EBYONGEREZEDDWAKO
Ddi Lwe Kyetaagisa Okubikka ku Mutwe era Lwaki?
Ddi omukyala Omukristaayo lw’asaanidde okubikka ku mutwe gwe, era lwaki? Ka twekenneenye ebyo omutume Pawulo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku nsonga eno. Atuwa amagezi agatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi era eweesa Katonda ekitiibwa. (1 Abakkolinso 11:3-16) Pawulo ayogera ku bintu bisatu bye tulina okulowoozaako: (1) ebyo omukazi by’aba agenda okukola ebimwetaagisa okubikka ku mutwe gwe, (2) embeera mw’asaanidde okubikka ku mutwe, ne (3) ensonga lwaki asaanidde okubikka ku mutwe.
Ebyo by’aba agenda okukola. Pawulo ayogera ku bintu bibiri: okusaba n’okubuulira. (Olunyiriri 4, 5) Nga bwe tumanyi obulungi, okusaba kuba kwogera ne Yakuwa. Okubuulira okwogerwako mu nnyiriri zino, kukwataganyizibwa n’okuyigiriza kwonna okwesigamiziddwa ku Bayibuli Omukristaayo kwe yeenyigiramu. Kati olwo tugambe nti Pawulo yali ategeeza nti omukazi asaanidde okubikka ku mutwe gwe buli lw’aba agenda okusaba oba okuyigiriza omuntu Bayibuli? Nedda. Kino Omukazi akikola okusinziira ku mbeera gy’aba alimu ng’agenda okusaba oba okuyigiriza.
Embeera. Pawulo ayogera ku mbeera za mirundi ebiri—mu maka ne mu kibiina. Agamba nti: “Omutwe gw’omukazi ye musajja . . . buli mukazi asaba oba ayogera obunnabbi nga tabisse ku mutwe aba aswaza omutwe gwe.” (Olunyiriri 3, 5) Mu maka, Yakuwa alonze omwami okuba omutwe gwa mukazi we. Singa omukazi yeetikka obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yakwasa omwami, kyokka n’atakiraga nti assa ekitiibwa mu bukulembeze bw’omwami we, abba aswaza bba. Ng’ekyokulabirako, singa kiba kimwetaagisizza okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’omwami we waali, alaga nti assa ekitiibwa mu bukulembeze bwe ng’abikka ku mutwe. Okuva bwe kiri nti omwami ye mutwe gw’amaka, omukyala asaanidde okubikka ku mutwe ka kibe nti omwami we mubatize oba nedda. * Bw’aba agenda okusaba oba okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’ali wamu ne katabani ke akabatize, era kiba kimwetaagisa okubikka ku mutwe gwe, si lwa kuba nti omwana oyo ye mutwe gw’amaka, naye olw’obuyinza obwaweebwa abasajja ababatize abali mu kibiina Ekikristaayo.
Ng’ayogera ku nkola erina okugobererwa mu kibiina, Pawulo yagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna awakanya kino olw’okwagala okugoberera enkola endala, ffe awamu n’ebibiina bya Katonda tetulinaayo nkola ndala.” (Olunyiriri 16) Abasajja ababatize be baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. (1 Timoseewo 2:11-14; Abebbulaniya 13:17) Be bokka abalondebwa okuweereza ng’abakadde oba ng’abaweereza mu kibiina okusobola okulabirira ekisibo kya Katonda. (Ebikolwa 20:28) Kyokka, oluusi n’oluusi wayinza okubaawo embeera eyeetaagisa omukazi Omukristaayo okukola omulimu mu kibiina ogulina okukolebwa omusajja omubatize. Ng’ekyokulabirako, singa tewabaawo musajja yenna mubatize, kiyinza okumwetaagisa okukubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda mu kubuulira. Oba ayinza okuba yakola enteekateeka okubaako gw’ayigiriza Bayibuli ng’ali n’omusajja omubatize. * Bwakola ebintu ng’ebyo, omukyala asaanidde okubikka ku mutwe gwe okulaga nti omulimu gw’akola gwakwasibwa musajja.
Wadde kiri kityo, waliwo embeera nnyingi ezikwata ku kusinza kwaffe eziteetaagisa mwannyinaffe kubikka ku mutwe * Singa anoonyereza ku nsonga eyo kyokka n’asigala nga teyeekakasa kya kukola era nga n’omuntu we ow’omunda amukubiriza okubikka ku mutwe gwe, taba mukyamu bw’agubikkako nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi.
gwe. Ng’ekyokulabirako, tekimwetaagisa kubikka ku mutwe ng’awa eky’okuddamu mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ng’abuulira nnyumba ku nnyumba ng’ali wamu ne bbaawe oba n’ow’oluganda omulala omubatize, oba ng’ayigiriza abaana be abatali babatize oba ng’asaba nabo. Kya lwatu, wayinza okujjawo embeera endala ezitayogeddwako wano, era singa mwannyinaffe aba teyeekakasa kya kukola mu mbeera ng’ezo, ayinza okweyongera okunoonyereza.Ensonga. Olunyiriri 10 lulaga ensonga bbiri lwaki omukyala Omukristaayo asaanidde okubikka ku mutwe gwe we kiba kyetaagisiza. Lugamba nti: “Omukazi agwanidde okubangako akabonero ku mutwe gwe akalaga nti ali wansi wa musajja, olwa bamalayika.” Okusookera ddala, weetegereze ebigambo ‘akabonero akalaga nti ali wansi wa musajja.’ Omukazi bw’abikka ku mutwe gwe aba alaga nti assa ekitiibwa mu buyinza Yakuwa bwe yawa abasajja ababatize abali mu kibiina. Mu ngeri eyo, aba alaga nti ayagala Yakuwa Katonda era nti amussaamu ekitiibwa. Ensonga ey’okubiri eragibwa mu bigambo “olwa bamalayika.” Omukazi bw’abikka ku mutwe gwe, kikwata kitya ku bitonde ebyo eby’amaanyi eby’omwoyo?
Bamalayika kibasanyusa nnyo okulaba ng’enteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze essibwamu ekitiibwa mu ggulu ne ku nsi. Era baganyulwa nnyo mu kyokulabirako ekirungi abantu abatatuukiridde kye bassaawo ku nsonga eno. Gw’ate oba nabo bennyini balina okugondera enteekateeka ya Yakuwa—ekintu bamalayika abawerako kye baalemererwa okukola mu biseera Yuda 6) Bamalayika bayinza okulaba omukyala Omukristaayo alina obumanyirivu era omugezi okusinga ow’oluganda mu kibiina ng’assa ekitiibwa mu bukulembeze bw’ow’oluganda oyo. Omukyala oyo Omukristaayo ayinza n’okuba nga yafukibwako amafuta era ng’alina essuubi ery’okuba omusika awamu ne Kristo mu kiseera eky’omu maaso. Omukyala ng’oyo ajja kuba mu kifo kya waggulu nnyo okusinga n’ekya bamalayika era ajja kufugira wamu ne Kristo mu ggulu. Ng’omukyala oyo aba ateereddewo bamalayika ekyokulabirako ekirungi ennyo! Mazima ddala, bannyinaffe balina enkizo ya maanyi nnyo okwoleka obuwulize bwabwe mu maaso g’obukadde n’obukadde bwa bamalayika abeesigwa!
eby’edda. (^ lup. 3 Omukyala Omukristaayo tasaanidde kusaba mu ddoboozi eriwulikika ng’omwami we Omukristaayo waali okuggyako mu mbeera ezimu, gamba singa omwami we aba mulwadde nnyo era nga tasobola na kwogera.
^ lup. 1 Mwannyinaffe bw’aba ayigiriza omuntu Bayibuli nga waliwo omubuulizi omusajja atali mubatize ate nga si mwami we, kiba tekimwetaagisa kubikka ku mutwe.
^ lup. 2 Okumanya ebisingawo, laba Omunaala gw’Omukuumi Febwali 15, 2015, olupapula 30; Watchtower eya Jjulaayi 15, 2002, olupapula 26-7, n’eya Febwali 15, 1977, olupapula 125-.