Ennyanjula yʼEkitundu 12
Yesu yayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu. Era yabayigiriza okusaba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe, Obwakabaka bwe bujje, era by’ayagala bikolebwe ku nsi. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okumanya amakulu g’ebyo ebiri mu ssaala eyo. Yesu teyakkiriza Sitaani kumuleetera kujeemera Katonda. Yesu yalonda abatume be, era be baali omusingi ogw’abo abanaafugira awamu naye mu Bwakabaka. Yesu yawagira mu bujjuvu okusinza okw’amazima. Olw’okuba Yesu yali ayagala okuyamba abantu, yawonya abalwadde, yaliisa abalumwa enjala, era yazuukiza n’abafu. Ebyamagero ebyo byonna byalaga ebyo Obwakabaka bye bunaakolera abantu.
MU KITUNDU KINO
Yesu Afuuka Masiya
Kiki Yokaana ky’ategeeza bw’agamba nti Yesu ye Mwana gw’Endiga Ogwa Katonda?
The Devil Tests Jesus
Sitaani yaleetera Yesu ebikemo bisatu. Ebikemo ebyo bye biruwa? Yesu yakola ki ng’akemeddwa?
Yesu Alongoosa Yeekaalu
Lwaki Yesu agoba ebisolo mu yeekaalu era n’avuunika emmeeza z’abawanyisa ssente?
Ayogera n’Omukazi ku Luzzi
Omukazi Omusamaliya yeewuunya nnyo nga Yesu ayogedde naye. Lwaki? Kiki Yesu kye yagamba omukazi oyo kye yali tagambangako muntu mulala yenna?
Yesu Abuulira Ebikwata ku Bwakabaka
Yesu ayita abamu ku bayigirizwa be okufuuka abavubi b’abantun. Oluvannyuma atendeka abayigirizwa abalala 70 okubuulira amawulire amalungi.
Yesu Akola Ebyamagero Bingi
Yonna Yesu gy’agenda abantu abalwadde bajja gy’ali abawonye era era abawonya. Azuukiza n’omuwala.
Yesu Alonda Abatume Ekkumi n’Ababiri
Lwaki abalonda? Ojjukira amannya gaabwe?
Yesu Abuulira ku Lusozi
Yesu yayigiriza ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanye ebintu ebikulu bingi.
Yesu Ayigiriza Abayigirizwa Be Okusaba
Bintu ki bye yagamba abayigirizwa be okusabanga?
Yesu Aliisa Abantu Bangi
Ekyamagero ekyo kituyigiriza ki ku Yesu ne Yakuwa?
Yesu Atambulira ku Mazzi
Olowooza abatume baawulira batya nga balabye ekyamagero kino?
Yesu Awonya Omusajja ku Ssabbiiti
Lwaki abamu tebaasanyukira ekyo Yesu kye yakola?
Yesu Azuukiza Laazaalo
Yesu bwe yalaba Maliyamu ng’akaaba, naye yatandika okukaaba. Naye oluvannyuma bajjula essanyu.