Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 6

Okulondawo eby’Okwesanyusaamu Ebirungi

Okulondawo eby’Okwesanyusaamu Ebirungi

“Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”​—1 ABAKKOLINSO 10:31.

1, 2. Twandisazeewo tutya ku bikwata ku by’okwesanyusaamu?

KUBA akafaananyi ng’ogenda okulya ekibala ekiwooma ennyo, kyokka ogenda okwetegereza nga kivunzeeko oludda. Kiki kye wandikoze? Wandiridde ekibala kyonna, nga n’ekitundu ekivundu okitwaliddemu? Wandikisudde? Oba wandisazeeko ekitundu ekivundu n’okisuula n’olya ekirungi? Wandisazeewo kukola ki?

2 Eby’okwesanyusaamu bisobola okufaananyizibwa ku kibala ekyo. Oluusi oyinza okuba ng’oyagala okwesanyusaamu, naye ng’okimanyi nti eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero bibi nnyo. Kati olwo wandikoze ki? Abamu bayinza obuteeloboza mu bya kwesanyusaamu. Abalala bayinza okusalawo obuteesanyusa mu ngeri yonna okusobola okukakasa nti beewala ekintu kyonna ekibi. Kyokka ate abalala beewala eby’okwesanyusaamu ebibi naye oluusi ne balondawo ebirungi. Ggwe wandisazeewo ki okusobola okwekuumira mu kwagala kwa Katonda?

3. Kiki kye twetaaga okumanya?

3 Abasinga obungi ku ffe twandironzeewo eby’okwesanyusaamu ebirungi ne twewala ebibi. Twetaaga okwesanyusaamu naye twandironzeewo eby’okwesanyusaamu ebirungi byokka. N’olwekyo, twetaaga okumanya eby’okwesanyusaamu ebirungi n’ebyo ebitali birungi. Kyokka, ka tusooke twogere ku ngeri eby’okwesanyusaamu bye tuba tulonzeewo gye biyinza okukwata ku kusinza kwaffe.

“MUKOLENGA EBINTU BYONNA OLW’OKUWEESA KATONDA EKITIIBWA”

4. Okwewaayo eri Yakuwa kirina kakwate ki n’eby’okwesanyusaamu bye tulondawo?

4 Emabegako awo, nnamukadde omu Omujulirwa wa Yakuwa eyabatizibwa mu 1946 yagamba nti: “Nkola kyonna kye nsobola okulaba nti sisubwa kwogera okukwata ku kubatizibwa era nzisaayo nnyo omwoyo, nga gy’obeera nti ndi omu ku abo abagenda okubatizibwa.” Lwaki akola bw’atyo? Yannyonnyola nti, “Okukijjukira bulijjo nti nneewaayo eri Yakuwa kinnyambye nnyo okusigala nga ndi mwesigwa.” Awatali kubuusabuusa, okkiriziganya n’ebigambo ebyo. Bw’okijjukira nti wasuubiza Yakuwa nti ojja kumuweereza obulamu bwo bwonna, kikukubiriza okugumiikiriza. (Soma Omubuulizi 5:4.) Mu butuufu, okufumiitiriza ku kwewaayo kwo kirina kye kijja okukola ku ngeri gy’otunuuliramu omulimu gw’okubuulira awamu n’embeera endala zonna ez’obulamu bwo—nga mw’otwalidde n’eby’okwesanyusaamu. Ekyo omutume Pawulo yakikaatiriza bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu kiseera kye. Yabagamba nti: “Obanga mulya, nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”​—1 Abakkolinso 10:31.

5. Eby’Abaleevi 22:18-20 watuyamba watya okutegeera okulabula okuli mu Abaruumi 12:1?

5 Buli ky’okola kirina akakwate n’enkolagana yo ne Yakuwa. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, Pawulo yakozesa ebigambo eby’amakulu okusobola okuyamba bakkiriza banne okutegeera ensonga eyo. Yabagamba nti: ‘Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi.’ (Abaruumi 12:1) Omubiri gwo guzingiramu ebirowoozo byo, omutima gwo, n’amaanyi go. Bino byonna obikozesa mu kuweereza Katonda. (Makko 12:30) Okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna Pawulo akuyita ssaddaaka. Ekigambo “ssaddaaka” kirimu okulabula okuteeyoleka butereevu. Mu Mateeka ga Musa, Katonda teyakkirizanga ssaddaaka eyalingako obulemu. (Eby’Abaleevi 22:18-20) Mu ngeri y’emu, singa ssaddaaka ey’eby’omwoyo Omukristaayo gy’awaayo ebaako obulema obw’engeri yonna, Katonda tagikkiriza. Naye ekyo kiyinza kubaawo kitya?

6, 7. Omukristaayo ayinza atya okwonoona omubiri gwe, era kiki ekiyinza okuvaamu?

6 Pawulo yakubiriza bw’ati Abakristaayo b’e Rooma: “Temuwayo emibiri gyammwe, eri ekibi.” Ate era yabagamba nti, ‘mufiise ebikolwa by’omubiri.’ (Abaruumi 6:12-14; 8:13) Nga tannayogera bigambo ebyo, yali ayogedde ku bimu ku ‘bikolwa eby’omubiri.’ Abantu abatatuukiridde boogerwako bwe bati: ‘Akamwa kaabwe kajjudde okukolima.’ ‘Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi.’ “Tebatya Katonda.” (Abaruumi 3:13-18) Omukristaayo ayinza okwonoona omubiri gwe singa akozesa ‘ebitundu bye,’ eby’omubiri okwenyigira mu bikolwa ebibi ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako, singa Omukristaayo asalawo okulaba ebifaananyi eby’obuseegu oba ebyo ebirimu ettemu, aba ayonoona omubiri gwe. Buli kintu ky’akola mu kusinza Yakuwa kiba kifuuse ssaddaaka etali ntukuvu era etasiimibwa Katonda. (Ekyamateeka 15:21; 1 Peetero 1:14-16; 2 Peetero 3:11) Omuntu bw’asalawo okwesanyusaamu mu ngeri etasaana ebivaamu tebiba birungi n’akamu.

7 Kya lwatu, eby’okwesanyusaamu Omukristaayo by’aba alonzeewo biyinza okubaako ekirungi oba ekibi kye bimukolako. N’olwekyo, tusaanidde okulonda eby’okwesanyusaamu ebinaatusobozesa okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda so si ebyo ebinaagyonoona. Kati ka twogere ku ngeri gye tuyinza okumanyaamu eby’okwesanyusaamu ebirungi n’ebitali birungi.

‘MUKYAWE EKIBI’

8, 9. (a) Eby’okwesanyusaamu biyinza kuteekebwa mu biti ki ebibiri? (b) Bya kwesanyusaamu ki bye tulina okwewalira ddala, era lwaki?

8 Okutwalira awamu, eby’okwesanyusaamu biyinza okuteekebwa mu biti bibiri. Ekimu kirimu eby’okwesanyusaamu Abakristaayo bye balina okwewalira ddala, ate ekirala kirimu eby’okwesanyusaamu Abakristaayo bye bayinza okukkiriza oba okugaana. Ka tusooke twekenneenye ekiti ekisooka​—eby’okwesanyusaamu Abakristaayo bye balina okwewalira ddala.

9 Nga bwe twalaba mu Ssuula 1, eby’okwesanyusaamu ebimu bibaamu ebintu Bayibuli by’evumirira. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mikutu gya Intaneeti, firimu, programu za ttivi, n’ennyimba, ebikubiriza ebikolwa eby’ettemu, eby’obusamize, eby’obugwenyufu, awamu n’empisa endala embi. Okuva bwe kiri nti eby’okwesanyusaamu ng’ebyo ebibi biwa ekifaananyi nti ebikolwa ng’ebyo si bibi, Abakristaayo ab’amazima basaanidde okubyewala. (Ebikolwa 15:28, 29; 1 Abakkolinso 6:9, 10; Okubikkulirwa 21:8) Bwe weewala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo ebitali birungi, oba olaga Yakuwa nti ‘okyayira ddala ekibi,’ era nti ‘weewalira ddala ebibi.’ Bw’okola bw’otyo, oba olina ‘okukkiriza okutaliimu bukuusa.’​—Abaruumi 12:9; Zabbuli 34:14; 1 Timoseewo 1:5.

10. Ndowooza ki ekwata ku by’okwesanyusaamu ey’akabi ennyo, era lwaki tusaanidde okugyewala?

10 Kyokka, abamu bayinza okulowooza nti si kibi okulaba firimu oba emizannyo ebirimu eby’obugwenyufu. Bayinza okugamba nti, ‘Nsobola okulaba ebintu ng’ebyo mu firimu oba ku ttivi, naye siyinza kubikola.’ Okwo kuba kwerimba era endowooza ng’eyo ya kabi nnyo. (Soma Yeremiya 17:9.) Bwe kiba nti tunyumirwa okulaba ebyo Yakuwa by’avumirira, ddala tuba ‘tukyawa ekibi’? Singa tulaba, tusoma, oba ne tuwuliriza ebintu ng’ebyo entakera, omuntu waffe ow’omunda ajja kwonooneka. (Zabbuli 119:70; 1 Timoseewo 4:1, 2) Ate era bwe twemanyiiza okulaba ebintu ng’ebyo, tuyinza n’okubikola oba okubuusa amaaso ebintu ebibi abalala bye bakola.

11. Kyeyolese kitya nti ebyo ebiri mu Abaggalatiya 6:7 bituufu ku bikwata ku by’okwesanyusaamu?

11 Mu butuufu, Abakristaayo abamu beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu olw’okuba baba beemanyiizizza okubiraba. Bamala kugwa mu bizibu ne balyoka bakitegeera nti ‘ekyo omuntu ky’asiga era ky’akungula.’ (Abaggalatiya 6:7) Naye ebizibu ng’ebyo biyinza okwewalibwa. Singa osiga ebintu ebirungi mu birowoozo byo, ojja kukungula birungi.​—Laba akasanduuko “ Bya Kwesanyusaamu bya Ngeri Ki Bye Nsaanidde Okulondawo?” ku lupapula 67.

OKUSALAWO NG’OSINZIIRA KU MISINGI GYA BAYIBULI

12. Abaggalatiya 6:5 lulina kakwate ki n’eby’okwesanyusaamu, era bulagirizi ki bwe tuweebwa obukwata ku ebyo bye tulina okwesalirawo ffe kennyini?

12 Kati ka twogere ku kiti eky’okubiri​—eby’okwesanyusaamu ebibaamu ebintu Bayibuli by’etegamba nti birungi oba nti bibi. Buli Mukristaayo asaanidde okwesalirawo ekyo ky’alaba nga kye kisaanira bw’aba alondawo eby’okwesanyusaamu ebiri mu ttuluba eryo. (Soma Abaggalatiya 6:5.) Kyokka era ne bwe tuba tulondawo eby’okwesanyusaamu eby’engeri eyo, tulina obulagirizi obusobola okutuyamba. Bayibuli erimu emisingi egituyamba okumanya endowooza ya Yakuwa. Bwe tussaayo omwoyo ku misingi ng’egyo, tujja kusobola okutegeera ebyo ‘Yakuwa by’ayagala bwe biri,’ mu mbeera zonna, nga mw’otwalidde n’eby’okwesanyusaamu bye tulondawo.​—Abeefeso 5:17.

13. Kiki ekinaatuyamba okwewala eby’okwesanyusaamu ebiyinza okunyiiza Yakuwa?

13 Kyokka, obusobozi bw’Abakristaayo obw’okutegeera tebuli ku kigero kye kimu. (Abafiripi 1:9) Ate era Abakristaayo bakimanyi nti bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, banyumirwa ebintu bya njawulo. N’olwekyo, tekisuubirwa nti Abakristaayo bonna bajja kusalawo mu ngeri y’emu. Wadde kiri kityo, gye tunaakoma okulowooza n’okufumiitiriza ku misingi gya Katonda, gye tujja okukoma okwewala eby’okwesanyusaamu eby’engeri yonna ebiyinza okunyiiza Yakuwa.​—Zabbuli 119:11, 129; 1 Peetero 2:16.

14. (a) Nsonga ki gye tusaanidde okulowoozaako nga tulondawo eby’okwesanyusaamu? (b) Tuyinza tutya okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe?

14 Bw’oba olondawo eby’okwesanyusaamu, waliwo ensonga endala enkulu gy’osaanidde okulowoozaako: ebiseera byo. Wadde ng’eby’okwesanyusaamu by’olondawo byoleka ebyo by’otwala okuba nga bisaanira, ekiseera ky’omala ku bintu ng’ebyo kiraga ekyo ky’otwala okuba nga kye kisinga obukulu mu bulamu bwo. Kya lwatu, ebintu eby’eby’omwoyo bye bisinga okuba ebikulu mu bulamu bw’Omukristaayo. (Soma Matayo 6:33.) Kati olwo kiki ky’oyinza okukola okusobola okukakasa nti okulembeza Obwakabaka mu bulamu bwo? Omutume Pawulo yagamba nti: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.” (Abeefeso 5:15, 16) Mazima ddala, singa ossaawo ekkomo ku biseera by’omala nga weesanyusaamu, kijja kukuyamba okufuna ebiseera okukola ebintu ‘ebisinga obukulu’​—ebintu ebikuganyula mu by’omwoyo.​—Abafiripi 1:10.

15. Lwaki kya magezi okwegendereza ennyo nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

15 Ate era kitwetaagisa okwegendereza ennyo nga tulondawo eby’okwesanyusaamu. Kino kitegeeza ki? Lowooza nate ku kyokulabirako eky’ekibala. Okusobola okwewala okulya ekitundu ekivundu mu butali bugenderevu, tosalako awo wokka awavundu wabula osala ekitundu kineneko. Mu ngeri y’emu, kya magezi okwegendereza ennyo nga tulondawo eby’okwesanyusaamu. Omukristaayo ow’amagezi teyeewala bya kwesanyusaamu ebyo byokka ebimanyiddwa nti bimenya emisingi gya Bayibuli, naye era n’ebyo by’ateekakasa, oba ebyo ebirabika ng’ebisaana naye nga mu ngeri emu oba endala biyinza okwonoona embeera ye ey’eby’omwoyo. (Engero 4:25-27) Singa onywerera ku kubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda kijja kukuyamba okwewala eby’okwesanyusaamu ng’ebyo.

“EBIRONGOOFU BYONNA”

Bwe tugoberera emisingi gya Katonda nga tulina eby’okwesanyusaamu bye tulondawo kiba kya bukuumi gye tuli mu by’omwoyo

16. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tulina endowooza ya Yakuwa ku nsonga ezikwata ku mpisa? (b) Okukolera ku misingi gya Bayibuli kiyinza kitya okufuuka ekitundu ky’obulamu bwo?

16 Bwe baba balondawo eby’okwesanyusaamu, Abakristaayo ab’amazima okusookera ddala bafaayo nnyo okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekyo. Bayibuli eraga endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu, ne ku mitindo gye. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sulemaani awa olukalala lw’ebintu ebiwerako Yakuwa by’akyawa, gamba nga, ‘olulimi olulimba, emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango, omutima ogugunja enkwe, ebigere ebidduka embiro okukola ebibi.’ (Engero 6:16-19) Endowooza ya Yakuwa yandikutte etya ku ndowooza yo? Omuwandiisi wa zabbuli atukubiriza nti: “Mmwe abaagala Yakuwa mukyawe ebibi.” (Zabbuli 97:10) Eby’okwesanyusaamu by’olondawo bisaanidde okulaga nti okyayira ddala ebyo Yakuwa by’akyawa. (Abaggalatiya 5:19-21) Ate era kijjukire nti ebintu ebiraga ekyo ddala ky’oli, by’ebyo by’okola mu kyama so si mu lujjudde. (Zabbuli 11:4; 16:8) N’olwekyo, bw’oba nga ddala oyagala okukiraga nti olina endowooza ya Yakuwa ku nsonga ezikwata ku mpisa, ojja kusalangawo ng’osinziira ku misingi egiri mu Bayibuli. Okukola ekyo kijja kufuuka kitundu kya bulamu bwo.​—2 Abakkolinso 3:18.

17. Nga tetunnalondawo bya kwesanyusaamu, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

17 Kiki ekirala ky’oyinza okukola okusobola okukakasa nti weeyisa mu ngeri etuukana n’endowooza ya Yakuwa ng’olondawo eby’okwesanyusaamu? Lowooza ku kibuuzo kino: ‘Kino kinankolako ki era kinaakwata kitya ku nkolagana yange ne Katonda?’ Ng’ekyokulabirako, bw’oba olina firimu gy’oyagala okulaba, weebuuze, ‘Ebiri mu firimu eno binaakola ki ku muntu wange ow’omunda?’ Ka twogere ku misingi egirina akakwate n’ensonga eyo.

18, 19. (a) Omusingi oguli mu Abafiripi 4:8 guyinza gutya okutuyamba okumanya obanga okwesanyusaamu kwe tulondawo kusaanira? (b) Misingi ki emirala egiyinza okukuyamba okulondawo eby’okwesanyusaamu? (Laba obugambo obuli wansi.)

18 Omusingi omukulu gusangibwa mu Abafiripi 4:8, awagamba nti: “Ebintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.” Kyo kituufu nti Pawulo yali tayogera ku bya kwesanyusaamu, naye yali ayogera ku kufumiitiriza okw’omu mutima, okusaanidde okubeera ku bintu ebisanyusa Katonda. (Zabbuli 19:14) Wadde kiri kityo, omusingi oguli mu bigambo bya Pawulo ebyo guyinza n’okukozesebwa ku nsonga ezikwata ku by’okwesanyusaamu. Mu ngeri ki?

19 Weebuuze, ‘Ddala firimu, emizannyo egy’oku kompyuta, ennyimba, oba eby’okwesanyusaamu ebirala bye nnondawo bijjuza ebirowoozo byange ebintu “ebirongoofu”?’ Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okulaba firimu emu, biki by’osigala ng’olowoozaako? Bwe biba nga bisanyusa, birongoofu, era nga bizimba, awo ng’omanya nti okwesanyusaamu okwo kubadde kusaanira. Kyokka bwe kiba nti firimu gy’olabye ekuleetera okulowooza ku bintu ebitali birongoofu, ekyo kiba kiraga nti okwesanyusaamu okwo kubadde tekusaanira era kuyinza n’okuba okw’akabi gy’oli. (Matayo 12:33; Makko 7:20-23) Lwaki? Kubanga okulowooza ku bintu ebitali biyonjo kitabangula emirembe gy’olina mu mutima, kyonoona omuntu wo ow’omunda, era kisobola okwonoona enkolagana yo ne Katonda. (Abeefeso 5:5; 1 Timoseewo 1:5, 19) Okuva bwe kiri nti okwesanyusaamu okw’engeri ng’eyo kuyinza okubeera okw’akabi gy’oli, beera mumalirivu okukwewala. * (Abaruumi 12:2) Beera ng’omuwandiisi wa zabbuli eyasaba Yakuwa nti: “Wunjula amaaso gange galeme kutunuulira bitagasa.”​—Zabbuli 119:37.

NOONYA EBIGASA ABALALA

20, 21. 1 Abakkolinso 10:23, 24 zirina kakwate ki n’okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi?

20 Pawulo yayogera ku musingi omukulu ennyo gwe tulina okulowoozaako nga tusalawo ebyo ebitukwatako. Yagamba nti: “Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bizimba. Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye ebigasa abalala.” (1 Abakkolinso 10:23, 24) Omusingi ogwo gukwata gutya ku kulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi? Weetaaga okwebuuza nti, ‘Eby’okwesanyusaamu bye nnondawo binaakwata bitya ku balala?’

21 Omuntu wo ow’omunda ayinza obutakulumiriza nga weesanyusaamu mu ngeri emu era ng’okitwala nti okwesanyusaamu okw’engeri eyo ‘kukkirizibwa,’ oba kusaanira. Kyokka, singa okitegeera nti omuntu ow’omunda owa bakkiriza banno abaleetera okuwulira nti okwesanyusaamu okw’engeri ng’eyo si kulungi, oyinza okusalawo okukuleka. Lwaki? Kubanga toyagala ‘kukola kibi ku baganda bo’—oba ‘okwonoona eri Kristo,’ nga Pawulo bwe yagamba—ng’okifuula kizibu nnyo eri bakkiriza banno okubeera abeesigwa eri Katonda. Osaanidde okulowooza ku kubuulirira kuno okugamba nti: “Temwesittazanga [balala].” (1 Abakkolinso 8:12; 10:32) Leero, Abakristaayo ab’amazima bagoberera okubuulirira kwa Pawulo okwoleka okufaayo ku balala nga beewala eby’okwesanyusaamu ebiyinza okuba nga ‘bikkirizibwa’ naye nga ‘tebigasa.’​—Abaruumi 14:1; 15:1.

22. Lwaki Abakristaayo basaanidde okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala ezaawukana ku zaabwe?

22 Kyokka nno, waliwo engeri endala gye tuyinza okulaga nti tunoonya ebyo ebigasa abalala. Omukristaayo alina omuntu ow’omunda amukugira ennyo tasaanidde kulowooza nti bonna abali mu kibiina Ekikristaayo basaanidde okubeera n’endowooza ng’eyiye ku bikwata ku by’okwesanyusaamu ye by’atwala nti bye birungi. Singa aba n’endowooza bw’etyo, aba ng’omuvuzi w’emmotoka alowooza nti abavuzi abalala bonna abakozesa oluguudo lw’aliko basaanidde okuvugira ku sipiidi ye gy’avugirako. Endowooza ng’eyo si ya magezi. Okwagala okw’Ekikristaayo kujja kuleetera oyo alina omuntu ow’omunda amukugira ennyo okussa ekitiibwa mu bakkiriza banne abalina endowooza ezaawukana ku yiye ku by’okwesanyusaamu, kasita baba nga tebamenye misingi egiri mu Bayibuli. Bwakola bw’atyo, aba alese ‘obutali bukakanyavu bwe okweyoleka eri abantu bonna.’​—Abafiripi 4:5; Omubuulizi 7:16.

23. Oyinza otya okukakasa nti olondawo eby’okwesanyusaamu ebirungi?

23 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, oyinza otya okulondawo eby’okwesanyusaamu ebirungi? Weewale eby’okwesanyusaamu eby’engeri yonna ebirimu ebintu Bayibuli by’egamba nti bibi. Goberera emisingi egiri mu Bayibuli egiyinza okutuyamba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu ebitayogerwako butereevu mu Bayibuli. Weewale eby’okwesanyusaamu ebyonoona omuntu wo ow’omunda, era beera mwetegefu okwerekereza eby’okwesanyusaamu ebiyinza okwonoona omuntu ow’omunda ow’abalala, naddala owa bakkiriza bano. Bw’onookola bw’otyo, kijja kuweesa Katonda ekitiibwa era kikusobozese ggwe n’ab’omu maka go okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.

^ lup. 19 Emisingi emirala egikwata ku by’okwesanyusaamu giri mu Engero 3:31; 13:20; Abeefeso 5:3, 4; ne Abakkolosaayi 3:5, 8, 20.