ESSOMO 35
Kaana Asaba Katonda Afune Omwana ow’Obulenzi
Waaliwo omusajja Omuyisirayiri ayitibwa Erukaana eyalina abakazi babiri. Omu ku bakazi abo yali ayitibwa Kaana ate ng’omulala ayitibwa Penina. Naye yali asinga kwagala Kaana. Penina yayeeyanga Kaana buli kiseera olw’okuba Kaana yali tazaala ate nga ye Penina yalina abaana bangi. Buli mwaka, Erukaana yatwalanga ab’omu maka ge okusinza ku weema entukuvu e Siiro. Lumu bwe baali e Siiro, Erukaana yakiraba nti Kaana yali munakuwavu nnyo. Yagamba Kaana nti: ‘Kaana, tokaaba. Nkwagala nnyo.’
Oluvannyuma, Kaana yavaawo n’agenda yekka okusaba. Yasaba Yakuwa amuyambe era yasaba nga bw’akaaba. Yasuubiza Yakuwa nti: ‘Yakuwa, bw’onoompa omwana ow’obulenzi, nja kumukuwa akuweereze obulamu bwe bwonna.’
Eli, Kabona Asinga Obukulu, bwe yalaba Kaana ng’akaaba yalowooza nti yali atamidde. Kaana yagamba Eli nti: ‘Mukama wange, sitamidde. Nnina ekizibu eky’amaanyi, era nkitegeeza Yakuwa.’ Eli yakiraba nti yali ategedde bubi Kaana era n’agamba Kaana nti: ‘Katonda k’akuwe ky’oyagala.’ Kaana yawulira bulungi era n’avaawo n’agenda. Mu mwaka nga gumu, Kaana yazaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Samwiri. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Kaana!
Kaana teyeerabira kye yasuubiza Yakuwa. Bwe yamala okuggya Samwiri ku mabeere, yamutwala okuweereza ku weema entukuvu. Kaana yagamba Eli nti: ‘Ono ye mwana ow’obulenzi gwe nnasaba Yakuwa. Mmuwaddeyo aweereze Yakuwa obulamu bwe bwonna.’ Erukaana ne Kaana baakyaliranga Samwiri buli mwaka era baamutwaliranga ekizibaawo ekitaliiko mikono. Yakuwa yasobozesa Kaana okuzaala abaana abalala basatu ab’obulenzi n’ab’obuwala babiri.
“Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula.”—Matayo 7:7