EKITUNDU 5
Amazima Agakwata ku Busamize n’Obulogo
1. Obusamize n’obulogo bukkiririzibwamu kwenkana wa?
“MU Afirika tekiba kya makulu okubuuza obanga obulogo weebuli oba nedda,” bwe kityo ekitabo African Traditional Religion bwe kigamba. Ate era kigattako nti “obulogo kintu kikulu nnyo eri Abaafirika ab’ebiti byonna.” Mu abo abakkiririza mu busamize n’obulogo, mulimu abatali bayivu n’abayivu ennyo. Abakulembeze b’eddiini y’Ekisiraamu n’ab’amadiini ageeyita ag’Ekikristaayo, nabo babukkiririzaamu.
2. Okusinziira ku ekyo abantu bangi kye bakkiriza, ludda wa amaanyi agatali ga bulijjo gye gava?
2 Abantu bangi mu Afirika bakkiriza nti waliwo amaanyi ag’eby’omwoyo agatategeerekeka, nga Katonda y’agalinako obuyinza. Mbu emyoyo n’abantu abaaliwo edda basobola okugakozesa. Era nga n’abantu abamu basobola okugafuna ne bagakozesa mu ngeri ennungi oba embi.
3. Obulogo kye ki, era abantu bakkiriza nti busobola kukola ki?
3 Obulogo bukolebwa kulumya balabe. Kigambibwa nti abo ababukozesa basobola okusindika obuwundo, ebinyonyi, ensowera n’ebisolo ebirala okulumba abantu. Bangi balina endowooza nti obulogo bwe buleetawo okulwanagana, obugumba, obulwadde, n’okufa.
4. Kiki abantu bangi kye balowooza ku balogo, era abamu abaaliko abalogo boogera ki?
4 Kigambibwa nti abalogo basobola okweyambulako emibiri gyabwe ekiro ne babuuka mu bbanga, oboolyawo okugenda okusisinkana abalogo abalala oba okutulugunya abantu. Okuva emibiri gy’abalogo bwe gisigala ku buliri bwabwe, obujulizi obukakasa ebigambo ebyo busibuka mu abo abaaliko abalogo. Ng’ekyokulabirako, magazini emu ey’omu Afirika yalimu ebigambo bino ebyayogerwa abo abaaliko abalogo era nga bano (okusingira ddala baali bawala batiini): “Nnatta abantu 150 nga nsuula ebidduka mu bubenje.” “Nnatta abaana bataano bwe nnabanuunamu omusaayi gwabwe gwonna.” “Nnatta mikwano gyange abalenzi basatu kubanga baanjabulira.”
5. Waliwo kika ki ekirala eky’obulogo, era abo ababwenyigiramu bakola ki?
5 Waliwo ekika ekirala eky’obulogo ekitwalibwa okuba nga kyo kiwa bukuumi. Abo
abeenyigira mu bulogo obw’ekika kino bambala eyirizi oba ensiriba. Banywa eddagala ery’okubakuuma oba balyesaaba. Bakweka mu maka gaabwe oba basimira mu ttaka ebintu bye balowooza nti birina amaanyi ag’okubakuuma. Bateeka obwesige mu nsiriba eziriko ebigambo ebiggiddwa mu Kolaani oba mu Baibuli.Okulimba n’Okubuzaabuza
6. Kiki Setaani ne balubaale be kye baakola mu biseera eby’emabega, era twanditutte tutya amaanyi gaabwe?
6 Kituufu nti Setaani ne balubaale be ba kabi nnyo eri abantu. Basobola okufuga ebirowoozo n’obulamu bw’abantu. Era mu biseera eby’emabega baasobola okuyingira mu bisolo ne mu bantu ne babasuula eddalu. (Matayo 12:43-45) Wadde nga tetusaanidde kunyooma maanyi gaabwe, era tetusaanidde kugakuliriza ekisukkiridde.
7. Kiki Setaani ky’ayagala tulowooze, era kyakulabirako ki ekiyinza okuweebwa ku kino?
7 Setaani nnakinku mu kulimba. Alimbalimba abantu balowooze nti alina amaanyi mangi nnyo n’okusinga ku ago gennyini g’alina. Okuwaayo ekyokulabirako: Gye buvuddeko awo mu lutalo olwali mu nsi emu ey’omu Afirika, abaserikale baakozesanga emizindaalo egy’amaanyi okutiisatiisa abalabe baabwe. Nga tebannaba kulumba balabe baabwe, abaserikale abo baayisanga ku mizindaalo egyo amaloboozi agakwatiddwa ku ntambi ag’agabundu aganene ennyo. Baayagala abalabe baabwe balowooze nti balumbiddwa eggye eririna eby’okulwanyisa bingi eby’amaanyi ennyo. Mu ngeri y’emu, Setaani naye ayagala abantu balowooze nti alina amaanyi mangi nnyo. Ekigendererwa kye kwe kutiisatiisa abantu basobole okukola by’ayagala so si ebyo Yakuwa by’ayagala. Kati ka twekenneenye obulimba bwa mirundi esatu Setaani bw’ayagala abantu bakkirize.
8. Bulimba ki obumu Setaani bw’akulaakulanya?
8 Obulimba obumu Setaani bw’akulaakulanya bwe buno: Tewali kintu kibi ekibaawo ku bwakyo; buli kintu ekibi ekiba kitakoleddwa muntu butereevu, kiba kikoleddwa amaanyi agatategeerekeka. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti omusujja gw’ensiri gutta omwana. Maama w’omwana oyo ayinza okuba akimanyi nti omusujja ogwo gutambuzibwa nsiri. Naye era ayinza okulowooza nti waliwo omuntu akozesezza eddogo okusindika ensiri erume omwana we.
9. Baibuli ekiraga etya nti Setaani si y’aleeta buli kizibu kyonna?
9 Wadde nga Setaani alina amaanyi okuleeta ebizibu ebimu, kiba kikyamu okulowooza nti alina amaanyi okuleeta buli kizibu kyonna. Baibuli egamba: “Ab’embiro si be basinga empaka ez’embiro, so n’ab’amaanyi si be basinga okulwana, so n’abagezigezi si be bafuna emmere, so n’abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n’abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n’ebigambo [“embeera eziba tezisuubirwa,” NW].” (Omubuulizi 9:11) Omuddusi omu mu mpaka ez’embiro ayinza okuba ng’adduka nnyo okusinga banne, naye ayinza obutawangula. Wayinza okubaawo ekimulemesa ‘ekibadde kitasuubirwa.’ Oboolyawo ayinza okuseerera n’agwa, oba ayinza okulwala, oba ayinza okufuna nnakanyama. Ebintu ebyo biyinza okutuuka ku muntu yenna. Tekiri nti birina kuba nga bireetebwa Setaani oba nti liba ddogo; bibaawo byokka.
10. Abalogo baboogerako ki, naye tumanya tutya nti obwo bulimba?
10 Obulimba obw’okubiri Setaani bw’akulaa
kulanya bwe buno nti: Abalogo beeyambula emibiri gyabwe ne batambula ekiro ne bagenda okusisinkana abalogo abalala oba okunuuna omusaayi mu bantu ne babatta. Kati nno weebuuze: ‘Bwe kiba nti abalogo basobola okukola ekyo, kati olwo kiki ekiva mu mibiri gyabwe?’ Nga bwe tulabye, emmeeme ye muntu yennyini, so si ekintu ekisobola okumuvaamu. Ate gwo omwoyo ge maanyi agabeesaawo omubiri, naye nga tegusobola kukola kintu kyonna ku bwagwo nga teguli mu mubiri.11. Tumanyira ku ki nti abalogo tebasobola kweyambula mibiri gyabwe, era ggwe ekyo okikkiriza?
11 Emmeeme oba omwoyo tebiyinza kuva mu mubiri ne bikola ekintu kyonna, ka kibe kirungi oba kibi. N’olw’ensonga eyo, abalogo tebasobola kweyambula mibiri gyabwe. Mazima ddala, tebakola bintu ebyo, bo bye balowooza oba bye bagamba nti be babikola.
12. Setaani aleetera atya abantu okulowooza nti bakoze ebintu bye batannaba kukola?
12 Tuyinza tutya okunnyonnyola ebyo abaaliko abalogo bye bagamba nti baabikola? Setaani ayinza okuleetera abantu okulowooza nti bakoze ebintu bye batannaba kukola. Okuyitira mu kwolesebwa, Setaani ayinza okuleetera abantu okulowooza nti balina bye balabye, bye bawulidde, oba bye bakoze ate nga si bwe kibadde. Mu ngeri eyo, Setaani aba agenderera okuwugula abantu okubaggya ku Yakuwa era n’okubalowoozesa nti Baibuli nkyamu.
13. (a) Ekika ky’obulogo obuwa obukuumi kirungi? (b) Ebyawandiikibwa byogera ki ku bulogo?
13 Obulimba obw’okusatu bwe buno: Waliwo ekika ky’obulogo ekirungi, ekiwa obuwi obukuumi nga tebugenderera kulumya muntu mulala yenna. Baibuli teyawulawo bulogo obulungi n’obubi. Evumirira obulogo obw’engeri zonna. Lowooza ku mateeka Yakuwa ge yawa eggwanga lya Isiraeri agakwata ku bulogo n’abo abaabwenyigirangamu:
-
‘Temukozesanga ddogo.’—Eby’Abaleevi 19:26.
-
“Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja.”—Eby’Abaleevi 20:27.
-
“Tewalabikanga gy’oli muntu akola . . . eby’obufumu, newakubadde alaguza ebire, Ekyamateeka 18:10-14.
newakubadde omulogo, newakubadde omuganga, newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.”—
14. Lwaki Yakuwa yassaawo amateeka agagaana obulogo?
14 Amateeka gano gaalaga bulungi nti Katonda yali tayagala bantu be benyigire mu bulogo. Yakuwa yawa abantu be amateeka ago kubanga yali abaagala era yali tayagala bafuuke baddu ba ndowooza nkyamu. Yali tayagala babonyaabonyezebwe balubaale.
15. Baibuli ekiraga etya nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo okusinga Setaani?
15 Wadde nga Baibuli tetutegeeza mu bujjuvu byonna ebikwata ku balubaale kye basobola okukola ne kye batasobola kukola, etulaga nti Katonda Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo okusinga Setaani ne balubaale be. Yakuwa yagoba Setaani okuva mu ggulu. (Okubikkulirwa 12:9) Era weetegereze nti Setaani yasaba Katonda amukkirize okugezesa Yobu era n’akolera ku kiragiro ekyamuweebwa eky’obutatta Yobu.—Yobu 2:4-6.
16. Ani gwe twandibadde twesiga okutukuuma?
16 Engero 18:10 (NW) lugamba: “Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi. Omutuukirivu addukira omwo n’afuna obukuumi.” N’olwekyo, tusaanidde okwesiga Yakuwa okutuwa obukuumi. Abantu ba Katonda tebeesiga nsiriba oba amalagala okubakuuma okuva ku bikolwa ebibi ebya Setaani ne balubaale be, era tebatya nti bajja kulogebwa. Abaweereza ba Katonda bakkiriza Baibuli ky’egamba: “Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”—2 Ebyomumirembe 16:9.
17. Yakobo 4:7 lutukakasa ki, naye kiki kye tusaanidde okukola?
17 Naawe oyinza okubeera n’obwesige bwe bumu singa oweereza Yakuwa. Yakobo 4:7 (NW) wagamba: “Kale mugonderenga Katonda; naye muziyizenga Omulyolyomi, era ajja kubaddukanga.” Bw’oba ng’oweereza Yakuwa, Katonda ow’amazima, ng’omugondera, oyinza okubeera omukakafu nti ajja ku kukuuma.