Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 7

Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?

Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?

“Ggwe nsibuko y’obulamu.”​—ZABBULI 36:9.

1, 2. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo ekiva eri Katonda, era lwaki kya muwendo nnyo?

KITAFFE ow’omu ggulu yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo​—yatuwa obulamu era yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze. (Olubereberye 1:27) Ekirabo ekyo kitusobozesa okutegeera engeri emisingi gya Bayibuli gye giyinza okutuganyulamu. Bwe tugikolerako, tusobola okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo abaagala Yakuwa era ‘abatendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’​—Abebbulaniya 5:14.

2 Kikulu nnyo leero okutegeera emisingi egiri mu Bayibuli, kubanga ensi ezibuwadde nnyo ate nga n’amateeka agaliwo tegayinza kukola mu mbeera zonna. Ebiriwo mu by’enzijanjaba bisobola okutuyamba okutegeera obulungi ensonga eno, naddala ku bikwata ku musaayi n’enkozesa yaagwo. Eno nsonga nkulu nnyo eri abo bonna abaagala okugondera Yakuwa. Kyokka, bwe tutegeera emisingi gya Bayibuli egikwata ku nsonga eno, tujja kusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi eneetusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi era n’okwekuumiranga mu kwagala kwa Katonda. (Engero 2:6-11) Lowooza ku gimu ku misingi gino.

OBULAMU N’OMUSAAYI BITUKUVU

3, 4. Ddi Ebyawandiikibwa lwe byasooka okulaga nti omusaayi mutukuvu, era kino kyesigamiziddwa ku misingi ki?

3 Amangu ddala nga Kayini amaze okutta Abbeeri, Yakuwa yalaga akakwate akaaliwo wakati w’obulamu n’omusaayi, awamu n’obutukuvu bwabyo. Katonda yagamba Kayini nti: “Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.” (Olubereberye 4:10) Okusinziira ku Yakuwa, omusaayi gwa Abbeeri gwali gukiikirira obulamu bwa Abbeeri, obwali busaanyiziddwawo. N’olwekyo, kiyinza okugambibwa nti omusaayi gwa Abbeeri gwakaabirira Katonda awoolere eggwanga.​—Abebbulaniya 12:24.

4 Oluvannyuma lw’amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, Katonda yakkiriza abantu okulya ennyama y’ebisolo naye teyabakkiriza kulya musaayi. Yagamba nti: “Naye temulyanga ennyama erimu obulamu bwayo, nga gwe musaayi gwayo. Ate era, omusaayi gwammwe bwe gunaayiibwanga nnaavunaananga oyo anaabanga aguyiye oba ekyo ekinaabanga kiguyiye.” (Olubereberye 9:4, 5) Ekiragiro kino kikwata ku bazzukulu ba Nuuwa bonna nga naffe mw’otutwalidde. Kyongera okukkaatiriza ekyo Katonda kye yali ategeeza bwe yagamba Kayini nti: obulamu bw’ebisolo byonna bukiikirirwa musaayi. Ekiragiro ekyo era kiraga nti Yakuwa, Ensibuko y’obulamu, ajja kuvunaana abantu bonna abatassa kitiibwa mu bulamu n’omusaayi.​—Zabbuli 36:9.

5, 6. Amateeka ga Musa gaalaga gatya nti omusaayi mutukuvu era nti gwa muwendo? (Laba n’akasanduuko akali  ku lupapula 78.)

5 Amateeka ga Musa nago gaalaga nti omusaayi gukiikirira obulamu era nti obulamu butukuvu. Eby’Abaleevi 17:10, 11 wagamba nti: “Omuntu yenna . . . bw’anaalyanga ku musaayi ogw’engeri yonna nja kumwesamba era nja kumutta. Kubanga obulamu buli mu musaayi, era ngubawadde okutangirira obulamu bwammwe ku kyoto, kubanga omusaayi gwe gutangirira ebibi olw’obulamu obugulimu.” *​—Laba akasanduuko, “ Omusaayi Gutangirira Ebibi,” ku lupapula 76.

6 Omusaayi gw’ensolo eyasalibwanga bwe gwabanga tegugenda kukozesebwa ku kyoto, gwalinanga okuyiibwa ku ttaka. Bwe kityo, mu ngeri ey’akabonero, obulamu bwazzibwangayo eri Nnyini bwo. (Ekyamateeka 12:16; Ezeekyeri 18:4) Kyokka weetegereze nti Abayisirayiri tebaalina kumaliramu ddala musaayi gwonna mu nnyama gye baalinga bagenda okulya. Ensolo bwe yasalibwanga omusaayi ne gufuluma, kyalaga nti Nannyini Bulamu assiddwamu ekitiibwa ekimugwanira era Omuyisirayiri yagiryanga ng’alina omuntu ow’omunda omulungi.

7. Dawudi yalaga atya nti omusaayi yali agutwala nga mutukuvu?

7 Dawudi, ‘omusajja eyali asanyusa omutima gwa Katonda,’ yali ategeera bulungi emisingi egiri mu tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. (Ebikolwa 13:22) Lumu ennyonta bwe yali emuluma, abasajja be basatu baawaguza ne bayingira mu nkambi y’abalabe baabwe, ne basena amazzi mu luzzi ne bagamutwalira. Dawudi yakola ki? Yagamba nti, “Ddala nnywe omusaayi gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi nga bagenda okugakima?” Okusinziira ku Dawudi, okunywa amazzi ago kyandibadde ng’okunywa omusaayi gw’abasajja be. N’olwekyo, wadde ng’ennyonta yali emuluma, ‘yagafuka eri Yakuwa.’​—2 Samwiri 23:15-17.

8, 9. Katonda yakyusa mu ngeri gy’atwalamu obulamu n’omusaayi ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo? Nnyonnyola.

8 Nga wayiseewo emyaka nga 2,400 nga Nuuwa amaze okuweebwa ekiragiro ekikwata ku musaayi, era nga waakayitawo emyaka nga 1,500 ng’endagaano y’Amateeka emaze okukolebwa, Yakuwa yaluŋŋamya akakiiko akafuzi ak’ekibiina Ekikristaayo ekyasooka okuwandiika ebigambo bino: “Omwoyo omutukuvu naffe, tusazeewo obutayongera kubatikka mugugu mulala, okuggyako ebintu bino ebyetaagisa: okwewalanga ebintu ebiweereddwayo eri ebifaananyi, omusaayi, ebitugiddwa, n’ebikolwa eby’obugwenyufu.”​—Ebikolwa 15:28, 29.

9 Kya lwatu, akakiiko akafuzi akaasooka kaakitegeera nti omusaayi mutukuvu era nti okugukozesa obubi kibi nnyo ng’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba ng’okusinza ebifaananyi. Abakristaayo ab’amazima nabo bwe batyo bwe bakkiriza. Era, olw’okuba bakolera ku misingi egiri mu Bayibuli, basanyusa Yakuwa nga balina bye basalawo ebikwata ku nkozesa y’omusaayi.

ENKOZESA Y’OMUSAAYI MU KUJJANJABA

Nnyinza ntya okunnyonnyola omusawo ekyo kye nsazeewo ku nkozesa y’obutundutundu bw’omusaayi?

10, 11. (a) Abajulirwa ba Yakuwa batwala batya okuteekebwamu omusaayi oba ebitundu byagwo ebina ebikulu? (b) Nkola ki ezikwata ku musaayi Abakristaayo mwe bayinza okuba n’endowooza ez’enjawulo?

10 Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti ‘okwewala omusaayi’ kitegeeza obutakkiriza kuteekebwamu musaayi n’obutagugabira balala oba okutereka ogwabwe gwennyini gusobole okubateekebwamu oluvannyuma. Olw’okuba bassa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda, tebakkiriza bitundu bino ebina ebikulu eby’omusaayi: obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets ne plasma. 

11 Leero, ebitundu by’omusaayi ebyo ebina ebikulu bisobola okuggibwamu obutundutundu obulala ne bukozesebwa mu ngeri ezitali zimu. Omukristaayo yandikkiriza obutundutundu ng’obwo? Yandibututte ‘ng’omusaayi’? Buli omu ateekwa okwesalirawo ku nsonga eno. Bwe kityo bwe kiri ne ku nkola endala ez’obujjanjabi gamba ng’eyo ey’okuggya obucaafu mu musaayi (hemodialysis), enkola ey’okusaabulula omusaayi (hemodilution), n’enkola eyamba omuntu obutafiirwa musaayi mungi (cell salvage), ezizingiramu okukozesa omusaayi gw’omulwadde​.—Laba Ebyongerezeddwako ku lupapula 215-218.

12. Twanditutte tutya ensonga ze tulina okwesalirawo kinnoomu?

12 Tugambe nti ensonga ze tulina okwesalirawo kinnoomu Yakuwa tazitwala ng’enkulu? Si bwe kiri, kubanga afaayo nnyo ku bye tulowooza ne bye tukola. (Soma Engero 17:3; 24:12.) N’olwekyo, bwe tumala okusaba Yakuwa okutuwa obulagirizi era n’okunoonyereza ku ddagala erimu oba ku bujjanjabi obw’ekika ekimu, tusaanidde okugoberera ekyo omuntu waffe ow’omunda ky’agamba. (Abaruumi 14:2, 22, 23) Kya lwatu, abalala tebalina kutuwaliriza kugoberera omuntu waabwe ow’omunda, era tetusaanidde kubabuuza nti, “Kiki kye wandikoze singa gw’obadde mu mbeera gye ndimu?” Mu nsonga ng’ezo, buli Mukristaayo asaanidde ‘okwetikka obuvunaanyizibwa bwe.’ *​—Abaggalatiya 6:5; Abaruumi 14:12; laba akasanduuko, “ Omusaayi Ngutwala nga Mutukuvu?” ku lupapula 81.

AMATEEKA GA YAKUWA GOOLEKA OKWAGALA KWE

13. Amateeka n’emisingi gya Yakuwa biraga ki? Waayo ekyokulabirako.

13 Amateeka n’emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda biraga nti Yakuwa ye Muwi w’Amateeka omugezi era Taata ayagala abaana be era abafaako ennyo. (Zabbuli 19:7-11) Ekiragiro ‘eky’okwewala omusaayi’ kitukuuma ne tutafuna bizibu biva mu kuteekebwamu musaayi. (Ebikolwa 15:20) Mu butuufu, abasawo bangi bagamba nti okulongoosa omuntu nga tateekeddwamu musaayi nkola “ey’obujjanjabi eri ku mutindo ogwa waggulu ennyo” mu by’ekisawo ebiriwo leero. Eri Abakristaayo ab’amazima, ebyo bikakasa bukakasa nti Yakuwa alina amagezi agatenkanika era nti atwagala nnyo.​—Soma Isaaya 55:9; Yokaana 14:21, 23.

14, 15. (a) Okwagala Katonda kw’alina eri abantu be kweyolekera mu mateeka ki? (b) Oyinza otya okussa mu nkola emisingi egyesigamiziddwako ebiragiro ebyo?

14 Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaalaga nti yali abafaako nnyo. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Abayisirayiri baalina ebintu bingi bye baakoleranga waggulu ku nnyumba zaabwe, yabalagira okuteekanga emiziziko waggulu ku nnyumba zaabwe okusobola okuziyiza obubenje. (Ekyamateeka 22:8; 1 Samwiri 9:25, 26; Nekkemiya 8:16; Ebikolwa 10:9) Katonda era yalagira nti ente ezitomera zisibibwenga. (Okuva 21:28, 29) Omuntu okubuusa amaaso ebiragiro ebyo kyali kiraga nti tassa kitiibwa ku bulamu bw’abalala era ekyo kyali kiyinza okumuviirako okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.

15 Oyinza otya okussa mu nkola emisingi egyesigamiziddwako ebiragiro ebyo? Lowooza ku mbeera y’ekidduka kyo, engeri gy’okivugamu, ebisolo byo, amaka go, ekifo w’okolera, n’engeri gye weesanyusaamu. Mu nsi ezimu, obubenje bwe businga okuviirako abavubuka okufa, nga kino kitera okubaawo olw’okuba bessa mu mbeera ez’akabi. Wadde kiri kityo, abavubuka abaagala okusigala mu kwagala kwa Katonda obulamu babutwala nga bwa muwendo era tebeesanyusa nga bakola ebintu ebiyinza okuba eby’akabi eri obulamu bwabwe. Tebaba na ndowooza nti tebayinza kutuukibwako kabi. Wabula beesanyusaamu naye ng’ate beegendereza ebintu ebisobola okubasuula mu mitawaana.​—Omubuulizi 11:9, 10.

16. Musingi ki oguli mu Bayibuli ogukwata ku kuggyamu embuto? (Laba n’obugambo obwa wansi.)

16 N’obulamu bw’omwana atannazaalibwa bwa muwendo mu maaso ga Katonda. Mu Isirayiri ey’edda, omuntu bwe yatuusanga akabi ku mukazi ali olubuto, ne kiviirako omukazi oyo oba omwana we okufa, oyo eyabanga akoze ekintu ekyo Katonda yamutwalanga ng’omussi, era yalinanga okusasula “obulamu olw’obulamu.” * (Soma Okuva 21:22, 23.) Kati kubamu akafaananyi ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu bw’alaba abantu abangi abaggyamu embuto buli mwaka. Bangi baggyamu embuto beewale obuvunaanyizibwa obw’okukuza abaana oba olw’okwagala okweyongera okwenyigira mu bikolwa obw’obugwenyufu nga tewali kibataataganya.

17. Oyinza otya okugumya omuntu eyaggyamu olubuto nga tannayiga mazima?

17 Naye ate kiri kitya ku mukazi eyaggyamu olubuto nga tannayiga mazima ga Bayibuli? Yakuwa tayinza kumusonyiwa? Si bwe kiri! Mu butuufu, omuntu eyeenenya mu bwesimbu asobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kumusonyiwa ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. (Zabbuli 103:8-14; Abeefeso 1:7) Yesu Kristo yagamba nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi, basobole okwenenya.”​—Lukka 5:32.

WEEWALE OBUKYAYI!

18. Kiki Ekigambo kya Katonda kye kiraga ekiviirako omuntu okuyiwa omusaayi?

18 Yakuwa takoma ku kutugaana kutuusa kabi ku balala, naye era ayagala tuggye mu mitima gyaffe obukyayi, kubanga buyinza okutuviirako okuyiwa omusaayi. Omutume Yokaana yagamba nti: “Buli atayagala muganda we aba mutemu.” (1 Yokaana 3:15) Omuntu ng’oyo takoma ku kuba nti akyawa muganda we, naye era aba amwagaliza kufa. Obukyayi bw’aba alina eri muganda we bweyolekera mu bintu ng’okumuwaayiriza oba okumwogerako eby’obulimba ekiyinza okuviirako muganda we okubonerezebwa. (Eby’Abaleevi 19:16; Ekyamateeka 19:18-21; Matayo 5:22) N’olwekyo kikulu nnyo okufuba okuggya mu mitima gyaffe obukyayi bwonna obuyinza okubaamu.​—Yakobo 1:14, 15; 4:1-3.

19. Omuntu agoberera emisingi egiri mu Bayibuli atwala atya ebyawandiikibwa gamba nga Zabbuli 11:5 ne Abafiripi 4:8, 9?

19 Abo abatwala obulamu nga bwa muwendo nga Yakuwa bw’abutwala, era abaagala okwekuumira mu kwagala kwe, beewala ebikolwa eby’obukambwe. Zabbuli 11:5 lugamba nti: “[Yakuwa] Akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.” Ekyawandiikibwa ekyo tekyogera bwogezi ku ekyo Katonda ky’atayagala, naye era kirimu obulagirizi obukwata ku ngeri gye tulina okweyisaamu. Kikubiriza abo bonna abaagala Katonda okwewala okwesanyusaamu okw’engeri yonna okulimu ebikolwa eby’obukambwe. N’ebigambo Yakuwa ye “Katonda ow’emirembe” bikubiriza abaweereza be okujjuza ebirowoozo byabwe ebintu ebyagalibwa, ebirungi, n’ebitenderezebwa. Ebintu ebyo bisobozesa emirembe okubaawo.​—Soma Abafiripi 4:8, 9.

WEEWALE EBIBIINA EBIVUNAANIBWA OMUSANGO GW’OKUYIWA OMUSAAYI

20-22. Abakristaayo ensi bagitwala batya, era lwaki?

20 Mu maaso ga Katonda, ensi ya Sitaani yonna evunaanibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi. Enteekateeka zaayo ez’eby’obufuzi ezoogerwako mu Byawandiikibwa ng’ensolo enkambwe, zitirimbudde obukadde n’obukadde bw’abantu nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Yakuwa bangi. (Danyeri 8:3, 4, 20-22; Okubikkulirwa 13:1, 2, 7, 8) Nga bakolera wamu ne bannabyabufuzi, abasuubuzi ne bannasayansi baweesezza eby’okulwanyisa eby’akabi ennyo, era babifunyeemu ssente nnyingi nnyo. Mazima ddala tekyewuunyisa nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi”!​—1 Yokaana 5:19.

21 Olw’okuba abagoberezi ba Yesu “si ba nsi” era nga tebeenyigira mu bya bufuzi bw’ensi eno ne mu ntalo zaayo, beewala ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi. * (Yokaana 15:19; 17:16) Nga bakoppa Kristo, bwe bayigganyizibwa tebeesasuza. Wabula, balaga abalabe baabwe okwagala era babasabira.​—Matayo 5:44; Abaruumi 12:17-21.

22 N’ekisinga byonna, Abakristaayo ab’amazima beewala okuba n’akakwate ne “Babulooni Ekinene,” amadiini ag’obulimba gonna, era nga kye kisinga okuvunaanibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi. Bayibuli egamba nti ‘omusaayi gwa bannabbi, n’abatukuvu, n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu kyo.’ N’olwekyo, tukubirizibwa bwe tuti: “Mukifulumemu, abantu bange.”​—Okubikkulirwa 17:6; 18:2, 4, 24.

23. Kitegeeza ki okuva mu Babulooni Ekinene?

23 Okwekutula ku Babulooni Ekinene kizingiramu ebintu bingi so si kuggya buggya linnya lyaffe mu nkalala z’abagoberezi baabwe. Era kizingiramu n’okukyawa ebintu ebibi eddiini ez’obulimba bye zikola oba bye ziwagira—ebintu ng’obugwenyufu, okwenyigira mu by’obufuzi, n’okululunkanira eby’obugagga. (Soma Zabbuli 97:10; Okubikkulirwa 18:7, 9, 11-17) Ebintu ng’ebyo bitera okuvaamu okuyiwa omusaayi.

24, 25. Katonda asinziira ku ki okusaasira omuntu aliko omusango gw’okuyiwa omusaayi ayeennenyeza, era kino kitujjukiza nteekateeka ki eyaliwo mu biseera bya Bayibuli?

24 Nga tetunnayiga mazima, buli omu ku ffe alina engeri gye yali awagiramu enteekateeka ya Sitaani era bwe kityo n’aba ng’avunaanibwa omusango gw’okuyiwa omusaayi. Kyokka, olw’okuba twakyusa amakubo gaffe, ne tutandika okukkiririza mu kinunulo kya Kristo, era ne tuwaayo obulamu bwaffe eri Katonda, twafuna enkolagana ennungi ne Katonda era n’obukuumi mu by’omwoyo. (Ebikolwa 3:19) Obukuumi buno butujjukiza ebibuga ebyaddukirwangamu ebyogerwako mu Bayibuli.​—Okubala 35:11-15; Ekyamateeka 21:1-9.

25 Enteekateeka eyo yali etya? Omuyisirayiri bwe yattanga omuntu mu butanwa, yalinanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo. Abalamuzi abaalina ebisaanyizo bwe baamalanga okukakasa nti ddala yamutta mu butanwa, oyo eyali asse omuntu yalinanga okubeera mu kibuga ekyo okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa. Kati awo yali asobola okubeera mu kifo ekirala kyonna. Nga kino kikyoleka bulungi nnyo nti Katonda musaasizi era nti obulamu abutwala nga bwa muwendo! Ebibuga ebyo eby’edda bitujjukiza enteekateeka ya Katonda eriwo leero, eyeesigamiziddwa ku kinunulo kya Kristo, esobola okutukuuma ne tutattibwa olw’okumenya mu butanwa ebiragiro bya Katonda ebikwata ku butukuvu bw’omusaayi n’obulamu. Enteekateeka eyo ogisiima? Osobola otya okukiraga nti ogisiima? Engeri emu kwe kuyita abalala ne bakwegattako mu ‘kibuga eky’okuddukiramu,’ naddala kati ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ kinaatera okutandika.​—Matayo 24:21; 2 Abakkolinso 6:1, 2.

KIRAGE NTI OBULAMU OBUTWALA NGA BWA MUWENDO NG’OBUULIRA KU BWAKABAKA

26-28. Embeera gye tulimu leero efaanana etya n’eyo Ezeekyeri gye yalimu, era tuyinza tutya okwekuumira mu kwagala kwa Katonda?

26 Embeera abantu ba Katonda gye balimu leero etujjukiza eyo nnabbi Ezeekyeri gye yalimu. Yakuwa yamuwa omulimu gw’okulabula ennyumba ya Isirayiri. Katonda yamugamba nti: “Bw’owuliranga ekigambo ekiva mu kamwa kange, obawanga okulabula okuva gye ndi.” Ezeekyeri aba kulagajjalira mulimu ogwo, yandibadde avunaanibwa omusaayi gw’abo abattibwa Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa. (Ezeekyeri 33:7-9) Naye Ezeekyeri yali muwulize era teyaliiko musango gwa kuyiwa musaayi.

27 Leero, tuli mu kiseera ng’ensi ya Setaani yonna eneetera okuzikirizibwa. Bwe kityo, Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala ng’enkizo era ng’obuvunaanyizibwa okulangirira ‘olunaku lwa Katonda olw’okuwoolerako eggwanga,’ era n’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. (Isaaya 61:2; Matayo 24:14) Weenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno omukulu? Omutume Pawulo yatwala omulimu gw’okubuulira nga mukulu nnyo. Eyo ye nsonga lwaki yali asobola okugamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna, kubanga saalekayo kubabuulira kigendererwa kya Katonda.” (Ebikolwa 20:26, 27) Awatali kubuusabuusa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!

28 Kya lwatu, bwe tuba twagala okwekuumira mu kwagala kwa Yakuwa, tetulina kukoma ku kutunuulira bulamu na musaayi nga Yakuwa bw’abitunuulira, naye era kitwetaagisa n’okusigala nga tuli bayonjo oba nga tuli batukuvu mu maaso ge. Ekyo tujja kukiraba mu ssuula eddako.

^ lup. 5 Ku bikwata ku bigambo bya Katonda bino, “Obulamu buli mu musaayi,” magazini eyitibwa Scientific American egamba nti: “Wadde ng’ebigambo ebyo bikozesebwa mu ngeri ya kabonero, kye bigamba kituufu ddala: buli kika ky’akatoffaali k’omusaayi kyetaagisa obulamu okusobola okubaawo.”

^ lup. 12 Laba Awake! eya Agusito 2006, olupapula 3-12, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 16 Enkuluze nnyingi ezinnyonnyola ebigambo bya Bayibuli zigamba nti ebigambo ebiri mu Okuva 21:23 “tebiyinza kuba nga bikwata ku kabi akatuusibwa ku mukazi yekka.” Ate era weetegereze nti Bayibuli teyogera ku bukulu bwa mwana ali mu lubuto, ekiraga nti ekyo Yakuwa si ky’asinziirako okusala omusango.

^ lup. 70 Okusobola okumanya ebisingawo, laba ebyongerezeddwako ku lupapula 215-216.