ESSUULA 16
“Yoleka Obwenkanya” ng’Otambula ne Katonda
1-3. (a) Lwaki obulamu bwaffe buyimiriddewo ku lwa Yakuwa? (b) Omununuzi waffe ow’okwagala atwetaagisa ki?
KITEEBEREZEEMU ng’oli mu mmeeri ebbira. Bw’oba okyalowooza nti tewakyaliwo ssuubi lya kuwona, wabaawo akudduukirira n’akuggya mu mmeeri eyo. Ng’owulira obuweerero bwa maanyi nnyo omudduukirize bw’akuggya mu kabi ako! Tewandiwulidde nti olina ebbanja ddene nnyo eri omuntu oyo? Mu butuufu, wandikitutte nti y’akusobozesezza okubeera ng’okyali mulamu.
2 Mu ngeri emu, kino kiraga ekyo Yakuwa ky’atukoledde. Mazima ddala obulamu bwaffe buyimiriddewo ku lulwe. Ye kennyini y’atukoledde enteekateeka y’ekinunulo, ne kitusobozesa okununulibwa mu kibi n’okufa. Tuli bakakafu nti bwe tukkiririza mu ssaddaaka eyo ey’omuwendo, ebibi byaffe bisonyiyibwa, era tuba n’essuubi mu biseera eby’omu maaso. (1 Yokaana 1:7; 4:9) Nga bwe twalaba mu Ssuula 14, ekinunulo kikolwa eky’ekitalo ekiraga okwagala n’obwenkanya bwa Yakuwa. Kiki kye twandikozeewo ku bikwata ku kinunulo ekyo?
3 Kiba kisaanira okulowooza ku ekyo Omununuzi waffe ow’okwagala ky’atwetaagisa. Yakuwa ayogera bw’ati okuyitira mu nnabbi Mikka: “Akubuulidde ggwe omuntu, kiki ekirungi. Era Yakuwa akusaba ki wabula okwoleka obwenkanya n’okwagala ekisa era n’okubeera omuwombeefu mu kutambula ne Katonda wo?” (Mikka 6:8, NW) Weetegereze nti, ekimu ku ebyo Yakuwa by’atwetaagisa kwe ‘kwoleka obwenkanya.’ Tuyinza tutya okwoleka obwenkanya?
Noonya ‘Obutuukirivu obw’Amazima’
4. Tumanya tutya nti Yakuwa atusuubira okugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu?
4 Yakuwa atusuubira okugoberera emitindo gye egikwata Isaaya 1:17 (NW) lugamba: “Muyige okukolanga obulungi; munoonyenga obwenkanya.” Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okunoonya obutuukirivu.’ (Zeffaniya 2:3) Era kitukubiriza “okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.” (Abaefeso 4:24) Obutuukirivu obw’amazima, oba mu ngeri endala, obwenkanya obw’amazima, tebulina kakwate konna n’ebikolwa eby’obukambwe, obutali buyonjo, n’obugwenyufu, kubanga ebintu ebyo bikontana n’ebintu ebitukuvu.—Zabbuli 11:5; Abaefeso 5:3-5.
ku kirungi n’ekibi. Okuva emitindo gye bwe giri egy’obwenkanya era egy’obutuukirivu, tuba twoleka obwenkanya n’obutuukirivu bwe tutuukana nagyo.5, 6. (a) Lwaki tetuzitoowererwa okugoberera emitindo gya Yakuwa? (b) Baibuli eraga etya nti okunoonya obutuukirivu kintu ekirina okukolebwa buli kiseera?
5 Tuzitoowererwa okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu? Nedda. Abaagala Yakuwa, tebatwala ebyo by’atwetaagisa okuba omugugu. Olw’okuba twagala Katonda waffe n’ebigendererwa bye, twagala okweyisa mu ngeri emusanyusa. (1 Yokaana 5:3) Jjukira nti Yakuwa “ayagala eby’obutuukirivu.” (Zabbuli 11:7) Bwe tuba ab’okukoppa obwenkanya bwa Katonda, oba obutuukirivu bwe, tulina okwagala ebyo by’ayagala n’okukyawa ebyo by’akyawa.—Zabbuli 97:10.
6 Si kyangu abantu abatatuukiridde okunoonya obutuukirivu. Tuteekwa okweyambula omuntu ow’edda ne twambala omuggya. Baibuli egamba nti omuntu omuggya “afuulibwa omuggya” okuyitira mu kumanya okutuufu. (Abakkolosaayi 3:9, 10) Ebigambo “afuulibwa omuggya” mu lulimi olwasooka biraga nti okwambala omuntu omuggya kintu ekikolebwa buli kiseera, era ekyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Ne bwe tufuba kwenkana wa okukola ekituufu, ebiseera ebimu ekibi kye twasikira kituleetera okusobya mu birowoozo, mu bigambo oba mu bikolwa.—Abaruumi 7:14-20; Yakobo 3:2.
7. Twandikitutte tutya singa tuddirira nga tunoonya obutuukirivu?
1 Yokaana 2:1) Yee, Yakuwa yatukolera enteekateeka y’ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu tusobole okumuweereza mu ngeri esiimibwa wadde nga twasikira ekibi. Ekyo tekitukubiriza okwagala okukola kyonna ekisoboka okusanyusa Yakuwa?
7 Twandikitutte tutya singa tuddirira nga tunoonya obutuukirivu? Kya lwatu, tetwandyagadde kubuusa maaso kibi. Naye era, tetusaanidde kulekulira, nga tulowooza nti ensobi zaffe zitufuula abatasaanira kuweereza Yakuwa. Katonda waffe ow’ekisa akoze enteekateeka okusonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu. Lowooza ku bigambo by’omutume Yokaana ebizzaamu amaanyi: “Mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi.” Yagattako bino: “Omuntu yenna bw’akola ekibi [olw’ekibi kye twasikira], tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (Amawulire Amalungi n’Obwenkanya bwa Katonda
8, 9. Okulangirira amawulire amalungi kwoleka kutya obwenkanya bwa Yakuwa?
8 Tuyinza okwoleka obwenkanya—mu butuufu, tuyinza okukoppa obwenkanya bwa Katonda—nga twenyigira mu bujjuvu mu kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’amawulire amalungi?
9 Yakuwa tajja kuzikiriza mbeera y’ebintu eno embi nga tasoose kulabula bantu. Mu bunnabbi bwe obwogera ku byandibaddewo mu kiseera eky’enkomerero, Yesu yagamba: ‘Mu mawanga gonna amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa.’ (Makko 13:10; Matayo 24:3) Ekigambo ‘okusooka,’ kiraga nti ebintu ebirala bijja kuddirira omulimu gw’okubuulira. Mu ebyo mulimu ekibonyoobonyo ekinene ekyalagulwa, ababi mwe bajja okuzikirizibwa era kitemere oluwenda ensi empya ey’obutuukirivu. (Matayo 24:14, 21, 22) Mazima ddala, tewali n’omu ayinza kugamba nti Yakuwa tabadde mwenkanya eri ababi. Bw’alabula ababi, aba abawa omukisa okukyusa amakubo gaabwe bawone okuzikirizibwa.—Yona 3:1-10.
10, 11. Okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi kyoleka kitya obwenkanya bwa Katonda?
10 Bwe tubuulira amawulire amalungi kyoleka kitya obwenkanya bwa Katonda? Okusooka, kiba kituufu ffe okukola kyonna kye tusobola okuyamba abalala okufuna obulokozi. Lowooza nate ku kyokulabirako eky’okudduukirirwa n’oggibwa mu mmeeri ebbira. Ng’omaze okuwonyezebwa, mazima ddala naawe oba oyagala okuyamba abalala abakyali mu mazzi. Mu ngeri y’emu, tulina obuvunaanyizibwa okuwonya abo abali mu “mazzi” g’ensi eno embi. Kyo kituufu, bangi bagaana obubaka bwaffe. Naye olw’okuba Yakuwa yeeyongera okubagumiikiriza, tulina obuvunaanyizibwa okubawa omukisa ‘okwenenya’ basobole okufuna obulokozi.—2 Peetero 3:9.
11 Nga tubuulira amawulire amalungi bonna be tusanga, twoleka obwenkanya mu ngeri endala enkulu: Tuba tetusosola. Jjukira nti “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Bwe tuba ab’okukoppa obwenkanya Bwe, tetusaanidde kusosola mu bantu. Wabula, tusaanidde okubuulira bonna amawulire amalungi ka babe ba ggwanga ki, mu mbeera ki, oba nga bayimiridde batya mu by’ensimbi. Mu ngeri eyo, tuwa bonna abatuwuliriza omukisa gw’okuwulira amawulire amalungi babeeko ne kye bakolawo.—Abaruumi 10:11-13.
Engeri Gye Tuyisaamu Abalala
12, 13. (a) Lwaki tetwandyanguye kusalira balala musango? (b) Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti “temusalanga musango”? (Laba obugambo obutono wansi.)
12 Era tuyinza okwoleka obwenkanya nga tuyisa abalala mu ngeri Yakuwa gy’atuyisaamu. Kyangu nnyo, okusalira abalala omusango, okubavumirira olw’ensobi zaabwe n’okulowooza nti balina ebiruubirirwa ebibi. Naye ani Zabbuli 130:3, NW) Tetuli basanyufu nti Katonda waffe ow’obwenkanya era omusaasizi tatunuulira bunafu bwaffe? (Zabbuli 103:8-10) Kati olwo twandiyisizza tutya abalala?
ku ffe eyandyagadde Yakuwa okwekenneenya ebiruubirirwa bye, n’ensobi ze awatali busaasizi? Eyo si ye ngeri Yakuwa gy’atuyisaamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Ai Yakuwa, singa wali otunuulira nsobi zaffe, eyandiyimiridde y’aluwa?” (13 Singa tusiima obwenkanya bwa Katonda obuzingiramu obusaasizi, tetujja kwanguwa kusalira balala musango mu nsonga ezitatukwatako oba ezitali nkulu. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalabula nti: “Temusalanga musango, muleme okusalirwa [omusango].” (Matayo 7:1) Okusinziira ku njiri ya Lukka, Yesu yagattako: “Temusaliranga balala musango kubasinga, nammwe tegulibasalirwa.” * (Lukka 6:37, NW) Yesu yali amanyi nti abantu abatatuukiridde batera okusalira abalala omusango. Omuntu yenna ku abo abaali bamuwuliriza eyalina omuze ogwo, yalina okugukomya embagirawo.
14. Lwaki tetuteekwa ‘kusalira balala musango’?
14 Lwaki tetuteekwa ‘kusalira balala musango’? Okusooka, obuyinza bwaffe buliko ekkomo. Omuyigirizwa Yakobo atujjukiza: “Eyateeka amateeka era omusazi w’omusango ali omu”—Yakuwa. N’olwekyo, Yakobo abuuza: “Ggwe asalira omusango munno ggwe ani?” (Yakobo 4:12; Abaruumi 14:1-4) Ate era, ekibi kye twasikira kiyinza okutuleetera okusalawo mu ngeri etali ya bwenkanya. Endowooza n’ebiruubirirwa bye tuba nabyo—nga mw’otwalidde n’okwekubiira, okulowooza nti tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, obuggya, n’okwetwala okuba abatuukirivu—biyinza okutulemesa okutunuulira bannaffe mu ngeri entuufu. Tulina n’obunafu obulala era okubulowoozaako, kyanditukugidde obuteemalira ku nsobi z’abalala. Tetuyinza kusoma mitima gy’abantu; era tetuyinza kumanya byonna ebikwata ku balala. Kati olwo, ffe baani okulowooleza bakkiriza bannaffe ebintu ebibi oba okuvumirira bye bakola mu buweereza bwa Katonda? Nga kyandibadde kirungi nnyo okukoppa Yakuwa nga tutunuulira ebirungi baganda baffe ne bannyinaffe bye bakola mu kifo ky’ensobi zaabwe!
15. Nneeyisa ya ngeri ki etakkirizibwa mu basinza ba Katonda, era lwaki?
15 Ate kiri kitya ku kusalira ab’omu maka gaffe omusango? Eky’ennaku, mu nsi y’akakyo kano ebikolwa ebibi ennyo eby’okusalira abalala omusango bisangibwa mu kifo ekyandisuubiddwa okubaamu emirembe—amaka. Kya bulijjo okuwulira abaami, abakyala oba abazadde abavuma ab’omu Yakobo 5:11) Nga kyakulabirako kirungi nnyo kye tusaanidde okukoppa!
maka gaabwe oba ababakuba. Kyokka, okuvuma, okukiina n’okukuba tebikkirizibwa mu basinza ba Yakuwa. (Abaefeso 4:29, 31; 5:33; 6:4) Okubuulirira kwa Yesu ‘okw’obutasalira balala musango’ kulina okugobererwa wadde nga tuli waka. Kijjukire nti okwoleka obwenkanya kizingiramu okuyisa abalala mu ngeri Yakuwa gy’atuyisaamu. Ate nga Katonda waffe, tatuyisa mu ngeri ya bukambwe. Wabula, abo abamwagala ‘abalaga ekisa.’ (Abakadde Baweereza ‘mu Bwenkanya’
16, 17. (a) Kiki Yakuwa ky’asuubira mu bakadde? (b) Kiki ekirina okukolebwa ng’omwonoonyi alemereddwa okwenenya, era lwaki?
16 Ffenna tugwanidde okwoleka obwenkanya, naye ate abakadde mu kibiina Ekikristaayo bavunaanyizibwa nnyo ku nsonga eno. Weetegereze ebyogerwa ku ‘balangira,’ oba abakadde mu bunnabbi bwa Isaaya: “Laba! Kabaka alifuga mu butuukirivu; era bo abalangira, bajja kufuga ng’abalangira mu bwenkanya.” (Isaaya 32:1, NW) Yee, Yakuwa asuubira abakadde okuweereza nga booleka obwenkanya. Kino bayinza kukikola batya?
17 Abasajja bano abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo bakimanyi nti obwenkanya, oba obutuukirivu bwetaagisa okukuuma ekibiina nga kiyonjo. Emirundi egimu, abakadde balina okusala emisango egikwata ku bibi eby’amaanyi. Nga basala emisango egyo, bajjukira nti obwenkanya bwa Katonda butwaliramu okulaga obusaasizi bwe kiba kisoboka. Bwe kityo, bagezaako okuyamba omwonoonyi okwenenya. Naye kiba kitya singa omwonoonyi agaana okwenenya wadde nga bafubye okumuyamba? Mu bwenkanya, Ekigambo kya Yakuwa kiragira nti: ‘Omubi oyo mumuggye mu mmwe.’ Ekyo kitegeeza okumugoba mu kibiina. (1 Abakkolinso 5:11-13; 2 Yokaana 9-11) Kinakuwaza abakadde okukola ekyo, naye bakimanyi nti kyetaagisa okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa. Wadde kiri kityo, basuubira nti luliba lumu omwonoonyi oyo ne yeekuba mu kifuba n’akomawo mu kibiina.—Lukka 15:17, 18.
18. Kiki abakadde kye balina okujjukira nga babuulirira abalala nga bakozesa Baibuli?
18 Era, okuweereza mu bwenkanya kizingiramu okubuulirira omuntu nga weesigama ku Baibuli. Kya lwatu, abakadde tebanoonyereza nsobi mu balala. Era tebakozesa buli kakisa ke bafuna okuwabula abalala. Naye mukkiriza munnaabwe ayinza okukwata ‘ekkubo ekkyamu nga takimanyi.’ Nga bakimanyi nti obwenkanya bwa Katonda tebuliimu bukambwe era nti bukubiriza okufaayo ku balala, abakadde bajja ‘kuwabula omuntu ng’oyo mu buwombeefu.’ (Abaggalatiya 6:1, NW) Bwe kityo, abakadde tebayinza kukambuwalira wadde okuvuma omwonoonyi. Wabula, omuntu bw’abuulirirwa n’okwagala kimuzzaamu amaanyi. Abakadde ne bwe baba nga banenya omuntu—nga bamulaga kaati ebiyinza okuva mu kkubo eritali lya magezi—bajjukira nti mukkiriza munnaabwe oyo asobezza, ndiga eri mu kisibo kya Yakuwa. * (Lukka 15:7) Asobezza bw’abuulirirwa oba bw’anenyezebwa mu ngeri ey’okwagala, asobola okutereera.
19. Abakadde balina obuvunaanyizibwa okusalawo ki, era balina kusinziira ku ki nga basalawo?
19 Emirundi mingi abakadde kibeetaagisa okusalawo ku nsonga ezikwata ku bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, buli luvannyuma lwa kiseera abakadde batera okukuŋŋaana awamu okwetegereza obanga baganda baabwe mu kibiina balina ebisaanyizo by’okufuuka abakadde oba abaweereza mu kibiina. Abakadde bakimanyi nti kikulu nnyo obutasosola. Mu kusalawo abalina okulondebwa, basinziira ku bisaanyizo Katonda bye yeetaagisa, so si ku nneewulira 1 Timoseewo 5:21.
yaabwe. Bwe kityo, basalawo ‘awatali kusaliriza wadde okwekubiira.’—20, 21. (a) Abakadde bafuba kukola ki, era lwaki? (b) Abakadde bayinza kukola ki okuyamba ‘abennyamivu’?
20 Abakadde booleka obwenkanya mu ngeri endala. Oluvannyuma lw’okulagula nti baliweereza mu ‘bwenkanya,’ Isaaya yagattako: “Era [buli omu] aliba ng’ekifo ky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Isaaya 32:2) N’olwekyo, abakadde bafuba okubudaabuda n’okuzzaamu amaanyi basinza bannaabwe.
21 Leero, olw’ebizibu ebingi ebiriwo ebimalamu amaanyi, bangi beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Abakadde, muyinza kukola ki okuyamba ‘abennyamivu’? (1 Abasessaloniika 5:14) Mubawulirize era mubalage okufaayo. (Yakobo 1:19) Bayinza okwagala okubuulira omuntu gwe beesiga ‘ebibanakuwaza.’ (Engero 12:25) Mubakakase nti ba muwendo era nti Yakuwa awamu ne baganda baabwe babaagala nnyo. (1 Peetero 1:22; 5:6, 7) Okugatta ku ekyo, muyinza okubasabira oba okusabira awamu n’abalinga abo. Okuwulira ng’omukadde asaba okuviira ddala ku mutima gwe ku lwabwe, kiyinza okubazzaamu ennyo amaanyi. (Yakobo 5:14, 15) Katonda ow’obwenkanya ajja kusiima okufuba kwammwe okuyamba abennyamivu.
Abakadde booleka obwenkanya bwa Yakuwa bwe bazzaamu amaanyi abanafuye
22. Tuyinza tutya okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa, era biki ebivaamu?
22 Mazima ddala tufuna omukwano ne Yakuwa bwe tukoppa obwenkanya bwe! Bwe tugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu, bwe tubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era bwe tutunuulira ebirungi abalala bye bakola mu kifo ky’ensobi zaabwe, tuba twoleka obwenkanya bwa Katonda. Abakadde, bwe mukuuma obuyonjo bw’ekibiina, bwe muzzaamu abalala amaanyi nga mubabuulirira okuva mu Byawandiikibwa, bwe musalawo awatali kusosola, era bwe muzzaamu amaanyi abanafuye, muba mwoleka obwenkanya bwa Katonda. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa okutunula okuva mu ggulu n’alaba abantu be nga bakola kyonna ekisoboka ‘okwoleka obwenkanya’ nga batambula ne Katonda waabwe!
^ lup. 13 Ebigambo “temusalanga musango” biyinza okutegeeza nti ‘totandika kusala musango.’ Kyokka mu lulimi olwasooka, abawandiisi ba Baibuli baakozesa ebigambo ebyali biraga ebikolwa ebyaliwo, eby’okusalira abalala omusango naye nga byalina okukoma.
^ lup. 18 Mu 2 Timoseewo 4:2, Baibuli egamba nti ebiseera ebimu abakadde bateekwa ‘okunenyanga, n’okubuulirira.’ Ekigambo ky’Olwebbulaniya (pa·ra·ka·leʹo) ekikyusibwa ‘okubuulirira’ kiyinza okutegeeza “okuzzaamu amaanyi.” Ekigambo ky’Oluyonaani, pa·raʹkle·tos, ekikyefaananyiriza kiyinza okutegeeza omuntu awolereza mu nsonga z’amateeka. Bwe kityo, wadde ng’abakadde bakangavvula, bandibadde bayamba abo abeetaaga obuyambi mu by’omwoyo.