ESSOMO 4
Engeri gy’Oyinza Okuyigamu Ebikwata ku Katonda
Osobola okuyiga ebikwata ku Yakuwa ng’osoma Baibuli. Edda ennyo Katonda yalondayo abantu abamu okuwandiika bye yayogera. Ebiwandiiko ebyo biyitibwa Baibuli. Leero tuyiga ebikwata ku Katonda nga tusoma Baibuli. Olw’okuba Baibuli erimu ebigambo bya Yakuwa, oba obubaka bwe, era eyitibwa Ekigambo kya Katonda. Tuyinza okukkiriza Baibuli ky’egamba kubanga Yakuwa talimba. ‘Tekisoboka Katonda okulimba.’ (Abaebbulaniya 6:18) Ekigambo kya Katonda kya mazima.—Yokaana 17:17.
Baibuli kye kimu ku birabo ebisingayo okuba eby’omuwendo Katonda bye yatuwa. Eringa ebbaluwa taata omwagazi gy’awandiikira abaana be. Etutegeeza ku kisuubizo kya Katonda eky’okufuula ensi ekifo ekirungi eky’okubeeramu—olusuku lwa Katonda. Etutegeeza bye yakola mu biseera ebyayita, by’akola kati, era ne by’ajja okukolera abaana be abeesigwa mu biseera eby’omu maaso. Era etuyamba okugonjoola ebizibu byaffe n’okufuna essanyu.—2 Timoseewo 3:16,17.
Matayo 10:8) Okugatta ku ekyo, oyinza okugenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Zibeera mu bifo ebiyitibwa Kingdom Hall. Singa obeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, ojja kukulaakulana mangu mu kumanya okukwata ku Katonda.
Abajulirwa ba Yakuwa mikwano gya Katonda; bajja kukuyamba okutegeera Baibuli by’eyigiriza. Bategeeze butegeeza nti oyagala okuyiga Baibuli. Kino bakikola ku bwereere. (Osobola okuyiga ebikwata ku Katonda okuva ku bintu bye yakola. Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba: “Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Yakuwa bwe yatonda “eggulu,” yakola enjuba. Ekyo kitutegeeza ki ku Katonda? Kitutegeeza nti Yakuwa alina amaanyi mangi. Ye yekka eyali ayinza okukola ekintu eky’amaanyi ennyo ng’enjuba. Era kitutegeeza nti Yakuwa wa magezi, okuva bwe kyali kyetaagisa amagezi okukola enjuba, etuwa ebbugumu n’ekitangaala ate n’etaggweerera n’eggwaawo.
Ebitonde bya Yakuwa biraga nti atwagala. Lowooza ku bika byonna eby’enjawulo eby’ebibala ebiri ku nsi. Yakuwa yandisobodde okututeerawo ekika ky’ebibala kimu kyokka—oba n’obutateekawo yadde ekimu. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa yatuwa ebika by’ebibala bingi eby’enjawulo ebitafaananya nkula, bunene, langi, era n’empooma. Kino kiraga nti Yakuwa si Katonda wa kwagala kyokka naye era mugabi, afaayo, era wa kisa nnyo.—Zabbuli 104:24.