Ennyanjula yʼEkitundu 8
Yakuwa yawa Sulemaani amagezi mangi era n’amuwa n’enkizo ey’okuzimba yeekaalu, naye oluvannyuma Sulemaani yava ku Yakuwa. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okulaba engeri okusinza okw’obulimba gye kwaggya Sulemaani ku Katonda. Obwakabaka bwayawuzibwamu era bakabaka ababi baaviirako abantu ba Isirayiri okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Mu kiseera ekyo, bannabbi ba Yakuwa bangi baayigganyizibwa era ne battibwa. Nnaabakyala Yezebeeri yaleetera okusinza okw’obulimba okwongera okusensera obwakabaka obw’ebukiikakkono. Ekiseera ekyo kyali kibi nnyo mu byafaayo bya Isirayiri. Naye waliwo Abayisirayiri bangi abaali bakyali
abeesigwa eri Yakuwa, nga muno mwe mwali Kabaka Yekosafaati ne nnabbi Eriya.MU KITUNDU KINO
Yeekaalu ya Yakuwa
Katonda yaddamu okusaba kwa Sulemaani ng’amuwa emikisa mingi.
Obwakabaka Bwawulwamu
Abayisirayiri bangi baalekerawo okusinza Yakuwa.
Ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri
Katonda ow’amazima y’ani? Yakuwa oba Bbaali?
Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi
Olowooza naawe asobola okukuzzaamu amaanyi?
Omwana wa Nnamwandu Yaddamu Okuba Omulamu
Ebyamagero bibiri byakolebwa mu nnyumba emu!
Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa
Yezebeeri yatta Omuyisirayiri ayitibwa Nabbosi asobole okubba ennimiro ye! Ekyo Yakuwa yakiraba era alina kye yakolawo.
Yakuwa Alwanirira Yekosafaati
Amawanga bwe gaali gaagala okulumba Yuda, kabaka omwesigwa ayitibwa Yekosafaati yasaba Katonda amuyambe.