Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 72

Yesu ng’Akyali Muto

Yesu ng’Akyali Muto

Yusufu ne Maliyamu awamu ne Yesu n’abaana baabwe abalala, ab’obulenzi n’ab’obuwala, baali babeera mu Nazaaleesi. Yusufu yakolanga gwa bubazzi okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge, era yayigirizanga ab’omu maka ge ebikwata ku Yakuwa n’Amateeka ge. Yusufu yagendanga n’ab’omu maka ge okusinza mu kkuŋŋaaniro, era buli mwaka yabatwalanga e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako.

Yesu bwe yali wa myaka 12, baagenda e Yerusaalemi nga bwe baakolanga. Abantu bangi bajja e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Oluvannyuma, Yusufu ne Maliyamu baatindigga olugendo okuddayo ewaabwe, nga balowooza nti Yesu yali wamu n’abantu abalala abaali bava e Yerusaalemi. Naye Yusufu ne Maliyamu bwe baanoonya Yesu mu b’eŋŋanda zaabwe, tebaamulaba.

Baddayo e Yerusaalemi, era ne bamala ennaku ssatu nga banoonya Yesu. Oluvannyuma baagenda mu yeekaalu. Baasanga Yesu ng’atudde n’abayigiriza ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo. Abayigiriza baakwatibwako nnyo olw’okutegeera Yesu kwe yalina ne batandika n’okumubuuza ebibuuzo. Beewuunya nnyo engeri Yesu gye yaddangamu ebibuuzo bye baamubuuza. Baakiraba nti Yesu yali ategeera bulungi Amateeka ga Yakuwa.

Yusufu ne Maliyamu baali beeraliikiridde nnyo. Maliyamu yagamba Yesu nti: ‘Mwana wange, tubadde tukunoonya buli wamu! Obadde ludda wa?’ Yesu yamuddamu nti: ‘Mubadde temukimanyi nti nnina kuba wano mu nnyumba ya Kitange?’

Yesu ne bazadde be baddayo e Nazaaleesi. Yusufu yayigiriza Yesu omulimu gw’okubajja. Olowooza Yesu yeeyisanga atya ng’akyali muto? Yesu bwe yagenda akula, yeeyongera okufuna amagezi n’okusiimibwa Katonda n’abantu.

“Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.”​—Zabbuli 40:8