Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 18

Beera Mukwano gwa Katonda Emirembe Gyonna!

Beera Mukwano gwa Katonda Emirembe Gyonna!

Kyetaagisa okufuba okukola omukwano; kyetaagisa okufuba okukuuma omukwano. Okufuba kwo okufuuka era n’okusigala mukwano gwa Katonda kujja kuweebwa emikisa. Yesu yagamba abaamukkiririzaamu: “Amazima galibafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Ekyo kitegeeza ki?

Osobola okufuna eddembe kati. Osobola okusumululwa okuva mu njigiriza ez’obulimba ezisaasaanyiziddwa Setaani. Osobola okusumululwa okuva mu butaba na ssuubi okubuutikidde obukadde n’obukadde bw’abantu abatamanyi Yakuwa. (Abaruumi 8:22) Mikwano gya Katonda basumuluddwa n’okuva mu ‘kutya okufa.’​—Abaebbulaniya 2:14, 15.

Osobola okufuna eddembe mu nsi ya Katonda empya. Nga ddembe lya kitalo ly’oyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso! Mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, tejja kubaayo ntalo, ndwadde, na bumenyi bw’amateeka. Tejja kubaayo bwavu na njala. Tejja kubaayo bukadde na kufa. Tejja kubaayo kutya okunyigirizibwa, na butali bwenkanya. Baibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “Oyanjuluza engalo zo n’okussa buli kintu ekiramu bye kyagala.”​—Zabbuli 145:16.

Mikwano gya Katonda bajja kubeerawo emirembe gyonna. Obulamu obutaggwaawo kirabo kya muwendo Katonda ky’ajja okuwa abo bonna abanoonya okubeera mikwano gye. (Abaruumi 6:23) Lowooza ku ebyo obulamu obutaggwaawo bye bunaategeeza gy’oli!

Ojja kuba n’ebiseera okukola ebintu bingi. Oboolyawo wandyagadde okuyiga okukuba ekivuga. Oba wandyagadde okuyiga okusiiga ebifaananyi oba okubajja. Oyinza okwagala okuyiga ku bisolo oba ebimera. Oboolyawo oyagala okutambulako olabe ensi ez’enjawulo n’abantu. Obulamu obutaggwaawo bujja kusobozesa ebintu bino byonna!

Ojja kuba n’ebiseera okukola emikwano mingi. Okubeerawo emirembe gyonna kujja kukusobozesa okumanya abantu abalala bangi abaafuuka mikwano gya Katonda. Ojja kumanya ttalanta zaabwe n’engeri zaabwe ennungi, era nabo bajja kubeera mikwano gyo. Ojja kubaagala, era nabo bajja kukwagala. (1 Abakkolinso 13:8) Obulamu obutaggwaawo bujja kukusobozesa okufuna ebiseera okukola omukwano na buli muntu yenna ku nsi! Ekisinga byonna, omukwano gwo ne Yakuwa gujja kweyongera okunywera ng’ebyasa by’emyaka bigenda byekulungulula. K’obeere mukwano gwa Katonda emirembe gyonna!