ESSOMO 51
Omulwanyi Omuzira n’Omuwala Omuto
Omuwala omuto Omuyisirayiri yatwalibwa mu nsi ya Busuuli eyali ewala ennyo okuva ewaabwe. Yatwalibwa amagye ga Busuuli n’afuuka omuweereza wa mukyala w’omukulu w’eggye eyali ayitibwa Naamani. Omuwala oyo omuto yali asinza Yakuwa wadde ng’abantu be yalimu baali tebamusinza.
Naamani yalina obulwadde bw’ebigenge, era yali mu bulumi bwa maanyi. Omuwala oyo yali ayagala okuyamba Naamani. Yagamba mukyala wa Naamani nti: ‘Mmanyi omuntu asobola okuyamba omwami wo okuwona. Mu Isirayiri waliyo nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Erisa. Asobola okuwonya omwami wo.’
Mukyala wa Naamani yabuulira Naamani ebyo omuwala omuto bye yali amugambye. Naamani yali mwetegefu okukola kyonna ekisoboka okuwona, era bw’atyo yakkiriza okugenda mu Isirayiri ewa Erisa. Naamani yali asuubira Erisa okumwaniriza mu ngeri ey’enjawulo. Naye mu kifo ky’okwogera ne Naamani butereevu, Erisa yamutumira
omuweereza we amugambe nti: ‘Genda onaabe emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani. Ojja kuwona.’Ekyo kyanyiiza nnyo Naamani, era n’agamba nti: ‘Mbadde ndowooza nti nnabbi ono ajja kukoowoola erinnya lya Katonda we era nga bw’ayisaayisa engalo ze awali ebigenge byange amponye! Mu kifo ky’ekyo, aŋŋamba kugenda kunaaba mu mugga gw’omu Isirayiri. Mu Busuuli waliyo emigga egisinga egy’omu Isirayiri obulungi. Lwaki sigenda ne nnaaba mu egyo?’ Naamani yasunguwala nnyo era n’ava ewa Erisa n’agenda.
Abaweereza ba Naamani baamuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Baamugamba nti: ‘Mukama waffe, tewandikoze kyonna ekyetaagisa osobole okuwona? Nnabbi oyo ky’akugamba okukola kyangu nnyo. Lwaki tokikola?’ Naamani yabawuliriza era n’agenda ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu. Oluvannyuma lw’okwennyikamu omulundi ogw’omusanvu, Naamani yava mu mazzi ng’awonye. Ekyo kyamusanyusa nnyo era n’agenda ewa Erisa okumwebaza. Naamani yagamba nti: ‘Kati nkitegedde nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.’ Olowooza omuwala omuto Omuyisirayiri yawulira atya Naamani bwe yakomawo awaka ng’awonye?
“Oleetedde akamwa k’abaana abato n’abawere okukutendereza.” —Matayo 21:16