Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 38

Yakuwa Yawa Samusooni Amaanyi

Yakuwa Yawa Samusooni Amaanyi

Oluvannyuma lw’ekiseera, Abayisirayiri baddamu okusinza ebifaananyi. N’olwekyo, Yakuwa yabawaayo mu mukono gw’Abafirisuuti. Naye waaliwo Abayisirayiri abaali bakyayagala Yakuwa. Omu ku Bayisirayiri abo yali Manowa. Manowa ne mukyala we tebaalina baana. Lumu Yakuwa yatuma malayika we eri mukyala wa Manowa. Malayika yamugamba nti: ‘Ojja kuzaala omwana ow’obulenzi. Omwana oyo ajja kununula Isirayiri okuva mu mikono gy’Abafirisuuti. Omwana oyo ajja kuba Munaziri.’ Abanaziri baali baani? Baali baweereza ba Yakuwa ab’enjawulo. Abanaziri tebakkirizibwanga kusalako nviiri zaabwe.

Ekiseera kyatuuka mukyala wa Manowa n’azaala omwana era omwana oyo ne bamutuuma Samusooni. Samusooni bwe yakula, Yakuwa yamuwa amaanyi mangi nnyo. Yali asobola okutta empologoma ng’akozesa mikono gye gyokka. Lumu Samusooni yatta Abafirisuuti 30 ng’ali yekka. Abafirisuuti baamukyawa era ne banoonya engeri gye bayinza okumuttamu. Lumu ekiro Samusooni bwe yali mu kibuga Gaaza nga yeebase, Abafirisuuti baagenda ne bamuteega ku mulyango gw’ekibuga basobole okumutta ku makya. Naye ekiro mu ttumbi, Samusooni yazuukuka n’agenda ku mulyango gw’ekibuga n’akuulamu enzigi, n’aziteeka ku bibegaabega bye n’azitwala ku ntikko y’olusozi olwali luliraanye Kebbulooni!

Oluvannyuma Abafirisuuti baagenda eri Derira, omuwala Samusooni gwe yali ayagala, ne bamugamba nti: ‘Tujja kukuwa ssente nnyingi bw’onootubuulira ekifuula Samusooni okuba ow’amaanyi. Twagala tumukwate tumusibe mu kkomera.’ Olw’okuba Derira yali ayagala ssente ezo, yakkiriza okukola kye baamugamba. Mu kusooka, Samusooni yagaana okubuulira Derira ekyali kimuleetera okuba ow’amaanyi. Naye Derira yamwesibako nnyo okutuusa lwe yamubuulira ekyama kye. Samusooni yagamba Derira nti: ‘Olw’okuba ndi Munaziri, enviiri zange tezisalibwangako. Singa zisalibwako, amaanyi ganzigwamu.’ Samusooni yakola ensobi ya maanyi okubuulira Derira ekyama ekyo.

Amangu ddala Derira yagamba Abafirisuuti nti: ‘Kati mmanyi ekiviirako Samusooni okuba ow’amaanyi!’ Yeebasa Samusooni ku maviivi ge, era omuntu omulala n’ajja n’asalako samusooni enviiri. Oluvannyuma Derira yagamba Samusooni nti: ‘Samusooni, Abafirisuuti baabo!’ Samusooni yazuukuka naye yali takyalina maanyi. Abafirisuuti baamukwata ne bamusiba, ne bamuggyamu amaaso, era ne bamuteeka mu kkomera.

Lumu Abafirisuuti nkumi na nkumi baakuŋŋaanira mu yeekaalu ya katonda waabwe ayitibwa Dagoni, ne baleekanira waggulu nga bagamba nti: ‘Katonda waffe yawaayo Samusooni mu mukono gwaffe! Muleete Samusooni atusanyuseemu.’ Baayimiriza Samusooni wakati w’empagi bbiri ne batandika okumusekerera. Samusooni yasaba Yakuwa ng’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, nkwegayiridde mpa amaanyi omulundi guno gwokka.’ Mu kiseera ekyo, enviiri za Samusooni zaali zizzeemu okukula. Samusooni yasindika empagi za yeekaalu eyo n’amaanyi ge gonna. Ekizimbe ekyo kyonna kyagwa ne kitta abantu bonna abaakirimu, era ne Samusooni yafiiramu.

“Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:13