ESSOMO 16
Kirage Nti Oyagala Katonda
Okukuuma omukwano gwammwe, weetaaga okwogera ne mukwano gwo. Omuwuliriza, era naye akuwuliriza. Era obuulira abalala ebintu ebirungi ebikwata ku mukwano gwo. Kye kimu n’okubeera mukwano gwa Katonda. Lowooza ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno:
Yogera ne Yakuwa obutayosa mu kusaba. “Munyiikirirenga okusaba.”—Abaruumi 12:12, NW.
Soma Ekigambo kya Katonda, Baibuli. “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga.”— 2 Timoseewo 3:16.
Yigiriza abalala ebikwata ku Katonda. “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa . . . nga mubayigiriza okukwata byoMatayo 28:19, 20.
nna bye nnabalagira mmwe.”—Kolagana ne mikwano gya Katonda. “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi.”— Engero 13:20.
Genda mu nkuŋŋaana mu Kingdom Hall. “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi, . . . nga tuzziŋŋanamu amaanyi.”—Abaebbulaniya 10:24, 25, NW.
Wagira omulimu gw’Obwakabaka. “Buli muntu [aweeyo] nga bw’amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Abakkolinso 9:7.