Emyoyo Tegibaddewo era ne Gifa ku Nsi
Emyoyo gye giri! Mu ttwale ery’emyoyo eritalabika, waliyo emyoyo emirungi n’emibi. Be bantu abaali babaddewo ku nsi ne bafa?
Nedda, si bo. Omuntu bw’afa, tagenda mu nsi ey’emyoyo, nga bangi bwe balowooza. Kino tukimanyi tutya? Kubanga Baibuli bw’etyo bw’egamba. Baibuli kitabo kya mazima ekyava eri Katonda omu yekka ow’amazima, erinnya lye Yakuwa. Yakuwa yatonda abantu; amanyi bulungi kiki ekibatuukako bwe bafa.—Zabbuli 83:18; 2 Timoseewo 3:16.
Baibuli egamba nti Katonda yabumba omuntu omubereberye, Adamu, “n’enfuufu y’ensi.” (Olubereberye 2:7) Katonda yamuteeka mu Lusuku lwe, olusuku Adeni. Singa Adamu yagondera etteeka lya Yakuwa, teyandifudde; yandibadde akyali mulamu ku nsi leero. Naye Adamu bwe yamenya mu bugenderevu etteeka lya Katonda, Katonda yamugamba nti: “Olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.”—Olubereberye 3:19.
Kino kitegeeza ki? Abaffe, Adamu yali ludda wa nga Yakuwa tannamutonda okuva mu nfuufu? Teyaliko waali. Teyali mwoyo ogutannazaalibwa oguli mu ggulu. Teyaliwo. Bwe kityo Yakuwa bwe yagamba Adamu nti ‘yandizzeeyo mu ttaka,’ yali ategeeza nti Adamu yandifudde. Teyasala okugenda mu ttwale ery’emyoyo. Mu kufa, Adamu nate n’afuuka atalina
bulamu, ataliiwo. Okufa kutegeeza obutaba na bulamu.Naye ate abalala abaafa? Nabo tebaliiwo? Baibuli eddamu nti:
-
“Bonna [abantu n’ensolo] bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.”—Omubuulizi 3:20.
-
“Abafu tebaliiko kye bamanyi.”—Omubuulizi 9:5.
-
“Okwagala kwabwe n’okukyawa kwabwe era n’obuggya bwabwe bimaze okuzikirira.”—Omubuulizi 9:6.
-
“Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”—Omubuulizi 9:10.
-
“[Omuntu] adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”—Zabbuli 146:4.
Ebyawandiikibwa bino obisanga nga bizibu okukkiriza? Oba bwe kiri, lowooza ku kino: Mu maka mangi, omusajja Zabbuli 115:17.
akola ssente okulabirira ab’omu maka ge. Omusajja bw’afa, ab’omu maka ge batera okubonaabona. Oluusi mukyala we n’abaana tebabeera wadde na nsimbi zimala okugula emmere. Oboolyawo abalabe b’omusajja babayisa bubi. Kaakano weebuuze: ‘Singa omusajja oyo mulamu mu nsi ey’emyoyo, lwaki teyeeyongera kulabirira ba mu maka ge? Lwaki takuuma ba mu maka ge okuva ku bantu ababi?’ Lwa kubanga ebyawandiikibwa bituufu. Omusajja oyo talina bulamu, tasobola kukola kintu kyonna.—Kino kitegeeza nti abafu tebaliddamu kuba balamu nate? Nedda, si bwe kitegeeza. Okuzuukira tujja kukwogerako oluvannyuma. Naye kitegeeza nti abafu tebamanyi ky’okola. Tebasobola kukulaba, kukuwulira, oba okwogera naawe. Tolina kubatya. Tebasobola kukuyamba, era tebasobola kukulumya.—Omubuulizi 9:4; Isaaya 26:14.