Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 2

Ddala Oyinza ‘Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda’?

Ddala Oyinza ‘Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda’?

1, 2. (a) Kiki bangi kye bayinza okulowooza nti tekisoboka, naye Baibuli etukakasa ki? (b) Ibulayimu yalina nkolagana ki ne Katonda, era lwaki?

WANDIWULIDDE otya singa Omutonzi w’eggulu n’ensi akwogerako nti, “Ono mukwano gwange”? Bangi bayinza okulowooza nti ekyo tekisoboka. Omuntu obuntu ayinza atya okuba mukwano gwa Yakuwa Katonda? Kyokka, Baibuli etukakasiza ddala nti tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

2 Ibulayimu eyaliwo mu biseera ebyayita yalina enkolagana ng’eyo. Omusajja oyo ow’edda ennyo Yakuwa yamwogerako nga ‘mukwano gwe.’ (Isaaya 41:8) Yee, Yakuwa yatwala Ibulayimu okuba mukwano gwe. Ibulayimu yalina enkolagana ennungi ne Katonda olw’okuba ‘yakkiririza mu Katonda.’ (Yakobo 2:23) Leero, Yakuwa ‘asanyukira’ abo abamuweereza olw’okuba bamwagala. (Ekyamateeka 10:15) Ekigambo kye kitukubiriza: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda naye anaabeera mukwano gwo.” (Yakobo 4:8, NW) Mu bigambo ebyo tukubirizibwa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era n’atusuubiza nti ajja kubeera mukwano gwaffe.

3. Yakuwa ayagala tukole ki, era kisuubizo ki ekikwataganyizibwa nakyo?

3 Yakuwa ayagala tufune enkolagana ennungi naye. Ayagala tubeere mikwano gye. Mu kiseera kye kimu, atusuubiza nti singa tubaako kye tukola okubeera mikwano gye naye ajja kubeera mukwano gwaffe. Ajja kuba n’enkolagana ennungi naffe. Bwe kityo, tuyinza okufuna ekintu eky’omuwendo ddala​—“omukwano ne Yakuwa.” * (Zabbuli 25:14, NW) Wano ekigambo “omukwano” kirina amakulu g’okunyumya eby’ekyama ne mukwano gwo nfiirabulago.

4. Wandinnyonnyodde otya ow’omukwano ow’oku lusegere, era Yakuwa yeeraze atya okuba ow’omukwano ng’oyo eri abo abalina enkolagana ennungi naye?

4 Olina mukwano gwo ow’oku lusegere gw’obuulira ebyama byo? Ow’omukwano ow’engeri eyo aba akufaako. Omuteekamu obwesige kubanga mwesigwa. Weeyongera okusanyuka bw’omutegeeza ebikusanyusa. Osobola okugumiikiriza ennaku gy’olina kubanga awuliriza by’omutegeeza. Wadde nga kiyinza okulabika nti abalala bonna tebakutegeera, ye, aba akutegeera. Mu ngeri y’emu, bw’obeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, oba ofunye Mukwano gwo nfiirabulago akutwala ng’omuntu ow’omuwendo, akufaako ennyo, era akutegeerera ddala. (Zabbuli 103:14; 1 Peetero 5:7) Omutegeeza enneewulira yo ey’omunda, kubanga okimanyi nti mwesigwa eri abo abamwesiga. (Zabbuli 18:25, NW) Kyokka, osobola okuba n’omukwano ng’ogwo ne Katonda kubanga ye kennyini akisobozesezza.

Yakuwa Agguddewo Ekkubo

5. Yakuwa yakola ki okutusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi naye?

5 Ku bwaffe, ng’abantu aboonoonyi, tetwandisobodde kufuna nkolagana nnungi ne Katonda. (Zabbuli 5:4) Omutume Pawulo yagamba: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” (Abaruumi 5:8) Yee, Yakuwa yakola enteekateeka Yesu ‘aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Okukkiriza kwe tulina mu kinunulo ekyo kutusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Okuva Katonda ‘bwe yasooka okutwagala,’ yatuteerawo omusingi ogutusobozesa okubeera mikwano gye.​—1 Yokaana 4:19.

6, 7. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa si Katonda eyeekwese, atayinza kumanyibwa? (b) Yakuwa atutegeezezza atya ebimukwatako?

6 Yakuwa alina ekirala ky’akoze: Atutegeezezza ebimukwatako. Omukwano gwonna okusobola okubeera ogw’oku lusegere, kyesigama ku kumanyira ddala omuntu, kwe kugamba, okusiima engeri ze n’amakubo ge. N’olwekyo, singa Yakuwa yali Katonda eyeekwese, atayinza kumanyibwa, tetwandisobodde kubeera na nkolagana nnungi naye. Mu kifo ky’okwekweka, ayagala tumumanye. (Isaaya 45:19) Ate era, ebimukwatako biyinza okumanyibwa buli omu, wadde ffe ensi beetwala okuba aba wansi.​—Matayo 11:25.

Yakuwa alaze ky’ali okuyitira mu bye yatonda wamu n’Ekigambo kye

7 Yakuwa atutegeezezza atya ebimukwatako? Emirimu gye egy’obutonzi gyoleka ezimu ku ngeri ze, gamba, amaanyi ge amangi, amagezi ge amangi, n’okwagala kwe okungi. (Abaruumi 1:20) Kyokka, Yakuwa tatutegeeza bimukwatako kuyitira mu bye yatonda mwokka. Buli kiseera Yakuwa atuyigiriza ebimukwatako mu ngeri ey’ekitalo, era kino akikoze ng’ayitira mu Kigambo kye, Baibuli.

Okulaba ‘Obulungi bwa Yakuwa’

8. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Baibuli yennyini bujulizi obulaga nti Yakuwa atwagala?

8 Baibuli yennyini bujulizi obulaga nti Yakuwa atwagala. Mu Kigambo kye ekyo, atutegeeza ebimukwatako mu ngeri gye tuyinza okutegeera​—obukakafu obulaga nti atwagala nnyo era ayagala tumumanye era tumwagale. Bye tusoma mu kitabo kino eky’omuwendo bitusobozesa okulaba ‘obulungi bwa Yakuwa’ era bituleetera okwagala okubeera n’enkolagana ennungi naye. (Zabbuli 90:17) Ka tulabe engeri Yakuwa gy’atutegeezaamu ebimukwatako okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli.

9. Byawandiikibwa ki mu Baibuli ebyogera ku zimu ku ngeri za Katonda?

9 Ebyawandiikibwa bingi byogera butereevu ku ngeri za Katonda. Weetegereze ezimu ku zo. “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28, NW) “Yakuwa alina amaanyi mangi.” (Yobu 37:23, NW) ‘Ndi mwesigwa, bw’atyo Yakuwa bw’ayogera.’ (Yeremiya 3:12, NW) ‘Wa magezi mu mutima.’ (Yobu 9:4) Ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 34:6) “Ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa.” (Zabbuli 86:5) Nga bwe kyayogerwako mu ssuula esooka, alina engeri esinga zonna obukulu: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Bw’ofumiitiriza ku ngeri zino ennungi, tosikirizibwa eri Katonda ono atalina amwenkana?

Baibuli etuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa

10, 11. (a) Kiki Yakuwa kye yateeka mu Kigambo kye okutuyamba okutegeera obulungi engeri ze? (b) Kyakulabirako ki eky’omu Baibuli ekituyamba okulaba engeri Katonda gye yakozesaamu amaanyi ge?

10 Ng’oggyeko okututegeeza engeri ze, Yakuwa yateeka mu Kigambo kye ebyokulabirako ebiwerako ebiraga engeri gy’azoolesaamu. Ebyokulabirako ebyo bituyamba okutegeera obulungi engeri ze ez’enjawulo. Ate ekyo ne kitusikiriza gy’ali. Lowooza ku kyokulabirako kino.

11 Bw’osoma nti Katonda ‘alina amaanyi mangi,’ oyinza okukwatibwako mu ngeri emu. (Isaaya 40:26) Kyokka, ojja kukwatibwako nnyo n’okusingawo, bw’osoma ku ngeri gye yanunulamu eggwanga lya Isiraeri okuyita mu Nnyanja Emmyufu era n’alirabirira mu ddungu okumala emyaka 40. Oyinza okukuba ekifaananyi ng’amazzi geeyawulamu. Oyinza okukuba ekifaananyi ng’eggwanga eryo​—oboolyawo abantu nga 3,000,000​—nga bayita awakalu ku ntobo y’ennyanja, ng’amazzi geesimbye ng’ebisenge eruuyi n’eruuyi. (Okuva 14:21; 15:8) Oyinza okulaba engeri Katonda gye yakuumamu eggwanga eryo mu ddungu. Amazzi gaakulukuta okuva mu njazi. Emmere efaanana ensigo enjeru yalabika ku ttaka. (Okuva 16:31; Okubala 20:11) Wano Yakuwa talaga bulazi nti alina amaanyi naye era nti agakozesa ku lw’abantu be. Tekituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti essaala zaffe zituuka eri Katonda ow’amaanyi, ‘ekiddukiro kyaffe, n’amaanyi gaffe, era omubeezi waffe mu nnaku?’​—Zabbuli 46:1.

12. Yakuwa atuyamba atya okumutegeera?

12 Yakuwa, omuntu ow’omwoyo, akoze n’ekisingawo okutuyamba okumumanya. Ng’abantu, tulaba ebyo byokka ebirabika eri amaaso gaffe, era nga n’olwekyo tetuyinza kulaba bya mwoyo. Katonda okutunnyonnyola ky’ali mu ngeri y’omwoyo kyandibadde ng’okugezaako okunnyonnyola omuntu eyazaalibwa nga muzibe engeri gy’ofaananamu, gamba nga langi y’amaaso go, oba amabala agali ku lususu lwo. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa atuyamba okumutegeera. Emirundi egimu akozesa ebyokulabirako, ne yeegeraageranya ku bintu bye tumanyi. Era yeeyogerako ng’alina engeri z’obuntu. *

13. Isaaya 40:11 luwa kifaananyi ki, era kikukwatako kitya?

13 Weetegereze engeri Yakuwa gy’ayogerwako mu Isaaya 40:11: “Ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye.” Wano Yakuwa ageraageranyizibwa ku musumba asitula abaana b’endiga mu “mukono gwe.” Kino kyoleka obusobozi bwa Katonda okukuuma n’okuwagira abantu be, wadde abo abayinza okuba mu kabi okusinga abalala. Tuyinza okuwulira obukuumi mu mikono gye egy’amaanyi, kubanga bwe tubeera abeesigwa gy’ali, tagenda kutwabulira. (Abaruumi 8:38, 39) Omusumba Omukulu asitula abaana b’endiga “mu kifuba kye”​—ebigambo ebitegeeza engoye omusumba z’aba ayambadde, ng’emirundi egimu mwe yasituliranga omwana gw’endiga ogwakazaalibwa. Bwe kityo, tukakasibwa nti Yakuwa atwagala nnyo era atufaako nnyo. Twandibadde twagala okuba n’enkolagana ennungi naye.

‘Omwana Ayagala Okumututegeeza’

14. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa atutegeeza ebimukwatako okuyitira mu Yesu?

14 Mu Kigambo kye, Yakuwa atutegeeza ebimukwatako okuyitira mu Mwana we omwagalwa, Yesu. Tewali n’omu yandisobodde kwoleka ndowooza ya Katonda n’enneewulira ye oba okunnyonnyola ky’ali, okusinga Yesu. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Omwana oyo omubereberye yali ne Kitaawe ng’ebitonde ebirala eby’omwoyo wamu n’obwengula nga tebinnaba kutondebwa. (Abakkolosaayi 1:15) Yesu amanyi nnyo Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki yali asobola okugamba: “Tewali muntu amanyi Omwana bw’ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw’ali, wabula Omwana, n’oyo Omwana gw’ayagala [okumutegeeza].” (Lukka 10:22) Bwe yali ku nsi ng’omuntu, Yesu yategeeza ebikwata ku Kitaawe mu ngeri bbiri enkulu.

15, 16. Ngeri ki ebbiri Yesu mwe yayitira okututegeeza ebikwata ku Kitaawe?

15 Okusooka, ebyo Yesu bye yayigiriza bituyamba okumanya Kitaawe. Yesu yayogera ku Yakuwa mu ngeri ekwata ku mitima gyaffe. Ng’ekyokulabirako, okusobola okunnyonnyola Katonda ow’ekisa akkiriza aboonoonyi abeenenyezza, Yesu yageraageranya Yakuwa ku taata asonyiwa era akwatibwako ennyo bw’alaba omwana we eyayonoona eby’obusika bwe ng’akomawo, n’atuuka n’okudduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. (Lukka 15:11-24) Yesu era yalaga Yakuwa okuba Katonda ‘asembeza’ abantu ab’emitima emyesigwa olw’okuba abaagala. (Yokaana 6:44, NW) Amanya n’enkazalugya lw’egwa wansi. Yesu yagamba: “Temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29, 31) Mazima ddala, tusikirizibwa eri Katonda ng’oyo afaayo.

16 Ekyokubiri, ekyokulabirako kya Yesu kennyini kitulaga Yakuwa ky’ali. Yesu yayolekera ddala Kitaawe ky’ali n’atuuka n’okugamba nti: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) Bwe kityo, bwe tusoma ku Yesu mu Njiri​—enneewulira gye yayoleka era n’engeri gye yayisaamu abalala​—tuba ng’abalaba Kitaawe. Tewali ngeri esinga eyo bulungi Yakuwa mwe yandiyitidde okututegeereza ddala engeri ze. Lwaki?

17. Nnyonnyola Yakuwa ky’akoze okutuyamba okutegeera ky’ali.

17 Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba ekifaananyi ng’ogezaako okunnyonnyola ekigambo “ekisa.” Oyinza okukinnyonnyola mu bigambo. Naye singa oba osobola okusonga ku muntu akola ekikolwa eky’ekisa n’ogamba, “Ekikolwa ekyo kye kiraga ekisa,” ekigambo “ekisa” kifuna amakulu agasingawo era kiba kyangu okutegeera. Yakuwa akoze ekintu ekifaananako bwe kityo okutuyamba okutegeera ky’ali. Ng’oggyeko okunnyonnyola ky’ali mu bigambo, atuwadde ekyokulabirako ky’Omwana we. Okuyitira mu Yesu, tusobola okulaba engeri za Katonda. Okuyitira mu Njiri ezoogera ku Yesu, Yakuwa aba atugamba: “Bwe ntyo bwe ndi.” Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa byogera bitya ku Yesu bwe yali ku nsi?

18. Yesu yayoleka atya amaanyi, obwenkanya n’amagezi?

18 Engeri enkulu ennya eza Katonda zeeyoleka bulungi mu ebyo Yesu bye yakola. Yayoleka amaanyi ku ndwadde, enjala n’okufa. Kyokka, okwawukana ku bantu abeefaako bokka abakozesa obubi amaanyi gaabwe, ye teyakozesaako maanyi ago ag’ekyamagero okweganyula oba okulumya abalala. (Matayo 4:2-4) Yayagala obwenkanya. Yasunguwala bwe yalaba abasuubuzi abaali bafuna amagoba mu bantu mu ngeri etaali ya bwenkanya. (Matayo 21:12, 13) Abaavu n’abanyigirizibwa yabayisa mu ngeri ey’obwenkanya, ng’abayamba ‘okufuna ekiwummulo.’ (Matayo 11:4, 5, 28-30) Amagezi ag’ekitalo geeyolekera mu njigiriza za Yesu, ‘eyali asinga Sulemaani.’ (Matayo 12:42) Naye Yesu teyeeraga olw’amagezi ge. Ebigambo bye yayogera byatuuka ku mitima gy’abantu aba bulijjo, kubanga bye yayigirizanga byali bitegeerekeka bulungi, nga byangu era nga bya mugaso.

19, 20. (a) Yesu yali atya ekyokulabirako eky’enkukunala mu kulaga okwagala? (b) Twandijjukiddenga ki nga tusoma era nga tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu?

19 Yesu yali kyakulabirako eky’enkukunala mu kulaga okwagala. Mu buweereza bwe bwonna, yayoleka okwagala mu ngeri ez’enjawulo, nga mw’otwalidde okulaga obusaasizi n’okufaayo ku balala. Yasaasiranga abaali babonaabona. Enfunda n’enfunda, okufaayo ku balala kwamukubiriza okubaako ky’akolawo okubayamba. (Matayo 14:14) Wadde yawonya abalwadde n’aliisa abalumwa enjala, Yesu yasaasira abantu mu ngeri esingawo obukulu. Yayamba abalala okumanya, okukkiriza, era n’okwagala amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, obujja okuleetera abantu emikisa egy’olubeerera. (Makko 6:34; Lukka 4:43) Okusinga byonna, Yesu yayoleka okwagala okw’okwerekereza ng’awaayo obulamu bwe ku lw’abalala.​—Yokaana 15:13.

20 Kyewuunyisa nti abantu ab’emyaka gyonna era abaava mu mbeera ez’enjawulo baasikirizibwa eri omusajja ono eyalaga okwagala n’obusaasizi? (Makko 10:13-16) Bwe tuba tusoma era nga tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu, tujjukirenga nti okuyitira mu Mwana oyo tuba tulaba Kitaawe.​—Abaebbulaniya 1:3.

Ekitabo Ekinaatuyamba

21, 22. Okunoonya Yakuwa kizingiramu ki, era ekitabo kino kirimu biki ebiyinza okutuyamba mu nsonga eyo?

21 Ng’atutegeereza ddala ky’ali mu Kigambo kye, Yakuwa akiraga bulungi nti ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye. Mu kiseera kye kimu, tatukaka kubeera na nkolagana nnungi naye. Kiri eri ffe okunoonya Yakuwa ‘ng’akyayinzika okulabika.’ (Isaaya 55:6) Okunoonya Yakuwa kizingiramu okumanya engeri ze n’amakubo ge ebitegeezebwa mu Baibuli. Ekitabo kino ky’osoma kati kitegekeddwa okukuyamba mu nsonga eyo.

22 Ojja kulaba nti ekitabo kino kyawuddwamu ebitundu ebyogera ku ngeri za Yakuwa enkulu ennya: amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala. Buli kitundu kitandika nga kyogera mu bufunze ku ngeri eyeekenneenyezebwa. Essuula eziri mu kitundu ekyo zoogera ku ngeri ez’enjawulo Yakuwa gy’ayolekamu engeri eyo. Era buli kitundu kirimu essuula eraga Yesu bwe yalagamu engeri eyo, awamu n’essuula eraga bwe tuyinza okwolekamu engeri y’emu mu bulamu bwaffe.

23, 24. (a) Nnyonnyola engeri y’okukozesaamu akatundu ak’enjawulo akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako.” (b) Okufumiitiriza kutuyamba kutya okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda?

23 Okutandika n’essuula eno, waliwo akatundu ak’enjawulo akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako.” Ng’ekyokulabirako, laba akasanduuko akali ku lupapula 24. Ebyawandiikibwa n’ebibuuzo ebikalimu tebitegekeddwa kukuyamba kwejjukanya ssuula gy’osomye. Wabula, ekigendererwa kyabyo kwe kukuyamba okufumiitiriza ku nsonga endala enkulu ezikwata ku mutwe ogwogerwako. Oyinza otya okukozesa obulungi akatundu ako? Kebera buli kyawandiikibwa ekiweereddwa, era soma ennyiriri ezo n’obwegendereza. Oluvannyuma, wekkaanye ekibuuzo ekiddiridde buli kyawandiikibwa. Lowooza ku by’okuddamu. Oyinza okunoonyereza ku ky’osomye. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Ebintu bino bintegeeza ki ku Yakuwa? Bikwata bitya ku bulamu bwange? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?

24 Okufumiitiriza mu ngeri eyo kiyinza okutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Lwaki? Kubanga Baibuli ekwataganya okufumiitiriza n’omutima. (Zabbuli 19:14, NW) Bwe tufumiitiriza ku bye tuyiga ku Katonda, bituuka ku mutima gwaffe ogw’akabonero, ne bikwata ku ndowooza zaffe, enneewulira zaffe, era ne bitukubiriza okubaako ne kye tukola. Okwagala kwaffe eri Katonda kweyongera, era ne kutukubiriza okwagala okumusanyusa nga Mukwano gwaffe ow’oku lusegere ennyo. (1 Yokaana 5:3) Okusobola okufuna enkolagana ng’eyo, tuteekwa okumanya engeri za Yakuwa n’amakubo ge. Kyokka, ka tusooke twekkaanye engeri ya Katonda etukubiriza okubeera n’enkolagana ennungi naye​—obutukuvu bwe.

^ lup. 3 Ekyewuunyisa, ekigambo ky’Olwebbulaniya wano ekikyusiddwa “omukwano,” kikozesebwa mu Amosi 3:7, olugamba nti Mukama Afuga Byonna, Yakuwa, abikkula ‘eby’ekyama’ eri abaweereza be, ng’abategeeza nga bukyali ky’ateekateeka okukola.

^ lup. 12 Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku maaso ga Katonda, amatu ge, ennyindo ze, akamwa ke, emikono gye n’ebigere. (Zabbuli 18:15; 27:8; 44:3; Isaaya 60:13; Matayo 4:4; 1 Peetero 3:12) Ebigambo ng’ebyo tetuyinza kubitwala nga bwe biri, era nga bwe tutayinza kutwala Yakuwa okuba ‘Olwazi’ oba ‘engabo,’ ng’ebigambo ebyo bimukozeseddwako.​—Ekyamateeka 32:4; Zabbuli 84:11.