu kibuuzo ky’abatume be, byakwata ku nkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya kutuuka wa? (b) Biki ku ebyo Yesu bye yaddamu ebikwata ku bibaddewo okuva mu 1914 n’okweyongerayo?
6 Olw’obukulu bw’ebiseera bye tulimu, tusaanidde okutegeera obulungi byonna ebikwata ku kabonero akooleka ennaku ez’oluvannyuma—‘enkomerero y’embeera y’ebintu eno.’ Kijjukire nti Yesu bwe yaddamu ekibuuzo ky’abayigirizwa be ekiri mu Matayo 24:3, ebimu ku ebyo bye yayogerako mu lunyiriri 4 okutuuka ku 22 byatuukirizibwa ku kigero ekitono ku nteekateeka y’Ekiyudaaya wakati w’omwaka 33 C.E. ne 70 C.E. Naye obunnabbi obwo butuukiriziddwa ku kigero ekinene okuva mu 1914, mu kiseera ‘eky’okubeerawo kwa Kristo era eky’enkomerero y’embeera y’ebintu bino.’ Matayo 24:23-28 zoogera ku byandibaddewo okuva mu 70 C.E., okutuuka ku kiseera eky’okubeerawo kwa Kristo. Ebyogerwako mu Matayo 24:29–25:46 bibaawo mu kiseera ky’enkomerero.
7. (a) Lwaki kinnoomu twandyekkaanyizza engeri embeera eziriwo gye zituukirizaamu akabonero? (b) Ddamu ebibuuzo ku nkomerero y’akatundu kano okulaga engeri akabonero gye kabadde katuukirizibwa okuva mu 1914.
7 Kinnoomu twetaaga okwekkaanya ebintu ebituukiriza akabonero. Okukwataganya ebintu ebyo n’obunnabbi bwa Baibuli kijja kutuyamba okulowoozanga ku lunaku lwa Yakuwa. Kijja kutuyamba okufuba okulabula Isaaya 61:1, 2) Nga tulina ebiruubirirwa bino mu birowoozo, ka twekenneenye ebibuuzo ebiddirira ebiraga ebiri mu kabonero akoogerwako mu Matayo 24:7 ne Lukka 21:10, 11.
abalala nti olunaku olwo luli kumpi. (Mu ngeri ki ey’enkukunala obunnabbi obukwata ku ‘mawanga okutabaala amawanga n’obwakabaka okutabaala obwakabaka’ gye butuukiriziddwa okuva mu 1914? Ku bikwata ku ntalo, kiki ekibaddewo okuva ku olwo?
Mu 1918, kawumpuli ki eyatta abantu bangi nnyo okusinga Ssematalo I? Wadde ng’abantu bakuguse nnyo mu by’ekisawo, ndwadde ki ezikyatta obukadde n’obukadde bw’abantu?
Wadde ng’abantu bakulaakulanye mu bya sayansi mu kyasa ekiyise, enjala ekosezza abantu kutuuka wa?
Kiki ekikukakasa nti 2 Timoseewo 3:1-5, 13 tezoogera ku ngeri obulamu gye bubaddemu ebbanga lyonna, wabula engeri embeera gye zeeyongedde okwonooneka nga twolekera enkomerero y’ennaku ez’oluvannyuma?
Okwawula Abantu
8. (a) Kiki ekirala ekyogerwako mu Matayo 13:24-30, 36-43, Yesu kye yakwataganya n’enkomerero y’embeera y’ebintu eno? (b) Olugero lwa Yesu lulina makulu ki?
8 Waliwo ebintu ebirala ebikulu Yesu bye yakwataganya n’enkomerero y’embeera y’ebintu eno. Ekimu ku ebyo kwe kwawula ‘abaana b’obwakabaka’ okuva ku ‘baana b’omubi.’ Yesu yayogera ku nsonga eyo mu lugero lwe olukwata ku nnimiro y’eŋŋaano omulabe mwe yasiga eŋŋaano ey’omu nsiko. ‘Eŋŋaano ennungi’ mu lugero lwe, ekiikirira Abakristaayo ab’amazima abaafukibwako amafuta. ‘Eŋŋaano ey’omu nsiko’ beebo abeeyita Abakristaayo naye ng’ebikolwa byabwe biraga nti Matayo 13:24-30, 36-43) Okwawula kuno ddala kubaddewo?
‘baana b’omubi’ kubanga beemalidde ku nsi efugibwa Omulyolyomi. Bano baawulibwa okuva ku ‘baana b’obwakabaka bwa Katonda’ era nga bajja kuzikirizibwa. (9. (a) Oluvanyuma lwa Ssematalo I, kwawulibwa ki okwaliwo okw’abo abeeyita Abakristaayo? (b) Abakristaayo abaafukibwako amafuta baalaga batya nti baali baweereza b’Obwakabaka ab’amazima?
9 Oluvannyuma lwa Ssematalo I, abo abaali beeyita Abakristaayo baayawulibwamu ebibiina bibiri: (1) Abakadde b’amakanisa ga Kristendomu n’abagoberezi baabwe, abaawagira ennyo Ekinywi ky’Amawanga (kati ekiyitibwa Ekibiina ky’Amawanga Amagatte) ng’ate mu kiseera kye kimu bawagira amawanga gaabwe, ne (2) Abakristaayo ab’amazima abaaliwo oluvannyuma lw’olutalo, abaawagira mu bujjuvu Obwakabaka bwa Katonda obwa Masiya, so si amawanga g’omu nsi. (Yokaana 17:16) Bano beeraga okuba abaweereza b’Obwakabaka bwa Katonda ab’amazima nga babuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Biki ebyavaamu?
10. Biki ebyasooka okuva mu kubuulira Obwakabaka?
10 Okusooka, waaliwo okukuŋŋaanyizibwa kw’ensigalira y’abo abaafukibwako omwoyo omutukuvu, abo abalina essuubi ery’okubeera ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Wadde abalinga abo baali basaasaanye mu mawanga, baakuŋŋaanyizibwa ne baba bumu mu ntegeka ya Yakuwa. Okumaliriza okuteeka akabonero ku abo abaafukibwako amafuta kuli kumpi.—Okubikkulirwa 7:3, 4.
11. (a) Mulimu ki ogw’okukuŋŋaanya abantu ogugenda mu maaso, era gutuukagana na bunnabbi ki? (b) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno kulaga ki?
Okubikkulirwa 7:9, 14; Yokaana 10:16) Omulimu guno ogw’okubuulira Obwakabaka bwa Katonda ng’enkomerero tennatuuka gukyagenda mu maaso ne mu kiseera kino. N’obwesigwa, ekibiina ekinene eky’endiga endala, kati ng’omuwendo gwabwe guli mu bukadde, kiyamba ensigalira y’abaafukibwako amafuta okulangirira obubaka obukulu obukwata ku Bwakabaka. Obubaka buno buwulirwa mu mawanga gonna.
11 Oluvannyuma, wansi w’obulagirizi bwa Kristo, ‘ab’ekibiina ekinene okuva mu mawanga gonna, ebika, abantu n’ennimi,’ baatandika okukuŋŋaanyizibwa. Bano be ‘b’endiga endala’ abanaawonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene’ okuyingira mu nsi ya Katonda empya. (Biki Ebiri mu Maaso Awo?
12. Kubuulira kwenkana wa okulina okukolebwa ng’enkomerero tennatuuka?
12 Byonna ebyogeddwa waggulu biraga nti tusemberedde enkomerero y’ennaku ez’oluvannyuma era nti
olunaku lwa Yakuwa luli kumpi. Naye waliwo obunnabbi obulina okutuukirizibwa ng’olunaku olwo olw’entiisa terunnatuuka? Yee. Okusooka, okwawula abantu okusinziira ku ngeri gye batwalamu ensonga y’Obwakabaka tekunnamalirizibwa. Mu bifo ebimu awaali okuyigganyizibwa okw’amaanyi okumala emyaka mingi, kati waliyo okweyongera kw’abayigirizwa. Ne mu bifo abantu gye bagaana amawulire amalungi, obusaasizi bwa Yakuwa bweyoleka nga tuwa obujulirwa. N’olwekyo, ka tweyongere okukola omulimu gwe! Yesu atukakasa nti omulimu bwe gunaamalirizibwa, enkomerero ejja kujja.13. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abasessalonika 5:2, 3, kintu ki eky’enkukunala ekinaabaawo, era kiritegeeza ki gye tuli?
13 Obunnabbi obulala obwa Baibuli obukulu bugamba: “Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n’akatono.” (1 Abasessalonika 5:2, 3) Tulindiridde kulaba okulangirira okwo okukwata ku ‘mirembe n’obutebenkevu’ bwe kulibeera. Naye tekulitegeeza nti olwo abakulembeze b’ensi baliba bagonjodde ebizibu by’ensi. Abo bulijjo abalowooza ku lunaku lwa Yakuwa tebajja kubuzaabuzibwa kulangirira okwo. Bakimanyi nti mangu ddala oluvannyuma lw’okulangirira okwo, okuzikirizibwa kujja kubaawo mbagirawo.
14. Bintu ki ebiribaawo mu kibonyoobonyo ekinene, era biddiriŋŋana bitya?
14 Ku ntandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene, abafuzi bajja kwefuulira Babulooni Ekinene, obwakabaka bw’eddiini ez’obulimba, bakizikirize. (Matayo 24:21; Okubikkulirwa 17:15, 16) Oluvannyuma lw’ekyo, amawanga gajja kulumba abo abawagira obufuzi bwa Yakuwa. Ekyo kijja kuleetera Yakuwa okuzikiriza amawanga ago awamu ne bonna abagawagira. Olwo lwe luliba olutalo Kalumagedoni era y’eriba entikko y’ekibonyoobonyo ekinene. Oluvannyuma, Setaani ne balubaale be bajja kusibibwa mu bunnya obutakoma, babe nga tebakyasobola kutawaanya bantu. Ekyo kijja kukomekkereza olunaku lwa Yakuwa, ekiseera erinnya lye lwe lirigulumizibwa.—Ezeekyeri 38:18, 22, 23; Okubikkulirwa 19:11–20:3.
15. Lwaki tekyandibadde kya magezi okulowooza nti olunaku lwa Yakuwa lukyali wala nnyo?
15 Enkomerero y’enteekateeka eno ejja kujjira ddala mu kiseera ekituufu Katonda ky’ategese. Tejja kulwa. (Kaabakuuku 2:3) Jjukira nti okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi mu 70 C.E., kwajja mangu, mu kiseera Abayudaaya kye baali batasuubira nga balowooza nti akabi kaali tekakyaliwo. Ate kyali kitya ku Babulooni eky’edda? Ekibuga ekyo kyali kya maanyi nga kyetooloddwa bbugwe ow’amaanyi. Naye kyagwa mu kiro kimu. Mu ngeri y’emu, okuzikiriza okw’amangu kujja kutuuka ku nteekateeka eno embi eriwo. Bwe kulijja, ka tusangibwe nga tuli bumu mu kusinza okw’amazima, olw’okulowoozanga olunaku lwa Yakuwa.
Eby’Okwejjukanya
• Lwaki kikulu okulowoozanga ku lunaku lwa Yakuwa? Ekyo tuyinza kukikola tutya?
• Okwawula abantu okuliwo kati kutukwatako kutya kinnoomu?
• Biki ebisuubirwa mu maaso awo ng’olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka? Kiki kye twandibadde tukola kinnoomu?
[Ebibuuzo]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 180 181]
Mangu ddala ennaku ez’enkomerero zijja kukoma ng’enteekateeka ya Setaani ezikirizibwa