Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 3

“Omutima Gwe gwa Magezi”

“Omutima Gwe gwa Magezi”

Amagezi aga nnamaddala kye kimu ku bintu eby’omuwendo by’oyinza okuluubirira okufuna. Yakuwa ye nsibuko y’amagezi ago. Mu kitundu kino tujja kwekenneenya amagezi ga Yakuwa Katonda agataliiko kkomo. Yobu yamwogerako bwati: “Omutima gwe magezi”​—Yobu 9:4.

MU KITUNDU KINO

ESSUULA 17

‘Amagezi ga Katonda nga Tegakoma!’

Kakwate ki akaliwo wakati w’amageze ga Katonda, okumanya kwe, n’okutegeera kwe?

ESSUULA 18

Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’

Lwaki Katonda yakozesa abantu okuwandiika Baibuli naatakozesa bamalayika oba ye kennyini okugiwandiika?

ESSUULA 19

Amagezi ga Katonda Agali mu Kyama Kye Ekitukuvu’

Kyama ki ekitukuvu Katonda kye yali akwese naye nga kati yakibikkula?

ESSUULA 20

“Omutima Gwe gwa Magezi”​—Kyokka Mwetoowaze

Mukama omufuzi w’ebitonde byonna ayinza atya okuba omukkakkamu?

ESSUULA 21

Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”

Mu ngeri ki okuyigiriza kwa Yesu gye kwaleetera abaserikale abaali basindikiddwa okumukwata okuddayo engalo ensa?

ESSUULA 22

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

Bayibuli ewa ebintu bina eby’okukuyamba okukulakulanya amagezi agava eri Katonda.