Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 1

Amadiini Gonna Gayigiriza Bituufu?

Amadiini Gonna Gayigiriza Bituufu?

1. Agamu ku madiini agali mu Afirika ge galuwa?

KUMPI buli muntu mu Afirika akkiriza nti kikulu okusinza Katonda. Naye bonna tebakkiriziganya ku ngeri Katonda gy’alina okusinzibwamu. Abamu basinziza mu mizikiti, abalala bagenda mu masabo, ate abalala mu makanisa. Naye kyandibadde kikyamu okulowooza nti waliwo eddiini ssatu zokka mu Afirika. Mu Basiraamu, mulimu obutakkiriziganya ku bikwata ku mateeka n’enzikiriza. Eddiini ez’obuwangwa zaawukana nnyo mu buli kifo. Era ne mu madiini ageeyita ag’Ekikristaayo, mulimu enjawukana za maanyi nnyo. Ng’oggyeko ago agayitibwa amakulu, mu Afirika mulimu enkumi n’enkumi z’amadiini amalala.

Eddiini Yaffe Eteekwa Okwesigama ku Mazima

2. (a) Kiki ekitera okuviirako omuntu okubeera mu ddiini gy’abeeramu? (b) Kiki ekitayinza kusinziirwako okugamba nti eddiini yaffe esiimibwa Katonda?

2 Lwaki abantu bali mu ddiini ezo ze balimu? Abantu abasinga obungi bagoberera ddiini za bakadde baabwe. Era n’ebyaliwo edda nabyo birina kinene kye bikola ku ddiini ki omuntu gy’abaamu leero. Ekitabo ekiyitibwa The Africans​A Triple Heritage kigamba: ‘Obusiraamu bwabuna mu mambuka g’eddungu Sahara olw’okubanga ensi z’Abasiraamu zaawamba ebitundu ebyo. Ate Obukristaayo nabwo bwabuna mu maserengeta g’eddungu Sahara okuyitira mu nkola y’emu. Enjawulo yokka yali nti abaabunyisa Obusiraamu mu mambuka g’eddungu Sahara baakozesa kitala, ate nga bo abaabunyisa Obukristaayo mu maserengeta g’eddungu Sahara, baakozesa mmundu.’ Wadde nga kiri kityo, abasinga obungi ku ffe tukkiriza nti eddiini yaffe esiimibwa Katonda. Naye, eddiini teba ntuufu olw’okuba bakadde baffe gye balimu, oba olw’okuba waaliwo abaagikakaatika ku bajjajjaffe.

3-5. Kyakulabirako ki ekituyamba okulaba nti amadiini gonna tegayigiriza mazima?

3 Wadde ng’amadiini gonna gagamba nti gawa obulagirizi obwesigika ku ngeri y’okuweerezaamu Katonda, endowooza zaago zaawukana. Gayigiriza ebintu bingi ebyawukana ebikwata ku Katonda ky’ali era ne by’ayagala tukole. Lowooza ku kino: Ka tugambe nti ofunye omulimu mu kampuni gaggadde. Kyokka, olunaku lw’osookera ddala okugenda ku mulimu, okizuula nti mukama wo yagenda kuwummulamu. Kati awo n’obuuza abakozi basatu emirimu gy’osaanidde okukola. Omukozi asooka akugamba nti mukama wo ayagala oyere mu kizimbe. Ow’okubiri n’akugamba nti olina kusiiga kizimbe langi. Ate ye ow’okusatu n’akugamba kutambuza mabaluwa.

4 Awo ate oluvannyuma obuuza abakozi abo ebikwata ku mukama wo. Asooka akugamba nti mukama wo muwanvu, akyali muvubuka, era nti mukambwe nnyo. Ow’okubiri akugamba nti mumpi, mukadde, era wa kisa. Ate ye ow’okusatu n’akugamba nti mukama wo si musajja wabula mukazi. Awo oba okitegeera nti abakozi abo abasatu bye boogera si bya mazima. Naye bw’oba ng’oyagala omulimu ogwo, ojja kubaako ky’okolawo okumanya ebikwata ku mukama wo era ne ky’ayagala okole.

5 Bwe kityo bwe kiri ne ku ddiini. Olw’okuba waliwo endowooza nnyingi nnyo ezikwata ku Katonda ky’ali era ne by’atwetaagisa, tusaanidde okukakasa nti engeri gye tusinzaamu etuukagana bulungi nnyo ne by’ayagala. Naye tuyinza tutya okuyiga amazima agakwata ku Katonda?