EKITUNDU 1
Ekitangaala eky’Amazima Ekyakira Ensi
Ku lubereberye Kigambo yali ne Katonda era yali katonda (gnj 1 00:00–00:43)
Katonda yakozesa Kigambo okutonda ebintu ebirala byonna (gnj 1 00:44–01:00)
Obulamu n’ekitangaala byatondebwa okuyitira mu Kigambo (gnj 1 01:01–02:11)
Ekizikiza tekisinzizza kitangaala maanyi (gnj 1 02:12–03:59)
Lukka alaga engeri gye yawandiikamu Enjiri ye n’ensonga lwaki yagiwandiika, awandiikira Tewofiro (gnj 1 04:13–06:02)
Gabulyeri ayogera ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza (gnj 1 06:04–13:53)
Gabulyeri ayogera ku kuzaalibwa kwa Yesu (gnj 1 13:52–18:26)
Maliyamu akyalira Erizabeesi gwe yalinako oluganda (gnj 1 18:27–21:15)
Maliyamu agulumiza Yakuwa (gnj 1 21:14–24:00)
Yokaana azaalibwa era atuumibwa erinnya (gnj 1 24:01–27:17)
Obunnabbi bwa Zekkaliya (gnj 1 27:15–30:56)
Maliyamu afuna olubuto ku bw’omwoyo omutukuvu; engeri Yusufu gy’akitwalamu (gnj 1 30:58–35:29)
Yusufu ne Maliyamu bagenda e Besirekemu; Yesu azaalibwa (gnj 1 35:30–39:53)
Bamalayika balabikira abasumba ku ttale (gnj 1 39:54–41:40)
Abasumba bagenda okulaba omwana azazikiddwa mu lutibwa ebisolo mwe biriira (gnj 1 41:41–43:53)
Yesu ayanjulwa eri Yakuwa mu yeekaalu (gnj 1 43:56–45:02)
Simiyoni afuna enkizo ey’okulaba Kristo (gnj 1 45:04–48:50)
Ana ayogera ku mwana (gnj 1 48:52–50:21)
Abalaguzisa emmunyeenye bakyalira Kerode era Kerode akola olukwe okutta Yesu (gnj 1 50:25–55:52)
Yusufu addusa Maliyamu ne Yesu e Misiri (gnj 1 55:53–57:34)
Kerode atta abaana ab’obulenzi abato mu Besirekemu ne mu bitundu ebiriraanyeewo (gnj 1 57:35–59:32)
Yesu atwalibwa okubeera mu Nazaaleesi (gnj 1 59:34–1:03:55)
Yesu mu yeekaalu nga wa myaka kkumi n’ebiri (gnj 1 1:04:00–1:09:40)
Yesu addayo mu Nazaaleesi ne bazadde be (gnj 1 1:09:41–1:10:27)
Ekitangaala eky’amazima kyali kinaatera okujja mu nsi (gnj 1 1:10:28–1:10:55)