Obukadde; Abakaddiye
Kiki ekibaawo bwe tugenda tukula?
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Mub 12:1-8—Kabaka Sulemaani alaga ebimu ku bizibu omuntu by’afuna bw’agenda akaddiwa, gamba ng’obutalaba bulungi (“abakyala abalingiza mu madirisa nga tebakyalaba bulungi”) n’okuba nga takyawulira bulungi (“abawala bayimba mu ddoboozi ery’ekimpoowooze”)
-
Laba ne “Okubudaabuda—Okulemererwa okukola ebintu ebimu olw’obulwadde oba olw’okukaddiwa”
-
Abakaddiye basobola okusigala nga basanyufu wadde nga boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 12:2, 23—Nnabbi Samwiri akaddiye akimanyi nti kikulu nnyo okweyongera okusabira abantu ba Yakuwa
-
2Sa 19:31-39—Kabaka Dawudi asiima nnyo obuyambi bwa Baluzirayi akaddiye, era Baluzirayi ayoleka obwetoowaze bw’agamba kabaka nti tasobola kuweereza mu lubiri e Yerusaalemi
-
Zb 71:9, 18—Kabaka Dawudi bw’alowooza nti ayinza obutaba wa mugaso ng’akaddiye, yeegayirira Yakuwa obutamwabulira, wabula amuwe amaanyi asobole okubuulira omulembe oguliddawo ebikwata ku Yakuwa
-
Luk 2:36-38—Nnabbi omukazi Ana akaddiye era nnamwandu, aweebwa emikisa olw’okwemalira ku Yakuwa n’olw’okumuweereza n’obwesigwa
-
Yakuwa alaga atya abakaddiye nti abatwala nga ba muwendo?
Zb 92:12-14; Nge 16:31; 20:29; Is 46:4; Tit 2:2-5
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 12:1-4—Ibulayimu bw’aba alina emyaka 75, Yakuwa amuwa obuvunaanyizibwa obukyusiza ddala obulamu bwe
-
Dan 10:11, 19; 12:13—Danyeri bw’aba alina emyaka nga 90, malayika amulabikira n’amukakasa nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa era nti ajja kuweebwa empeera olw’obwesigwa bwe
-
Luk 1:5-13—Yakuwa asobozesa Zekkaliya ne Erizabeesi abakaddiye okuzaala omwana mu ngeri ey’eky’amagero
-
Luk 2:25-35—Yakuwa awa Simiyoni akaddiye enkizo okulaba omwana omuwere ajja okufuuka Masiya; Simiyoni ayogera obunnabbi obukwata ku mwana oyo
-
Bik 7:23, 30-36—Yakuwa awa nnabbi Musa ow’emyaka 80 obuvunaanyizibwa obw’okukulembera abantu be Abayisirayiri
-
Abo abakaddiye basaanidde kuyisibwa batya?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 45:9-11; 47:12—Yusufu atumya kitaawe Yakobo akaddiye era amulabirira okutuusa lw’afa
-
Lus 1:14-17; 2:2, 17, 18, 23—Ebyo Luusi by’ayogera ne by’akolera Nawomi akaddiye biraga nti amufaako
-
Yok 19:26, 27—Yesu bw’aba ali ku muti ogw’okubonaabona ng’anaatera okufa, agamba omutume Yokaana okulabirira maama we
-
Abakristaayo mu kibiina bayinza batya okuyamba abo abakaddiye?