Omutima
Bayibuli eraga etya nti omutima ogw’akabonero ky’ekyo kye tuli munda, nga mw’otwalidde ebirowoozo byaffe, ebiruubirirwa byaffe, engeri zaffe, n’enneewulira yaffe?
Zb 49:3; Nge 16:9; Luk 5:22; Bik 2:26
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Luk 9:46-48—Yesu awabula abatume be bw’akiraba nti mu mitima gyabwe beeyagaliza ebitiibwa
-
Lwaki kikulu okukuuma omutima gwaffe?
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 6:5-7—Ebintu ebibi ebiri mu mitima gy’abantu biviirako ensi okujjula ebikolwa eby’obukambwe era ekyo kiviirako Katonda okuleeta Amataba
-
1Sk 11:1-10—Kabaka Sulemaani alemererwa okukuuma omutima gwe n’awasa abakazi abagwira abasendasenda omutima gwe n’ava ku Yakuwa
-
Mak 7:18-23—Yesu agamba nti omutima y’ensibuko y’ebyo byonna ebisobola okufuula omuntu atali mulongoofu mu maaso ga Katonda
-
Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe?
Zb 19:14; Nge 3:3-6; Luk 21:34; Baf 4:8
Laba ne Ezr 7:8-10; Zb 119:11
-
Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Bef 6:14-18; 1Se 5:8—Bw’aba ayogera ku by’okulwanyisa eby’omwoyo, omutume Pawulo agamba nti obutuukirivu, okukkiriza, n’okwagala bisobola okukuuma omutima ogw’akabonero ng’eky’omukifuba bwe kikuuma omutima ogwa ddala
-
Tuyinza tutya okumanya obanga omutima gwaffe ogw’akabonero gulina ekizibu?
Laba ne Nge 6:12-14
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2By 25:1, 2, 17-27—Okumala ekiseera, Kabaka Amaziya akola ebirungi mu maaso ga Katonda naye tabikola na mutima gwe gwonna; oluvannyuma afuna amalala era ajeemera Yakuwa n’afuna ebizibu bingi
-
Mat 7:17-20—Yesu agamba nti ng’omuti omubi bwe gussaako ebibala ebibi, n’omutima gw’omuntu omubi gumuviirako okukola ebintu ebibi
-
Lwaki tusaanidde okufuba okulaba nti omutima gwaffe guba mulungi, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
Laba ne Zb 119:97, 104; Bar 12:9-16; 1Ti 1:5
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sk 20:1-6—Bw’alwala obulwadde obw’amaanyi, Kabaka Keezeekiya yeegayirira Yakuwa amusaasire olw’okuba amuweerezza n’omutima gwe gwonna
-
Mat 21:28-32—Yesu akozesa ekyokulabirako okulaga nti embeera y’omutima gw’omuntu yeeyolekera mu ebyo by’akola okusinga mu ebyo by’ayogera
-
Lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa akebera emitima gyaffe?
Laba ne 1Sa 2:3
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Sa 16:1-13—Nnabbi Samwiri akitegeera nti Yakuwa tatwalirizibwa ndabika ya kungulu; atunuulira ekyo omuntu ky’ali mu mutima
-
2By 6:28-31—Essaala Kabaka Sulemaani gy’asaba ng’awaayo yeekaalu eraga nti Yakuwa amanyi bulungi ebiri mu mutima gwaffe era ebyo by’asinziirako okutulaga obusaasizi
-