Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’

‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’

“Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 YOKAANA 5:3.

1, 2. Kiki ekikukubiriza okwagala Yakuwa Katonda?

OYAGALA Katonda? Bw’oba nga weewaayo eri Yakuwa Katonda, tojja kulonzalonza kuddamu nti yee. Kya mu butonde ffe okwagala Yakuwa. Mu butuufu, ekituleetera okwagala Katonda kwe kuba nti naye atwagala. Bayibuli egamba nti: “Tulina okwagala kubanga ye [Yakuwa] yasooka okutwagala.”​—1 Yokaana 4:19.

2 Yakuwa ye yasooka okutwagala. Yatuwa ensi ennungi era akola ku byetaago byaffe eby’omubiri. (Matayo 5:43-48) N’ekisinga obukulu, atulabirira mu by’omwoyo. Atuwadde Ekigambo kye Bayibuli, era atukubiriza okumutuukirira mu kusaba nga tuli bakakafu nti ajja kuwulira essaala zaffe, era atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe. (Zabbuli 65:2; Lukka 11:13) N’ekisinga byonna, yatuma Omwana we omwagalwa ennyo atununule okuva mu kibi n’okufa. Nga Yakuwa atulaze okwagala kwa maanyi nnyo!​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8.

3. (a) Kiki ekyetaagisa okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda? (b) Kibuuzo ki ekikulu kye tusaanidde okwebuuza, era eky’okuddamu tuyinza kukisanga wa?

3 Yakuwa ayagala tuganyulwe mu kwagala kwe emirembe gyonna. Kiri eri buli omu ku ffe okusalawo obanga anaaganyulwa mu kwagala kwa Katonda oba nedda. Bayibuli etukubiriza ‘Okwekuumira mu kwagala kwa Katonda, tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Yuda 21) Ekigambo ‘mwekuumire’ kiraga nti kitwetaagisa okubaako kye tukolawo bwe tuba ab’okusigala mu kwagala kwa Katonda. Tuteekwa okukyoleka mu bikolwa byaffe nti ddala twagala Katonda. Ekibuuzo ekikulu ffenna kye tuyinza okwebuuza kiri nti, ‘Nnyinza ntya okukyoleka nti njagala Katonda?’ Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo by’omutume Yokaana ebyaluŋŋamizibwa ebigamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Kiba kirungi ne twekenneenya amakulu g’ebigambo ebyo, kubanga twagala okulaga Katonda waffe nti tumwagala nnyo.

‘OKWAGALA KATONDA KYE KITEGEEZA’

4, 5. Nnyonnyola engeri gye watandikamu okwagala Katonda.

Kiki omutume Yokaana kye yali ategeeza bwe yagamba nti, “okwagala Katonda”? Yali ategeeza okwagala ffe abantu kinnoomu kwe tulina eri Katonda. Ojjukira ddi lwe watandika okwagala Katonda?

Okwewaayo n’okubatizibwa ye ntandikwa y’okugondera Yakuwa

5 Lowooza ku kiseera lwe wasooka okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye era n’otandika okuba n’okukkiriza. Wakitegeera nti wadde nga wazaalibwa oli mwonoonyi, okuyitira mu Kristo, Yakuwa yakuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo Adamu bwe yafiirwa. (Matayo 20:28; Abaruumi 5:12, 18) Watandika okusiima ekyo Yakuwa kye yakola bwe yawaayo omwana we omwagalwa ennyo akufiirire. Okwagala okwo okungi Katonda kwe yakulaga naawe kwakuleetera okumwagala.​—Soma 1 Yokaana 4:9, 10.

6. Okwagala okwa namaddala kulagibwa kutya, era okwagala kw’olina eri Katonda kwakuleetera kukola ki?

6 Kyokka, awo wali otandika butandisi okwagala Yakuwa. Okwagala Katonda tekukoma ku kugamba bugambi nti, “Njagala Yakuwa.” Okufaananako okukkiriza, okwagala okwa nnamaddala kweyolekera mu bikolwa. (Yakobo 2:26) Tulaga omuntu nti tumwagala nga tukola ebintu ebimusanyusa. Bwe kityo, bwe weeyongera okwagala Yakuwa, Kitaawo ow’omu ggulu, watandika okweyisa mu ngeri emusanyusa. Wabatizibwa? Bwe kiba bwe kityo, okwagala okw’amaanyi kw’olina eri Yakuwa kwe kwakuleetera okusalawo okukola ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwo. Weewaayo eri Yakuwa okukola by’ayagala, era ekyo wakyoleka ng’obatizibwa. (Soma Abaruumi 14:7, 8.) Okutuukiriza obweyamo bwaffe eri Yakuwa kizingiramu okukola ekyo omutume Yokaana ky’addako okwogera.

“OKUKWATA EBIRAGIRO BYE”

7. Ebimu ku biragiro bya Katonda bye biruwa, era okukwata ebiragiro ebyo kizingiramu ki?

7 Yokaana yagamba nti okwagala Katonda kitegeeza “okukwata ebiragiro bye.” Ebiragiro bya Katonda bye biruwa? Yakuwa atuwa ebiragiro bye ng’ayitira mu Kigambo kye Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, atugaana okwenyigira mu bikolwa ebibi gamba ng’obutamiivu, ebikolwa eby’obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, okubba, n’okulimba. (1 Abakkolinso 5:11; 6:18; 10:14; Abeefeso 4:28; Abakkolosaayi 3:9) Okukwata ebiragiro bya Katonda kizingiramu okunywerera ku mitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa.

8, 9. Tusobola tutya okumanya ekyo ekisanyusa Yakuwa ne mu bintu ebitayogerwako butereevu mu Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.

8 Kyokka, okusobola okusanyusa Yakuwa tetulina kukoma ku kukwata biragiro bye. Yakuwa tatuwa mateeka ku buli kimu kye tukola. N’olw’ensonga eyo, buli lunaku tuyinza okwolekagana n’embeera ezitayogerwako butereevu mu Bayibuli. Tuyinza tutya okumanya ekyo ekinaasanyusa Yakuwa mu mbeera ng’ezo? Bayibuli erimu ebintu bingi ebiraga endowooza ya Katonda. Bwe tugisoma, tuyiga ebyo Yakuwa by’ayagala ne by’akyawa. (Soma Zabbuli 97:10; Engero 6:16-19) Ate era tusobola okutegeera engeri gy’ayagala tweyiseemu. Gye tunaakoma okuyiga ebikwata ku ngeri za Yakuwa n’amakubo ge, gye tujja okukoma okusalawo obulungi era n’okukola by’ayagala. Bwe kityo, ne bwe tuba nga twolekaganye n’embeera etayogerwako butereevu mu Bayibuli, tuyinza okutegeera “Yakuwa ky’ayagala.”​—Abeefeso 5:17.

9 Ng’ekyokulabirako, Bayibuli teriimu mateeka gatugaana butereevu kulaba firimu oba programu z’oku ttivi eziraga ebikolwa eby’ettemu oba eby’obugwenyufu. Naye ddala twetaaga amateeka ng’ago? Tumanyi engeri Yakuwa gy’atwalamu ebintu ebyo. Ekigambo kye kigamba nti: “[Yakuwa] akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.” (Zabbuli 11:5) Ate era kigamba nti: ‘Abagwenyufu Katonda ajja kubasalira omusango.’ (Abebbulaniya 13:4.) Bwe tufumiitiriza ku bigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa, tusobola okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole. N’olwekyo, twewala programu zonna eziraga ebikolwa Katonda by’akyawa. Tumanyi nti kisanyusa nnyo Yakuwa bwe twewala ebikolwa ebibi kyokka ng’ensi ebitwala okuba ebirungi. *

10, 11. Lwaki tusalawo okugondera Yakuwa, era tumugondera tutya?

10 Nsonga ki enkulu etuleetera okukwata ebiragiro bya Katonda? Lwaki buli lunaku tufuba okukola Katonda by’ayagala? Ekyo tetukikola olw’okuba tutya okubonerezebwa oba okugwa mu bizibu ebituuka ku abo abatagondera mateeka ga Katonda. (Abaggalatiya 6:7) Wabula, tugondera Yakuwa olw’okuba tumwagala. Ng’omwana bw’ayagala okusiimibwa kitaawe, naffe twagala okusiimibwa Yakuwa. (Zabbuli 5:12) Ye Kitaffe era tumwagala nnyo. Teri kintu kyonna kiyinza kutuleetera ssanyu na bumativu okusinga okukimanya nti tweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa.​—Engero 12:2.

11 N’olwekyo, tetugondera Yakuwa olw’okuba tuwalirizibwa oba olw’okuba tulina bye twagala okumufunako. * Si ffe tusalawo ebiragiro bye tunaagondera oba ebyo bye tutaagondere, era tetugondera Yakuwa olwo lwokka lwe kitubeerera ekyangu, wabula, ‘tumugondera okuva ku mutima.’ (Abaruumi 6:17) Tulina endowooza y’emu ng’ey’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Nsanyukira ebiragiro byo, mazima mbyagala nnyo.” (Zabbuli 119:47) Mu butuufu, twagala okugondera Yakuwa era tukimanyi bulungi nti agwanidde​—era ayagala tumugondere mu bujjuvu awatali kwekwasa nsonga yonna. (Ekyamateeka 12:32) Twagala Yakuwa atwogereko ng’Ekigambo kye bwe kyogera ku Nuuwa. Omusajja oyo omwesigwa, eyayagala ennyo Katonda era n’amugondera okumala emyaka mingi, Bayibuli emwogerako bw’eti: ‘Nuuwa yakola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Yakolera ddala bw’atyo’​—Olubereberye 6:22.

12. Tuyinza tutya okusanyusa omutima gwa Yakuwa?

12 Yakuwa awulira atya bwe tumugondera kyeyagalire? Ekigambo kye kigamba nti bwe tukola bwe tutyo, ‘tusanyusa omutima gwe.’ (Engero 27:11) Ddala kituufu bwe tuba abawulize tusanyusa omutima gw’Omufuzi w’Obutonde Bwonna? Awatali kubuusabuusa tumusanyusa, era waliwo ensonga lwaki asanyuka! Yakuwa yatutonda nga tulina eddembe ly’okwesalirawo. Kino kitegeeza nti tusobola okusalawo okumugondera oba obutamugondera. (Ekyamateeka 30:15, 16, 19, 20) Kisanyusa nnyo Yakuwa bwe tumugondera kyeyagalire era ng’okwagala kwe tulina gy’ali kwe kutukubiriza okumugondera. (Engero 11:20) Era bwe tukola bwe tutyo tuba tusazeewo okukola ekintu ekisingayo obulungi.

“EBIRAGIRO BYE TEBIZITOWA”

13, 14. Lwaki kiyinza okugambibwa nti ‘ebiragiro bya Katonda tebizitowa,’ era kyakulabirako ki ekiyinza okutuyamba okutegeera ensonga eno?

13 Omutume Yokaana alina ekintu ky’atubuulira ku mateeka ga Yakuwa ekizzaamu amaanyi. Agamba nti: “Ebiragiro bye tebizitowa.” Amateeka ga Yakuwa si makakali era teganyigiriza. N’abantu abatatuukiridde basobola okugakwata.

14 Lowooza ku kyokulabirako kino. Mukwano gwo ow’oku lusegere akusaba omuyambeko ng’asengukira mu kifo ekirala. Mukwano gwo oyo alina emigugu mingi egy’okutwala. Egimu giwewuka era gisobola okusitulibwa omuntu omu, ate emirala mizito nnyo era gyetaaga okusitulwa abantu babiri. Mukwano gwo akulonderamu emigugu gy’ayagala omusitulireko. Yandikulondeddemu emigugu gy’amanyi nti tosobola kugisitula? N’akatono. Teyandyagadde ositule migugu egyo wekka gikumenye. Mu ngeri y’emu, Katonda waffe ow’okwagala era ow’ekisa tatugamba kukwata biragiro by’amanyi nti tetusobola kubituukiriza. (Ekyamateeka 30:11-14) Tasobola kutugamba kukola ekyo kye tutasobola. Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma, kubanga ‘amanyi bulungi bwe twakolebwa; ajjukira nti tuli nfuufu.’​—Zabbuli 103:14.

15. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ebiragiro Yakuwa by’atuwa bituganyula?

15 Mu butuufu, ebiragiro bya Yakuwa tebizitowa era bya muganyulo nnyo gye tuli. (Soma Isaaya 48:17.) Eyo ye nsonga lwaki Musa yagamba Abayisirayiri ab’edda nti: ‘Yakuwa yatulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okutyanga Yakuwa Katonda waffe ku lw’obulungi bwaffe bulijjo, tusobole okubeeranga abalamu nga bwe kiri leero.’ (Ekyamateeka 6:24) Naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atuwa amateeka ge ng’ayagala tuganyulwe emirembe gyonna. Yakuwa tayinza kutulagira kukola kintu ekiyinza okutulumya; Yakuwa Katonda alina amagezi mangi nnyo. (Abaruumi 11:33) N’olwekyo, amanyi ebyo ebisingayo okuba eby’omuganyulo gye tuli. Ate era Bayibuli egamba nti Yakuwa kwagala. (1 Yokaana 4:8) Okwagala kwe kweyolekera mu byonna by’akola ne by’ayogera. Ebiragiro byonna by’awa abaweereza be byesigamiziddwa ku kwagala.

16. Lwaki kisoboka okugondera Katonda wadde nga tetutuukiridde era nga tuli mu nsi ennyonoonefu?

16 Kino tekitegeeza nti kyangu nnyo okugondera Katonda. Tulina okwewala ebintu ebisikiriza ebiri mu nsi eno ennyonoonefu, “eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Ate era tulina okulwanyisa obutali butuukirivu bwaffe, obutuleetera okumenya amateeka ga Katonda. (Abaruumi 7:21-25) Wadde kiri kityo, okwagala kwe tulina eri Katonda kusobola okutuyamba okutuuka ku buwanguzi. Yakuwa awa omukisa abo abamugondera olw’okuba bamwagala. Abo “abamutwala ng’omufuzi waabwe era abamugondera,” abawa omwoyo gwe omutukuvu. (Ebikolwa 5:32) Omwoyo ogwo gutusobozesa okubala ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo​—engeri ennungi ezitusobozesa okumugondera.​—Abaggalatiya 5:22, 23.

17, 18. (a) Biki bye tujja okwekenneenya mu katabo kano, era nga tubyekenneenya, biki bye tusaanidde okulowoozaako? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu ssuula eddako?

17 Mu katabo kano tujja kwekenneenya emisingi gya Yakuwa, emitindo gy’empisa, awamu n’ebintu ebirala bingi ebyoleka ebyo Yakuwa by’ayagala tukole. Nga tubyekenneenya, waliwo ebintu bingi ebikulu bye tusaanidde okulowoozaako. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa tatuwaliriza kukwata mateeka ge na misingi gye; ayagala tumugondere kyeyagalire okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe. Tetusaanidde kukyerabira nti Yakuwa ayagala tweyise mu ngeri eneetusobozesa okuganyulwa kati era n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso. Ate era okugondera Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kituwa akakisa okulaga nti tumwagala.

18 Okusobola okutuyamba okwawulawo ekituufu n’ekikyamu, Yakuwa atuwadde omuntu ow’omunda. Kyokka, omuntu ow’omunda okusobola okutuwa obulagirizi obwesigika, alina okutendekebwa, ng’essuula eddako bw’ejja okunnyonnyola.

^ lup. 11 N’emyoyo emibi gisobola okumugondera naye nga gikikola lwa mpaka. Yesu bwe yalagira dayimooni okuva ku bantu abamu, dayimooni zaamugondera, wadde ng’ekyo tezaakikola kyeyagalire.​—Makko 1:27; 5:7-13.